Emmeeme Okusinziira ku Baibuli
“Omuntu n’afuuka emmeeme ennamu.” —OLUBEREBERYE 2:7, “NW”.
1. Kiki kye twetaaga okwekenneenya okumanya Baibuli ky’eyigiriza ku mmeeme?
NGA bwe tulabye, enzikiriza ezikwata ku mmeeme nnyingi era za njawulo. Wadde mu abo abagamba nti enzikiriza zaabwe zeesigamiziddwa ku Baibuli, balina endowooza za njawulo ku mmeeme kyeri era n’ekigituukako bwe tufa. Naye kiki ddala Baibuli ky’eyigiriza ku mmeeme? Okusobola okukimanya, twetaaga okwekenneenya amakulu g’ebigambo by’Olwebbulaniya n’Oluyonaani ebivvuunulwa “emmeeme” mu Baibuli.
“Emmeeme” ng’Ekitonde Ekiramu
2, 3. (a) Kigambo ki ekikyusibwa “emmeeme” mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, era ekigambo kino kirina makulu ki? (b) Olubereberye 2:7 lukakasa lutya nti ekigambo “emmeeme” kisobola okutegeeza omuntu yenna?
2 Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “emmeeme” kiri neʹphesh, era kirabika emirundi 754 mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya (ebitera okuyitibwa Endagaano Enkadde). Ekigambo neʹphesh kitegeeza ki? Okusinziira ku The Dictionary of Bible and Religion, “kitera okutegeeza ekiramu kyonna, omuntu yenna.”
3 Ng’ekyokulabirako, Olubereberye 2:7 lugamba: “Mukama Katonda n’abumba omuntu n’enfuufu y’ensi, n’amufuuwamu mu nnyindo omukka ogw’obulamu; omuntu n’afuuka omukka omulamu [“emmeeme ennamu,” NW ] .” Weetegereze nti Adamu teyalina mmeeme; yali mmeeme—ng’omuntu afuuka omusawo bwaba omusawo. N’olwekyo, ekigambo “emmeeme,” kiyinza okutegeeza omuntu yenna.
4, 5. (a) Waayo ebyokulabirako ebiraga nti ekigambo “emmeeme” kitegeeza omuntu yenna. (b) The Dictionary of Bible and Religion ewagira etya ennyinnyonnyola nti omuntu mmeeme?
4 Ennyinnyonnyola eno esangibwa mu Byawandiikibwa byonna eby’Olwebbulaniya, gye tusanga ebigambo nga “emmeeme bw’eyonoona” (Eby’Abaleevi 5:1, NW ), “emmeeme eneekola omulimu ogw’engeri yonna” (Eby’Abaleevi 23:30, NW ), “omuntu bw’asangibwa ng’awamba emmeeme” (Ekyamateeka 24:7, NW ), “emmeeme ye n’ekoowa” (Ekyabalamuzi 16:16, NW ), “mulituusa wa okweraliikiriza emmeeme yange?” (Yobu 19:2), era ne “emmeeme yange esaanuuse olw’okunyiikaala.”—Zabbuli 119:28.
5 Mu bigambo bino tewali kiraga nti emmeeme kintu ekisigala nga kiramu oluvannyuma lw’okufa. “Okugamba nti ‘emmeeme’ y’omwagalwa egenze okuba ne Mukama Waffe oba okwogera ku ‘mmeeme etafa’ kyandibadde tekitegeerekeka mu nzikiriza y’Endagaano Enkadde, bw’etyo bw’egamba The Dictionary of Bible and Religion.
6, 7. Kigambo ki ekivvuunuddwa “emmeeme” mu Byawandiikibwa eby’Ekikristaayo mu Luyonaani, era ekigambo kino kitegeeza ki?
6 Ekigambo ekikyusibwa “emmeeme” emirundi egisukka mu kikumi mu Byawandiikibwa eby’Ekikristaayo mu Luyonaani (ebitera okuyitibwa Endagaano Empya) kiri psy·kheʹ. Okufaananako neʹphesh, ekigambo kino kitera kutegeeza muntu yenna. Ng’ekyokulabirako, weetegereze ebigambo bino ebiddirira: “Emmeeme yange yeeraliikiridde.” (Yokaana 12:27, NW ) “Okutya ne kugwira buli mmeeme.” (Ebikolwa 2:43, NW ) “Buli mmeeme egondere ab’obuyinza abafuga.” (Abaruumi 13:1, NW ) “Mugumyenga emmeeme ezinyiikadde.” (1 Abasessalonika 5:14, NW ) “Abantu batono, kwe kugamba, emmeeme munaana, zaawonyezebwawo mu mazzi”—1 Peetero 3:20, NW.
7 Kya lwatu, psy·kheʹ, okufaananako neʹphesh, kitegeeza omuntu mu bulambirira. Okusinziira ku mwekenneenya Nigel Turner, ekigambo kino “kitegeeza engeri z’obuntu, omuntu, omubiri ogulimu rûaḥ [omwoyo] gwa Katonda. . . . Essira liri ku muntu yenna.”
8. Ensolo mmeeme? Nnyonnyola.
8 Mu Baibuli ekigambo “emmeeme” tekikozesebwa ku bantu bokka naye n’ensolo. Ng’ekyokulabirako, mu kwogera ku kutondebwa kw’ebiramu eby’omu nnyanja, Olubereberye 1:20, (NW ) lugamba nti Katonda yalagira: “Amazzi gajjule emmeeme ennamu.” Era olunaku olw’okutonda olwaddako Katonda yagamba: “Ensi k’ebeeremu emmeeme ennamu mu ngeri yaazo, ensolo enfuge, ezitali nfuge n’ensolo enkambwe mu ngeri yaazo.” (Olubereberye 1:24, NW; geraageranya Okubala 31:28, NW .) Bwe kityo, “emmeeme” esobola okutegeeza ekitonde ekiramu, ka kibe muntu oba nsolo.
“Emmeeme” ng’Obulamu bw’Ekitonde
9. (a) Makulu ki amalala ag’ekigambo “emmeeme”? (b) Kino kikontana n’endowooza nti emmeeme ye muntu yennyini?
9 Emirundi egimu, ekigambo “emmeeme” kitegeeza obulamu omuntu oba ensolo bw’erina. Kino tekikyusa nnyinnyonnyola ya Baibuli nti emmeeme ye muntu oba ensolo. Okuwaayo ekyokulabirako: Tugamba nti omuntu aba mulamu, nga tutegeeza nti muntu omulamu. Era tuyinza okugamba nti alina obulamu. Mu ngeri y’emu, omuntu omulamu aba mmeeme. Kyokka, nga mulamu, “emmeeme” eyinza okwogerwako ng’ekintu kyalina.
10. Waayo ebyokulabirako ebiraga nti ekigambo “emmeeme” kiyinza okutegeeza obulamu omuntu bw’alina oba ekisolo bwe kirina.
10 Ng’ekyokulabirako, Katonda yagamba Musa: “Abantu bonna abaali banoonya emmeeme yo bafu.” (Okuva 4:19, NW ) Kya lwatu, abalabe ba Musa baali baagala kumalawo obulamu bwe. Enkozesa y’emu ey’ekigambo “emmeeme” erabibwa mu bigambo ebiddirira. “Twatya nnyo olw’emmeeme zaffe.” (Yoswa 9:24, NW ) “Badduka olw’emmeeme zaabwe.” (2 Bassekabaka 7:7, NW ) “Omutuukirivu afaayo ku mmeeme y’ensolo ye.” (Engero 12:10, NW ) “Omwana w’omuntu yajja . . . okuwaayo emmeeme ye ng’ekinunulo ku lw’abangi.” (Matayo 20:28, NW ) “Yabulako katono afe, ng’ateeka emmeeme ye mu kabi.” (Abafiripi 2:30, NW ) Mu ngeri ezo, ekigambo “emmeeme” kitegeeza “obulamu.”a
11. Enkozesa y’ekigambo “mmeeme” mu Baibuli oyinza kugyogerako ki?
11 N’olwekyo ekigambo “emmeeme” ekikozesebwa mu Baibuli kitegeeza omuntu oba ensolo oba obulamu omuntu oba ensolo bw’erina. Engeri Baibuli gy’ennyonnyolamu emmeeme nyangu, tekyukakyuka, era terimu ndowooza na bulombolombo bw’abantu ebizibu okutegeera. Naye kiki ekituuka ku mmeeme ku kufa? Okuddamu ekibuuzo ekyo, tuteekwa okusooka okutegeera lwaki tufa.
[Obugambo obuli wansi]
a Matayo 10:28, (NW ) era lukozesa ekigambo “emmeeme” okutegeeza “obulamu.”
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 20]
Byonna mmeeme