ESSUULA 92
Abagenge Kkumi Bawonyezebwa—Omu Ye Yeebaza
YESU AWONYA ABAGENGE KKUMI
Yesu aviira abalabe be ab’Olukiiko Olukulu abaagala okumutta, n’agenda mu kibuga Efulayimu, ekiri ebukiikakkono w’ebuvanjuba bwa Yerusaalemi. Abeera eyo n’abayigirizwa be. (Yokaana 11:54) Wadde kiri kityo, embaga ey’Okuyitako ey’omwaka gwa 33 E.E. esembedde, era Yesu alina okuva mu kifo ekyo. Atambula ng’adda ebukiikakkono era ayita e Samaliya n’atuuka e Ggaliraaya. Guno gwe mulundi gw’asembayo okugenda mu kitundu ekyo nga tannatibwa.
Yesu aba yaakatandika olugendo lwe ng’ava ku kyalo ekimu agenda ku kirala, asanga abasajja kkumi abalina ebigenge. Ebigenge biyinza okuviirako ebitundu by’omubiri ebimu gamba ng’engalo, obugere, oba amatu okukutukako. (Okubala 12:10-12) Okusinziira ku Mateeka ga Katonda omugenge alina okwogerera waggulu nti, “Siri mulongoofu, siri mulongoofu!” era alina kubeera yekka.—Eby’Abaleevi 13:45, 46.
Olw’ensonga eyo, abagenge ekkumi bali walako okuva Yesu w’ali, naye boogerera waggulu nti “Yesu, Omuyigiriza, tusaasire!” Yesu bw’abalaba abagamba nti: “Mugende mwerage eri bakabona.” (Lukka 17:13, 14) Yesu okubagamba bw’atyo kiraga nti assa ekitiibwa mu Mateeka ga Katonda, agalaga nti bakabona be balina okukebera omuntu abadde omugenge okukakasa nti ddala alongoose. Oluvannyuma, baba basobola okuddamu okubeera mu bantu abalala.—Eby’Abaleevi 13:9-17.
Abagenge ekkumi bakakafu nti Yesu asobola okubawonya. Wadde nga tebannawonyezebwa, bagenda okweraga eri bakabona. Baba bakyali mu kkubo, bagenda okulaba ng’emibiri gyabwe girongoose. Bawonye ebigenge!
Omwenda bo beeyongerayo, naye ow’ekkumi Omusamaliya akomawo n’anoonya Yesu. Lwaki? Musanyufu nnyo era ayagala kwebaza Yesu. Omusajja oyo ‘agulumiza Katonda mu ddoboozi ery’omwanguka,’ okulaga nti Katonda y’amuwonyezza. (Lukka 17:15) Bw’asanga Yesu, avunnama ku bigere bye n’amwebaza.
Yesu agamba abantu abaliwo nti: “Bonna ekkumi tebalongooseddwa? Kati olwo omwenda bali wa? Tewali n’omu akomyewo kugulumiza Katonda okuggyako omusajja ono ow’eggwanga eddala?” Oluvannyuma Yesu agamba Omusamaliya nti: “Situka ogende; okukkiriza kwo kukuwonyezza.”—Lukka 17:17-19.
Yesu bw’awonya abagenge ekkumi, akiraga nti Katonda y’amusobozesa okukola ebyamagero. Omu ku bo takomye ku kuwonyezebwa kwokka, naye kirabika kati akutte ekkubo ery’obulamu. Leero, Katonda takyakola byamagero ng’ebyo. Wadde kiri kityo, okukkiririza mu Yesu kitusobozesa okuba mu kkubo ery’obulamu obutaggwaawo. Okufaananako Omusamaliya oyo, naffe tusiima ebyo Katonda by’atukolera?