ESSUULA 2
Ekifo Kristo ky’Alina mu Nteekateeka ya Katonda
“KU LUBEREBERYE Katonda yatonda eggulu n’ensi,” era byonna bye yakola byali “birungi nnyo.” (Lub. 1:1, 31) Yakuwa yatonda abantu ng’ayagala babe basanyufu era nga balamu bulungi emirembe gyonna. Kyokka obujeemu obwaliwo mu Edeni bwaviirako ekigendererwa ekyo okutaataaganyizibwa. Naye ekigendererwa Yakuwa kye yalina ng’atonda ensi n’abantu tekyakyuka. Katonda yakiraga nti bazzukulu ba Adamu abandibadde abawulize bandinunuddwa. Ate era yakiraga nti yandizzizzaawo okusinza okw’amazima, n’azikiriza omubi, era n’aggyawo ebikolwa by’omubi byonna. (Lub. 3:15) Ebintu byandizzeemu okuba ‘ebirungi ennyo.’ Bino byonna Yakuwa yandibituukirizza ng’ayitira mu Mwana we, Yesu Kristo. (1 Yok. 3:8) N’olwekyo, kikulu nnyo okutegeera ekifo Kristo ky’alina mu nteekateeka ya Katonda.—Bik. 4:12; Baf. 2:9, 11.
EKIFO KRISTO KY’ALINA
2 Yesu Kristo alina obuvunaanyizibwa obutali bumu mu nteekateeka ya Katonda. Yesu ye Mununuzi w’abantu, ye Kabona Asinga Obukulu, gwe Mutwe gw’Ekibiina Ekikristaayo, era kati afuga nga Kabaka mu Bwakabaka bwa Katonda. Okufumiitiriza ku buvunaanyizibwa Kristo bw’alina kituyamba okwongera okusiima enteekateeka ya Katonda n’okweyongera okwagala Kristo Yesu. Bayibuli etuyamba okutegeera obumu ku buvunaanyizibwa Yesu bw’alina.
Yesu alina ekifo kikulu nnyo mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Yakuwa eri abantu
3 Kristo bwe yali ku nsi, kyeyoleka bulungi nti okuyitira mu ye abantu abawulize bandisobodde okutabagana ne Katonda. (Yok. 14:6) Yesu yawaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi. (Mat. 20:28) N’olwekyo, ng’oggyeeko okuba nti Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ku ngeri gye tusaanidde okweyisaamu, alina ekifo kikulu nnyo mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Yakuwa eri abantu. Yesu yekka y’asobola okutuyamba okuddamu okufuna enkolagana ennungi ne Katonda. (Bik. 5:31; 2 Kol. 5:18, 19) Yesu bwe yafa n’azuukira, yaggulirawo abantu abawulize ekkubo okufuna emikisa Obwakabaka bwa Katonda gye bunaaleeta.
4 Nga Kabona Asinga Obukulu, Yesu ‘atulumirirwa mu bunafu bwaffe’ era atangirira ebibi by’abagoberezi be abeesigwa abali ku nsi. Omutume Pawulo yayogera bw’ati ku nsonga eyo: “Kabona asinga obukulu gwe tulina si y’oyo atayinza kutulumirirwa mu bunafu bwaffe, wabula y’oyo agezeseddwa mu byonna nga ffe, naye nga ye talina kibi.” Eyo ye nsonga lwaki Pawulo akubiriza abo bonna abakkiririza mu Yesu Kristo okukozesea mu bujjuvu enteekateeka eyo ebasobozesa okutabagana ne Katonda. Agamba nti: “N’olwekyo, ka tusemberere entebe ey’ekisa eky’ensusso era tusabe Katonda nga twogera n’obuvumu, tulyoke tusaasirwe era tulagibwe ekisa eky’ensusso mu kiseera we twetaagira obuyambi.”—Beb. 4:14-16; 1 Yok. 2:2.
5 Ate era Yesu gwe Mutwe gw’ekibiina Ekikristaayo. Okufaananako abagoberezi ba Yesu abaaliwo mu kyasa ekyasooka, naffe leero Yesu ye mukulembeze waffe, era tetwetaaga muntu yenna kuba mukulembeze waffe. Yesu atuwa obulagirizi ng’akozesa omwoyo omutukuvu n’abakadde. Abakadde bavunaanyizibwa eri Yesu ne Katonda olw’engeri gye balabiriramu ekisibo. (Beb. 13:17; 1 Peet. 5:2, 3) Okuyitira mu nnabbi Isaaya, Yakuwa yayogera bw’ati ku Yesu: “Laba! nnamufuula mujulirwa eri amawanga, mukulembeze era mufuzi w’amawanga.” (Is. 55:4) Yesu yalaga nti obunnabbi obwo bwatuukirizibwa bwe yagamba abayigirizwa be nti: “Temuyitibwanga bakulembeze kubanga Omukulembeze wammwe ali omu, Kristo.”—Mat. 23:10.
6 Yesu ayagala nnyo okutuyamba, era eyo ye nsonga lwaki yagamba nti: “Mujje gye ndi mmwe mmwenna abategana era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza. Mwetikke ekikoligo kyange era muyigire ku nze, kubanga ndi muteefu era muwombeefu mu mutima, era mulifuna ekiwummulo mu bulamu bwammwe. Kubanga ekikoligo kyange kyangu okusitula n’omugugu gwange si muzito.” (Mat. 11:28-30) Engeri Yesu gy’akulemberamu ekibiina Ekikristaayo eraga nti ‘musumba mulungi’ era nti akoppa Kitaawe ow’omu ggulu. Ekibiina akikulembera mu ngeri ey’ekisa era mu ngeri etuleetera okuwulira nga tulina emirembe.—Yok. 10:11; Is. 40:11.
7 Mu bbaluwa gye yasooka okuwandiikira Abakkolinso, Pawulo yalaga obuvunaanyizibwa obulala Yesu bw’alina. Yagamba nti: “Alina okufuga nga kabaka okutuusa nga Katonda amaze okussa abalabe be bonna wansi w’ebigere bye. Naye ebintu byonna bwe birimala okussibwa wansi we, Omwana naye alyessa wansi w’Oyo eyassa ebintu byonna wansi we, Katonda alyoke abeere byonna eri buli omu.” (1 Kol. 15:25, 28) Yesu kye kitonde Katonda kye yasooka okutonda, era bwe yali tannajja ku nsi, yakolera wamu ne Katonda ‘ng’omukozi omukugu.’ (Nge. 8:22-31) Yesu bwe yali ku nsi, yakolanga ebyo Kitaawe eyamutuma bye yali ayagala. Yagumira ekigezo ekisingirayo ddala okuba eky’amaanyi era n’afa nga mwesigwa eri Kitaawe. (Yok. 4:34; 15:10) Olw’okuba Yesu yali mwesigwa okutuusiza ddala okufa, Katonda yamuzuukiza n’addayo mu ggulu era n’amuwa obuyinza okufuga nga Kabaka ow’Obwakabaka bwe. (Bik. 2:32-36) Ate era, Katonda amuwadde omulimu omukulu ennyo ogw’okukulembera eggye ly’ebitonde eby’omwoyo erinaggyawo obufuzi bw’abantu n’abantu ababi bonna. (Nge. 2:21, 22; 2 Bas. 1:6-9; Kub. 19:11-21; 20:1-3) Oluvannyuma lw’ekyo, Obwakabaka bwa Katonda bwe bujja okuba nga bufuga ensi yonna.—Kub. 11:15.
BYE TULINA OKUKOLA OKULAGA NTI TUTEGEERA EKIFO YESU KY’ALINA
8 Yesu Kristo gwe tulina okukoppa atuukiridde, era yaweebwa obuvunaanyizibwa obw’okutulabirira. Naye bwe tuba ab’okuganyulwa mu ngeri gy’atulabiriramu, tulina okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa n’okutambulira awamu n’ekibiina kye.
9 Abagoberezi ba Yesu abaasooka baategeera bulungi ekifo Yesu ky’alina mu nteekateeka ya Katonda. Baakiraga nti Kristo gwe baali batwala ng’omukulembeze waabwe nga bakolera wamu, era nga bagoberera obulagirizi bwe yabawanga okuyitira mu mwoyo omutukuvu. (Bik. 15:12-21) Omutume Pawulo yakiraga nti Abakristaayo abaafukibwako amafuta bali bumu, bwe yagamba nti: “Nga twogera amazima, ka tukule mu bintu byonna mu Kristo omutwe gwaffe nga tuyitira mu kwagala. Mu ye, omubiri gwonna gugattiddwa wamu era gukolera wamu okuyitira mu buli nnyingo ekola ekiba kyetaagisa. Buli kitundu bwe kikola omulimu gwakyo obulungi, omubiri gukula era ne guzimbibwa mu kwagala.”—Bef. 4:15, 16.
10 Buli omu mu kibiina bw’akolera awamu ne banne era bonna ne bagoberera obulagirizi bwa Kristo, ekibiina kikulaakulana, era abakirimu beeyongera okuba n’okwagala ‘okunywereza ddala obumu.’—Yok. 10:16; Bak. 3:14; 1 Kol. 12:14-26.
11 Obunnabbi bwa Bayibuli obutuukirizibwa leero bulaga bulungi nti Yesu Kristo yatandika okufuga nga Kabaka mu 1914, era afugira wakati mu balabe be. (Zab. 2:1-12; 110:1, 2) Kino kitegeeza ki eri abantu bonna abali ku nsi? Kitegeeza nti mu kiseera ekitali kya wala, Yesu ajja kuzikiriza abalabe be akirage nti ye Kabaka wa bakabaka era Mukama w’abakama. (Kub. 11:15; 12:10; 19:16) Oluvannyuma, abo abaliba ku mukono gwa Kristo ogwa ddyo baliraba ng’ekyo Yakuwa kye yasuubiza nga Adamu ne Kaawa bamaze okwonoona kituukiridde. (Mat. 25:34) Mazima ddala, tuli basanyufu nnyo okuba nti tumanyi ekifo Kristo ky’alina mu nteekateeka ya Katonda. Ka tweyongere okugoberera obulagirizi bw’omukulembeze waffe Kristo, nga tukolera wamu omulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna mu nnaku zino ez’enkomerero.