ESSUULA 19
‘Ebintu Byonna Bijja Kuba Biramu Yonna Omugga Gye Gunaatuuka’
OMULAMWA: Okutuukirizibwa kw’okwolesebwa okukwata ku mugga oguva mu yeekaalu—mu biseera by’edda, mu kiseera kino, ne biseera eby’omu maaso
1, 2. Okusinziira ku Ezeekyeri 47:1-12, kiki Ezeekyeri ky’alaba era kiki malayika ky’amutegeeza? (Laba ekifaananyi waggulu.)
EZEEKYERI alaba ekintu ekirala ekyewuunyisa mu kwolesebwa kw’afuna okukwata ku yeekaalu! Kuba akafaananyi ng’olaba Ezeekyeri ng’agoberera amazzi amayonjo agakulukuta. (Soma Ezeekyeri 47:1-12.) Gakulukuta gava wansi w’omulyango gwa yeekaalu ne gafulumira okumpi n’omulyango ogw’ebuvanjuba ogwa bbugwe. Malayika akulemberamu Ezeekyeri ne bagenda nga bagoberera amazzi gye galaga ng’eno malayika bw’apima olugendo lwe batambudde. Enfunda n’enfunda malayika agamba Ezeekyeri okuyita mu mazzi era Ezeekyeri akiraba nti gye beeyongera mu maaso amazzi nago gye geeyongera okuba amawanvu, era mu kaseera katono gafuuka omugga gw’atasobola kusomoka okuggyako ng’awuze buwuzi!
2 Malayika ategeeza Ezeekyeri nti omugga ogwo gukulukuta ne guyiika mu Nnyanja Enfu ne kireetera amazzi g’ennyanja eyo ag’omunnyo okulongooka buli wonna amazzi g’omugga ogwo we gatuuka, era ennyanja ebadde teriimu biramu ejjula ebyennyanja. Ate era ku mabbali g’omugga alabako emiti mingi egya buli kika. Buli mwezi gibala ebibala ebiggya, era gissaako ebikoola ebiwonya. Okulaba ebintu ebyo kiteekwa okuba nga kyaleetera Ezeekyeri okuwulira emirembe mu mutima n’okuba n’essuubi. Ebintu ebyo bye yalaba mu kwolesebwa okwo byalina makulu ki gy’ali n’eri Bayudaaya banne abaali mu buwaŋŋanguse? Era birina makulu ki gye tuli leero?
Omugga Ezeekyeri Gwe Yalaba mu Kwolesebwa Gwalina Makulu Ki eri Abo Abaali mu Buwaŋŋanguse?
3. Lwaki Abayudaaya ab’edda tebaakitwala nti omugga Ezeekyeri gwe yalaba mu kwolesebwa gwaliyo ddala?
3 Kya lwatu nti Abayudaaya ab’edda tebaakitwala nti omugga Ezeekyeri gwe yalaba mu kwolesebwa gwaliyo ddala. Okwolesebwa okwo kuyinza okuba nga kwabajjukiza obunnabbi obulala nnabbi Yoweeri bwe yawandiika oboolyawo emyaka egyali gisukka mu 200 emabega. (Soma Yoweeri 3:18.) Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse bwe baasomanga obunnabbi bwa Yoweeri, tebaakitwalanga nti ensozi zaali zigenda ‘kutonnyera ddala omwenge omusu’ oba nti obusozi bwali bugenda ‘kukulukutira ddala amata,’ era baali tebasuubira nti ensulo yandikulukuse “okuva mu nnyumba ya Yakuwa.” Mu ngeri y’emu, Abayudaaya abaali ne Ezeekyeri tebaakitwala nti omugga Ezeekyeri gwe yalaba mu kwolesebwa gwaliyo ddala.a Kati olwo kiki Yakuwa kye yali ategeeza abantu be? Ebyawandiikibwa bituyamba okumanya amakulu g’ebimu ku bintu ebyogerwako mu kwolesebwa okwo. Naye okutwalira awamu tugenda kulaba ebintu bisatu ebizzaamu amaanyi bye tuyiga mu bunnabbi obwo.
4. (a) Omugga Ezeekyeri gwe yalaba guyinza okuba nga gwaleetera Abayudaaya kusuubira mikisa gya ngeri ki? (b) Engeri Bayibuli gy’ekozesaamu ebigambo “omugga” ne “amazzi” etukakasa etya nti Yakuwa ajja kuwa abantu be emikisa? (Laba akasanduuko “Emigga Egikiikirira Emikisa Egiva eri Yakuwa.”)
4 Omugga gw’emikisa. Mu Bayibuli, emigga oba amazzi bitera okukozesebwa okukiikirira emikisa egiva eri Yakuwa. Omugga Ezeekyeri gwe yalaba nga guva mu yeekaalu, guteekwa okuba nga gwaleetera abantu ba Katonda okusuubira nti bwe bandinyweredde ku kusinza okulongoofu, Yakuwa yandibawadde emikisa egy’eby’omwoyo egireeta obulamu. Mikisa ki egyo? Bandizzeemu okufuna obulagirizi obw’eby’omwoyo okuva eri bakabona. Ate era okuva bwe kiri nti ssaddaaka zandizzeemu okuweebwayo ku yeekaalu, bandibadde bakakafu nti ebibi byabwe byanditangiriddwa. (Ezk. 44:15, 23; 45:17) Bwe kityo bandizzeemu okuba abayonjo nga balinga abanaaziddwa amazzi amalongoofu agava mu yeekaalu.
5. Omugga Ezeekyeri gwe yalaba mu kwolesebwa gwalaga gutya nti wandibaddewo emikisa egimala abantu bonna?
5 Wandibaddewo emikisa egimala abantu bonna? Yee, kubanga mu kwolesebwa okwo, amazzi agatandika nga matono gafuuka omugga mu bbanga lya mayiro ng’emu yokka! (Ezk. 47:3-5) Omuwendo gw’Abayudaaya abandizzeeyo ku butaka gwandyeyongedde obungi, naye era n’emikisa okuva eri Yakuwa nagyo gyandyeyongedde, abantu bonna ne baba nga balina bye beetaaga. Omugga ogwo gwali gukiikirira emikisa emingi Yakuwa gye yandiwadde abantu be!
6. (a) Kintu ki ekizzaamu amaanyi obunnabbi obwo kye bwalaga? (b) Kulabula ki okwali mu kwolesebwa okwo? (Laba obugambo obuli wansi.)
6 Amazzi agawa obulamu. Mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna, omugga guyiika mu Nnyanja Enfu, amazzi gaayo agasinga obungi ne galongooka. Weetegereze nti amazzi g’omugga ogwo gaaleetera ebyennyanja bingi okuba ebiramu. Ebika by’ebyennyanja ebyo byali bingi nnyo ng’ebyo ebiri mu Nnyanja Ennene oba Ennyanja Meditereniyani. Mu butuufu, ku lubalama lw’Ennyanja Enfu, wakati w’obubuga bubiri obwali bwesudde, kwaliko abavubi bangi abaali bakolerako emirimu gyabwe. Malayika yagamba nti: “Ebintu byonna bijja kuba biramu yonna omugga guno gye gunaatuuka.” Naye amazzi agava mu nnyumba ya Yakuwa gaatuuka mu buli kitundu ky’Ennyanja Enfu? Nedda. Malayika yagamba nti ebisenyi n’entobazi tebyandituuseemu mazzi ago agawa obulamu. Ebitundu ebyo byandifuuse bya “lunnyo.”b (Ezk. 47:8-11) N’olwekyo obunnabbi obwo bwalaga nti okusinza okulongoofu kwandireetedde abantu okuddamu okuba abalamu, ne baba bulungi. Kyokka okwolesebwa okwo kwalimu n’okulabula kuno: Si buli muntu nti yandikkirizza emikisa egiva eri Yakuwa; ate era si buli muntu nti yandiwonyezeddwa.
7. Emiti egyali ku lubalama lw’omugga gyawa ssuubi ki Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse?
7 Emiti egibala ebibala era egiwonya. Ate gyo emiti egiri ku lubalama lw’omugga? Emiti egyo gyali girabika bulungi era gyawa n’Abayudaaya essuubi. Kiteekwa okuba nga kyaleetera Ezeekyeri ne Bayudaaya banne essanyu okulowooza ku bibala ebiwooma emiti egyo bye gyandibaze buli mwezi! Ekyo kyeyongera okubakakasa nti Yakuwa yandibadde abaliisa mu by’omwoyo. Kiki ekirala? Weetegereze nti ebikoola by’emiti egyo byandibadde “ddagala eriwonya.” (Ezk. 47:12) Yakuwa yali akimanyi nti okusingira ddala, Abayudaaya abandikomyewo okuva mu buwaŋŋanguse bandibadde beetaaga okuwonyezebwa mu by’omwoyo era ekyo yasuubiza okukikola. Ekyo engeri Yakuwa gye yakikolamu yayogerwako mu bunnabbi bwe twalaba mu Ssuula 9 ey’ekitabo kino.
8. Kiki ekiraga nti okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna kwandituukiridde ku kigero ekisingawo?
8 Kyokka nga bwe twalaba mu Ssuula 9, obunnabbi obwo tebwatuukirira ku Bayisirayiri abaakomawo okuva mu buwaŋŋanguse ku kigero kwe bwalina okutuukirira. Enneeyisa y’abantu ye yaviirako ekyo. Yakuwa yali tayinza kubawa mikisa gye mu bujjuvu kubanga baddangamu okukola ebintu ebibi bye baabanga baleseeyo, baajeemanga, era baalagajjaliranga okusinza okulongoofu. Abaweereza ba Yakuwa abeesigwa baawuliranga bubi okulaba nga Bayudaaya bannaabwe beeyisa mu ngeri eyo embi. Naye era abaweereza ba Yakuwa abeesigwa baali bakimanyi nti byonna Yakuwa by’asuubiza birina okutuukirira. (Soma Yoswa 23:14.) N’olwekyo, ekiseera kyandituuse okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna ne kutuukirira ku kigero ekisingako. Naye ekyo kyandibaddewo ddi?
Omugga Gukulukuta Leero!
9. Okwolesebwa okukwata ku yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba kutuukirizibwa ddi ku kigero ekisingawo?
9 Nga bwe twalaba mu Ssuula 14 ey’ekitabo kino, okwolesebwa okukwata ku yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba kutuukirizibwa ku kigero ekisingawo “mu nnaku ezisembayo,” ekiseera okusinza kw’amazima we kugulumizibwa ku kigero ekitabangawo. (Is. 2:2) Mu ngeri ki okwolesebwa okukwata ku mugga Ezeekyeri gwe yalaba gye kutuukirizibwamu leero?
10, 11. (a) Mikisa ki gye tufuna egikulukuta ng’omugga? (b) Emikisa Yakuwa gy’atuwa gyeyongedde gitya obungi ne kiba nti obwetaavu bw’abantu bukoleddwako bulungi mu nnaku zino ez’enkomerero?
10 Omugga gw’emikisa. Amazzi agakulukuta nga gava mu nnyumba ya Yakuwa gatujjukiza mikisa ki gye tufuna leero? Gatujjukiza ebintu byonna Yakuwa by’atuwa ebituganyula mu by’omwoyo. Ekisinga obukulu ku bintu ebyo ye ssaddaaka ya Yesu etusobozesa okusonyiyibwa ebibi byaffe ne tuba bayonjo mu maaso ga Katonda. Amazima agasangibwa mu Kigambo kya Katonda nago gageraageranyizibwa ku mazzi agatukuza era agawa obulamu. (Bef. 5:25-27) Emikisa egyo gikulukuse gitya mu kiseera kyaffe?
11 Mu 1919 abaweereza ba Yakuwa ku nsi baali batono, era baafunanga emmere ey’eby’omwoyo gye baali beetaaga. Naye omuwendo gwabwe gwagenda gweyongera okulinnya emyaka bwe gyagenda giyitawo. Leero abantu ba Katonda basukka mu bukadde omunaana. Amazzi ag’amazima nago geeyongedde obungi? Yee! Waliwo amazima mangi agali mu Bayibuli ge tuyambiddwa okutegeera. Mu myaka 100 egiyise, Bayibuli, ebitabo, magazini, brocuwa, ne tulakiti buwumbi na buwumbi bikubiddwa ne biweebwa abantu ba Katonda. Okufaananako omugga Ezeekyeri gwe yalaba mu kwolesebwa, amazima geeyongedde okukulukuta ku kigero ekya waggulu ne gatuuka ku bantu abalina ennyonta ey’eby’omwoyo mu nsi yonna. Okumala emyaka mingi, ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli bizze bikubibwa mu kyapa. Ate kati ebitabo ebyo tubifuna n’okuyitira ku mukutu gwaffe ogwa jw.org, mu nnimi ezisukka mu 900! Amazzi ago ag’amazima gakwata gatya ku bantu ab’emitima emirungi?
12. (a) Amazima agali mu Bayibuli gaganyudde gatya abantu? (b) Kulabula ki okuli mu kwolesebwa okwo okutukwatako leero? (Laba n’obugambo obuli wansi.)
12 Amazzi agawa obulamu. Malayika yagamba Ezeekyeri nti: “Ebintu byonna bijja kuba biramu yonna omugga guno gye gunaatuuka.” Lowooza ku ngeri amazima gye gakulukuse ne gatuuka ku abo bonna abazze mu nsi yaffe ey’eby’omwoyo eyazzibwawo. Amazima agali mu Bayibuli gayambye abantu bangi ab’emitima emirungi okuba abalamu n’okuba obulungi mu by’omwoyo. Kyokka okwolesebwa okwo kulimu okulabula kuno: Si buli muntu nti asiima era n’anywerera ku mazima. Okufaananako ebisenyi n’entobazi eby’Ennyanja Enfu ebyogerwako mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna, abantu abamu tebakkiriza mazima era tebagakolerako.c Tusaanidde okwewala okuba ng’abantu abo!—Soma Ekyamateeka 10:16-18.
13. Biki bye tuyigira ku miti Ezeekyeri gye yalaba mu kwolesebwa?
13 Emiti egibala ebibala era egiwonya. Waliwo ekintu kyonna ekituzzaamu amaanyi kye tuyigira ku miti egyali ku lubalama lw’omugga Ezeekyeri gye yalaba mu kwolesebwa? Yee! Kijjukire nti emiti egyo gyabalanga ebibala ebiggya buli mwezi era ebikoola byagyo byali ddagala eriwonya. (Ezk. 47:12) Ekyo kituyamba okukiraba nti Katonda gwe tuweereza atuliisa era atuwonya mu ngeri esingayo obukulu, kwe kugamba, mu by’omwoyo. Leero abantu abasinga obungi mu nsi balwadde mu by’omwoyo era balumwa enjala mu by’omwoyo. Naye lowooza ku bintu enkumu Yakuwa by’atuwa. Wali osomyeko ekitundu ekimu mu magazini zaffe, oba wali oyimbyeko oluyimba olusembayo ku lukuŋŋaana olunene, oba okulaba vidiyo oba programu ku ttivi yaffe n’owulira ng’ozziddwamu nnyo amaanyi olw’emmere eyo ey’eby’omwoyo? Mazima ddala tuliisibwa bulungi nnyo. (Is. 65:13, 14) Emmere ey’eby’omwoyo etuyamba etya okuba abalamu obulungi mu by’omwoyo? Okubuulirira okulungi okwesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda kwe tufuna kutuyamba okwewala ebintu ebisobola okutukosa mu by’omwoyo, gamba ng’ebikolwa eby’obugwenyufu, omululu, n’obutaba na kukkiriza. Ate era waliwo n’enteekateeka Yakuwa gye yateekawo okusobola okuyamba Abakristaayo ababa bakoze ebibi eby’amaanyi okuwonyezebwa mu by’omwoyo. (Soma Yakobo 5:14.) Mazima ddala ng’okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna okukwata ku miti bwe kulaga, Yakuwa atuwadde emikisa mingi.
14, 15. (a) Kiki kye tuyigira ku bitundu eby’entobazi ebitaalongooka? (b) Okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna okukwata ku mugga kutuganyula kutya leero?
14 Ate era waliwo kye tuyigira ku bitundu eby’entobazi ebitaalongooka. Tetwandyagadde kukola kintu kyonna kiyinza kulemesa mikisa gya Yakuwa kututuukako. Kiba kya kabi nnyo obutawonyezebwa mu by’omwoyo ng’abantu abasinga obungi mu nsi bwe bali. (Mat. 13:15) N’olwekyo, tusaanidde okukola kyonna ekisoboka okuganyulwa mu mugga gw’emikisa! Bwe tuba tunywa amazzi ag’amazima agali mu Kigambo kya Katonda, bwe tuba tubuulira abalala ku mazima ago, bwe tuba tubuulirirwa, bwe tuba tubudaabudibwa, oba bwe tuyambibwa abakadde abatendekeddwa omuddu omwesigwa, kituleetera okulowooza ku mugga Ezeekyeri gwe yalaba mu kwolesebwa. Omugga ogwo guleeta obulamu era guwonya ebintu yonna gye gutuuka.
15 Naye okwolesebwa okwo okukwata ku mugga kunaatuukirizibwa kutya mu biseera eby’omu maaso? Nga bwe tujja okulaba, omugga ogwo gujja kukulukuta ku kigero ekisingirayo ddala mu nsi empya.
Engeri Okwolesebwa Okwo Gye Kujja Okutuukirizibwamu mu Nsi Empya
16, 17. (a) Mu ngeri ki amazzi ag’obulamu gye gajja okweyongera obungi mu nsi empya? (b) Tunaaganyulwa tutya mu mugga gw’emikisa mu nsi empya?
16 Okubamu akafaananyi ng’oli mu nsi empya ng’oli wamu ne mikwano gyo n’ab’eŋŋanda zo nga munyumirwa obulamu mu bujjuvu? Okwekenneenya okwolesebwa okukwata ku mugga Ezeekyeri kwe yafuna kisobola okukuyamba okukubira ddala obulungi akafaananyi ako. Mu ngeri ki? Ka tuddemu tulowooze ku bintu ebisatu ebiri mu kwolesebwa okwo.
17 Omugga gw’emikisa. Amazzi g’omugga gajja kuba mangi nnyo n’okusingawo mu nsi empya, kubanga omugga ogwo gujja kuba tegutuganyula mu bya mwoyo mwokka, naye era gujja kuba gutuganyula ne mu by’omubiri. Mu kiseera ky’Obufuzi bwa Yesu obw’Emyaka Olukumi, Obwakabaka bwa Katonda bujja kusobozesa abantu abeesigwa okuganyulwa mu kinunulo mu ngeri esingawo. Mpolampola abantu bajja kufuuka abatuukiridde! Tewajja kuddamu kubaawo ndwadde, basawo, na malwaliro! Amazzi ag’obulamu gajja kukulukuta eri abo abanaawonawo mu lutalo lwa Amagedoni, kwe kugamba, ‘ab’ekibiina ekinene’ abajja okuyita mu “kibonyoobonyo ekinene.” (Kub. 7:9, 14) Naye emikisa egyo gijja kuba mitono nnyo bw’ogigeraageranya ku mikisa emirala emingi ennyo eginaaba gijja mu maaso. Nga bwe kiragibwa mu kwolesebwa kwa Ezeekyeri, omugga gujja kweyongera okugaziwa okusobola okutuukana n’ebyetaago byonna ebinaaba byeyongeddeko.
18. Mu ngeri ki “omugga ogw’amazzi ag’obulamu” gye gujja okweyongera okugejja mu kiseera ky’Obufuzi bwa Yesu obw’Emyaka Olukumi?
18 Amazzi agawa obulamu. Mu kiseera ky’Obufuzi bwa Yesu obw’Emyaka Olukumi, “omugga ogw’amazzi ag’obulamu” gujja kweyongera okugejja. (Kub. 22:1) Abantu buwumbi na buwumbi bajja kuzuukizibwa baweebwe omukisa ogw’okubeera abalamu emirembe gyonna mu lusuku lwa Katonda! Emikisa Yakuwa gy’ajja okuleeta okuyitira mu Bwakabaka gijja kuzingiramu n’okuzuukiza abantu bangi abamaze emyaka n’emyaka nga bafudde, nga bali mu nfuufu. (Is. 26:19) Naye abo bonna abanaazuukizibwa banaasigala balamu emirembe gyonna?
19. (a) Kiki ekiraga nti wajja kubaawo obulagirizi obupya mu nsi empya? (b) Mu ngeri ki abamu gye bajja okubeera ng’ebitundu ‘eby’olunnyo’ mu biseera eby’omu maaso?
19 Buli omu ajja kuba alina okwesalirawo. Mu kiseera ekyo, wajja kubaawo emizingo emipya egijja okwanjuluzibwa. N’olwekyo amazzi agava eri Yakuwa gajja kuzingiramu amazima amapya oba obulagirizi obupya. Mazima ddala twesunga nnyo obulagirizi obwo obupya! Kyokka abantu abamu bajja kugaana okukolera ku bulagirizi obwo basalewo okujeemera Yakuwa. Abamu bayinza okujeemera Yakuwa mu kiseera ky’Obufuzi bwa Yesu obw’Emyaka Olukumi, naye tebajja kukkirizibwa kwonoona Lusuku lwa Katonda. (Is. 65:20) Ekyo kituleetera okulowooza ku bifo eby’entobazi ebyogerwako mu kwolesebwa kwa Ezeekyeri ebitaalongooka ne ‘bifuuka eby’olunnyo.’ Nga kijja kuba kya busiru nnyo okugaana okunywa ku mazzi ag’obulamu! Ate era oluvannyuma lw’emyaka olukumi, wajja kubaawo abantu abajeemu abajja okwegatta ku Sitaani. Abo bonna abanaagaana okukkiriza obufuzi bwa Yakuwa bajja kuzikirizibwa era tebaliddamu kubaawo nate.—Kub. 20:7-12.
20. Emiti Ezeekyeri gya yalaba gitujjukiza nteekateeka ki egenda okutuganyula mu myaka Olukumi?
20 Emiti egibala ebibala era egiwonya. Yakuwa tayagala muntu n’omu afiirwe omukisa ogw’okufuna obulamu obutaggwaawo. Okusobola okuyamba abantu abanaaba Lusuku lwa Katonda obutafiirwa bulamu butaggwaawo, ajja kukukakasa nti ne mu kiseera ekyo waabaawo enteekateeka efaananako emiti Ezeekyeri gye yalaba mu kwolesebwa. Naye mu lusuku lwa Katonda tetujja kuganyulwa mu bya mubiri byokka wabula tujja kuganyulwa ne mu by’omwoyo. Yesu ne banne 144,000 bajja kufugira mu ggulu okumala emyaka lukumi. Nga baweereza nga bakabona, abo 144,000, bajja kuyamba abantu abeesigwa okuganyulwa mu bujjuvu mu ssaddaaka ya Kristo, bafuuke abatuukiridde. (Kub. 20:6) Enteekateeka eyo ejja okuganyula abantu mu by’omubiri ne mu by’omwoyo, etuleetera okulowooza ku miti Ezeekyeri gye yalaba ku mabbali g’omugga egibala ebibala era egiriko ebikoola ebiwonya. Okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna kufaananako n’okwo omutume Yokaana kwe yafuna. (Soma Okubikkulirwa 22:1, 2.) Ebikoola by’emiti Yokaana gye yalaba “bya kuwonya mawanga.” Abantu abeesigwa bukadde na bukadde bajja kuganyulwa mu buweereza bwa bakabona 144,000.
21. Okwatibwako otya bw’ofumiitiriza ku mugga Ezeekyeri gwe yalaba mu kwolesebwa, era kiki kye tugenda okuddako okwekenneenya? (Laba akasanduuko “Amazzi Amatono Gafuuka Omugga Omunene!”)
21 Bw’ofumiitiriza ku mugga Ezeekyeri gwe yalaba mu kwolesebwa, towulira nga weeyongera okufuna emirembe ku mutima n’essuubi? Ebiseera eby’omu maaso nga bijja kuba birungi nnyo! Kirowoozeeko: emyaka nkumi na nkumi emabega Yakuwa yawandiisa obunnabbi bungi obutuyamba okumanya obulamu bwe buliba mu nsi empya, era atukubiriza tufube okutuukayo tulabe ebintu ebyo nga bituukirizibwa. Ggwe onoobaayo? Oyinza okwebuuza obanga onooba n’ekifo mu Lusuku lwa Katonda. Tugenda kulaba engeri essuula ezisembayo mu kitabo kya Ezeekyeri gye zituyamba okufuna eky’okuddamu.
a Okugatta ku ekyo, Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse abaali bajjukira engeri ensi yaabwe gye yali efaananamu baali bakimanyi nti omugga ogwo tegwali gwa ddala, kubanga gwali gukulukuta nga guva mu yeekaalu ku lusozi oluwanvu ennyo ate nga mu kifo ekyogerwako temwalimu lusozi ngolwo. Ate era, okwolesebwa kuyinza okutegeeza nti omugga gwali gukulukuta nga gwolekera Ennyanja Enfu era nga tewali kintu kyonna kiguziyiza, ekintu ekyali kitasoboka okusinziira ku ngeri ekifo ekyo gye kyakulamu.
b Abeekenneenya abamu bagamba nti ebigambo ebyo tebyoleka mbeera mbi kubanga okuva edda n’edda abantu babaddenga basima omunnyo mu kitundu ky’Ennyanja Enfu ne bagutunza abantu bagukozese okukuuma ebintu bireme okwonooneka. Naye weetegereze nti malayika yagamba nti ebitundu ebyo eby’ebisenyi n’eby’entobazi ‘tebyandirongoose.’ Byandisigadde nga tebiriimu bulamu kubanga amazzi agawa obulamu agava mu nnyumba ya Yakuwa tegabituukamu. N’olwekyo, kirabika nti ebitundu ebyo okusigala nga bya lunnyo kyoleka mbeera mbi.—Zab. 107:33, 34; Yer. 17:6.
c Ku nsonga eno era lowooza ku lugero lwa Yesu olukwata ku katimba akategebwa mu nnyanja. Ebyennyanja bikwatibwa mu katimba ako naye ebimu tebiba “birungi.” Ebyennyanja ebibi bisuulibwa. Bwe kityo Yesu yalaga nti abantu abawerako abajja mu kibiina kya Yakuwa oluvannyuma lw’ekiseera bayinza okufuuka abatali beesigwa.—Mat. 13:47-50; 2 Tim. 2:20, 21.