AKASANDUUKO 9B
Lwaki Tugamba Nti Baggibwayo Mu 1919?
Lwaki tugamba nti abantu ba Katonda baggibwa mu buwambe mu Babulooni Ekinene mu 1919? Ekyo tukimanyira ku bunnabbi bwa Bayibuli ne ku bintu ebyaliwo mu byafaayo.
Obunnabbi bwa Bayibuli n’ebyafaayo biraga nti Yesu yatandika okufuga nga Kabaka mu ggulu mu 1914, era awo ennaku ez’enkomerero ey’ensi ya Sitaani ne zitandika. Kiki Yesu kye yakola nga yaakafuuka Kabaka? Yanunulirawo abagoberezi be ku nsi okuva mu buwambe mu Babulooni Ekinene? “Omuddu omwesigwa era ow’amagezi” yamulonda mu 1914, era omulimu gw’amakungula ne gutandika?—Mat. 24:45.
Nedda. Kijjukire nti omutume Peetero yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti okusala omusango ‘kwanditandikidde mu nnyumba ya Katonda.’ (1 Peet. 4:17) Ate era ne nnabbi Malaki naye yayogera ku kiseera Yakuwa lwe yandizze mu yeekaalu ye ng’ali wamu “n’omubaka w’endagaano,” ng’ono ye Mwana we. (Mal. 3:1-5) Ekiseera ekyo kyandibadde kya kulongoosebwa na kugezesebwa. Ebyafaayo bikwatagana n’obunnabbi obwo?
Yee! Okuva mu 1914 okutuuka ku ntandikwa ya 1919 kyali kiseera kya kugezesa n’okulongoosa abantu ba Yakuwa. Mu 1914, bangi ku bantu ba Katonda ku nsi baggwaamu amaanyi enkomerero bw’etaatuuka nga bwe baali basuubira. Mu 1916, beeyongera okuggwaamu amaanyi Charles T. Russell, eyali atwala obukulembeze mu bantu ba Katonda bwe yafa. Abamu ku abo abaali baagala ennyo Ow’oluganda Russell baagezaako n’okuziyiza Joseph F. Rutherford, eyali azze mu bigere bya Russell. Wajjawo enjawukana ez’amaanyi ezaabulako katono okwabuluzaamu ekibiina mu 1917. Ate mu 1918, nga kirabika abakulembeze b’amadiini be baaluka olukwe, Ow’oluganda Rutherford ne banne omusanvu baasibibwako emisango era ne basindikibwa mu kkomera. Ekitebe kyaffe ekikulu ekyali mu Brooklyn kyaggalwawo. Kyeyoleka lwatu nti abantu ba Katonda baali tebannasumululwa mu buwambe mu Babulooni Ekinene!
Naye kiki ekyaliwo mu 1919? Ebintu byakyuka mu ngeri eyali tesuubirwa. Ku ntandikwa y’omwaka ogwo, Ow’oluganda Rutherford ne banne baasumululwa mu kkomera, era baddamu buto okutambuza omulimu gwa Yakuwa! Nga wayise ekiseera kitono olukuŋŋaana olunene olw’ebyafaayo lwateekebwateekebwa, era magazini empya eyitibwa, The Golden Age, (kati eyitibwa Zuukuka!) nayo yafulumizibwa. Magazini eyo yali ya kukozesebwanga mu kubuulira. Ate era mu buli kibiina omulabirizi yalondebwa okutegeka omulimu gw’okubuulira. Mu mwaka ogwo gwennyini, akapapula The Bulletin (kati akayitibwa Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe) kaatandika okufulumizibwa okuyamba abantu ba Katonda okukola omulimu gw’okubuulira mu ngeri entegeke obulungi.
Kiki ekyali kibaddewo? Kyeyoleka lwatu nti Kristo yali asumuludde abantu be okuva mu Babulooni Ekinene. Ate era yali alonze omuddu omwesigwa era ow’amagezi. Omulimu gw’amakungula gwali gugenda mu maaso. Okuva mu 1919, omulimu ogwo gweyongedde okukolebwa ku kigero ekya waggulu ennyo.