Kuuma Essanyu Lyo mu Buweereza bwa Yakuwa
“Musanyukirenga Mukama waffe ennaku zonna: nate njogera nti Musanyukenga.”—ABAFIRIPI 4:4.
1, 2. Muganda waffe omu n’ab’omu maka ge baakuuma batya essanyu lyabwe wadde nga baafiirwa byonna bye baalina?
JAMES Omukristaayo aweza emyaka 70 egy’obukulu era abeera mu Sierra Leone, yali akoze nnyo mu bulamu bwe bwonna. Teeberezaamu essanyu lye yalina ssente ze yatereka bwe zaawera n’aba ng’asobola okugula ennyumba ey’ebisenge ebina! Kyokka, oluvannyuma lwa James n’ab’omu maka ge okuyingira ennyumba yaabwe, olutalo olw’omunda lwabalukawo mu nsi eyo, era ennyumba yaabwe yasaanawo. Baafiirwa ennyumba yaabwe, naye tebaafiirwa ssanyu lyabwe. Lwaki?
2 James n’ab’omu maka ge bassa ebirowoozo byabwe, si ku ebyo bye baafiirwa, naye ku ebyo ebyasigalawo. James annyonnyola: “Ne mu biseera eby’entiisa, twabanga n’enkuŋŋaana, twasomanga Baibuli, twasabiranga wamu, era ne tugabana ebitono bye twalina. Twasobola okukuuma essanyu lyaffe kubanga twateeka ebirowoozo byaffe ku nkolagana ey’ekitalo gye tulina ne Yakuwa.” Bwe baalowooza ku bintu ebirungi bye baalina, ng’ekisingayo obulungi y’enkolagana ennungi gye balina ne Yakuwa, Abakristaayo abo abeesigwa baasobola ‘okweyongera okusanyuka.’ (2 Abakkolinso 13:11) Kya lwatu, embeera zaabwe enzibu tezaali nnyangu kugumiikiriza. Naye tebaalekera awo kusanyukira mu Yakuwa.
3. Abakristaayo abamu abaasooka baakuuma batya essanyu lyabwe?
3 Abakristaayo abaasooka baayolekagana n’okugezesebwa okufaananako n’okwo okwatuuka ku James n’ab’omu maka ge. Kyokka, omutume Pawulo yawandiika bw’ati eri Abakristaayo Abebbulaniya: “Mwagumiikiriza n’essanyu okunyagibwako ebintu byammwe.” Awo Pawulo n’annyonnyola ensibuko y’essanyu lyabwe: “Nga mutegeera nga mulina mwekka ebintu ebisinga obulungi era eby’olubeerera.” (Abaebbulaniya 10:34, italiki zaffe) Yee, Abakristaayo abo ab’omu kyasa ekyasooka baalina essuubi ery’amaanyi. Beesunga okufuna ekintu ekyali kitayinza kunyagibwa, “engule ey’obulamu” etaggwaawo mu Bwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu. (Okubikkulirwa 2:10) Leero, essuubi lyaffe ery’Ekikristaayo, ka libe nga lya mu ggulu oba nga lya ku nsi, liyinza okutuyamba okukuuma essanyu lyaffe wadde nga twolekaganye n’ebizibu.
‘Musanyukirenga mu Ssuubi’
4, 5. (a) Lwaki okubuulirira kwa Pawulo ‘okusanyukiranga mu ssuubi’ kwatuukira mu kiseera ekituufu eri Abaruumi? (b) Kiki ekiyinza okuleetera Omukristaayo obutassa mwoyo ku ssuubi lye?
4 Omutume Pawulo yakubiriza bakkiriza banne mu Rooma ‘okusanyukira mu ssuubi’ ery’obulamu obutaggwaawo. (Abaruumi 12:12) Okwo kwali kubuulirwa okwaweebwa Abaruumi mu kiseera ekituufu. Nga tewannayitawo myaka kkumi kasookedde Pawulo abawaandiikira, baafuna okuyigganyizibwa okw’amaanyi. Era Empura Nero yalagira abamu ne batulugunyizibwa ne batuuka n’okufa. Okukkiriza kwe baalina nti Katonda yandibawadde engule ey’obulamu eyasuubizibwa awatali kubuusabuusa kwabawanirira mu kubonaabona kwabwe. Kiri kitya mu kiseera kyaffe?
5 Ng’Abakristaayo, naffe tusuubira okuyigganyizibwa. (2 Timoseewo 3:12) Ate era, tutegeera nti ‘ebiseera n’ebitasuubirwa’ bitutuukako ffenna. (Omubuulizi 9:11, NW) Omwagalwa waffe ayinza okufiira mu kabenje. Obulwadde buyinza okutta omuzadde oba mukwano gwaffe ow’oku lusegere. Okuggyako nga tussaayo omwoyo ku ssuubi lyaffe ery’Obwakabaka, tuyinza okuddirira mu by’omwoyo bwe wabaawo okugezesebwa ng’okwo. N’olwekyo, kiba kirungi bwe twebuuza, ‘Nsanyukira mu ssuubi’? Mirundi emeka lwe nfumiitiriza ku ssuubi eryo? Nzikiriza nti Olusuku lwa Katonda lwa ddala? Nkuba ekifaananyi nga ndi mu lusuku olwo? Nneesunga nnyo enkomerero y’embeera z’ebintu zino nga bwe kyali nga nnaakayiga amazima?’ Ekibuuzo ekyo ekisembyeyo kyetaaga okulowoozebwako ennyo. Lwaki? Kubanga bwe tubeera abalamu, nga tufuna ssente ezimala, era nga tubeera mu kitundu ky’ensi ekitaliimu ntalo, njala, n’obutyabaga bw’omu butonde, tuyinza obutalaba nti twetaaga ensi ya Katonda empya egenda okujja, mu kiseera kino.
6. (a) Pawulo ne Siira bwe baabonaabona, ebirowoozo byabwe baabimalira ku ki? (b) Ekyokulabirako kya Pawulo ne Siira kiyinza kitya okutuzzaamu amaanyi leero?
6 Pawulo yakubiriza Abaruumi ‘okugumiikiriza mu kubonaabona.’ (Abaruumi 12:12) Ne Pawulo kennyini yali yabonaabonako. Lumu, mu kwolesebwa yalaba omusajja eyamugamba, “jjangu e Makedoni” oyambe abantu okuyiga ku Yakuwa. (Ebikolwa 16:9, NW) Oluvannyuma lw’ekyo, Pawulo, Lukka, Siira, ne Timoseewo baagenda mu Bulaaya. Kiki ekyali kirindiridde abaminsani abo abanyiikivu? Okubonaabona! Oluvannyuma lw’okubuulira mu Firipi, ekibuga ky’omu Makedoni, Pawulo ne Siira baakubibwa emiggo ne basibibwa mu kkomera. Kya lwatu, abatuuze abamu ab’omu Firipi baali tebafaayo ku bubaka bw’Obwakabaka kyokka, naye era baali babuziyiza n’amaanyi. Ebyaliwo ebyo by’aleetera abaminsani abo abanyiikivu okufiirwa essanyu lyabwe? Nedda. Oluvannyuma lw’okukubibwa era n’okusibibwa mu kkomera, “ekiro mu ttumbi Pawulo ne Siira ne basaba ne bayimbira Katonda.” (Ebikolwa 16:25, 26, italiki zaffe) Kya lwatu, obulumi bw’okukubibwa tebwaleetera Pawulo ne Siira ssanyu. Naye ekyo abaminsani abo ababiri si kye bassaako essira. Ebirowoozo byabwe byali ku Yakuwa n’engeri gye yali abawaddemu emikisa. Nga ‘bagumiikiriza okubonaabona’ n’essanyu, Pawulo ne Siira bassaawo ekyokulabirako ekirungi eri baganda baabwe mu Firipi ne mu bifo ebirala.
7. Lwaki okusaba kwaffe kwandibaddemu okwebaza?
7 Pawulo yawandiika: “Munyiikirenga mu kusaba.” (Abaruumi 12:12) Osaba ng’olina bye weeraliikirira? Kiki ky’osaba? Oboolyawo oyogera ekizibu ky’olina n’osaba obuyambi bwa Yakuwa. Naye era oyinza okumwebaza olw’emikisa gy’ofuna. Ebizibu bwe bijjawo, okufumiitiriza ku bintu ebirungi Yakuwa by’atukolera kituyamba ‘okusanyukira mu ssuubi.’ Dawudi naye eyalina ebizibu ebingi yawandiika: ‘Ebikolwa eby’ekitalo bye wakola, ai Mukama Katonda wange, bingi, n’ebirowoozo byo ebiri gye tuli: tewali ayinza kugeraageranyizibwa naawe; singa mbadde njagala okubibuulira n’okubyogerako, tebibalika bungi.’ (Zabbuli 40:5) Singa okufaananako Dawudi tetwosa kufumiitiriza ku mikisa gye tufuna okuva eri Yakuwa, mazima ddala tujja kubeera basanyufu.
Beera n’Endowooza Ennuŋŋamu
8. Kiki ekiyamba Omukristaayo okusigala nga musanyufu bw’aba ayigganyizibwa?
8 Yesu akubiriza abagoberezi be okubeera n’endowooza ennuŋŋamu bwe boolekagana n’okugezesebwa. Agamba: “Mmwe mulina omukisa [“essanyu,” NW] bwe banaabavumanga, bwe banaabayigganyanga, bwe banaabawaayiranga buli kigambo kibi, okubavunaanya nze.” (Matayo 5:11) Nsonga ki gye tulina okubeera abasanyufu mu mbeera ng’ezo? Obusobozi bwaffe obw’okugumira okuziyizibwa bukakafu obulaga nti omwoyo gwa Yakuwa guli ku ffe. Omutume Peetero yagamba Bakristaayo banne mu kiseera kye: “Bwe muvumibwanga olw’erinnya lya Kristo, mulina omukisa; kubanga [o]mwoyo ogw’ekitiibwa era ogwa Katonda atuula ku mmwe.” (1 Peetero 4:13, 14) Okuyitira mu mwoyo gwe, Yakuwa ajja kutuyamba okugumiikiriza, era ekinaavaamu, kwe kukuuma essanyu lyaffe.
9. Kiki ekyayamba ab’oluganda abamu okufuna essanyu nga bali mu kkomera olw’okukkiriza kwabwe?
9 Ne bwe tuba mu mbeera enzibu ennyo, tuyinza okufuna ensonga ezituleetera essanyu. Omukristaayo ayitibwa Adolf yakisanga nga kiri bwe kityo. Abeera mu nsi omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa gye gwawerebwa okumala emyaka mingi. Adolf ne banne abawera baakwatibwa ne basalirwa emisango egy’okusibibwa mu kkomera okumala ebbanga ggwanvu olw’okuba baagana okwesamba enzikiriza zaabwe ezeesigamye ku Baibuli. Obulamu mu kkomera bwali buzibu, naye okufaananako Pawulo ne Siira, Adolf ne banne baalina ensonga okwebaza Katonda. Baagamba nti, bye baayitamu mu kkomera by’abayamba okunyweza okukkiriza kwabwe n’okukulaakulanya engeri ez’Ekikristaayo ez’omuwendo, ng’obugabi, okulumirirwa abalala, n’okwagala ab’oluganda. Ng’ekyokulabirako, omusibe bwe yafunanga ekitereke okuva eka, yagabananga ebyakirimu ne bakkiriza banne, abaakitwala nti ebintu bino byali biva eri Yakuwa, Omugabi asingayo owa “buli kirabo [e] kirungi, na buli kitone [e] kituukirivu.” Ebikolwa ng’ebyo eby’ekisa byaleetera omugabi n’eyagabirwa essanyu. N’olwekyo, eky’okuteekebwa mu kkomera okusobola okumenya okukkiriza kwabwe, mu butuufu kyabanyweza mu by’omwoyo!—Yakobo 1:17; Ebikolwa 20:35.
10, 11. Mwannyinaffe yakola atya bwe baamusokaasoka ebibuuzo oluvannyuma n’asibibwa ekiseera ekiwanvu?
10 Ella, abeera mu nsi omulimu gw’Obwakabaka gye gwawerebwa, yakwatibwa olw’okubuulira abalala essuubi lye ery’Ekikristaayo. Okumala emyezi munaana, baamusokaasoka ebibuuzo. Mu nkomerero bwe yatwalibwa mu kkooti okuwozesebwa, yasalirwa omusango gwa kusibibwa emyaka kkumi mu kkomera etaali basinza ba Yakuwa. Ella yalina emyaka 24 gyokka mu kiseera ekyo.
11 Kya lwatu, Ella teyeesunga kumala ekiseera eky’obuvubuka bwe mu kkomera. Naye okuva bwe yali tayinza kukyusa mbeera ye, yasalawo okukyusa endowooza ye. Bwe kityo, n’atandika okutunuulira ekkomera ng’ekitundu kye eky’okubuuliramu. “Waaliwo eby’okubuulira bingi nnyo, ne kiba nti emyaka gy’agenda mangu,” Bw’atyo bw’agamba. Oluvannyuma lw’emyaka egisukka mu etaano, baddamu okusokaasoka Ella ebibuuzo. Nga bakitegedde nti okusibibwa tekwakendeeza kukkiriza kwe, abaali bamusokaasoka ebibuuzo baamugamba: “Tetuyinza kukusumulula olw’okuba tokyuse.” “Naye nkyuse!” bw’atyo Ella bwe yaddamu. “Kati endowooza yange nnungi okusinga gye nnalina nga nnaakajja mu kkomera. Era okukkiriza kwange kunywevu okusinga kwe nnalina emabega!” Era yagattako: “Bwe muba nga temwagala kunsumulula, nja kusigala okutuusa Yakuwa lw’aliraba nga kisaanira okunnunula.” Emyaka etaano n’ekitundu egy’okusibibwa tegyamalako Ella ssanyu lye! Yayiga okuba omumativu mu mbeera zonna ze yeesangamu. Olina ky’oyinza okuyigira ku kyokulabirako kye?—Abaebbulaniya 13:5.
12. Kiki ekiyinza okuleetera Omukristaayo emirembe mu birowoozo ng’ali mu mbeera enzibu?
12 Tokitwala nti Ella alina ekirabo eky’enjawulo ekimusobozesa okwaŋŋanga okusoomooza ng’okwo. Ng’ayogera ku kiseera ekyo nga bamusokaasoka ebibuuzo okumala emyezi nga tannasibibwa mu kkomero, Ella agamba: “Nzijukira ng’amannyo gange gakankana, n’empulira nga nninga akanyonyi akafunye entiisa.” Kyokka, kati Ella alina okukkiriza okw’amaanyi mu Yakuwa. Ayize okumussaamu obwesige. (Engero 3:5-7) N’ekivuddemu, Katonda wa ddala gy’ali okusinga bwe kyali kibadde. Annyonnyola: “Buli lwe nnayingiranga mu kisenge okunsokaasoka ebibuuzo, n’awuliranga emirembe. . . . Embeera gye yeeyongera okubeera ey’entiisa, n’emirembe gye gy’eyongera okuba emingi.” Yakuwa ye yali ensibuko y’emirembe egyo. Omutume Pawulo annyonnyola: “Temweraliikiriranga kigambo kyonna kyonna; naye mu kigambo kyonna mu kusabanga n’okwegayiriranga awamu n’okwebazanga bye mwagala bitegeezebwenga eri Katonda. N’emirembe gya Katonda, egisinga okutegeerwa kwonna, ginaabakuumanga emitima gyammwe n’ebirowoozo byammwe mu Kristo Yesu.”—Abafiripi 4:6, 7.
13. Kiki ekitukakasa nti bwe tubonaabona, tujja kubeera n’amaanyi okugumiikiriza?
13 Ella, kati yasumululwa era yakuuma essanyu lye wadde nga yali mu bizibu. Teyakola kino mu maanyi ge, naye mu maanyi Yakuwa ge yamuwa. Era bwe kyali eri omutume Pawulo, eyawandiika: “Kyennaavanga nneenyumiriza n’essanyu eringi olw’eby’obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke gasiisire ku nze. . . . Kubanga bwe mba omunafu, lwe mba ow’amaanyi.”—2 Abakkolinso 12:9, 10.
14. Waayo ekyokulabirako ku ngeri Omukristaayo gy’ayinza okubeera n’endowooza ennuŋŋamu mu mbeera enzibu era n’ekiyinza okuvaamu.
14 Okunyigirizibwa kw’oyolekaganye nakwo leero kuyinza okubeera okw’enjawulo ku okwo kwe twogeddeko. Kyokka, ka kube kwa ngeri ki, okunyigirizibwa kwonna si kwangu kugumiikiriza. Ng’ekyokulabirako akukozesa ayinza okuba avumirira nnyo by’okola okusinga eby’abalala b’akozesa ab’eddiini endala. Oyinza okuba tosobola kufuna mulimu mulala. Oyinza otya okukuuma essanyu lyo? Jjukira Adolf ne banne, abaakulaakulanya engeri ennungi olw’okusibibwa mu kkomera. Singa ofuba mu bwesimbu okusanyusa akukozesa, n’oyo “omukambwe,” ojja kukulaakulanya engeri z’Ekikristaayo ng’obugumiikiriza. (1 Peetero 2:18) Okugatta ku ekyo, oyinza okufuuka akozesebwa ow’omuwendo, ekiyinza okwongera ku mikisa gyo egy’okufuna omulimu ogumatiza oluvannyuma. Ka tulabe engeri endala mwe tuyinza okukuuma essanyu lyaffe mu buweereza bwa Yakuwa.
Okugonza Obulamu Bwo Kireeta Essanyu
15-17. Abafumbo abamu baayiga ki ekyandikendeezezza ku kunyigirizibwa wadde ng’ensibuko yaakwo yali teyinza kuggibwawo?
15 Oyinza okuba toyinza kwesalirawo mulimu ki gwe wandikoze oba kifo kye wandikoleddemu, naye wayinza okubaawo ebintu ebirala mu bulamu bwo by’oyinza okwesalirawo. Lowooza ku kyokulabirako ekiddirira.
16 Omugogo gw’abafumbo Abakristaayo baayita omukadde mu maka gaabwe ku kijjulo. Mu kiseera ekyo, ow’oluganda ne mukyala we baategeeza omukadde nti baali bazitoowereddwa ebizibu by’obulamu. Wadde bombi baalina emirimu egy’ekiseera kyonna, baali tebayinza kufuna mirimu mirala. Beebuuzanga ebbanga lye bandimaze mu mbeera eyo.
17 Omukadde bwe baamusaba abawe amagezi, yabaddamu, “Mugonze obulamu bwammwe.” Mu ngeri ki? Omwami n’omukyala baali bamala essaawa nga ssatu buli lunaku okugenda n’okukomawo okuva ku mulimu. Omukadde eyali amanyi obulungi abafumbo bano, yabawa amagezi okubeera okumpi n’ebifo gye bakolera, basobole okukendeeza ku kiseera kye bamala nga bagenda n’okuva ku mulimu buli lunaku. Ebiseera bye bandiffisizzaawo byandikozeseddwa okukola ku nsonga enkulu, oba okuwummulamu. Bwe kiba nti okunyigirizibwa mu bulamu kukumalako essanyu, lwaki tokebera mbeera yo olabe obanga oyinza okufuna obuweerero ng’okola enkyukakyuka?
18. Lwaki kikulu okulowooza n’obwegendereza nga tetunnasalawo?
18 Engeri endala ey’okukendeeza ku kunyigirizibwa kwe kulowooza n’obwegendereza nga tonnasalawo. Ng’ekyokulabirako, Omukristaayo omu yasalawo okuzimba ennyumba. Yakozesa pulaani enzibu ennyo wadde nga yali tazimbanga ku nnyumba. Kati akiraba nti yandyewaze ebizibu ebimu singa ‘yalowooza ku makubo ge’ nga tannasalawo pulaani yakukozesa okuzimba ennyumba ye. (Engero 14:15) Omukristaayo omulala yakkiriza okweyimirira mukkiriza munne gwe baawola ssente. Okusinziira ku ndagaano eyo, singa eyeewola yalemererwa okusasula ebbanja, oyo eyamweyimirira ye yandibadde alisasula. Mu kusooka ebintu by’agenda bulungi, naye ekiseera bwe kyayitawo, eyeewola yalemererwa okutuukiriza ebyali mu ndagaano. Eyawola yatya n’asaba eyamweyimirira asasule ebbanja lyonna. Ekyo ky’aleetera eyeeyimirira eyeewola obuzibu. Yandyewaze ekizibu ekyo singa yalowooza n’obwegendereza ku nsonga zonna ezizingirwamu nga tannakkiriza kweyimirira eyeewola?—Engero 17:18.
19. Ezimu ku ngeri mwe tuyinza okukendeeza ku kunyigirizibwa mu bulamu bwaffe ze ziruwa?
19 Bwe tukoowa, tetulowoozanga nti tuyinza okukendeeza okunyigirizibwa ne tuddamu okufuna essanyu nga tukendeeza ku kiseera kye tumala nga twesomesa Baibuli, mu buweereza bw’ennimiro, n’okubaawo mu nkuŋŋaana. Tetusaanidde kukola ekyo kubanga zino ngeri nkulu mwe tuyinza okufunira omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu oguleeta essanyu. (Abaggalatiya 5:22) Ebikolwa eby’Ekikristaayo bulijjo bizzaamu amaanyi era tebikooya nnyo. (Matayo 11:28-30) Kiyinzika okuba nti emirimu gy’ensi oba eby’amasanyu bye bituleetera okukoowa so si ebintu eby’eby’omwoyo. Okwebaka ku ssaawa esaanira kiyinza okukuyamba okuddamu endasi. Okuwummulamu kuyinza okubeera okw’omuganyulo. N. H. Knorr, eyali ku Kakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa okutuusa bwe yafa, yagambanga abaminsani: “Bw’oggwaamu amaanyi, ekintu ky’olina okusooka okukola kwe kuwummulamu. Ojja kwewuunya engeri buli kizibu gye kirabika ng’ekyangu okugonjoola oluvannyuma lw’okwebaka obulungi ekiro!”
20. (a) Wumbawumbako ezimu ku ngeri mwe tuyinza okukuumira essanyu lyaffe. (b) Nsonga ki z’oyinza okulowoozaako ez’okubeera omusanyufu? (Laba akasanduuko.)
20 Abakristaayo balina enkizo okuweereza ‘Katonda omusanyufu.’ (1 Timoseewo 1:11, NW) Nga bwe tulabye, tuyinza okukuuma essanyu lyaffe wadde nga tulina ebizibu eby’amaanyi. Ka tubeere n’essuubi ly’Obwakabaka mu birowoozo byaffe, tukyuse mu ndowooza yaffe nga kyetaagisa, era tugonze obulamu bwaffe. Olwo nno, ka tubeere mu mbeera ki, tujja kwanukula ebigambo by’omutume Pawulo: “Musanyukirenga Mukama waffe ennaku zonna: nate njogera nti Musanyukenga.”—Abafiripi 4:4.
Fumiitiriza ku Bibuuzo Bino:
• Lwaki Abakristaayo basaanidde okussa omwoyo ku ssuubi ly’Obwakabaka?
• Kiki ekiyinza okutuyamba okukuuma essanyu lyaffe mu mbeera enzibu?
• Lwaki tusaanidde okugonza obulamu bwaffe?
• Mu bifo ki abamu mwe bagonzezza obulamu bwabwe?
[Akasanduuko/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 27]
Ensonga Endala ez’Okubeera Omusanyufu
Ng’Abakristaayo tulina ensonga nnyingi nnyo okusanyuka. Lowooza ku ziddirira:
1. Tumanyi Yakuwa.
2. Tuyize amazima g’Ekigambo kya Katonda.
3. Ebibi byaffe biyinza okusonyiyibwa okuyitira mu kukkiririza mu ssaddaaka ya Yesu.
4. Obwakabaka bwa Katonda bufuga era mangu ddala ensi empya ejja kutuuka!
5. Yakuwa atutadde mu lusuku lwe olw’eby’omwoyo.
6. Tulina oluganda olw’Ekikristaayo oluzimba.
7. Tulina enkizo ey’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira.
8. Tuli balamu era tulina amaanyi.
Nsonga meka endala ez’okubeera omusanyufu z’oyinza okumenya?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]
Pawulo ne Siira baali basanyufu ne bwe baali mu kkomera
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26]
Otunuulidde essuubi ery’essanyu ery’ensi ya Katonda empya?