Abakazi abaasanyusa Omutima gwa Yakuwa
‘Mukama akusasule emirimu gyo, era oweebwe empeera.’—LUUSI 2:12.
1, 2. Tuyinza tutya okuganyulwa bwe tufumiitiriza ku byokulabirako by’omu Baibuli eby’abakazi abaasanyusa omutima gwa Yakuwa?
OKUTYA Katonda kwaviirako abakazi babiri okujeemera Falaawo. Okukkiriza kwaleetera omukazi omwenzi okuteeka obulamu bwe mu kabi okusobola okukweka abakessi ba Isiraeri babiri. Amagezi n’obuwoombeefu mu kiseera ekya kazigizigi, byayamba omukazi okuwonya obulamu bw’abantu bangi era n’okuziyiza oyo Yakuwa gwe yafukako amafuta okuyiwa omusaayi. Okukkiririza mu Yakuwa n’okuba n’omwoyo gw’okwaniriza abagenyi, byakubiriza maama era nnamwandu okuwa nnabbi wa Katonda akamere kokka ke yali asigazzaawo. Bino bye bimu ku byokulabirako eby’omu Byawandiikibwa eby’abakazi abaasanyusa omutima gwa Yakuwa.
2 Endowooza Yakuwa gye yalina ku bakazi ng’abo, n’emikisa gye yabawa biraga nti ekisinga okumusanyusa, z’engeri ez’eby’omwoyo, ezisingira ewala ekikula ky’omuntu. Mu nsi ya leero emalira ebirowoozo ku bintu ebitali bya mwoyo, gamba ng’endabika y’omuntu n’obugagga, kizibu okuteeka engeri ez’eby’omwoyo mu kifo ekisooka. Kyokka kisoboka okuziteeka mu kifo ekisooka, nga bwe kiragibwa abakazi abatya Katonda bukadde na bukadde era nga be basinga obungi mu bantu ba Katonda leero. Abakazi Abakristaayo ng’abo, bakoppa okukkiriza, amagezi, omwoyo gw’okwaniriza abagenyi, n’engeri endala ennungi ezaalagibwa abakazi abatya Katonda aboogerwako mu Baibuli. Kya lwatu, abasajja Abakristaayo n’abo baagala okukoppa engeri z’abakazi abassaawo ekyokulabirako ekirungi mu biseera eby’edda. Okusobola okulaba engeri gye tuyinza okubakoppamu ku kigero ekisingawo, ka twekenneenye ebyawandiikibwa eby’ogera ku bakazi be tulabye ku ntandikwa.—Abaruumi 15:4; Yakobo 4:8.
Abakazi Abaajeemera Falaawo
3, 4. (a) Lwaki Safira ne Puwa baagana okugondera Falaawo bwe yabalagira okutta buli mwana ow’obulenzi Omuisiraeri eyali yaakazaalibwa? (b) Yakuwa yasasula atya abazaalisa ababiri olw’obuvumu bwabwe n’olw’okumutya?
3 Mu kuwozesebwa okwali e Nuremberg mu Bugirimaani oluvannyuma lwa Ssematalo II, bangi abaasingisibwa omusango gw’okutta okw’ekikungo, baagezaako okwewolereza nga bagamba nti baali bagondera biragiro. Geraageranya abantu abo ku bakazi ababiri abaazaalisanga Abaisiraeri mu Misiri ey’edda mu bufuzi bwa Falaawo omumbula atamanyiddwa linnya. Nga yeeraliikirira olw’omuwendo gw’Abebbulaniya ogwali gweyongerayongera, Falaawo yalagira abazaalisa ababiri okuttanga buli mwana Omwebbulaniya omulenzi eyazaalibwanga. Abakazi baakola ki nga balagiddwa ekintu ekyo ekibi? “Tebaakola nga bwe baalagirwa kabaka w’e Misiri, naye baabakuuma abaana ab’obulenzi nga balamu.” Lwaki abakazi bano tebaatya Falaawo? Lwa kuba baatya “Katonda ow’amazima.”—Okuva 1:15, 17; Olubereberye 9:6.
4 Yee, abazaalisa beesiga Yakuwa era Yakuwa yali ‘ngabo’ gye bali n’abakuuma mu busungu bwa Falaawo. (2 Samwiri 22:31; Okuva 1:18-20) Naye eyo si y’empeera yokka Yakuwa gye yabawa. Yawa Safira ne Puwa omukisa ne bazaala abaana abaabwe ku bwabwe. Ate era yassa ekitiibwa mu bakazi bano ng’awandiisa amannya gaabwe n’ebikolwa byabwe mu Kigambo kye ekyaluŋŋamizibwa gasobole okusomebwa mu mirembe egyandizzeeko so ng’ate lyo erinnya lya Falaawo terikyajjukirwa.—Okuva 1:21; 1 Samwiri 2:30b; Engero 10:7.
5. Abakazi bangi Abakristaayo leero booleka batya omwoyo ng’ogwa Safira ne Puwa, era Yakuwa anaabawa atya empeera?
5 Waliwo abakazi abalinga Safira ne Puwa leero? Mazima ddala weebali! Buli mwaka enkumi n’enkumi z’abakazi ng’abo babuulira n’obuvumu obubaka bwa Baibuli obuwonya obulamu mu nsi “ekiragiro kya kabaka” gye kitakkiriza kubuulira, bwe kityo ne bassa obulamu bwabwe mu kabi. (Abaebbulaniya 11:23; Ebikolwa 5:28, 29) Olw’okwagala Katonda ne baliraanwa, abakazi Abakristaayo ng’abo abavumu, tebakkiriza muntu n’omu kubaziyiza kubuulira balala mawulire malungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. N’ekivaamu, abakazi ng’abo bayigganyizibwa era ne baziyizibwa. (Makko 12:30, 31; 13:9-13) Nga bwe kyali eri Safira ne Puwa, Yakuwa amanyi bulungi ebikolwa ebirungi eby’abakazi abavumu ng’abo era ajja kubalaga okwagala kwe ng’ateeka amannya gaabwe mu ‘kitabo ky’obulamu,’ kasita banaasigala nga beesigwa okutuuka ku nkomerero.—Abafiripi 4:3; Matayo 24:13.
Eyali Omwenzi Asanyusa Omutima gwa Yakuwa
6, 7. (a) Lakabu yali amanyi biki ebikwata ku Yakuwa n’abantu be, era okumanya kuno kwamukwatako kutya? (b) Ekigambo kya Katonda kiwa kitya Lakabu ekitiibwa?
6 Mu mwaka 1473 B.C.E., omukazi omwenzi ayitibwa Lakabu yali abeera mu kibuga kya Kanani ekiyitibwa Yeriko. Kirabika Lakabu yali amanyi ebintu bingi. Abakessi ba Isiraeri babiri bwe beekweka mu maka ge, yasobola okubabuulira ebimu ku byamagero ebyaliwo ng’Abaisiraeri bava e Misiri newakubadde nga byali bibaddewo emyaka 40 emabega! Era yali amanyi bulungi obuwanguzi Abaisiraeri bwe baali baakatuukako mu kulwanyisa Sikoni ne Ogi. Weetegereze okumanya ebyo byonna kye kwamukolako. Yagamba abakessi: “Mmanyi nga Mukama abawadde ensi, . . . kubanga Mukama Katonda wammwe oyo ye Katonda waggulu mu ggulu era wansi ku nsi.” (Yoswa 2:1, 9-11) Yee, ebyo Lakabu bye yawulira ebikwata ku Yakuwa, ne bye yakolera Isiraeri, byamuleetera okubaako ky’akola era n’ateeka obwesige bwe mu Yakuwa.—Abaruumi 10:10.
7 Okukkiriza kwa Lakabu kwamuleetera okubaako ky’akola. Yasembeza abakessi ‘mu mirembe,’ era n’agondera ebiragiro bye baamuwa ebyandimuwonyezzaawo nga Isiraeri erumbye Yeriko. (Abaebbulaniya 11:31; Yoswa 2:18-21) Tewali kubuusabuusa kwonna nti ebikolwa bya Lakabu eby’okukkiriza byasanyusa omutima gwa Yakuwa, kubanga yaluŋŋamya omuyigirizwa Yakobo okuwandiika erinnya lya Lakabu awamu n’erya Ibulayimu mukwano gwa Katonda, ng’ekyokulabirako eri Abakristaayo. Yakobo yawandiika: “Ne Lakabu omwenzi bw’atyo teyaweebwa butuukirivu lwa bikolwa, kubanga yasembeza ababaka n’abayisa mu kkubo eddala?”—Yakobo 2:25.
8. Yakuwa yawa atya Lakabu emikisa olw’okukkiriza kwe n’obuwulize bwe?
8 Yakuwa yawa Lakabu emikisa mu ngeri nnyingi. Ekisooka, yawonyawo obulamu bwe mu ngeri ey’ekyamagero era n’obulamu bw’abalala bangi abaanoonya obuddukiro mu maka ge, kwe kugamba, ‘ab’ennyumba ya kitaawe, ne bonna be yali nabo.’ Oluvannyuma Yakuwa yabakkiriza okubeera “wakati mu Isiraeri” era baayisibwa nga bannansi. (Yoswa 2:13; 6:22-25; Eby’Abaleevi 19:33, 34) Naye tebyakoma awo. Yakuwa era yawa Lakabu omukisa gw’okubeera jjajja wa Yesu Kristo. Ng’omukazi ono Omukanani olumu eyaliko omusinza w’ebifaananyi yalagibwa okwagala kwa maanyi nnyo!a—Zabbuli 130:3, 4.
9. Endowooza Yakuwa gye yalina ku Lakabu n’abakazi abamu Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka eyinza etya okuzzaamu amaanyi abakazi abamu leero?
9 Okufaananako Lakabu, abakyala bangi okuviira ddala mu kyasa ekyasooka, n’okutuusa leero, baleseeyo empisa embi okusobola okusanyusa Katonda. (1 Abakkolinso 6:9-11) Awatali kubuusabuusa abamu baakulira mu mbeera efaananako n’ey’omu Kanani ey’edda obugwenyufu gye bwali bucaase era nga butunuulirwa ng’ekintu ekya bulijjo. Kyokka, baakyusa amakubo gaabwe nga basindiikirizibwa okukkiriza okwesigamiziddwa ku kumanya okutuufu okw’Ebyawandiikibwa. (Abaruumi 10:17) N’olwekyo, ku bikwata ku bakazi ng’abo, kiyinza okugambibwa nti ‘Katonda takwatibwa nsonyi okuyitibwa Katonda waabwe.’ (Abaebbulaniya 11:16) Nga nkizo ya kitalo!
Yaweebwa Omukisa olw’Amagezi Ge
10, 11. Biki ebyaliwo wakati wa Nabali ne Dawudi ebyaleetera Abbigayiri okubaako ky’akolawo?
10 Abakazi bangi abeesigwa ab’edda baayolesa amagezi mu ngeri ey’enjawulo era kino ne kibafuula ab’omuwendo eri abantu ba Yakuwa. Omu ku bakazi ng’abo yali Abbigayiri mukyala wa Nabali Omuisiraeri omugagga eyalina ettaka. Amagezi ge gaawonyawo obulamu bw’abantu era gaaziyiza Dawudi, eyali ow’okubeera kabaka wa Isiraeri mu biseera eby’omu maaso, okuvunaanibwa omusango gw’okuyiwa omusaayi. Tusobola okusoma ebifa ku Abbigayiri mu 1 Samwiri essuula 25.
11 Ebyaliwo bitandika nga Dawudi n’abagoberezi be basiisidde okumpi n’ebisibo bya Nabali era babikuuma emisana n’ekiro awatali kusasulwa, ng’era ekyo bakikola olw’okulaga Muisiraeri munaabwe oyo ekisa. Emmere bw’ebakendeerako, Dawudi atuma abavubuka kkumi eri Nabali abaweeyo ku mmere. Kati Nabali afunye akakisa okusiima Dawudi n’okumuwa ekitiibwa ng’oyo Yakuwa gwe yafukako amafuta. Kyokka Nabali talaga kusiima kwonna. Mu busungu obungi, anyooma Dawudi era n’asindika abavubuka ngalo nsa. Bino Dawudi bw’abiwulira, ateekateeka abasajja be abalwanyi 400 okugenda okuwoolera eggwanga. Abbigayiri amanya engeri embi bbaawe gye yeeyisizzaamu era mu bwangu abaako kyakolawo mu ngeri ey’amagezi ng’aweereza Dawudi eby’okulya bingi okusobola okumukkakkanya. Oluvannyuma, Abbigayiri yennyini agenda eri Dawudi.—Olunyiriri 2-20.
12, 13. (a) Abbigayiri alaga atya nti alina amagezi era nti akkiririza mu Katonda n’oyo gwe yafukako amafuta? (b) Abbigayiri yakola ki bwe yaddayo eka, era ebintu byamugendera bitya?
12 Abbigayiri bw’asisinkana Dawudi, obuwombeefu bw’ayolesa ng’asaba okulagibwa ekisa, bwoleka nti assa nnyo ekitiibwa mu oyo Yakuwa gwe yafukako amafuta. Agamba nti: “Mukama talirema kukolera mukama wange ennyumba ey’enkalakkalira, kubanga mukama wange alwana entalo za Mukama.” Era agattako nti, Yakuwa ajja kufuula Dawudi omukulembeze wa Isiraeri. (Olunyiriri 28-30) Mu kiseera kye kimu, Abbigayiri alaga obuvumu obw’amaanyi ng’agamba Dawudi nti singa awoolera eggwanga yandyesanga ng’avunaanibwa okuyiwa omusaayi. (Olunyiriri 26, 31) Obuwombeefu bwa Abbigayiri, endowooza ye ennuŋŋamu n’engeri gy’assa ekitiibwa mu Dawudi, bikakkanya Dawudi. Dawudi agamba: “Atenderezebwe Mukama Katonda wa Isiraeri, akutumye leero okusisinkana nange, era gatenderezebwe n’amagezi go, era naawe otenderezebwe ankuumye leero, obutabaako musaayi.”—Olunyiriri 32, 33.
13 Bw’akomawo eka, Abbigayiri ayagala okubuulirako bbaawe ekirabo ky’awadde Dawudi. Kyokka amusanga “atamidde nnyo.” N’olwekyo, amulindirira okutuusa ettamiiro bwe limuggwaako n’alyoka amubuulira. Nabali akolawo ki? Yeewuunya nnyo era n’asanyalala. Oluvannyuma lw’ennaku kkumi afa olw’omukono gwa Katonda. Dawudi bw’ategeera okufa kwa Nabali, asaba okuwasa Abbigayiri, gwe yali yeegomba era gw’assaamu ekitiibwa. Abbigayiri akkiriza okufumbirwa Dawudi.—Olunyiriri 34-42.
Osobola Okubeera nga Abbigayiri?
14. Ngeri ki eza Abbigayiri z’oyinza okwagala okukulaakulanya ku kigero ekisingawo?
14 K’obe musajja oba mukazi olaba engeri ezimu mu Abbigayiri ze wandyagadde okukulaakulanya ku kigero ekisingawo? Oboolyawo oyagala okweyisa mu ngeri ey’amagezi ebizibu bwe bijjawo. Oba oyinza okuba oyagala okwogera mu ngeri ey’obukkakkamu oba ey’amagezi b’oli nabo bwe baba nga bakaalaamuse. Bwe kiba bwe kityo, lwaki tosaba Yakuwa ku nsonga eyo. Asuubiza okuwa amagezi, okumanya, n’okutegeera abo bonna ‘abamusaba mu kukkiriza.’—Yakobo 1:5, 6; Engero 2:1-6, 10, 11.
15. Naddala, mu mbeera ki gye kiri ekikulu ennyo abakazi Abakristaayo okwoleka engeri nga eza Abbigayiri?
15 Naddala, engeri ezo nkulu nnyo eri omukazi alina omusajja atali mukkiriza, afaayo ekitono ennyo oba atafiirayo ddala ku misingi gya Baibuli. Oboolyawo anywa ekisukkiridde. Omusajja ng’oyo akyayinza okukyusa amakubo ge. Bangi bagakyusizza, ng’emirundi mingi kiva ku bakazi baabwe okuba abawombeefu era ab’empisa ennungi.—1 Peetero 3:1, 2, 4.
16. Embeera ze ka zibe nga ziri zitya, omukyala Omukristaayo yandiyolese atya nti atwala enkolagana ye ne Yakuwa nga ya muwendo okusinga ekintu ekirala kyonna?
16 Ka bibe bizibu ki by’oyinza okugumiikiriza awaka, kijjukire nti bulijjo Yakuwa waali okukuwanirira. (1 Peetero 3:12) N’olwekyo, fuba okwenyweza mu by’omwoyo. Saba okufuna amagezi n’omutima omukkakkamu. Yee, funa enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa ng’osoma Baibuli obutayosa, ng’osaba, ng’ofumiitiriza, era ng’obeerawo mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo. Okwagala Abbigayiri kwe yalina eri Yakuwa n’endowooza gye yalina ku Dawudi, byali tebifugibwa ndowooza ya bbaawe etaali ya bya mwoyo. Yakolera ku misingi egy’obutuukirivu. Ne mu maka omuli omwami aweereza Katonda, omukyala Omukristaayo akimanyi nti bulijjo yeetaaga okufuba okukulaakulana mu by’omwoyo. Kyo kituufu nti bbaawe alina obuvunaanyizibwa okuva mu Byawandiikibwa obw’okumulabirira mu by’omwoyo ne mu by’omubiri, kyokka ku nkomerero ya byonna, ye yennyini ateekwa ‘okukolerera obulokozi bwe n’okutya n’okukankana.’—Abafiripi 2:12; 1 Timoseewo 5:8.
Yafuna “Empeera ya Nnabbi”
17, 18. (a) Nnamwandu ow’e Zalefaasi yayolekagana na kigezo ki eky’okukkiriza? (b) Nnamwandu yakola ki Eriya bwe yamusaba emmere, era Yakuwa yamuwa atya empeera olw’ekyo?
17 Engeri Yakuwa gye yalabiriramu nnamwandu omwavu mu biseera bya nnabbi Eriya eraga nti asiima nnyo abawagira okusinza okw’amazima bwe baawaayo amaanyi gaabwe, oba bwe bawaayo ku bye balina. Olw’ekyeya ekyamala ebbanga eggwanvu mu biseera bya Eriya, enjala yagwira abantu bangi nga mw’otwalidde nnamwandu ne mutabani we abaali babeera e Zalefaasi. Bwe baali balinawo akamere katono nnyo akaali kasembayo, omugenyi n’atuuka, ng’ono yali nnabbi Eriya. Alina kye yasaba ekyali kyewuunyisa. Wadde nga yali amanyi ennaku y’omukazi, yasaba omukazi amufumbire “akamere” ng’akozesa obutta n’omuzigo bye yali asigazzawo byokka. Kyokka yagattako: “Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti, ‘eppipa ey’obutta terikendeera so n’akasumbi k’amafuta tekaliggwaawo okutuusa ku lunaku Mukama lw’alitonnyesa enkuba ku nsi.’”—1 Bassekabaka 17:8-14.
18 Kiki kye wandikoze singa gwe gwe baali basabye? Nnamwandu ow’e Zalefaasi ayinza okuba nga yategeera nti Eriya yali nnabbi wa Yakuwa, era ‘yakola nga Eriya bwe yayogera.’ Yakuwa yakolawo ki nnamwandu bwe yasembeza omugenyi? Mu ngeri ey’ekyamagero, yawa nnamwandu, mutabani we ne nnabbi Eriya emmere mu kiseera kye kyeya. (1 Bassekabaka 17:15, 16) Yee, Yakuwa yawa nnamwandu ow’e Zalefaasi “empeera ya nnabbi,” newakubadde nga teyali Muisiraeri. (Matayo 10:41) Omwana wa Katonda naye yatendereza nnamwandu ono bwe yamwogerako ng’ekyokulabirako mu bantu abataalina kukkiriza ab’omu kibuga kye waabwe eky’e Nazaaleesi.—Lukka 4:24-26.
19. Mu ngeri ki abakazi Abakristaayo bangi leero gye boolekamu omwoyo ng’ogwa nnamwandu ow’e Zalefaasi, era Yakuwa abatunuulira atya?
19 Leero, abakazi Abakristaayo bangi booleka omwoyo ng’ogwa nnamwandu ow’e Zalefaasi. Ng’ekyokulabirako, buli wiiki abakazi Abakristaayo abateelowoozaako bokka, nga bangi baavu era nga balina amaka ag’okulabirira, baaniriza abalabirizi abatambula ne bakyala baabwe. Abalala baaniriza abaweereza ab’ekiseera kyonna ku kijjulo, bayamba abali mu bwetaavu, oba mu ngeri endala, bawaayo amaanyi gaabwe era ne bawaayo ne kye balina okuwagira omulimu gw’Obwakabaka. (Lukka 21:4) Yakuwa alaba okwerekereza ng’okwo? Awatali kubuusabuusa akulaba! “Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n’okwagala kwe mwalaga eri erinnya lye, bwe mwaweereza abatukuvu, era mukyaweereza.”—Abaebbulaniya 6:10.
20. Tugenda kulaba ki mu kitundu ekiddako?
20 Mu kyasa ekyasooka, abakazi abatya Katonda bangi, baaweereza Yesu n’abatume be. Mu kitundu ekiddako, tujja kwogera ku ngeri abakazi bano gye baasanyusaamu omutima gwa Yakuwa, era tujja kulaba ebyokulabirako by’abakazi abaweereza Yakuwa leero n’omutima gwabwe gwonna, wadde ne mu mbeera enzibu.
[Obugambo obuli wansi]
a Olunyiriri lw’obuzaale bwa Yesu nga bwe lulagibwa mu Matayo, lwogera ku mannya g’abakazi bana, kwe kugamba, Tamali, Lakabu, Luusi, ne Malyamu. Bonna boogerwako bulungi mu Kigambo kya Katonda.—Matayo 1:3, 5, 16.
Okwejjukanya
• Abakazi bano baasanyusa batya omutima gwa Yakuwa?
• Safira ne Puwa
• Lakabu
• Abbigayiri
• Nnamwandu ow’e Zalefaasi
• Okufumiitiriza ku byokulabirako by’abakazi bano kituyamba kitya kinnoomu? Waayo ekyokulabirako.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 23]
Abakazi bangi abeesigwa baweerezza Katonda wadde nga bakugiddwa “ekiragiro kya Kabaka”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]
Lwaki Lakabu kyakulabirako kirungi eky’omuntu alina okukkiriza?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]
Ngeri ki Abbigayiri ze yayoleka z’oyagala okukkopa?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]
Abakazi Abakristaayo bangi leero booleka omwoyo gwa nnamwandu ow’e Zalefaasi