Abakazi Abakristaayo Abeesigwa—Ba Muwendo mu Maaso ga Katonda
“Okuganja kulimba, n’obulungi tebuliiko kye bugasa; naye omukazi atya Mukama ye anaatenderezebwanga.”—ENGERO 31:30.
1. Engeri Yakuwa gy’atunuuliramu obulungi eyawukana etya ku y’ensi?
ENSI eteeka essira ku ndabika ey’okungulu, naddala bwe kituuka ku bakazi. Kyokka, Yakuwa ye okusingira ddala afaayo ku ekyo kye tuli munda era nga kisobola okweyongera okuba ekirungi omuntu bw’agenda akula. (Engero 16:31) N’olwekyo, Baibuli ekubiriza abakazi: “Obuyonjo bwammwe tebubanga bwa kungulu, obw’okuluka enviiri n’okunaanika ezaabu, n’okwambala engoye; naye omuntu ow’omwoyo atalabika, mu kyambalo ekitayonooneka, gwe mwoyo omuwombeefu omuteefu, gwe gw’omuwendo omungi mu maaso ga Katonda.”—1 Peetero 3:3, 4.
2, 3. Abakazi baayamba batya okubunyisa amawulire amalungi mu kyasa ekyasooka, era kino kyalagulwa kitya?
2 Omwoyo ng’ogwo ogugwanidde okutenderezebwa, gwalagibwa abakazi bangi aboogerwako mu Baibuli. Mu kyasa ekyasooka, abamu ku bano baalina enkizo ey’okuweereza Yesu n’abatume be. (Lukka 8:1-3) Oluvannyuma, abakazi Abakristaayo baafuuka babuulizi abanyiikivu, era abamu baawagira abasajja Abakristaayo abaali batwala obukulembeze, nga mw’otwalidde n’omutume Pawulo, era abamu baayaniriza abagenyi mu ngeri ey’enjawulo nga bawaayo amaka gaabwe okubeeramu enkuŋŋaana z’ekibiina.
3 Kyali kyalagulwa dda mu Byawandiikibwa nti Yakuwa yandikozesezza abakazi mu ngeri ey’enjawulo okutuukiriza ekigendererwa kye. Ng’ekyokulabirako, Yoweeri 2:28, 29 walaga nti abakazi n’abasajja, abato n’abakulu, bandifunye omwoyo omutukuvu ne beenyigira mu kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Obunnabbi obwo bwatandika okutuukirizibwa ku Pentekoote 33 C.E. (Ebikolwa 2:1-4, 16-18) Mu ngeri ey’ekyamagero, abakazi abamu abaafukibwako amafuta baawebwa ebitone, gamba ng’eky’okuwa obunnabbi. (Ebikolwa 21:8, 9) Olw’obunyiikivu bwabwe mu buweereza, eggye lino eddene ery’eby’omwoyo ery’abakazi abeesigwa, lyayamba nnyo mu kubunyisa amangu Obukristaayo mu kyasa ekyasooka. Mu butuufu, awo nga mu 60 C.E., omutume Pawulo yawandiika nti amawulire amalungi gaali ‘gabuuliddwa mu bitonde byonna ebiri wansi w’eggulu.’—Abakkolosaayi 1:23.
Baasiimibwa olw’Obuvumu, Obunyiikivu n’olw’Okusembeza Abagenyi
4. Lwaki Pawulo yalina ensonga ennungi okusiima abakazi abawerako ab’omu kibiina Ekikristaayo eky’omu kyasa ekyasooka?
4 Ng’ekyokulabirako, omutume Pawulo yasiima obuweereza bw’abakazi abamu—era nga ne leero abalabirizi Abakristaayo bwe basiima obuweereza bw’abakazi abanyiikivu. Abamu ku bakazi Pawulo be yamenya amannya baali “Terufaniya ne Terufoosa, abaakola emirimu mu Mukama waffe,” ne “Perusi omwagalwa, eyakola emirimu emingi mu Mukama waffe.” (Abaruumi 16:12) Ate era Pawulo yawandiika nti: Ewodiya ne Suntuke ‘baakolanga emirimu wamu naye mu kubuulira enjiri.’ (Abafiripi 4:2, 3) Pulisikira awamu ne bbaawe Akula, nabo baaweerereza wamu ne Pawulo. Pulisikira ne Akula ‘baawayo obulamu bwabwe’ ku lwa Pawulo, era kino ne kireetera Pawulo okuwandiika nti ‘si yekka ye yabeebaza, naye era n’ekkanisa ez’abamawanga.’—Abaruumi 16:3, 4; Ebikolwa 18:2.
5, 6. Mu ngeri ki Pulisikira gye yateerawo abakazi ekyokulabirako ekirungi leero?
5 Nsonga ki eyaviirako Pulisikira okuba omunyiikivu era omuvumu? Eky’okuddamu kisangibwa mu Ebikolwa By’Abatume 18:24-26, we tusoma nti yawagira bbaawe mu kuyamba Apolo eyali omwogezi omulungi, okusobola okutegeera obulungi amazima nga bwe gaali mu kiseera ekyo. Kya lwatu, Pulisikira yali muyizi mulungi ow’Ekigambo kya Katonda n’enjigiriza z’abatume. N’ekyavaamu, yakulaakulanya engeri ennungi ezaamufuula okuba ow’omuwendo eri Katonda n’eri bbaawe era omuntu ow’omuwendo mu kibiina ekyasooka. Ne leero, abakazi bangi Abakristaayo abakola ennyo, era abafuba okusoma Baibuli n’okulya emmere ey’eby’omwoyo etuweebwa okuyitira mu ‘muwanika omwesigwa,’ nabo ba muwendo nnyo.—Lukka 12:42.
6 Akula ne Pulisikira baasembezanga abagenyi mu ngeri ey’enjawulo. Pawulo yabeeranga mu maka gaabwe bwe yali akola nabo omulimu gw’okukola weema mu Kkolinso. (Ebikolwa 18:1-3) Bwe baagenda mu Efeso, n’oluvannyuma mu Rooma, beeyongera okulaga omwoyo gw’okwaniriza abagenyi, ne batuuka n’okuwaayo amaka gaabwe okubaamu enkuŋŋaana z’ekibiina. (Ebikolwa 18:18, 19; 1 Abakkolinso 16:8, 19) Mu ngeri y’emu, Nunfa ne Malyamu maama wa Yokaana Makko, baawaayo amaka gaabwe okubaamu enkuŋŋaana z’ekibiina.—Ebikolwa 12:12; Abakkolosaayi 4:15.
Ekintu eky’Omuwendo Ennyo Leero
7, 8. Bintu ki ebisiimibwa ebikolebwa abakazi Abakristaayo leero mu buweereza obutukuvu, era bayinza kuba bakakafu ku ki?
7 Nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka, abakazi Abakristaayo abeesigwa leero, bakola kinene nnyo mu kutuukiriza ekigendererwa kya Katonda, naddala mu mulimu ogw’okubuulira. Ng’abakazi bano boogerwako bulungi nnyo! Twala ekyokulabirako kya Gwen, eyaweereza Yakuwa n’obwesigwa okumala emyaka 50 okutuusa bwe yafa mu 2002. ‘Gwen yali amanyiddwa ng’omubuulizi w’enjiri omunyiikivu mu kibuga kyaffe,’ bw’atyo bbaawe bwe yagamba. Era yagattako: “Mu ndowooza ye, buli muntu yali asobola okuganyulwa mu kwagala kwa Katonda n’ebisuubizo bye. Obwesigwa bwe eri Katonda n’eri ekibiina kye, era n’amaka gaffe nga kw’otadde n’okutuzzaamu amaanyi—bituyambye nnyo, nze n’abaana baffe mu bulamu bwaffe bwonna obubadde obw’omuganyulo. Tumusaalirwa nnyo.” Gwen ne bbaawe baali bafumbo okumala emyaka 61.
8 Abakazi Abakristaayo mitwalo na mitwalo, abafumbo n’abatali bafumbo, baweereza nga bapayoniya n’abaminsani nga bamativu n’ebyetaago by’obulamu, nga bwe babuulira obubaka bw’Obwakabaka mu bibuga ne mu bitundu ebyesudde. (Ebikolwa 1:8) Abamu beerekerezza okubeera n’amaka oba okuzaala abaana, okusobola okuweereza Yakuwa mu bujjuvu. Waliwo abawagira babbaabwe abaweereza ng’abalabirizi abatambula, ate abalala nkumi na nkumi baweereza ku Beseri okwetooloola ensi. Awatali kubuusabuusa, abakazi bano abeerekereza be bamu ku “byegombebwa amawanga gonna,” ebijjuza ennyumba ya Yakuwa ekitiibwa.—Kaggayi 2:7.
9, 10. Abamu ku b’omu maka basiimye batya ekyokulabirako ekirungi eky’abakazi Abakristaayo era bamaama?
9 Kya lwatu, abakyala Abakristaayo bangi balina obuvunaanyizibwa bw’omu maka, kyokka bakulembeza Bwakabaka. (Matayo 6:33) Payoniya atali mufumbo yawandiika bw’ati: “Okukkiriza kwa maama wange okw’amaanyi, n’ekyokulabirako kye ekirungi byannyamba nnyo okufuuka payoniya owa bulijjo. Mu bufuufu, y’omu ku bapayoniya abasinga obulungi be nnali nkozeko nabo.” Omwami omu ayogera bw’ati ku mukazi we, maama w’abawala bataano kati abakuze: “Bulijjo amaka gaffe gaali mayonjo ng’ate mategeke bulungi. Bonnie yeewala okugasaangamu ebintu ebingi ebiteetaagisa nnyo ne kitusobozesa okussa essira ku by’omwoyo. Enkwata ye ennungi eya ssente, yansobozesa okukola omulimu ogutali gwa kiseera kyonna, okumala emyaka 32, bwe kityo ne nsobola okumala ebiseera ebiwerako ku maka gaffe ne ku bintu eby’omwoyo. Mukyala wange era yayigiriza n’abaana okuba abakozi ennyo. Ŋŋwanidde okumutendereza.” Leero, Bonnie ne bbaawe baweereza ku kitebe ekikulu eky’Abajulirwa ba Yakuwa.
10 Omwami omu awandiika bw’ati ku mukazi we, nnyina w’abaana abakuze: “Engeri ennungi gye nsinga okwegomba mu Suzani, kwe kwagala okw’amaanyi kwalina eri Yakuwa era n’abantu, awamu n’okuba nti akolaganika naye, alumirirwa abalala, ate mwesimbu. Bulijjo endowooza ye eri nti, Yakuwa agwana okuweebwa ekisingiridde era ng’omusingi ogwo aguteeka mu nkola ye ng’omuweereza wa Katonda, era nga maama.” Olw’obuwagizi bwa mukazi we, omwami ono asobodde okufuna enkizo eziwerako, nga mu zino mwe muli okuweereza ng’omukadde, payoniya, omubeezi w’omulabirizi w’ekitundu n’okuweereza ku Kakiiko Akakwataganya eby’Eddwaliro. Ng’abakazi ng’abo ba muwendo nnyo eri ba bba baabwe, eri Bakristaayo bannaabwe, n’ekisinga byonna, eri Yakuwa!—Engero 31:28, 30.
Abakazi ab’Omuwendo Abatalina Babba Baabwe
11. (a) Yakuwa ayolese atya nti afaayo ku bakazi abeesigwa naddala bannamwandu? (b) Bannamwandu Abakristaayo, n’abakazi abalala abeesigwa abatalina baami, bayinza kuba bakakafu ku ki?
11 Emirundi mingi Yakuwa yafangayo ku bannamwandu. (Ekyamateeka 27:19; Zabbuli 68:5; Isaaya 10:1, 2) Takyukanga. Akyafaayo ku bannamwandu, bamaama abali obwannamunigina n’abakazi abasazeewo okusigala obwa nnamunigina oba abatafunye baami Abakristaayo. (Malaki 3:6; Yakobo 1:27) Bw’oba ng’oli omu ku abo abaweereza Yakuwa n’obwesigwa kyokka nga tolina buwagizi bwa munno mu bufumbo, osobola okuba omukakafu nti oli wa muwendo mu maaso ga Katonda.
12. (a) Abakyala abamu Abakristaayo booleka batya nti beesigwa eri Yakuwa? (b) Nneewulira ki abakyala abamu ze baŋŋanga?
12 Twala ekyokulabirako ky’abakazi Abakristaayo abatafumbiddwa olw’okuba banyweredde ku kubuulirira kwa Yakuwa okw’okufumbirwa ‘mu Mukama waffe.’ (1 Abakkolinso 7:39; Engero 3:1) Ekigambo kya Katonda kibakakasa nti: “Eri omwesigwa, [Yakuwa] anaabanga mwesigwa.” (2 Samwiri 22:26, NW) Kyokka, eri bangi, okusigala obwannamunigina tekibadde kyangu. Mwannyinaffe omu agamba: “Nnamalirira okufumbirwa mu Mukama waffe mwokka, naye emirundi mingi nkulukusizza amaziga nga ntunuulira mikwano gyange nga bafumbirwa abasajja Abakristaayo abalungi kyokka nga nze nkyali nzekka.” Weetegereze omulala ky’agamba: “Mpeerezza Yakuwa okumala emyaka 25. Ndi mumalirivu okusigala nga ndi mwesigwa gy’ali, naye okubeera nzekka kimmalako essanyu.” Ayongera n’agamba: “Baganda bange abalinga nze baagala nnyo okuzzibwamu amaanyi.” Tuyinza tutya okuzzaamu amaanyi abeesigwa ng’abo?
13. (a) Kiki kye tuyigira ku kyokulabirako ky’abo abaakyaliranga muwala wa Yefusa? (b) Mu ngeri ki endala mwe tuyinza okufaayo ku bannyinaffe abali obwannamunigina mu kibiina kyaffe?
13 Engeri emu erabikira mu kyokulabirako eky’edda. Muwala wa Yefusa bwe yeerekereza omukisa gwe ogw’okufumbirwa, abantu baakitegeera nti yali yeefiirizza. Kiki ekyakolebwa okumuzzaamu amaanyi? ‘Abawala ba Isiraeri baagendanga okusiima muwala wa Yefusa Omugireyaadi ennaku nnya buli mwaka.’ (Ekyabalamuzi 11:30-40) Mu ngeri y’emu, tusaanidde okusiima bannyinaffe abali obwannamunigina abagondera etteeka lya Katonda.a Ngeri ki endala gye tusobola okulaga okufaayo? Mu ssaala zaffe tusaanidde okwegayirira Yakuwa awe bannyinaffe abo abeesigwa amaanyi beeyongere okumuweereza n’obwesigwa. Bagwanira okukakasibwa nti baagalibwa era nti basiimibwa nnyo Yakuwa n’ekibiina kyonna.—Zabbuli 37:28.
Engeri Abazadde Abali Obwannamunigina gye Batuuka ku Buwanguzi
14, 15. (a) Lwaki bamaama Abakristaayo abali obwannamunigina bandisabye Yakuwa okubayamba? (b) Abazadde abali obwannamunigina bayinza batya okukolera ku kusaba kwabwe?
14 Abakazi Abakristaayo abazadde abali obwannamunigina nabo boolekagana n’okusoomooza kwa maanyi. Kyokka basobola okusaba Yakuwa okubayamba okukuliza abaana baabwe ku misingi gya Baibuli. Kyo kituufu nti, bw’oba oli muzadde ali obwannamunigina, tosobola kutuukiriza buvunaanyizibwa bwa maama ne taata mu mbeera zonna. Wadde kiri kityo, bw’onoosaba Yakuwa, ajja kukuyamba okutuukiriza obuvunaanyizibwa obungi bw’olina. Okuwaayo ekyokulabirako: Kuba akafaananyi ng’olina ensawo ezitowa erimu eby’okulya ng’ogitwala ewuwo mu kizimbe ekya kalina. Wandifaabinye okulinnya amadaala nga lifuti w’eri? Kya lwatu nedda! Mu ngeri y’emu, teweetikka wekka mugugu muzito ogw’ebikweraliikiriza ng’osobola okusaba Yakuwa okukuyamba. Mu butuufu akukubiriza okumukowoola. Zabbuli 68:19 egamba: ‘Mukama atenderezebwenga atusitulira omugugu gwaffe buli lunaku.’ Mu ngeri y’emu, 1 Peetero 5:7 lukukubiriza okusindiikiriza okweraliikirira kwo eri Yakuwa ‘kubanga ateeka ku mwoyo ebigambo byo.’ N’olwekyo, ebizibu n’ebikweraliikiriza bwe bikuyinga obungi, weeyabize Kitaawo ali mu ggulu, ng’okikola “obutayosa.”—1 Abasessaloniika 5:17; Zabbuli 18:6; 55:22.
15 Ng’ekyokulabirako, bw’oba oli maama, awatali kubuusabuusa weeraliikirira ekyo abayizi ku ssomero kye bayinza okukola ku baana bo oba okugezesebwa kwe bayinza okwolekagana nakwo. (1 Abakkolinso 15:33) Kiba kituufu okweraliikirira ebintu ng’ebyo. Kyokka era, bye bintu by’osobola okuteeka mu kusaba. Lwaki tosabira wamu n’abaana bo ku bikwata ku bintu ng’ebyo nga tebannagenda ku ssomero, oboolyawo nga mumaze okwekenneenya ekyawandiikibwa ekya buli lunaku? Okusaba okuviira ddala ku mutima gwo ng’otuukira ddala ku nsonga, kirina kinene kye kiyinza okukola ku ndowooza z’abaana. N’ekisinga byonna, ojja kufuna emikisa gya Yakuwa bw’onoonyiikira okuyigiriza abaana bo ekigambo kye. (Ekyamateeka 6:6, 7; Engero 22:6) Jjukira nti, “Amaaso ga Mukama gali ku batuukirivu, n’amatu ge gali eri okusaba kwabwe.”—1 Peetero 3:12; Abafiripi 4:6, 7.
16, 17. (a) Omwana omu yayogera atya ku kwagala maama we kwe yalaga? (b) Endowooza ya maama ey’eby’omwoyo yakola ki ku baana?
16 Twala ekyokulabirako kya Olivia, maama w’abaana omukaaga. Bbaawe ataali mukkiriza yayabulira amaka ng’omwana waabwe asembayo yaakazaalibwa, kyokka Olivia yatwala obuvunaanyizibwa obw’okuyigiriza abaana emisingi gya Katonda. Darren mutabani wa Olivia kati ng’aweza emyaka 31, era ng’aweereza ng’omukadde era nga payoniya, yali aweza emyaka nga 5 mu kiseera ekyo. Darren yafuna obulwadde obw’amaanyi obukyamutawaanya na buli kati, ekyo ne kyongera ku bizibu bya Olivia. Bw’alowooza ku myaka gye egy’obuto, Darren awandiika: “Nkyajjukira nga ntudde ku kitanda mu ddwaliro nga nnindirira Maama. Yatuulanga okunninaana, n’ansomera Baibuli buli lunaku. Oluvannyuma n’ayimba oluyimba ‘Tukwebaza Yakuwa.’b N’okutuusa leero, olwo lwe luyimba lwensinga okwagala.”
17 Okwagala Yakuwa n’okumwesiga bye bimu ku byayamba Olivia okutuuka ku buwanguzi ng’omuzadde ali obwa nnamunigina. (Engero 3:5, 6) Endowooza ye ennuŋŋamu yeeyolekera mu biruubirirwa ebirungi bye yateerawo abaana be. Darren agamba, “bulijjo maama yatukubirizanga okuluubirira obuweereza obw’ekiseera kyonna.” Ayongera n’agamba: “N’ekyavaamu, nze ne bannyinaze bana twayingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Kyokka maama teyeewaanira ku balala olw’ekyo. Nfuba nnyo okukoppa engeri ze ennungi.” Kyo kituufu nti abaana bonna bwe bakula tebaweereza Yakuwa ng’aba Olivia bwe baakola. Kyokka, maama bw’akola kyonna ky’asobola okugoberera emisingi gya Baibuli, aba mukakafu nti ajja kufuna obulagirizi n’obuyambi bwa Yakuwa.—Zabbuli 32:8.
18. Tusobola tutya okulaga nti tusiima ebyo Yakuwa by’atuwa okuyitira mu kibiina Ekikristaayo?
18 Obuyambi obusinga obungi Yakuwa abuwa okuyitira mu kibiina omuli programu y’okuliisibwa mu by’omwoyo, oluganda olw’Ekikristaayo, “n’ebirabo mu bantu” abasajja abakulu mu by’omwoyo. (Abaefeso 4:8) Abakadde abeesigwa bakola nnyo okuzimba bonna abali mu kibiina, nga bafaayo mu ngeri ey’enjawulo ku byetaago bya ‘bamulekwa ne bannamwandu mu bunaku bwabwe.’ (Yakobo 1:27) N’olwekyo, beera n’enkolagana ennungi n’abantu ba Katonda, teweeyawulanga.—Engero 18:1; Abaruumi 14:7
Obulungi bw’Okussa Ekitiibwa mu Nteekateeka y’Obukulembeze
19. Lwaki omukyala okugondera bba tekitegeeza nti wa wansi, era kyakulabirako ki mu Baibuli ekiraga kino?
19 Yakuwa yatonda omukazi okubeera omubeezi w’omusajja. (Olubereberye 2:18) N’olwekyo, omukyala okugondera bba tekitegeeza nti wa wansi. Wabula, kiweesa omukazi ekitiibwa, nga kimusobozesa okukozesa ebitone bye okutuukagana n’ebyo Katonda by’ayagala. Engero essuula 31 ennyonnyola ebintu bingi omukazi omwegendereza mu Isiraeri ey’edda bye yakolanga. Yayambanga abali mu bwetaavu, yasimbanga ensuku z’emizabibu, era n’agula n’ennimiro. Yee, ‘omutima gwa bba gwamwesiganga so teyabulwanga magoba.’—Olunyiriri 11, 16, 20.
20. (a) Omukazi Omukristaayo yanditunuulidde atya obusobozi oba ebitone Katonda bye yamuwa? (b) Ngeri ki ennungi Eseza ze yayolesa, era Yakuwa yamukozesa atya?
20 Omukazi omuwombeefu atya Katonda teyeegulumiza ku bba oba okuvuganya naye. (Engero 16:18) Teyeefaako yekka naddala ng’anoonya eby’obugagga, wabula akozesa ebitone Katonda bye yamuwa okuweereza abalala, kwe kugamba, ab’omu maka ge, Bakristaayo banne, baliraanwa, n’ekisinga byonna, Yakuwa. (Abaggalatiya 6:10; Tito 2:3-5) Lowooza ku kyokulabirako ky’omu Baibuli ekya Eseza. Wadde nga yali mulungi nnyo mu ndabika, yali muwombeefu era ng’assa ekitiibwa mu nteekateeka y’obukulembeze. (Eseza 2:13, 15) Bwe yafumbirwa, yawa bbaawe Kabaka Akaswero ekitiibwa, obutafaananako Vasuti eyali mukyala wa Kabaka eyasooka. (Eseza 1:10-12; 2:16, 17) Mu nsonga ezisaanira, Eseza yakkiriza endowooza ya Moluddekaayi, kizibwe we eyali amusinga obukulu—n’oluvanyuma lw’okufuuka mukyala wa kabaka. Kyokka teyali mutiitiizi. Mu ngeri ey’obuvumu yayanika Kamani, omusajja eyali ow’amaanyi ennyo, ataalina kisa era eyasala olukwe lw’okusaanyawo Abayudaaya bonna. Yakuwa yakozesa Eseza okuwonyawo abantu be.—Eseza 3:8–4:17; 7:1-10 9:13.
21. Mu ngeri ki omukazi Omukristaayo gy’asobola okweyongera okubeera ow’omuwendo mu maaso ga Yakuwa?
21 Kyeyoleka bulungi nti mu biseera eby’edda, ne leero, abakazi abatya Katonda balaze nti beemalidde ku Yakuwa. N’olwekyo, abakazi abatya Katonda ba muwendo mu maaso ga Yakuwa. Bannyinaffe Abakristaayo, mukkirize Yakuwa okubakyusa mpolampola okuyitira mu mwoyo gwe omutukuvu abafuule “ekintu” eky’ekitiibwa, ‘ekisaanira buli mulimu omulungi.’ (2 Timoseewo 2:21; Abaruumi 12:2) Ekigambo kya Katonda kyogera bwe kiti ku basinza abo ab’omuwendo: “Mu muwenga ku bibala eby’emikono gye, n’emirimu gye gimutenderezenga mu miryango.” (Engero 31:31) Ekyo ka kituukirire eri buli omu ku mmwe.
[Obugambo obuli wansi]
a Ku bikwata ku ngeri gye tuyinza okulaga okusiima, laba Watchtower aka Maaki 15, 2002, empapula 26-8.
b Oluyimba 94 mu katabo Muyimbire Yakuwa Ennyimba Ezitendereza, akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
Ojjukira?
• Abakazi Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baalaga batya nti ba muwendo mu maaso ga Yakuwa?
• Abakazi bangi mu kiseera kyaffe bafubye batya okuba ab’omuwendo mu maaso ga Yakuwa?
• Mu ngeri ki Yakuwa gy’awaniriramu bamaama bangi abali obwannamunigina era ne bannyinaffe bangi abatalina bannaabwe mu bufumbo?
• Omukazi ayinza atya okulaga nti assa ekitiibwa mu nteekateeka y’obukulembeze?
[Akasanduuko akali ku lupapula 31]
EBYOKULABIRAKO EBY’OKUFUMIITIRIZAAKO
Wandyagadde okumanya ebyokulabirako ebirala eby’abakazi abeesigwa aboogerwako mu Baibuli? Bwe kiba bwe kityo, osabibwa okusoma ebyawandiikibwa ebiragiddwa wammanga. Ng’ofumiitiriza ku bantu ab’enjawulo aboogerwako, gezaako okumanya emisingi gy’oyinza okussa mu nkola ku kigero ekisingawo mu bulamu bwo.—Abaruumi 15:4.
◆ Saala: Olubereberye 12:1, 5; 13:18a; 21:9-12; 1 Peetero 3:5, 6.
◆ Abakazi Abaisiraeri abagabi: Okuva 35:5, 22, 25, 26; 36:3-7; Lukka 21:1-4.
◆ Debola: Ekyabalamuzi 4:1–5:31.
◆ Luusi: Luusi 1:4, 5, 16, 17; 2:2, 3, 11-13; 4:15.
◆ Omukazi ow’e Sunemu: 2 Bassekabaka 4:8-37.
◆ Omukazi Omukanani: Matayo 15:22-28.
◆ Maliza ne Malyamu: Makko 14:3-9; Lukka 10:38-42; Yokaana 11:17-29; 12:1-8.
◆ Tabbiisa: Ebikolwa 9:36-41.
◆ Bawala ba Firipo abana: Ebikolwa 21:9.
◆ Foyibe: Abaruumi 16:1, 2.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
Olaga nti osiima bannyinaffe abatali bafumbo abagondera amateeka ga Katonda?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]
Bintu ki ebiyinza okwogerebwako mu ssaala ezisabibwa ng’abaana tebannagenda ku ssomero?