Osobola Okuba Omusanyufu Wadde ng’Ofuna Ebikunakuwaza
ANI atafunangako kintu kimunakuwaza? Tewali n’omu. Gwe ate oba ne Yakuwa Katonda, Kitaffe ow’omu ggulu kyali kimutuuseeko. Ng’ekyokulabirako, yanunula Abaisiraeri okuva mu buddu e Misiri era n’abawa emikisa mingi. Kyokka Baibuli egamba nti: ‘Baakyuka nate ne bakema Katonda, ne banyiiza Omutukuvu wa Isiraeri.’ (Zabbuli 78:41) Wadde kyali kityo, Yakuwa abaddenga ‘Katonda musanyufu.’—1 Timoseewo 1:11, NW.
Mu butuufu, waliwo ebintu bingi ebiyinza okutunakuwaza. Tuyinza kukola ki okulaba nti tebitumalaako ssanyu? Kiki kye tuyigira ku ngeri Yakuwa Katonda gye yakwatamu embeera ezinakuwaza?
Ebintu Ebinakuwaza
Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Ebiseera n’ebigambo” bitugwira bugwizi ffenna. (Omubuulizi 9:11) Oluusi ebizibu gamba ng’obulwadde, oba akabenje bitugwira bugwizi, era bituleetera ennaku nnyingi. Era Baibuli egamba nti: “Okulwawo okufuna ky’osuubira, kirwaza omutima.” (Engero 13:12, NW) Bwe tubaako ekintu ekirungi kye tusuubira tuwulira essanyu. Naye ekintu ekyo bwe kirwawo okutuuka, tuyinza okuwulira obubi. Ng’ekyokulabirako, Duncan,a eyali eyagala ennyo okuweereza ng’omuminsani, yeesanga nga ye ne mukazi we baalina okuddayo ewaabwe oluvannyuma lw’okumala emyaka emingi mu buminsani. Yagamba nti: “Olwo lwe nnasookera ddala okuwulira nga sirina kigendererwa mu bulamu bwange. Nnali sikyalina kiruubirirwa. Buli kintu nnali nkiraba ng’ekitali kya muwendo.” Omuntu bw’anakuwala ayinza okuwulira obubi okumala ebbanga, nga Claire bwe yali. Agamba nti: “Nnavaamu olubuto nga lwa myezi musanvu. Wadde nga kino kyaliwo emyaka mingi emabega, n’okutuusa kati, bwe ndaba omulenzi ng’awa emboozi ku pulatifoomu, ekirowoozo kinzijira nti, ‘Kati mutabani wange naye yandibadde yenkana awo obukulu.’”
Era kiyinza okukunakuwaza ennyo gamba singa gw’obadde oyogereza akukyawa, obufumbo bwo busasika, omwana wo afuuka kyewaggula, mukwano gwo akola ekintu ekitali kya bwesigwa, oba tasiima ky’omukoledde. Olw’okuba abantu be tubeeramu tebatuukiridde, ebintu ebisobola okutunakuwaza ntoko.
Bwe tulemererwa okutuukiriza bye twagala nakyo kiyinza okutunakuwaza. Ng’ekyokulabirako, okugwa ebibuuzo, okubulwa omulimu, oba okwagala ennyo omuntu ate nga ye tatwagala. Era omuntu gw’oyagala bw’addirira mu by’omwoyo kiyinza okukunakuwaza. Mary agamba nti: “Muwala wange yali munyiikivu mu by’omwoyo. Nnali mmanyi nti mmuteereddewo ekyokulabirako ekirungi. Naye bwe yalekera awo okuweereza Yakuwa, n’asuula n’empisa ze twali tumuyigirizza, muli nnawulira ng’atalina kye nnali nkoze kumuyamba. Ebirungi ebirala byonna bye nnali nfunye byatandika okulabika ng’ebitali bya mugaso. Nnawulira ennaku ey’amaanyi.”
Tuyinza tutya okwaŋŋanga ebintu ng’ebyo ebitumalamu amaanyi? Okufuna eky’okuddamu, weetegereze Yakuwa kye yakola bwe yafuna ebimunakuwaza.
Essira Lisse ku Kugonjoola Kizibu
Wadde nga Yakuwa Katonda yawa abafumbo abaasooka buli kirungi kye baali beetaga, kye yabakolera tebakisiima era baamujeemera. (Olubereberye, essuula 2 ne 3) Mutabani waabwe Kayini yafuna endowooza embi. Kayini yagaana okuwuliriza nga Yakuwa amulabudde, era yatta muganda we. (Olubereberye 4:1-8) Teeberezaamu Yakuwa bwe yawulira!
Lwaki ebyo byonna tebyamalako Katonda ssanyu? Lwa kuba ekigendererwa kye kyali kya kujjuza nsi abantu abatuukiridde, era yagenda mu maaso n’okukituukiriza. (Yokaana 5:17) Okusobola okukituukiriza, yawaayo ssaddaaka y’ekinunulo era n’assaawo Obwakabaka bwe. (Matayo 6:9, 10; Abaruumi 5:18, 19) Yakuwa Katonda essira teyalissa ku kizibu, wabula ku ngeri y’okukigonjoolamu.
Ekigambo kya Katonda kitukubiriza okussa essira ku bintu bye tusobola okukola mu kifo ky’okulowooza ku ebyo ebitulemye. Kigamba nti: “Eby’amazima byonna, ebisaanira ekitiibwa byonna, eby’obutuukirivu byonna, ebirongoofu byonna, ebyagalibwa byonna, ebisiimibwa byonna; oba nga waliwo obulungi, era oba nga waliwo ettendo, ebyo mubirowoozenga.”—Abafiripi 4:8.
Tunuulira Ebikunakuwaza mu Ngeri Ennuŋŋamu
Oyinza okufuna ebizibu ne bikyusa embeera y’obulamu bwo. Ng’ekyokulabirako, omulimu guyinza okukuggwako, oyinza okufiirwa munno mu bufumbo, oba okufiirwa enkizo z’obadde nazo mu kibiina. Oyinza okulwala, okufiirwa ennyumba yo, oba mukwano gwo. Tuyinza tutya okwaŋŋanga ebizibu ng’ebyo?
Abamu bakizudde nti okukulembeza ebisinga obukulu kiyamba. Duncan, eyayogeddwako waggulu, agamba nti: “Nze ne mukazi wange twawulira bubi nnyo bwe twakitegeera nti tetukyasobola kuddamu kuweereza nga baminsani. Oluvannyuma twasalawo okukola ebintu bibiri: okulabirira Maama n’okugezaako okusigala mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Bwe tubaako kye twagala okukola, tusooka kulowooza ku ngeri gye bijja okukwata ku bintu ebyo ebibiri. Kino kituyamba okumanya eky’okukola.”
Bangi ku ffe bwe tufuna ebitunakuwaza tutera okubikuliriza. Ng’ekyokulabirako, oyinza okufuba okukuza omwana, okufuna omulimu, oba okubuulira amawulire amalungi mu kitundu gye boogera olulimi olugwira, naye ebintu ne bitakugendera bulungi. Muli oyinza okulowooza nti, ‘Siriiko kye nsobola.’ Naye, ng’entandikwa embi ey’olulyo lw’omuntu bw’etaalaga nti Katonda yali alemeddwa, naffe bwe tulemererwa okutuukiriza kye twagala, kiba tekitegeeza nti n’ebirala byonna tetubisobola.—Ekyamateeka 32:4, 5.
Kyangu nnyo okusiba ekiruyi bwe wabaawo atukoze ekintu ekibi. Yakuwa ye bw’atyo si bw’akola. Yakuwa yanyiiga nnyo nga Kabaka Dawudi ayenze ne Basuseba, n’atta ne bbaawe. Kyokka Yakuwa yakiraba nti Dawudi yali yeenenyezza mu bwesimbu, era yamuleka n’ayongera okumuweereza. Mu ngeri y’emu, Kabaka Yekosofaati omwesigwa yakola kibi bwe yatandika okukolagana n’abalabe ba Katonda. Nnabbi wa Yakuwa yamugamba nti: “Olw’ekigambo ekyo obusungu bukuliko obuva mu maaso ga Mukama. Naye mu ggwe mulabise ebirungi.” (2 Ebyomumirembe 19:2, 3) Yakuwa yakiraba nti ensobi emu yokka Yekosofaati gye yali akoze yali temufuula muntu mubi. Naffe tuyinza okweyongera okuba n’enkolagana ennungi ne mikwano gyaffe bwe twewala okukuliriza ensobi ze baba batukoze. Bayinza okukola ebitunyiiza naye ng’okutwalira awamu bantu balungi.—Abakkolosaayi 3:13.
Ebintu ebinakuwaza oluusi bibaako kye bituyigiriza ekiyinza okutuyamba okutuuka ku buwanguzi. Tuyinza okunakuwala nga tukoze ekibi. Naye tusobola okutereera singa tuba bamalirivu okukola ekiba kyetaagisa. Kabaka Dawudi bwe yanakuwala olw’ensobi ze, yawandiika nti: “Amagumba gange gaakaddiwanga olw’okukaaba kwange obudde okuziba. . . . Ne nkwatulira [Yakuwa] ekibi kyange . . . , naawe n’onsonyiwa obutali butuukirivu obw’ekibi kyange.” (Zabbuli 32:3-5) Bwe tukimanya nti tetukoze Katonda ky’atwetaagisa, tusaanidde okumusaba ekisonyiwo, okutereeza amakubo gaffe, n’okuba abamalirivu okugoberera emisingi gya Katonda mu bujjuvu.—1 Yokaana 2:1, 2.
Ekinaakuyamba Okugumira Ebinakuwaza
Tewali kubuusabuusa nti gye bujja, ffenna tujja kufuna ebitunakuwaza. Tuyinza tutya okubyetegekera? Bruno, omusajja Omukristaayo eyafuna ekizibu ekyakyusa obulamu bwe, alina ky’ayogera ku nsonga eno. Agamba nti: “Ekyasinga okunnyamba okugumira ekizibu ekyo kwe kugenda mu maaso n’okunyweza enkolagana yange ne Katonda nga bwe nnali nkola mu kusooka. Nnali mmanyi lwaki Katonda akyaleseewo enteekateeka y’ebintu eno embi. Nnali mmaze emyaka egiwera nga nzimba enkolagana ennungi ne Yakuwa. Kya nnyamba nnyo okuba nti nnali nkoze ntyo. Okukimanya nti Yakuwa yali kumpi nange kyanyamba okugumira ennaku.”
Wadde nga gye bujja wajja kubaawo ebitunyiiza nga biyinza okuva ku ffe oba ku balala, tuli bakakafu nti Katonda ye tayinza kukola kintu kyonna kitunakuwaza. Mu butuufu Katonda yagamba nti erinnya lye Yakuwa litegeeza nti “Nja kubeera ekyo kye nnaabeera.” (Okuva 3:14, NW) Ekyo kitukakasa nti ajja kufuuka kyonna ekyetaagisa okusobola okutuukiriza ebisuubizo bye. Asuubiza nti okuyitira mu Bwakabaka bwe, by’ayagala bijja kukolebwa “mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.” Pawulo kye yava awandiika nti: “Ntegedde ddala nga newakubadde okufa, newakubadde obulamu, newakubadde bamalayika, newakubadde abafuga . . . newakubadde ekitonde kyonna ekirala, tebiiyinzenga kutwawukanya na kwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.”—Matayo 6:10; Abaruumi 8:38, 39.
Tulina ensonga ennungi okwesunga okutuukirizibwa kw’ekisuubizo kya Katonda nnabbi Isaaya kye yayogerako: “Ntonda eggulu eriggya n’ensi empya: so ebintu ebyasooka tebirijjukirwa so tebiriyingira mu mwoyo.” (Isaaya 65:17) Nga kirungi okukimanya nti mu bbanga ttono ebitunakuwaza byonna tujja kuba tetukyabijjukira!
[Obugambo obuli wansi]
a Amannya agamu gakyusiddwa.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 13]
Mu kusooka bwe tulemererwa okutuukiriza kye twagala, kiba tekitegeeza nti n’ebirala byonna tetubisobola
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 14]
Ekigambo kya Katonda kitukubiriza okulowooza ku bintu ebirungi mu kifo ky’ebyo ebitaagenda bulungi
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 15]
Katonda musanyufu newakubadde abantu bakola ebitamusanyusa, kubanga amanyi nti ekigendererwa kye kijja kutuukirizibwa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
Okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo kituyamba nga waliwo ebitumazeemu amaanyi