Okuba ow’Amaanyi Wadde ng’Olina Obunafu
OYINZA okuwulira ng’obunafu bw’olina bukusukkiriddeko. Buyinza okukwerippako ng’ekinoso. Era oyinza okuwulira nti obunafu obwo tolina ngeri yonna gy’oyinza kubuvvuunukamu, era nti oli bubi nnyo bwe weegeraageranya n’abalala. Oba oyinza okuba ng’olina obulwadde obw’amaanyi bw’olwanagana nabwo era nga bukuleetedde okwetamwa obulamu. Ka kibe kiki ky’oba oyolekagana nakyo, oyinza okuwulira nti tolina kya kukikolera. Oyinza okuba ng’owulira nga Yobu eyagamba Katonda nti: “Singa onkwese mu magombe, singa onkisa kyama okutuusa obusungu bwo lwe buliyita, singa onteekeddewo ekiseera ekiragiddwa, n’onjijukira!”—Yobu 14:13.
Osobola otya okuvvuunuka embeera eyo enzibu? Olina okwewala okumalira ebirowoozo byo ku bizibu by’olina, wadde nga kino kiyinza obutaba kyangu. Ng’ekyokulabirako, oyinza okulowooza ku bibuuzo bino Yakuwa bye yabuuza omuddu we omwesigwa Yobu: “Wali oli ludda wa bwe nnassaawo emisingi gy’ensi? Yatula oba olina okutegeera. Ani eyateesa ebigera byayo, oba nga omanyi? Oba ani eyagireegera omugwa?” (Yobu 38:4, 5) Okulowooza ku makulu agali mu bibuuzo ebyo kiyinza okutuyamba okulaba nti Yakuwa atusinga amagezi n’amaanyi. Ateekwa okuba ng’alina ensonga lwaki akyalese ensi eno mu mbeera bw’eti.
“Eriggwa mu Mubiri”
Omuweereza wa Yakuwa omulala omwesigwa yamusaba amuwonye ekizibu kye yayita “eriggwa mu mubiri.” Omutume Pawulo yeegayirira Katonda emirundi esatu amuwonye ekizibu ekyo. Ka kibe kizibu ki ekyo ekyali kiruma Pawulo ng’eriggwa, kiteekwa okuba nga kyamumalako essanyu ng’aweereza Yakuwa. Yakigeraageranya n’okukubibwa empi buli kiseera. Yakuwa yamuddamu nti: “Ekisa kyange kikumala: kubanga amaanyi gange gatuukirira mu bunafu.” Yakuwa teyamuggyamu liggwa eryo mu mubiri. Wadde nga Pawulo yalina okumeggana n’ekizibu ekyo, yagamba nti: “Bwe mba omunafu, lwe mba ow’amaanyi.” (2 Kol. 12:7-10) Yali ategeeza ki?
Ekizibu ekyali kitawaanya Pawulo tekyavaawo, naye ekyo tekyamulemesa kuweereza Yakuwa na bunyiikivu. Pawulo yeesiga Yakuwa okumuwanirira era buli kiseera yamusabanga okumuyamba. (Baf. 4:6, 7) Ng’anaatera okutuuka ku nkomerero y’obulamu bwe obw’oku nsi, Pawulo yali asobola okugamba nti: “Nnwanye okulwana okulungi, olugendo ndutuusizza, okukkiriza nkukuumye.”—2 Tim. 4:7.
Yakuwa akozesa abantu abatatuukiridde okutuukiriza by’ayagala wadde nga balina obunafu n’ebizibu, era ekitiibwa kidda eri ye. Abawa obulagirizi n’amagezi ne basobola okugumira ebizibu byabwe era ne bamuweereza nga basanyufu. Yee, asobola okuyamba abantu abatatuukiridde okukola ebintu eby’amaanyi wadde nga balina obunafu.
Pawulo yagamba nti Katonda yamulekamu eriggwa eryo mu mubiri ‘alemenga okugulumizibwa ennyo.’ (2 Kol. 12:7) “Eriggwa” lya Pawulo lyamujjukizanga nti obusobozi bwe bulina we bukoma era lyamuyamba okusigala nga mwetoowaze. Kino kikwatagana bulungi ne Yesu kye yayigiriza nti: “Buli aneegulumizanga anakkakkanyizibwanga; na buli aneekakkanyanga anaagulumizibwanga.” (Mat. 23:12) Okuba n’ebizibu kiyinza okuyamba abaweereza ba Katonda okuba abeetoowaze n’okukiraba nti balina okwesiga Yakuwa basobole okuweereza n’obugumiikiriza. Olwo baba basobola ‘okwenyumiririza mu Yakuwa’ ng’omutume oyo bwe yakola.—1 Kol. 1:31.
Obunafu Obwekusifu
Abamu bayinza okuba n’obunafu nga tebamanyi, oba nga tebaagala kukkiriza nti babulina. Ng’ekyokulabirako, omuntu ayinza okuba nga yeekakasa ekisusse, era ng’awulira nti teyeetaaga buyambi bwonna. (1 Kol. 10:12) Obunafu obulala abantu abatatuukiridde bwe batera okuba nabwo kwe kwagala ennyo ebitiibwa.
Yowaabu, eyali omuduumizi w’eggye lya Kabaka Dawudi, yali musajja muzira, mujagujagu era ng’akutula mangu ensonga. Kyokka, Yowaabu yakola ebintu ebibi ebyalaga nti yali yeeyitiriza era nti yali ayagala nnyo okuba mu bifo ebya waggulu. Yatta abaduumizi b’amaggye babiri. Okusooka, yawoolera eggwanga n’atta Abuneeri. Nga wayise ekiseera, yeefuula ng’alamusa Amasa, mutabani wa maama we omuto, n’amukwata ekirevu n’omukono gwe ogwa ddyo, n’amufumita ekiso ekyali mu mukono gwe ogwa kkono. (2 Sam. 17:25; 20:8-10) Amasa ye yali azziddwa mu kifo kya Yowaabu ng’omuduumizi w’amagye, era bw’atyo Yowaabu yamutta ng’asuubira nti ajja kuzzibwa ku buduumizi bw’amagye. Kyeyoleka bulungi nti Yowaabu yalemwa okwekomako, era yeegwanyiza ekifo ekitali kikye. Ekintu kye yakola kyali kya ttima era teyalaga kunyolwa kwonna. Kabaka Dawudi bwe yali anaatera okufa, yalagira mutabani we Sulemaani okukakasa nti Yowaabu abonerezebwa olw’obubi bwe.—1 Bassek. 2:5, 6, 29-35.
Tusaanidde okwewala okukolera ku kwegomba kwaffe okubi era tulina okufuba okulwanyisa obunafu bwaffe. Okusookera ddala, tuteekwa okumanya n’okukkiriza nti tulina obunafu. Olwo nno tuba tusobola okubaako kye tukola okubuvvuunuka. Twetaaga okusaba Yakuwa obutayosa atuyambe okuvvuunuka obunafu obwo, n’okunyiikira okusoma Ekigambo kye kituyambe okubulwanyisa. (Beb. 4:12) Kiyinza okutwetaagisa okufuba okuvvuunuka obunafu bwaffe wadde nga kino kiyinza okutwala ebbanga. Olw’okuba tetutuukiridde, tuyinza okulwanagana n’obunafu obwo obulamu bwaffe bwonna. Pawulo yalaga nti yalina obuzibu bwe bumu bwe yagamba nti: “Kye njagala si kye nkola; naye kye nkyawa kye nkola.” Kyokka, tukimanyi nti Pawulo teyakkiriza bunafu bwe kumufuga. Mu kifo ky’ekyo, yafuba okubulwanyisa nga yeesigama ku buyambi bwa Katonda okuyitira mu Yesu Kristo. (Bar. 7:15-25) Pawulo era yagamba nti: “Nneebonereza omubiri gwange era ngufuga: mpozzi, nga mmaze okubuulira abalala, nze nzekka nneme okubeera atasiimibwa.”—1 Kol. 9:27.
Abantu batera okwewolereza nga bakoze ekikyamu. Ekyo tusobola okukyewala nga tufuba okuba n’endowooza ng’eya Yakuwa, nga tukola nga Pawulo bwe yakubiriza Abakristaayo nti: “Mukyawe ekibi, munywerere ku kirungi.” (Bar. 12:9, NW) Bwe tuba tulwanyisa obunafu bwaffe, tulina okuba abeesimbu, abamalirivu, era kitwetaagisa okwefuga. Dawudi yasaba Yakuwa nti: “[Longoosa] emmeeme yange n’omutima gwange.” (Zab. 26:2) Yali akimanyi nti Katonda asobola okumanyira ddala ekituli mu mutima era n’atuwa obuyambi bwe twetaaga. Singa tukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa okuyitira mu Kigambo kye n’omwoyo gwe omutukuvu, tusobola okuvvuunuka obunafu bwaffe.
Abamu bayinza okuwulira ng’ebizibu bye balina tebasobola kubyaŋŋanga ku lwabwe. Awatali kubuusabuusa, abakadde mu kibiina basobola okubayamba n’okubazzaamu amaanyi. (Is. 32:1, 2) Naye kiba kya magezi obutasuubira mbeera kukyukirawo mangu ago. Ebizibu ebimu tebiyinza kuggibwawo mu nteekateeka y’ebintu eno. Wadde kiri kityo, bangi bayize okubigumira, era ekyo kibayambye okusigala nga basanyufu.
Yakuwa Ajja Kutuyamba
Ka tube na bizibu ki mu biseera bino ebizibu, tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuwa obulagirizi era ajja kutuyamba. Baibuli etukubiriza nti: “Mwewombeekenga wansi w’omukono ogw’amaanyi ogwa Katonda, alyoke abagulumize ng’obudde butuuse; nga mumusindikiririzanga ye okweraliikirira kwammwe kwonna, kubanga [abafaako].”—1 Peet. 5:6, 7.
Kathy, amaze emyaka emingi ng’aweereza ku Beseri, bwe yakimanya nti bba alina obulwadde ku bwongo, yawulira ng’ebizibu ebimwolekedde tajja kubisobola. Yasabanga Yakuwa buli lunaku okumuwa amagezi n’amaanyi. Embeera ya bba bwe yagenda eyonooneka, ab’oluganda baafuba okuyiga ebikwata ku bulwadde obwo basobole okumuyamba era ne bannyinaffe baayamba nnyo mu kubudaabuda Kathy. Yakuwa yamuyamba okuyitira mu Bakristaayo abo, era bw’atyo yasobola okulabirira bba okutuusa lwe yafa, oluvannyuma lw’emyaka 11. Kathy agamba nti: “Nnakaaba nga bwe nneebaza Yakuwa n’omutima gwange gwonna; yannyamba ne siggwamu maanyi. Nnali sirowooza nti nsobola okulabirira omulwadde okumala ebbanga eryo lyonna nga siweddeemu maanyi!”
Ekinaatuyamba Okuvvuunuka Obunafu Obwekusifu
Abantu abawulira nga tebasaanira mu maaso ga Yakuwa bayinza okulowooza nti tayinza kubawuliriza bwe bamusaba okubayamba nga balina ebizibu. Mu mbeera ng’eyo, kiba kirungi okufumiitiriza ku Dawudi kye yayogera bwe yejjusa olw’ekibi kye yali akoze ne Basuseba: “Omutima ogumenyese era oguboneredde, ai Katonda, toogugayenga.” (Zab. 51:17) Dawudi yeenenyeza Katonda mu bwesimbu era yali akimanyi nti asobola okumutuukirira n’alagibwa obusaasizi. Yesu naye ayoleka engeri ya Yakuwa eno ey’okufaayo ku bantu. Omuwandiisi w’Enjiri Matayo yajuliza ebigambo bya Isaaya ng’ayogera ku Yesu nti: “Olumuli olumenyese talirubetenta era n’olutambi olunyooka taliruzikiza.” (Mat. 12:20, NW; Is. 42:3) Bwe yali ku nsi, Yesu yalaga abantu aba wansi n’abanyigirizibwa obusaasizi. Teyamalamu muntu yenna maanyi ng’omuntu azikiza ettabaaza eweddemu amafuta. Mu kifo ky’ekyo, yabudaabuda ababonaabona era yabayamba okuddamu essuubi mu bulamu. Bw’atyo bwe yakola ng’ali ku nsi. Tokikkiriza nti na kati Yesu akulumirirwa olw’obunafu bw’olina? Abaebbulaniya 4:15 walaga nti ‘alumirwa wamu naffe mu bunafu bwaffe.’
Bwe yali awandiika ku ‘liggwa mu mubiri’ lye yalina, Pawulo yagamba nti amaanyi ga Kristo gaali gamubisseeko “nga weema.” (2 Kol. 12:7-9, NW) Yali awulira obukuumi bwa Katonda okuyitira mu Kristo, ng’omuntu eyewogomye mu weema mu budde obubi bw’awulira. Okufaananako Pawulo, tetulina kuleka bunafu bwaffe na bizibu byaffe kutufuga. Tusobola okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo bwe tukozesa mu bujjuvu byonna Yakuwa by’atuwa okuyitira mu kibiina kye ku nsi. Bwe tukola kyonna kye tusobola, tuba bakakafu nti Yakuwa ajja kutuwa obulagirizi bwe. Bwe tulaba engeri amaanyi ga Katonda gye gatuyamba nga tulwanyisa obunafu bwaffe, tujja kukkiriziganya ne Pawulo eyagamba nti: “Bwe mba omunafu, lwe mba ow’amaanyi.”—2 Kol. 12:10.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]
Pawulo yasabanga Yakuwa obutayosa amuyambe okutuukiriza obuweereza bwe
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Kabaka Dawudi yafuula Yowaabu omuduumizi w’amagye
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Yowaabu yatta Amasa eyali amuvuganya
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Abakadde batuwa obulagirizi okuva mu Byawandiikibwa obutuyamba okwaŋŋanga ebizibu byaffe