Yigiriza Abaana Bo
Yesu Yayiga Okubeera Omuwulize
OLUUSI okisanga nga kizibu okubeera omuwulize?—a Bwe kiba ng’oluusi kikuzibuwalira, tekyewuunyisa. Emirundi egimu buli omu akisanga nga kizibu okubeera omuwulize. Obadde okimanyi nti ne Yesu yalina okuyiga okubeera omuwulize?—
Baani abaana bonna be basaanidde okugondera?— Yee, tusaanidde okugondera taata ne maama. Baibuli egamba nti: “Abaana, mugonderenga bazadde bammwe mu Mukama waffe.” (Abeefeso 6:1) Ani taata wa Yesu?— Yakuwa Katonda ye taata wa Yesu, era naffe ye Kitaffe. (Matayo 6:9, 10) Naye era ne bw’ogamba nti Yusufu ne Malyamu be bazadde ba Yesu, toba mukyamu. Omanyi engeri gye baafuukamu bazadde be?—
Malayika Gabulyeri yagamba Maliyamu nti yali ajja kuzaala omwana wadde nga yali teyeegattangako na musajja. Kino okusobola okubaawo, Yakuwa yakola ekyamagero. Malayika Gabulyeri yagamba Maliyamu nti: “Amaanyi g’Oyo Ali Waggulu Ennyo galikubaako. N’olw’ensonga eyo, n’oyo alizaalibwa aliyitibwa mutukuvu, Mwana wa Katonda.”—Lukka 1:30-35.
Katonda yaddira obulamu bw’Omwana we eyali abeera mu ggulu n’abuteeka mu lubuto lwa Maliyamu. Omwana oyo yakulira mu lubuto lwa Maliyamu ng’abaana abalala bwe bakulira mu mbuto za bamaama baabwe. Nga wayiseewo emyezi mwenda omwana oyo Yesu yazaalibwa. Kyokka, yagenda okuzaalibwa nga Yusufu amaze okuwasa Maliyamu, abantu abasinga obungi ne balowooza nti Yusufu ye taata wa Yesu. Naye ekituufu kiri nti Yusufu ye yakuza Yesu era ye yali nga taata we, n’olw’ensonga eyo tuyinza okugamba nti Yesu yalina bataata babiri!
Bwe yali ng’alina emyaka 12 gyokka, Yesu yakola ekintu ekyalaga nti yali ayagala nnyo Kitaawe ow’omu ggulu Yakuwa. Mu kiseera ekyo, bazadde ba Yesu batindigga olugendo okugenda e Yerusaalemi okukwata embaga ey’Okuyitako nga bwe yali empisa yaabwe. Oluvannyuma bwe baali baddayo e Nazaaleesi, tebaakimanya nti Yesu yali asigaddeyo e Yerusaalemi. Olowooza kyava ku ki okumwerabira?—
Mu kiseera ekyo Yusufu ne Maliyamu baalina abaana abalala. (Matayo 13:55, 56) Ate era bayinza okuba nga baali batambulira wamu n’ab’eŋŋanda zaabwe, gamba nga Yakobo ne Yokaana awamu ne taata waabwe Zebbedaayo era ne maama waabwe Saalome, ayinza okuba nga yali muganda wa Maliyamu. Maliyamu ayinza okuba nga yalowooza nti Yesu ali n’ab’eŋŋanda zaabwe abo.—Matayo 27:56; Makko 15:40; Yokaana 19:25.
Yusufu ne Maliyamu bwe baakitegeera nti Yesu tali nabo, baayanguwa mangu ne baddayo e Yerusaalemi. Baatandika okunoonya omwana waabwe, era ku lunaku olw’okusatu baamusanga mu yeekaalu. Maliyamu yamugamba nti: “Mwana wange, lwaki otuyisizza bw’oti? Kitaawo nange tubadde tukunoonya nga tweraliikirira.” Yesu yabaddamu nti: “Lwaki mubadde munnoonya? Temumanyi nti nteekwa okubeera mu nnyumba ya Kitange?”—Lukka 2:45-50.
Olowooza kyali kikyamu Yesu okuddamu maama we bw’atyo?— Weewaawo kiyinza okulabika bwe kityo, naye bazadde be baali bakimanyi nti yali ayagala nnyo okusinziza mu nnyumba ya Katonda. (Zabbuli 122:1) N’olw’ensonga eyo, Yesu teyali mukyamu okulowooza nti bwe bandibadde bamunoonya bandisoose kumunoonyezaako mu yeekaalu ya Katonda.— Oluvannyuma Maliyamu yasigala alowooza ku bigambo Yesu bye yamugamba.
Yesu yali atwala atya Yusufu ne Maliyamu?— Baibuli egamba nti: ‘Yesu yagenda nabo e Nazaaleesi ne yeeyongera okubagonderanga.’ (Lukka 2:51, 52) Yesu yatuteerawo kyakulabirako ki?— Yee, naffe tulina okugondera bazadde baffe.
Naye nno tekyali kyangu eri Yesu okuba omuwulize ekiseera kyonna ne bwe kyatuuka ku kukola Kitaawe by’ayagala.
Mu kiro ekyasembayo nga Yesu tannattibwa, yasaba Yakuwa akyuseemu mu ekyo kye yali ayagala akole. (Lukka 22:42) Wadde kyali kityo, Yesu yagondera Katonda wadde nga tekyali kyangu. Baibuli egamba nti “yayiga obuwulize okuva mu bintu bye yayitamu.” (Abebbulaniya 5:8) Olowooza naffe tuyinza okuyiga okuba abawulize mu ngeri eyo?—
[Obugambo obuli wansi]
a Bw’oba ng’osoma n’omwana, akasittale kakujjukiza nti olina okusiriikiriramu n’oleka omwana n’awa endowooza ye.
EBIBUUZO:
▪ Kyajja kitya Maliyamu okuzaala Yesu, era lwaki tuyinza okugamba nti Yesu yalina bataata babiri?
▪ Lwaki bazadde ba Yesu tebaategeera nti baali bamulese emabega?
▪ Yesu yali asuubira nti bazadde be bandimunoonyerezza mu kifo ki?
▪ Kiki ky’oyigira ku Yesu?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Olowooza lwaki Yusufu ne Maliyamu bwe bandibadde banoonya Yesu, bandisoose kumunoonyezaako mu yeekaalu?