Ebirimu
Apuli 15, 2010
Ebitundu eby’Okusoma
EBITUNDU EBY’OKUSOMA MU WIIKI EYA:
Maayi 31, 2010–Jjuuni 6, 2010
Abaana—Mweyongere Okwagala Okuweereza Yakuwa
OLUPAPULA 3
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 89, 41
Jjuuni 7-13, 2010
Engeri Yakuwa gy’Akozesaamu Omwoyo Omutukuvu Okutuukiriza Ekigendererwa Kye
OLUPAPULA 7
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 116, 19
Jjuuni 14-20, 2010
OLUPAPULA 20
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 61, 52
Jjuuni 21-27, 2010
OLUPAPULA 24
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 54, 17
Ekigendererwa ky’Ebitundu eby’Okusoma
Ekitundu eky’Okusoma 1 OLUPAPULA 3-7
Yakuwa ayagala abaana bawulirize, bayige, era bagoberere obulagirizi bwe. Ekitundu kino kiraga engeri okusoma Baibuli, okusaba, n’okuba n’empisa ennungi gye kiyamba abavubuka okusinza Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna.
Ekitundu eky’Okusoma 2 OLUPAPULA 7-11
Tukimanyi bulungi nti tewali kintu kiyinza kulemesa Yakuwa kutuukiriza kigendererwa kye. Ekitundu kino kiraga engeri Yakuwa gye yakozesaamu omwoyo omutukuvu mu biseera eby’edda, gy’agukozesaamu mu kiseera kino, n’engeri gy’aligukozesaamu mu biseera eby’omu maaso okutuukiriza ekigendererwa ekyo.
Ekitundu eky’Okusoma 3 OLUPAPULA 20-24
Ng’enkomerero y’ensi ya Sitaani egenda esembera, twolekagana n’ebintu eby’obugwenyufu bingi ebiyinza okwonoona enkolagana yaffe ne Katonda. Mu kitundu kino, tugenda kwetegereza ebimu ku bintu ebyo, ensonga lwaki Sitaani abikozesa, era n’engeri gye tuyinza okubyewalamu.
Ekitundu eky’Okusoma 4 OLUPAPULA 24-28
Bintu ki ebinaatuyamba okusigala nga tuli banyiikivu mu buweereza bwaffe eri Katonda? Muze ki gwe tulina okwewala bwe tuba twagala okweyongera okugoberera Kristo? Ekitundu kino kijja kutuwa eby’okuddamu mu bibuuzo bino ebikulu.
EBIRALA EBIRI MU KATABO KANO:
OLUPAPULA 12
Okkiriza Yakuwa Okubaako by’Akubuuza?
OLUPAPULA 13
Ebizibu bye Twolekaganye Nabyo Bituyambye Okwongera Okwesiga Yakuwa
OLUPAPULA 16
Yakuwa Ayagala Oleme Kutuukibwako Kabi
OLUPAPULA 29