Yiga Okuva Mu Kigambo Kya Katonda
Oyinza Otya Okutegeera Eddiini ey’Amazima?
Ekitundu kino kirimu ebibuuzo by’oyinza okuba nga wali weebuuzizzaako era kiraga w’oyinza okusanga eby’okuddamu mu Bayibuli yo. Abajulirwa ba Yakuwa bajja kuba basanyufu okukubaganya naawe ebirowoozo ku by’okuddamu ebyo.
1. Waliwo eddiini emu yokka ey’amazima?
Yesu yayigiriza abagoberezi be eddiini emu yokka, eddiini ey’amazima. Eringa ekkubo erigenda mu bulamu. Ku bikwata ku kkubo eryo, Yesu yagamba nti: “abaliraba batono.” (Matayo 7:14) Katonda akkiriza okusinza okwo kwokka okwesigamiziddwa ku Kigambo kye eky’amazima. Abasinza bonna ab’amazima bali bumu era balina okukkiriza kumu.—Soma Yokaana 4:23, 24; 14:6; Abeefeso 4:4, 5.
2. Lwaki amadiini mangi ag’enjawulo geeyita Amakristaayo?
Bannabbi ab’obulimba boonoonye Obukristaayo era babukozesezza okwefunira amagoba. Nga Yesu bwe yalagula, beefuula “endiga” ze kyokka ne beeyisa ng’emisege egirumwa enjala. (Matayo 7:13-15, 21, 23) Obukristaayo obw’obulimba bweyongera okusaasaana naddala ng’abatume ba Yesu bamaze okufa.—Soma Ebikolwa 20:29, 30.
3. Ebimu ku bintu ebyawulawo eddiini ey’amazima bye biruwa?
Abasinza ab’amazima bawa Bayibuli ekitiibwa era bakkiriza nti Kigambo kya Katonda. Bafuba okutambuliza obulamu bwabwe ku misingi gyayo. N’olwekyo, eddiini ey’amazima ya njawulo ku ddiini ezeesigamiziddwa ku ndowooza z’abantu. (Matayo 15:7-9) Abasinza ab’amazima tebabuulira kino ate ne bakola kirala.—Soma Yokaana 17:17; 2 Timoseewo 3:16, 17.
Eddiini ey’amazima essa ekitiibwa mu linnya lya Katonda, Yakuwa. Yesu yamanyisa erinnya lya Katonda. Yayamba abantu okumanya Katonda era yabayigiriza okusaba nti erinnya lya Katonda litukuzibwe. (Matayo 6:9) Mu kitundu gy’obeera, ddiini ki ekubiriza abantu okukozesa erinnya lya Katonda?—Soma Yokaana 17:26; Abaruumi 10:13, 14.
4. Oyinza otya okutegeera abo abali mu ddiini ey’amazima?
Abakristaayo ab’amazima babuulira ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Katonda yatuma Yesu okubuulira ebikwata ku Bwakabaka. Obwakabaka bwa Katonda lye ssuubi lyokka eri abantu bonna. Yesu yabwogerako okutuukira ddala ku lunaku lwe yafiirako. (Lukka 4:43; 8:1; 23:42, 43) Yagamba abagoberezi be okubuulira ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Omuntu bw’akutuukirira n’atandika okwogera ku Bwakabaka bwa Katonda, olowooza aba wa ddiini ki?—Soma Matayo 10:7; 24:14.
Abagoberezi ba Yesu si ba nsi eno embi. Tebeenyigira mu bya bufuzi oba mu bukuubagano. (Yokaana 17:16) Ate era, beewala ebikolwa by’ensi ebibi awamu n’endowooza zaayo.—Soma Yakobo 1:27; 4:4.
5. Kabonero ki akakulu akaawulawo Abakristaayo ab’amazima?
Abakristaayo ab’amazima balagaŋŋana okwagala okwa nnamaddala. Ekigambo kya Katonda kibayigiriza okuwa abantu ab’amawanga gonna ekitiibwa. Wadde ng’eddiini ez’obulimba zitera okuwagira entalo z’amawanga, abasinza ab’amazima tebakikola. (Mikka 4:1-4) Mu kifo ky’ekyo, abo abali mu ddiini ey’amazima bakozesa ebiseera byabwe n’eby’obugagga byabwe okuyamba n’okuzzaamu abalala amaanyi.—Soma Yokaana 13:34, 35; 1 Yokaana 4:20, 21.
Ddiini ki eyeesigamya byonna by’eyigiriza ku Kigambo kya Katonda, essa ekitiibwa mu linnya lya Katonda, era erangirira Obwakabaka bwa Katonda ng’essuubi lyokka eri abantu bonna? Ddiini ki eyoleka okwagala era etawagira ntalo? Obukakafu obuliwo bulaga nti be Bajulirwa Yakuwa.—1 Yokaana 3:10-12.
Okumanya ebisingawo, laba essuula 15 ey’akatabo, Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
“Baatula mu lujjudde nti bamanyi Katonda, naye bamwegaana mu bikolwa byabwe.”—Tito 1:16.