Emisolo Oteekeddwa Okugisasula?
ABANTU abaagala okusasula emisolo batono ddala. Bangi muli bawulira nti ssente ze bawaayo okusasula emisolo zoonoonebwa, zikumpanyizibwa, oba zibbibwa mu ngeri y’olukujjukujju. Kyokka, abamu bagaana okusasula emisolo olw’engeri embi gye gikozesebwamu. Bwe baali bawa ensonga lwaki baali basazeewo obutasasula misolo, abatuuze b’omu kabuga akamu akali mu Kyondo kya Buwalabu baagamba nti: “Tetujja kuwaayo ssente za kugula masasi aganatta abaana baffe.”
Abantu bangi balina enneewulira ng’ezo era si mpya. Mohandas K. Gandhi eyali omukulembeze w’Abahindu yalaga nti okusinziira ku muntu we ow’omunda yali tasobola kusasula misolo. Yagamba nti: “Oyo awagira eggwanga eririna amagye—ka kibe nti akikola butereevu oba mu ngeri enneekusifu—aba yeenyigira mu kibi. Buli muntu k’abe muto oba mukulu bw’asasula emisolo egisobozesa eggwanga okutuukiriza ebigendererwa byalyo aba yeenyigira mu kibi.”
Mu ngeri y’emu, omufirosoofo eyali ayitibwa Henry David Thoreau ow’omu kyasa ekya 19 yawa ensonga lwaki yali tasasula misolo egikozesebwa okuwagira entalo. Yabuuza nti: “Omutuuze yandirese omuteesi w’amateeka okumusalirawo ku nsonga ye kennyini ze yandyesaliddewo ng’asinziira ku muntu we ow’omunda? Kati olwo, lwaki buli muntu alina omuntu ow’omunda?”
Ensonga eno ekwata ne ku Bakristaayo, kubanga Bayibuli eyigiriza nti basaanidde okuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo mu bintu byonna. (2 Timoseewo 1:3) Ku luuyi olulala, Bayibuli eraga nti gavumenti zirina obuyinza obw’okusolooza emisolo. Egamba nti: “Buli muntu agonderenga ab’obuyinza [gavumenti z’abantu], kubanga tewali buyinza butava eri Katonda; ab’obuyinza abaliwo, bali mu bifo byabwe eby’enjawulo ku bwa Katonda. N’olwekyo, kibeetaagisa okugondera ab’obuyinza, si lwa kutya kwolekezebwa busungu bwa Katonda kyokka, naye era ne ku lw’omuntu wammwe ow’omunda. Eno ye nsonga lwaki nammwe muwa omusolo; kubanga ab’obuyinza baweereza ba Katonda abatuukiriza bulijjo obuweereza bwabwe. Bonna mubawe bye muteekeddwa okubawa, oyo asaba omusolo, mumuwe omusolo.”—Abaruumi 13:1, 5-7.
N’olw’ensonga eyo, kyali kimanyiddwa bulungi nti Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka, baasasulanga emisolo wadde nga ssente nnyingi ku ezo ezaggibwanga mu misolo zaakozesebwanga okuwagira amagye. Abajulirwa ba Yakuwa ab’omu kiseera kino nabo bamanyiddwa nti basasula emisolo.a Kati olwo lwaki Abakristaayo basasula emisolo ate nga gikozesebwa mu kuwagira ebikolwa bye batayinza kukola? Omukristaayo teyandifuddeyo ku muntu we ow’omunda ng’asabiddwa okusasula omusolo?
Emisolo n’Omuntu ow’Omunda
Ezimu ku ssente ezaavanga mu misolo Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka gye baasasulanga zaakozesebwanga ku magye. Wadde kyali kityo, baasasulanga emisolo egyo basobole okuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo. Ku luuyi olulala, Gandhi ne Thoreau bo baali bagamba nti okusobola okuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo, baali tebalina kusasula misolo egyakozesebwanga ku magye.
Weetegereze nti Abakristaayo baagonderanga ekiragiro ekiri mu Abaruumi essuula 13 si lwa kwewala bwewazi kubonerezebwa, naye era ne “ku lw’omuntu [waabwe] ow’omunda.” (Abaruumi 13:5) Yee, mu butuufu, omuntu ow’omunda y’akubiriza Omukristaayo okusasula emisolo wadde nga gikozesebwa okuwagira ebintu ye kennyini by’atakkiriza kukola. Okusobola okutegeera obulungi ensonga eno erabika ng’ekontana, tulina okumanya ekintu ekikulu ekikwata ku muntu waffe ow’omunda oba eddoboozi ery’omunda eritubuulira obanga kye tukoze kituufu oba kikyamu.
Nga Thoreau bwe yagamba, buli muntu alina eddoboozi eryo ery’omunda, naye si buli kiseera nti liba lyesigika. Bwe tuba ab’okusanyusa Katonda, omuntu waffe ow’omunda alina okuba ng’atendekeddwa okusinziira ku mitindo gya Katonda egy’empisa. Ebiseera ebisinga obungi kiba kitwetaagisa okutereeza endowooza yaffe etuukagane n’eya Katonda, kubanga ebirowoozo bye bya waggulu nnyo ku byaffe. (Zabbuli 19:7) N’olwekyo, tusaanidde okufuba okutegeera endowooza Katonda gy’alina ku gavumenti z’abantu. Azirinako ndowooza ki?
Weetegereze nti omutume Pawulo gavumenti z’abantu yaziyita “baweereza ba Katonda.” (Abaruumi 13:6) Ekyo kitegeeza ki? Kitegeeza nti zikuuma emirembe era zikola n’emirimu emirala egiganyula abantu. Ne gavumenti ezisingayo okuba embi zitera okukola ebintu ebiganyula abantu, gamba nga: okutambuza amabaluwa, okuzimba amasomero, okuzikiza omuliro, n’okukwasisa amateeka. Wadde nga Katonda amanyi bulungi ebintu ebikyamu gavumenti zino eziteekebwawo abantu bye zikola, azirese zibeerewo okumala akaseera, era atulagira okusasula emisolo nga tugondera enteekateeka ye ey’okuleka gavumenti ng’ezo okufuga abantu.
Kyokka, Katonda alese gavumenti z’abantu zifuge okumala akaseera katono. Ajja kuziggyawo asseewo Obwakabaka bwe obw’omu ggulu era aggyewo ebintu byonna ebibi ebireeteddwawo obufuzi bw’abantu era ebibonyaabonyezza abantu okumala ebyasa n’ebyasa. (Danyeri 2:44; Matayo 6:10) Naye, ng’ekyo tekinnabaawo, Katonda takkiriza Bakristaayo kujeemera gavumenti nga beekalakaasa oba nga bagaana okusasula emisolo.
Watya singa, okufaananako Gandhi, muli okyawulira nti okusasula emisolo egikozesebwa mu kuwagira entalo oba weenyigira mu kibi? Okusinziira ku ndaba ey’obuntu oyinza okwewulira bw’otyo. Naye kijjukire nti engeri Katonda gy’alabamu ebintu ya njawulo era ya waggulu nnyo ku y’abantu ng’omuntu ayimiridde ku lusozi bw’alaba obulungi ekifo okusinga oyo ali mu kikko. N’olwekyo ebiseera ebimu kitwetaagisa okutereeza endowooza yaffe etuukagane n’eya Katonda nga tufumiitiriza ku ngeri endowooza ye gy’eri eya waggulu ennyo ku yaffe. Okuyitira mu nnabbi Isaaya, Katonda yagamba nti: “Eggulu nga bwe lisinga ensi obugulumivu, amakubo gange bwe gasinga bwe gatyo amakubo gammwe, n’ebirowoozo byange ebirowoozo byammwe.”—Isaaya 55:8, 9.
Obuyinza Bwabwe Tebuliiko Kkomo?
Enjigiriza ya Bayibuli ekwata ku kusasula emisolo tetegeeza nti gavumenti z’abantu zirina obuyinza obw’enkomeredde ku abo be zifuga. Yesu yayigiriza nti obuyinza Katonda bw’awadde gavumenti ezo buliko ekkomo. Bwe yabuuzibwa oba nga kyali kituufu mu maaso ga Katonda okusasula emisolo eri gavumenti y’Abaruumi eyali efuga mu kiseera ekyo, Yesu yaddamu nti: “Ebya Kayisaali mubiwe Kayisaali, naye ebya Katonda mubiwe Katonda.”—Makko 12:13-17.
Gavumenti, nga ze zikiikirirwa “Kayisaali,” zikola ssente era ne zigereka omuwendo gwazo. N’olwekyo, okusinziira ku ndaba ya Katonda, zirina obuyinza okusaba ziddizibwe ssente ezo okuyitira mu kusasula emisolo. Kyokka, Yesu yakiraga nti “ebya Katonda”—obulamu bwaffe n’okusinza kwaffe—tewali gavumenti y’abantu erina buyinza kubisaba. Amateeka ga gavumenti z’abantu oba ebyo bye zeetaagisa abantu okukola bwe biba bikontana n’amateeka ga Katonda, Abakristaayo ‘bateekwa okugondera Katonda ng’omufuzi okusinga abantu.’—Ebikolwa 5:29.
Leero, Abakristaayo bayinza obutaba bamativu olw’engeri egimu ku misolo gye basasula gye gikozesebwamu, naye tebagezaako kulemesa nteekateeka za gavumenti nga baziziyiza oba nga bagaana okusasula emisolo. Ekyo kyandibadde kiraga nti tebalina bwesige mu Katonda ku ngeri gy’anaagonjoolamu ebizibu by’abantu bonna. Mu kifo ky’ekyo, balindirira n’obugumiikiriza ekiseera Katonda w’anaakolera ku nsonga z’abantu okuyitira mu bufuzi bw’Omwana we, Yesu, eyagamba nti: “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno.”—Yokaana 18:36.
Emiganyulo Egiri mu Kugoberera Bayibuli ky’Eyigiriza
Osobola okufuna emiganyulo mingi bw’ogoberera ekyo Bayibuli ky’eyigiriza ku bikwata ku kusasula emisolo. Ojja kwewala okubonerezebwa ng’omumenyi w’amateeka n’okweraliikirira ng’otya okukwatibwa. (Abaruumi 13:3-5) N’ekisinga obukulu, ojja kuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo mu maaso ga Katonda era ojja kumuweesa ekitiibwa olw’obuwulize bwo. Wadde ng’okusasula emisolo kiyinza okukunyigiriza mu by’enfuna bw’oba weegeraageranyizza n’abo abagaana okugisasula oba abatagisasula mu bujjuvu, weesige Yakuwa kubanga asuubiza okulabirira abaweereza be abeesigwa. Dawudi, omu ku bawandiisi ba Bayibuli yagamba nti: “Nali muto, kaakano nkaddiye; naye sirabanga mutuukirivu ng’alekeddwa, newakubadde ezzadde lye nga basaba emmere.”—Zabbuli 37:25.
N’ekisembayo, okutegeera n’okugondera ekiragiro kya Bayibuli ekikwata ku kusasula emisolo, kijja kukusobozesa okuba n’emirembe mu birowoozo. Katonda takuvunaanana olw’engeri gavumenti gy’ekozesaamu emisolo gy’osasula, era ng’amateeka bwe gatakuvunaana olw’engeri nnannyini nnyumba gy’opangisa gy’akozesaamu ssente z’omusasula. Nga tannayiga mazima ga Bayibuli, omwami ayitibwa Stelvio yamala emyaka mingi ng’afuba okulaba nti wabaawo enkyukakyuka mu by’obufuzi mu bukiika ddyo bwa Bulaaya. Ng’annyonnyola ensonga lwaki yabivaako yagamba nti: “Nnalina okukikkiriza nti omuntu tasobola kuleetawo bwenkanya, emirembe n’obumu mu nsi. Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obusobola okuleetawo enkyukakyuka eza namaddala.”
Okufaananako Stelvio, ‘ebya Katonda bw’obiwa Katonda,’ osobola okuba omukakafu nti ojja kubeerawo mu kiseera ekyo nga Katonda assaawo obufuzi obutuukiridde mu nsi yonna era ng’aggyawo ebintu byonna ebibi n’obutali bwenkanya ebireeteddwawo obufuzi bw’abantu.
[Obugambo obuli wansi]
a Okumanya ebisingawo ebiraga nti Abajulirwa ba Yakuwa basasula emisolo, laba Omunaala gw’Omukuumi, ogwa Noovemba 1, 2002, olupapula 22, akatundu 15, ne Watchtower eya Maayi 1, 1996, olupapula 17, akatundu 7.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 14]
Kitwetaagisa okutereeza endowooza yaffe etuukagane n’eya Katonda, kubanga ebirowoozo bye bya waggulu nnyo ku byaffe
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 15]
Bwe basasula emisolo, Abakristaayo baba n’omuntu ow’omunda omulungi mu maaso ga Katonda era baba balaga nti bamwesiga nti ajja kukola ku byetaago byabwe
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 14]
“Ebya Kayisaali mubiwe Kayisaali, naye ebya Katonda mubiwe Katonda”
[Ensibuko y’Ekifaananyi]
Copyright British Museum