Ebirimu
Apuli 15, 2012
© 2012 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania. All rights reserved.
Ogw’Okusoma mu Kibiina
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
MAAYI 28, 2012–JJUUNI 3, 2012
‘Omwana Ayagala Okumanyisa Abantu Ebikwata ku Kitaawe’
OLUPAPULA 3 • ENNYIMBA: 106, 112
JJUUNI 4-10, 2012
Okulyaŋŋanamu Enkwe—Kucaase Nnyo Ennaku Zino!
OLUPAPULA 8 • ENNYIMBA: 63, 32
JJUUNI 11-17, 2012
Weereza Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna
OLUPAPULA 13 • ENNYIMBA: 52, 57
JJUUNI 18-24, 2012
Yakuwa Amanyi Okununula Abantu Be
OLUPAPULA 22 • ENNYIMBA: 133, 131
JJUUNI 25, 2012–JJULAAYI 1, 2012
Yakuwa Atukuuma Tusobole Okufuna Obulokozi
OLUPAPULA 27 • ENNYIMBA: 110, 60
EKIGENDERERWA KY’EBITUNDU EBY’OKUSOMA
EKITUNDU EKY’OKUSOMA 1 OLUPAPULA 3-7
Yesu yamanyisa atya abayigirizwa be awamu n’abantu abalala ebikwata ku Kitaawe? Tuyinza tutya okumukoppa? Ekitundu kino kijja kuddamu ebibuuzo ebyo.
EKITUNDU EKY’OKUSOMA 2 OLUPAPULA 8-12
Abantu bangi leero si beesigwa, naye ffe Abakristaayo tetusaanidde kukkiriza butali bwesigwa kumalawo mirembe na bumu mu maka gaffe ne mu kibiina. Ekitundu kino kiraga nti tusobola okusigala nga tuli beesigwa eri Katonda n’eri bantu bannaffe.
EKITUNDU EKY’OKUSOMA 3 OLUPAPULA 13-17
Tuyinza tutya okulaga nti tuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna? Bintu ki ebiyinza okwonoona omutima gwaffe? Kiki ekinaatuyamba okweyongera okuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna? Ebibuuzo ebyo bijja kuddibwamu mu kitundu kino.
EBITUNDU EBY’OKUSOMA 4, 5 OLUPAPULA 22-31
Mu kiseera ‘ky’ekibonyoobonyo ekinene,’ abantu ba Katonda bajja kulumbibwa abalabe baabwe. (Mat. 24:21) Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kusobola okutununula? Yakuwa atuyamba atya okusigala nga tuli beesigwa gy’ali? Ebitundu bino bijja kuddamu ebibuuzo ebyo, era eby’okuddamu bijja kunyweza okukkiriza kwaffe.
EBIRALA EBIRI MU KATABO KANO
18 Emyaka Ensanvu gye Mmaze nga Nneekutte ku Lukugiro lw’Omuyudaaya
32 Okyajjukira?
KU DDIBA: Mwannyinaffe ng’agaba brocuwa eri mu lulimi Oluyinukituti ku mwalo gw’e Frobisher mu Iqaluit, Nunavut, Canada mu biseera eby’obutiti
CANADA
ABANTU
34,017,000
ABABUULIZI
113,989
OMULIMU GW’OKUVVUUNULA EBITABO
Ofiisi y’ettabi mu Canada erabirira omulimu gw’okuvvuunula ebitabo mu nnimi 12 ezoogerwa mu nsi eyo