Budaabudibwa nga Naawe bw’Obudaabuda Abalala
Ffenna tetutuukiridde era ffenna tulwala. Abamu ku ffe twali tulwaddeko obulwadde obw’amaanyi. Bwe tufuna ebizibu ng’ebyo, kiki ekisobola okutuyamba okubigumira?
Ekimu ku bintu ebiyinza okutuyamba kwe kubudaabudibwa kwe tufuna okuva eri ab’eŋŋanda zaffe, mikwano gyaffe, ne bakkiriza bannaffe.
Ebigambo ebirungi mikwano gyaffe bye boogera biri ng’eddagala gye tuli. (Nge. 16:24; 18:24; 25:11) Kyokka tetusaanidde kusuubira kubudaabudibwa bubudaabudibwa, wabula naffe tusaanidde okufuba “okubudaabuda abo abali mu kubonaabona okwa buli ngeri nga tuyitira mu kubudaabuda kwe tufuna okuva eri Katonda.” (2 Kol. 1:4; Luk. 6:31) Lowooza ku Antonio, aweereza ng’omulabirizi wa disitulikiti mu Mexico.
Antonio bwe yakeberebwa ne kizuulwa nti yalina kkansa, yennyamira nnyo. Wadde kyali kityo, yafuba obutamalira birowoozo bye ku bulwadde bwe. Kiki ekyamuyamba? Yayimbanga ennyimba z’Obwakabaka era n’afumiitiriza ku makulu g’ebigambo ebizirimu. Ate era, yasabanga mu ddoboozi ery’omwanguka era yasomanga Bayibuli.
Ab’oluganda mu kibiina nabo baamuyamba nnyo. Antonio agamba nti: “Nze ne mukyala wange bwe twawuliranga nga tuweddemu amaanyi, twayitanga omu ku b’eŋŋanda zaffe aweereza ng’omukadde ajje tusabireko wamu naye. Ekyo kyatuzzangamu nnyo amaanyi. Mu butuufu, ab’eŋŋanda zaffe n’ab’oluganda mu kibiina baatuyamba okulekera awo okweraliikirira.” Nga Antonio ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo olw’okuba n’emikwano ng’egyo emirungi!
Ekintu ekirala ekisobola okutuyamba nga tuli mu mbeera enzibu gwe mwoyo omutukuvu. Omutume Peetero yagamba nti Katonda awa abantu “ekirabo” eky’omwoyo omutukuvu. (Bik. 2:38) Ekyo kyeyoleka bulungi ku Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E., abayigirizwa bwe baafukibwako omwoyo omutukuvu. Wadde ng’ebigambo Peetero bye yayogera byali bikwata ku baafukibwako amafuta, Abakristaayo bonna basobola okufuna ekirabo eky’omwoyo omutukuvu. Yakuwa mwetegefu okuwa abantu omwoyo omutukuvu. Lwaki tomusaba agukuwe?—Is. 40:28-31.
FAAYO NNYO KU ABO ABABONAABONA
Omutume Pawulo yayolekagana n’ebizibu bingi era oluusi yawoneranga watono okufa. (2 Kol. 1:8-10) Wadde kyali kityo, Pawulo teyabeeranga awo nga buli kiseera yeeraliikirira kufa. Okukimanya nti Katonda yali wamu naye kyamugumya nnyo. Yawandiika nti: “Atenderezebwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow’okusaasira era Katonda ow’okubudaabuda kwonna, atubudaabuda mu kubonaabona kwaffe kwonna.” (2 Kol. 1:3, 4) Pawulo teyakkiriza bizibu bye yalina kumumalako ssanyu. Mu butuufu, ebizibu bye yafuna byamuyamba okuyiga okuba omusaasizi, bw’atyo n’asobola okubudaabuda abalala abaali beetaaga okubudaabudibwa.
Antonio bwe yawona, yaddamu okukola omulimu gw’okukyalira ebibiina. Bwe yali tannalwala, yalaganga nti afaayo ku b’oluganda abalwadde, naye kati ye ne mukyala we bafuba okukyalira kumpi buli wa luganda omulwadde. Lumu bwe yakyalira ow’oluganda omu eyalina obulwadde obw’amaanyi, Antonio yakizuula nti ow’oluganda oyo yali takyayagala kugenda mu nkuŋŋaana. Antonio yagamba nti: “Tekiri nti ow’oluganda oyo yali takyayagala Yakuwa oba ab’oluganda, naye obulwadde bwe bwali bumuleetedde okuwulira ng’atakyalina mugaso.”
Ekimu ku bintu Antonio bye yakola okusobola okuzzaamu ow’oluganda oyo amaanyi kwe kumusaba okubakiikirira mu kusaba ku kabaga akamu ke baaliko. Wadde ng’ow’oluganda oyo yali awulira nga tasaanira nkizo eyo, yakkiriza okusaba. Antonio yagamba nti: “Essaala ye yali nnungi nnyo, era oluvannyuma lw’okusaba ow’oluganda oyo yawulira bulungi nnyo. Yawulira nga wa mugaso.”
Ffenna twolekagana n’ebizibu ebitali bimu. Naye nga Pawulo bwe yakiraga, bwe tuyitako mu bizibu tuba tusobola bulungi okubudaabuda abalala ababa balina ebizibu. N’olwekyo, ka tweyongere okufaayo ku bakkiriza bannaffe abalina ebizibu, era ka tufube okukoppa Katonda waffe, Yakuwa, nga tubudaabuda abalala.