Tokkiriza ‘Ndowooza Yo Kutabulwatabulwa’!
“Ab’oluganda, . . . tubasaba obutaleka ndowooza yammwe kutabulwatabulwa mangu.”—2 BAS. 2:1, 2.
1, 2. Lwaki leero waliwo abantu bangi aboogera eby’obulimba, era balimba batya abalala? (Laba ekifaananyi waggulu.)
LEERO, waliwo abantu bangi aboogera eby’obulimba. Naye ekyo tekisaanidde kutwewuunyisa, kubanga Bayibuli ekyoleka kaati nti Sitaani Omulyolyomi mulimba ate nga y’afuga ensi eno. (1 Tim. 2:14; 1 Yok. 5:19) Okuva bwe kiri nti ensi ya Sitaani eneetera okuzikirizibwa, Sitaani yeeyongedde okusunguwala kubanga akimanyi nti alina “akaseera katono.” (Kub. 12:12) N’olwekyo, tusuubira nti abantu abagoberera Omulyolyomi bajja kweyongera obutaba beesigwa, naddala eri abo abawagira okusinza okw’amazima.
2 Oluusi abantu boogera ebintu ebitali bituufu ku baweereza ba Yakuwa nga bayitira ku mikutu gy’empuliziganya, omuli empapula z’amawulire, ttivi, ne Intaneeti. Ekyo kiviiriddeko abantu abamu okubuzaabuzibwa, okusoberwa, oba okumala gakkiriza ebintu ng’ebyo eby’obulimba.
3. Kiki ekinaatuyamba okwewala okulimbibwa?
3 Eky’essanyu kiri nti tusobola okwewala okulimbibwa, kubanga tulina Ekigambo kya Katonda ‘ekigasa mu kutereeza ebintu.’ (2 Tim. 3:16) Ebyo omutume Pawulo bye yawandiika biraga nti Abakristaayo abamu mu kibiina ky’e Ssessaloniika baali balimbiddwa. Yabawandiikira ebbaluwa n’abakubiriza “obutaleka ndowooza [yaabwe] kutabulwatabulwa mangu.” (2 Bas. 2:1, 2) Kiki kye tuyigira ku bigambo bya Pawulo ebyo, era tuyinza tutya okubikolerako?
OKULABULA OKUJJIRA MU KISEERA EKITUUFU
4. Abakristaayo mu kibiina ky’e Ssessaloniika baalabulwa batya ku kujja ‘kw’olunaku lwa Yakuwa,’ ate ffe tulabulwa tutya leero?
4 Mu bbaluwa gye yasooka okuwandiikira ekibiina ky’e Ssessaloniika, Pawulo yayogera ku kujja ‘kw’olunaku lwa Yakuwa.’ Yali tayagala bakkiriza banne babe mu kizikiza era olunaku olwo lubasange nga tebeetegese. Yabakubiriza okuba ‘abaana b’ekitangaala’ era yabakubiriza ‘okusigala nga batunula era nga bategeera bulungi.’ (Soma 1 Abassessalonika 5:1-6.) Leero, tulindirira okuzikirizibwa kwa Babulooni Ekinene, nga gano ge madiini gonna ag’obulimba. Eyo y’ejja okuba entandikwa y’olunaku lwa Yakuwa olukulu. Tumanyi engeri Yakuwa gy’ajja okutuukirizaamu ekigendererwa kye. Era okuyitira mu kibiina, Yakuwa atujjukiza ebintu bingi ebituyamba okusigala nga tutegeera bulungi. Bwe tussaayo omwoyo ku ebyo Yakuwa by’atujjukiza, tujja kusobola okweyongera okuweereza Katonda ‘n’amagezi gaffe.’—Bar. 12:1.
5, 6. (a) Kiki Pawulo kye yayogerako mu bbaluwa ey’okubiri gye yawandiikira Abassessaloniika? (b) Kiki Yesu ky’anaatera okukola, era bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?
5 Pawulo era yawandiikira Abakristaayo ab’omu kibiina ky’e Ssessaloniika ebbaluwa ey’okubiri. Mu bbaluwa eyo, yayogera ku kibonyoobonyo ekyali kigenda okujja, Mukama waffe Yesu azikirize “abo abatamanyi Katonda, n’abo abatagondera mawulire malungi.” (2 Bas. 1:6-8) Mu ssuula 2 ey’ebbaluwa eyo, Pawulo yagamba nti ab’oluganda abamu mu kibiina ekyo baali ‘bacamuukiridde’ nga balowooza nti olunaku lwa Yakuwa lwali lusembedde nnyo. (Soma 2 Abassessalonika 2:1, 2.) Nga Pawulo bwe yakiraga, Abakristaayo abo abaaliwo mu kyasa ekyasooka baali tebategeera bulungi bikwata ku kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Yakuwa. Yagamba nti: “Tulina okumanya kwa kitundu era twogera obunnabbi bwa kitundu; naye ekijjuvu bwe kirijja, eky’ekitundu kijja kuvaawo.” (1 Kol. 13:9, 10) Naye ebigambo ebyaluŋŋamizibwa, Pawulo, Peetero, n’ab’oluganda abalala abaafukibwako amafuta abeesigwa bye baawandiika, byali bisobola bulungi okubayamba okusigala nga beesigwa.
6 Okusobola okutereeza endowooza ya bakkiriza banne, omutume Pawulo yalaga nti ng’olunaku lwa Yakuwa terunnajja wandibaddewo obwakyewaggula bungi era ‘n’omujeemu’ yandirabise.a Oluvannyuma lw’ekyo, Mukama waffe Yesu ‘yandizikirizza’ abo bonna abandibadde balimbiddwa. Pawulo yalaga nti abantu abo bandizikiriziddwa olw’okuba “tebaayagala mazima.” (2 Bas. 2:3, 8-10) N’olwekyo, buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza: ‘Ddala njagala amazima? Nfuba okusoma magazini y’Omunaala gw’Omukuumi n’ebitabo ebirala ebikubibwa omuddu omwesigwa kinnyambe okutambulira awamu n’ekibiina?’
WEEGENDEREZE ABANTU B’OKOLAGANA NABO
7, 8. (a) Bintu ki ebyali eby’akabi eri Abakristaayo mu kyasa ekyasooka? (b) Kintu ki eky’akabi ennyo eri Abakristaayo leero?
7 Ng’oggyeko obwakyewaggula, waliwo n’ebintu ebirala ebyandibadde eby’akabi eri Abakristaayo. Pawulo yawandiikira Timoseewo n’amugamba nti: “Okwagala ssente ye nsibuko y’ebibi ebya buli ngeri era olw’okuzaagala abamu bakyamiziddwa okuva mu kukkiriza ne beereetera obulumi bungi.” (1 Tim. 6:10) Ate era “ebikolwa eby’omubiri” nabyo byandibadde bya kabi nnyo eri Abakristaayo.—Bag. 5:19-21.
8 Pawulo yakubiriza Abakristaayo ab’omu kibiina ky’e Ssessaloniika okwewala ‘abatume ab’obulimba.’ Abamu ku batume abo baayogeranga “ebintu ebikyamye okusendasenda abayigirizwa okubagoberera.” (2 Kol. 11:4, 13; Bik. 20:30) Nga wayise ekiseera, Yesu yasiima ab’oluganda mu kibiina ky’Efeso kubanga ‘tebaagumiikirizanga basajja babi.’ Ab’oluganda ab’omu Efeso ‘baagezesa’ abasajja abo ne bakizuula nti tebaali batume era nti baali balimba. (Kub. 2:2) Mu bbaluwa ey’okubiri gye yawandiikira Abakristaayo ab’omu Ssessaloniika, Pawulo yagamba nti: “Kaakano ab’oluganda, tubalagira mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, okweyawula ku buli wa luganda atatambula bulungi.” Era yabakubiriza okwewala Abakristaayo abaali ‘batayagala kukola.’ (2 Bas. 3:6, 10) Bwe kiba nti Abakristaayo baalina okwewala abo abaali batayagala kukola, olowooza tekyandisinzeewo nnyo bwe kyandituuse ku kwewala bakyewaggula! Okukolagana ne bakyewaggula kyali kya kabi nnyo eri Abakristaayo mu kiseera ekyo era ne leero kya kabi nnyo gye tuli.—Nge. 13:20.
9. Lwaki tusaanidde okwewala abantu abaagala okutuleetera okuteebereza ku bintu Bayibuli by’etayogerako oba abavumirira ekibiina kya Yakuwa?
9 Okuva bwe kiri nti ekibonyoobonyo ekinene awamu n’enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu binaatera okutuuka, ebigambo ebyo ebyawandiikibwa mu kyasa ekyasooka bya makulu nnyo gye tuli leero. Tetwagala kukkiriza kintu kyonna kutulemesa kufuna obulamu obutaggwaawo mu ggulu oba ku nsi. (2 Kol. 6:1) Singa wabaawo omuntu ajja mu nkuŋŋaana zaffe naye ng’agezaako okutuleetera okuteebereza ku bintu Bayibuli by’etayogerako oba ng’avumirira ekibiina kya Yakuwa tusaanidde okumwewala.—2 Bas. 3:13-15.
‘NYWERERA KU BINTU BYE WAYIGIRIZIBWA’
10. Bintu ki Abakristaayo ab’omu Ssessaloniika bye baakubirizibwa okunywererako?
10 Pawulo yakubiriza bakkiriza banne ab’omu Ssessaloniika ‘okuba abanywevu’ n’okunywerera ku bintu bye baali bayize. (Soma 2 Abassessalonika 2:15.) ‘Ebintu’ bye baali bayize bye biruwa? Ebintu ebyo si bye bintu ebyali biyigirizibwa mu madiini ag’obulimba, wabula byebyo Yesu bye yayigiriza awamu n’ebyo omutume Pawulo n’abalala bye baaluŋŋamizibwa okuwandiika. Pawulo yasiima bakkiriza banne ab’omu Kkolinso kubanga baali ‘bamujjukira mu byonna era nga banyweredde ku bintu byonna nga bwe yabibawa.’ (1 Kol. 11:2) Ebintu ebyo byali biva ku nsibuko eyeesigika era nga nabyo byesigika.
11. Kiki ekiyinza okutuuka ku Mukristaayo akkiriza okulimbibwa?
11 Mu bbaluwa gye yawandiikira Abebbulaniya, Pawulo yalaga nti okukkiriza kw’Omukristaayo kuyinza okusaanawo n’ava ku Yakuwa. (Soma Abebbulaniya 2:1; 3:12.) Ekyo kiyinza okubaawo mu ngeri bbiri. Esooka, okufaananako eryato erigenda nga liseeseetuka mpolampola ne liva ku lubalama, Omukristaayo ayinza okugenda ng’addirira mpolampola n’ava mu mazima. Ey’okubiri, okufaananako eryato omuntu ly’asindika ne liva ku lubalama, Omukristaayo ayinza okusalawo mu bugenderevu okuva mu mazima. Ekimu ku bintu ebyo kisobola okutuuka ku Mukristaayo yenna akkiriza okulimbibwa.
12. Bintu ki ebiyinza okutuleetera okunafuwa mu by’omwoyo?
12 Abamu ku b’oluganda ab’omu Ssessaloniika bayinza okuba nga bakkiriza okulimbibwa. Ekyo naffe kisobola okututuukako? Leero, waliwo ebintu bingi ebiyinza okutumalako ebiseera. Lowooza ku biseera abantu bangi bye bamalira ku Intaneeti, mu kusoma n’okuddamu obubaka bw’oku ssimu, oba ku by’emizannyo. Ebintu ng’ebyo bisobola okuleetera Omukristaayo okulekera awo okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu. Biki ebiyinza okuvaamu? Omukristaayo ng’oyo ayinza okulagajjalira ebintu, gamba ng’okusaba, okusoma Bayibuli, okubeerawo mu nkuŋŋaana, n’okubuulira amawulire amalungi. Kati olwo kiki ekinaatuyamba okwewala okutabulwatabulwa?
EBINAATUYAMBA OKWEWALA OKUTABULWATABULWA
13. Nga bwe kyalagulwa, abantu bangi beeyisa batya leero, era kiki ekinaatuyamba okunyweza okukkiriza kwaffe?
13 Ekimu ku bintu ebinaatuyamba okwewala okutabulwatabulwa kwe kukijjukiranga nti ensi ya Sitaani enaatera okuzikirizibwa era n’okwewala abo abatakkiriza nti tuli mu “nnaku ez’oluvannyuma.” Ng’ayogera ku nnaku ez’oluvannyuma, Peetero yagamba nti: “Abasekerezi balijja nga bagoberera okwegomba kwabwe era nga bagamba nti: ‘Okubeerawo kwe okwasuubizibwa kuliwa? Laba, kasookedde bajjajjaffe bafa, ebintu byonna biri ddala nga bwe bibadde okuviira ddala ku ntandikwa y’okutonda.’ ” (2 Peet. 3:3, 4) Okusoma Bayibuli buli lunaku n’okwesomesa obutayosa kijja kutuyamba okukijjukiranga nti tuli mu “nnaku ez’oluvannyuma.” Obwakyewaggula obwayogerwako bweyoleka dda era n’okutuusa kati bukyaliwo. “Omujeemu” eyayogerwako akyaliwo era akyagenda mu maaso n’okuziyiza abaweereza ba Katonda. N’olwekyo, tetusaanidde kwerabira nti olunaku lwa Yakuwa luli kumpi.—Zef. 1:7.
14. Mu ngeri ki okuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira gye kiri eky’obukuumi gye tuli?
14 Ekintu ekirala ekinaatuyamba obutakkiriza ndowooza yaffe kutabulwatabulwa kwe kwenyigira mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi obutayosa. Kristo Yesu, Omutwe gw’ekibiina, bwe yalagira abagoberezi be okufuula abantu abayigirizwa n’okubayigiriza okukwata ebintu byonna bye yabalagira, yali abakubiriza okukola ekintu ekyandibayambye okukuuma okukkiriza kwabwe. (Mat. 28:19, 20) Bwe tuba ab’okukolera ku kiragiro ekyo, tulina okuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira. Olowooza ab’oluganda ab’omu Ssessaloniika bandibadde bamativu okukola omulimu gw’okubuulira nga batuusa butuusa mukolo? Kijjukire nti Pawulo yabagamba nti: “Temuzikiza muliro ogw’omwoyo omutukuvu. Temunyoomanga bigambo bya bunnabbi.” (1 Bas. 5:19, 20) Mu butuufu obunnabbi bwe tusomako mu Bayibuli era bwe tubuulirako abalala, bubuguumiriza omutima!
15. Bintu ki bye tuyinza okukola mu kusinza kw’amaka?
15 Ffenna twagala okuyamba ab’omu maka gaffe okukola obulungi omulimu gw’okubuulira. Ekyo okusobola okukikola, baganda baffe ne bannyinaffe bangi bakozesa ebimu ku biseera eby’okusinza kw’amaka okwegezaamu mu nnyanjula ze banaakozesa mu buweereza. Oboolyawo naawe oyinza okuyamba ab’omu maka go okwetegekera okuddayo eri abo abaasiima obubaka bwaffe. Biki bye bayinza okwogerako nga bazzeeyo? Biki bye bayinza okwogerako okusobola okuleetera abo abaasiima obubaka bwaffe okwagala okuyiga ebisingawo? Ddi lwe bayinza okuddira abantu abo? Ate era baganda baffe ne bannyinaffe bangi bakozesa ebimu ku biseera eby’okusinza kw’amaka okwetegekera enkuŋŋaana. Nammwe muyinza okukola kye kimu? Bwe munaakola bwe mutyo, mujja kusobola okwenyigira mu nkuŋŋaana era mujja kunyweza okukkiriza kwammwe, kiyambe endowooza yammwe obutatabulwatabulwa. (Zab. 35:18) Mu butuufu, okusinza kw’amaka kusobola okutuyamba okwewala okuteebereza ku bintu Bayibuli by’etayogerako n’okwewala okubuusabuusa.
16. Kiki ekikubiriza Abakristaayo abaafukibwako amafuta obutakkiriza ndowooza yaabwe kutabulwatabulwa?
16 Bwe tufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’ayambyemu abantu be okwongera okutegeera obunnabbi bwa Bayibuli, kituleetera okuba abakakafu nti ajja kutuwa emikisa mingi ne mu biseera eby’omu maaso. Abaafukibwako amafuta balina essuubi ery’okufugira awamu ne Kristo mu ggulu, era ekyo kibakubiriza obutakkiriza ndowooza yaabwe kutabulwatabulwa. Ebigambo Pawulo bye yawandiikira Abassessaloniika bikwata ne ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta abaliwo leero. Yagamba nti: “Bulijjo tulina okwebaza Katonda ku lwammwe ab’oluganda Yakuwa b’ayagala, kubanga Katonda yabalonda . . . olw’okuba yabatukuza n’omwoyo n’olw’okuba mwakkiriza amazima.”—2 Bas. 2:13.
17. Ebigambo ebiri mu 2 Abassessaloniika 3:1-5 bikuzzaamu bitya amaanyi?
17 Abakristaayo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna nabo balina okufuba obutakkiriza ndowooza yaabwe kutabulwatabulwa. Bw’oba olina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna, ssaayo omwoyo ku bigambo Pawulo bye yawandiikira bakkiriza banne abaafukibwako amafuta ab’omu Ssessaloniika. (Soma 2 Abassessaloniika 3:1-5.) Mu butuufu, ebigambo ebyo ffenna bituzzaamu nnyo amaanyi. Ebbaluwa ebbiri Pawulo ze yawandiikira Abakristaayo ab’omu Ssessaloniika zitukubiriza okwewala okuteebereza ku bintu Bayibuli by’etayogerako n’okwewala endowooza enkyamu. Okuva bwe kiri ensi ya Sitaani enaatera okuzikirizibwa, ffenna tusaanidde okussaayo ennyo omwoyo ku bigambo ebiri mu bbaluwa ezo.
a Mu Ebikolwa by’Abatume 20:29, 30, Pawulo yalaga nti mu kibiina Ekikristaayo mwandivuddemu “abantu aboogera ebintu ebikyamye okusendasenda abayigirizwa okubagoberera.” Ebyafaayo biraga nti ekiseera kyatuuka obwakyewaggula ne buyingira mu kibiina Ekikristaayo. Ekyasa eky’okusatu we kyatuukira, kyali kyeyoleka lwatu nti abakulembeze b’amadiini ga Kristendomu be baali “omujeemu” Pawulo gwe yayogerako.—Laba Watchtower eya Febwali 1, 1990, olupapula 10-14.