‘Okununulibwa Kwammwe Kunaatera Okutuuka’!
“Muyimiriranga busimba, era muyimusanga emitwe gyammwe, kubanga okununulibwa kwammwe kuliba kunaatera okutuuka.”—LUK. 21:28.
1. Bintu ki ebyaliwo mu mwaka gwa 66 E.E.? (Laba ekifaananyi waggulu.)
KUBA akafaananyi ng’oli Mukristaayo era ng’oli mu Yerusaalemi mu mwaka gwa 66 E.E. Waliwo ebintu bingi ebibadde bigenda mu maaso. Ekisooka, omukungu wa Rooma ayitibwa Florus yatwala ttalanta 17 okuva mu ggwanika lya yeekaalu. Amangu ddala, Abayudaaya baatandika okwekalakaasa ne batta abasirikale Abaruumi abaali mu Yerusaalemi era ne balangirira nti tebakyali wansi wa bufuzi bwa Rooma. Naye Rooma yabaako ky’ekolawo mu bwangu. Waali waakayita emyezi esatu gyokka Rooma n’esindika abasirikale 30,000 e Yerusaalemi, nga bakulembeddwa gavana Omuruumi owa Busuuli ayitibwa Cestius Gallus. Mu kiseera kitono, abasirikale ba Rooma abo baali bamaze okwetooloola Yerusaalemi, era Abayudaaya abaali beekalakaasa badduka ne beekweka mu bisenge bya yeekaalu. N’ekyaddirira, abasirikale ba Rooma baatandika okumenya ekisenge kya yeekaalu eky’ebweru! Abantu bonna abaali mu kibuga baatya nnyo. Wandiwulidde otya ng’olaba ebintu ebyo byonna nga bigenda mu maaso?
2. Kiki Abakristaayo kye baalina okukola mu mwaka gwa 66 E.E., era ekyo kyasoboka kitya?
2 Emabegako, Yesu yali yagamba abayigirizwa be nti: “Bwe muliraba Yerusaalemi nga kyetooloddwa amagye, awo mumanyanga nti okuzikirizibwa kwakyo kunaatera okutuuka. Abo abaliba mu Buyudaaya baddukiranga mu nsozi, abalikibaamu bakivangamu, n’abo abaliba mu byalo tebakiyingirangamu.” (Luk. 21:20, 21) Kati olwo bandisobodde batya okugondera ekiragiro kya Yesu ekyo ne bava mu Yerusaalemi ate ng’amagye gaali gakyetoolodde? Waliwo ekintu ekyewuunyisa ekyaliwo. Nga tekisuubirwa, abasirikale ba Rooma baatandika okwejjulula ne bagenda! Nga Yesu bwe yagamba obulumbaganyi obwo bwali ‘bukendeezeddwako.’ (Mat. 24:22) Kati baali bafunye akakisa okukolera ku bulagirizi Yesu bwe yawa. Amangu ddala Abakristaayo abeesigwa abaali babeera mu Yerusaalemi ne mu bitundu ebiriraanyeewo baddukira mu nsozi emitala w’Omugga Yoludaani.a Oluvannyuma mu mwaka gwa 70 E.E., amagye ga Rooma gaakomawo ne gazikiriza ekibuga Yerusaalemi. Naye buli omu eyakolera ku bulagirizi Yesu bwe yawa, yawonawo.
3. Mbeera ki efaananako eyo eyaliwo mu kyasa ekyasooka Abakristaayo gye banaatera okwolekagana nayo, era kiki kye tugenda okwetegereza mu kitundu kino?
3 Mu kiseera ekitali kya wala, ebintu ebifaananako ng’ebyo bigenda kubaawo. Ng’oggyeeko okuba nti Yesu yalabula Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka ku kuzikirizibwa kwa Yerusaalemi, Yesu era yakozesa ebyo ebyandibaddewo nga Yerusaalemi kizikirizibwa okutuyamba okumanya ebyo ebyandibaddewo ‘ng’ekibonyoobonyo ekinene’ kitandise. (Mat. 24:3, 21, 29) Mu butuufu, kya ssanyu okukimanya nti waliwo “ekibiina ekinene” ekigenda okuwonawo mu kibonyoobonyo ekinene. (Soma Okubikkulirwa 7:9, 13, 14.) Kiki Bayibuli ky’etubuulira ku kiseera ekyo? Kikulu okumanya eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo, kubanga obulamu bwaffe bukwatibwako. Kati ka twetegereze engeri ebyo ebigenda okubaawo gye bijja okutukwatako kinnoomu.
ENTANDIKWA Y’EKIBONYOOBONYO EKINENE
4. Ekibonyoobonyo ekinene kinaatandika kitya, era ekyo kinaabaawo kitya?
4 Ekibonyoobonyo ekinene kinaatandika kitya? Ekitabo ky’Okubikkulirwa kituyamba okumanya engeri “Babulooni Ekinene” gye kijja okuzikirizibwamu. (Kub. 17:5-7) Mu butuufu, kituukirawo bulungi okuba nti amadiini ag’obulimba gayitibwa malaaya. Abakulembeze b’amadiini bakoze obwenzi n’abafuzi b’ensi eno embi. Mu kifo ky’okuwagira Yesu n’Obwakabaka bwe, basazeewo okuwagira obufuzi bw’abantu era ne basambajja emisingi gya Bayibuli olw’okwagala okuganja mu maaso ga bafuzi b’ensi eno. Mu butuufu, baawukana nnyo ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta, abeekuumye nga balongoofu, era aboogerwako ng’omuwala embeerera. (2 Kol. 11:2; Yak. 1:27; Kub. 14:4) Naye ani anaazikiriza Babulooni Ekinene? Yakuwa ajja kukozesa “amayembe ekkumi” ‘ag’ensolo emmyufu’ okutuukiriza “ekirowoozo kye.” Amayembe ago gakiikirira obufuzi bwonna obuwagira ekibiina ky’Amawanga Amagatte, ekikiikirirwa ‘ensolo emmyufu.’—Soma Okubikkulirwa 17:3, 16-18.
5, 6. Lwaki tugamba nti abantu bonna abali mu madiini ag’obulimba tebajja kuttibwa nga Babulooni Ekinene kizikirizibwa?
5 Kati olwo tugambe nti abantu bonna abali mu madiini ag’obulimba bajja kuttibwa nga Babulooni Ekinene kizikirizibwa? Nedda. Nnabbi Zekkaliya yaluŋŋamizibwa okuwandiika ku ebyo ebinaabaawo mu kiseera ekyo. Ng’ayogera ku ekyo omuntu abadde mu ddiini ey’obulimba ky’anaayogera, agamba nti: “Alyogera nti Siri nnabbi nze, ndi mulimi wa ttaka nze; kubanga bantunda okuva mu buto bwange. N’omu alimugamba nti Ebiwundu ebiri wakati w’emikono gyo biki? Awo aliddamu nti Bye nnafumitirwa mu nnyumba ya mikwano gyange.” (Zek. 13:4-6) Kiyinzika okuba nti n’abamu ku bakulembeze b’eddiini bajja kwefuula abatabangako bannaddiini era bajja kwegaana amadiini gaabwe ago ag’obulimba.
6 Kiki ekinaatuuka ku bantu ba Katonda mu kiseera ekyo? Yesu agamba nti: “Mu butuufu, singa ennaku ezo tezaakendeezebwako, tewandibaddewo awonawo. Naye olw’abalonde, ennaku ezo zirikendeezebwako.” (Mat. 24:22) Nga bwe tulabye, mu mwaka gwa 66 E.E., ennaku z’ekibonyoobonyo ‘zaakendeezebwako.’ Ekyo kyasobozesa “abalonde,” Abakristaayo abaafukibwako amafuta, okudduka ne bava mu Yerusaalemi n’ebitundu ebiriraanyeewo. Mu ngeri y’emu, ennaku z’ekitundu ekisooka eky’ekibonyoobonyo ekinene zijja ‘kukendeezebwako olw’abalonde.’ Abafuzi b’ensi, ‘amayembe ekkumi,’ tebajja kukkirizibwa kusaanyaawo bantu ba Katonda. Mu kifo ky’ekyo, wajja kubaawo ekiseera ekitono eky’obuweerero.
EKISEERA EKY’OKUGEZESEBWA N’OKULAMULWA
7, 8. Kakisa ki akajja okubaawo oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kw’amadiini ag’obulimba, era mu kiseera ekyo abantu ba Katonda abeesigwa banaakiraga batya nti ba njawulo?
7 Kiki ekinaabaawo oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kw’amadiini ag’obulimba? Ekiseera ekyo kijja kuba kya kwoleka ekyo kyennyini ekiri mu mitima gyaffe. Abantu abasinga obungi bajja kunoonya obukuumi mu bibiina by’abantu ebigeraageranyizibwa ku “njazi ez’oku nsozi.” (Kub. 6:15-17) Naye bo abantu ba Katonda bajja kwesiga Yakuwa okubawa obukuumi. Mu kyasa ekyasooka, ekiseera ng’ekyo tekyali kiseera kya Bayudaaya bonna kutandika kufuuka Bakristaayo. Kyali kiseera, Abakristaayo okubaako kye bakolawo okukolera ku bulagirizi obwali bubaweereddwa. Mu ngeri y’emu, tetusuubira nti ekiseera ekyo ekinaabaawo mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene kijja kuba kiseera kya bantu bonna kutandika kufuuka Bakristaayo ab’amazima. Mu kifo ky’ekyo, ekiseera ekyo kijja kuwa akakisa Abakristaayo ab’amazima okukiraga nti balina okwagala okwa nnamaddala eri Yakuwa era nti bawagira baganda ba Kristo.—Mat. 25:34-40.
8 Wadde nga tetumanyidde ddala buli kimu ekinaabaawo mu kiseera ekyo eky’okugezesebwa, tusuubira nti kijja kutwetaagisa okubaako bye twefiiriza. Mu kyasa ekyasooka, Abakristaayo kyali kibeetaagisa okuleka ebintu byabwe n’okugumira embeera ezitaali nnyangu okusobola okuwonawo. (Mak. 13:15-18) Kati tusaanidde okwebuuza, Tunaaba beetegefu okwefiiriza ebintu byaffe? Tunaaba beetegefu okukola kyonna ekyetaagisa okukiraga nti tuli beesigwa eri Yakuwa? Kirowoozeeko! Mu kiseera ekyo, ffe ffekka abajja okuba nga tukoppa ekyokulabirako kya nnabbi Danyeri eyeeyongera okusinza Katonda ne mu kiseera ekyali ekizibu ennyo.—Dan. 6:10, 11.
9, 10. (a) Bubaka ki abantu ba Katonda bwe bajja okulangirira mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene? (b) Abalabe b’abantu ba Katonda banaakola ki?
9 Ekyo tekijja kuba kiseera kya kubuulira ‘mawulire malungi ag’Obwakabaka.’ Ekiseera ekyo kijja kuba kiyise, era “enkomerero” ejja kuba etuuse! (Mat. 24:14) Tewali kubuusabuusa nti abantu ba Katonda bajja kulangirira obubaka obw’amaanyi obw’omusango. Kino kiyinza okuzingiramu okulangirira nti ensi ya Sitaani egenda kuzikirizibwa. Obubaka obwo Bayibuli ebugeraageranya ku muzira. Egamba nti: “Omuzira ogw’amaanyi, nga buli kitole kizitowa kilo nga abiri, ne guva mu ggulu ne gugwa ku bantu, abantu ne bavvoola Katonda olw’ekibonyoobonyo ekyo kubanga kyali kya maanyi nnyo.”—Kub. 16:21.
10 Abalabe baffe bajja kuwulira obubaka obwo. Nnabbi Ezeekyeri yaluŋŋamizibwa okulaga ekyo Googi ow’e Magoogi, omukago gw’amawanga, ky’ajja okukola. Yagamba nti: “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti Olulituuka ku lunaku olwo ebigambo birijja mu mwoyo gwo, era olisala olukwe olubi: kale olyogera nti Ndyambuka mu nsi ey’ebyalo ebitaliiko nkomera; ndigenda eri abo abeegolodde, abatuula nga tebaliiko kye batya, bonna nga babeera awo awatali babbugwe so nga tebalina bisiba newakubadde enzigi: okunyaga omunyago n’okunyaga omuyiggo; okukyusiza omukono gwo ku bifo eby’ensiko ebituulwamu kaakano, n’abantu abakuŋŋaanyizibwa okuva mu mawanga, abafunye ebisibo n’ebintu, ababeera wakati w’ensi zonna.” (Ez. 38:10-12) Abantu ba Katonda bajja kuba ba njawulo nnyo ne kiba nti bajja kuba ng’abali “wakati w’ensi zonna.” Ekyo amawanga tegajja kukigumiikiriza. Gajja kwagala okulumba Abakristaayo abaafukibwako amafuta awamu ne bannaabwe abakolera awamu nabo.
11. (a) Kiki kye tusaanidde okujjukira bwe kituuka ku ngeri ebintu gye binaagenda biddiriŋŋanamu mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene? (b) Obubonero obujja okweyoleka ku ggulu bunaakwata butya ku bantu?
11 Kiki ekinaddirira? Bayibuli tetubuulira ddala ngeri bintu gye binaagenda biddiriŋŋanamu, naye kirabika nti ebintu ebimu biyinza okubaawo mu kiseera kye kimu. Mu bunnabbi obukwata ku mafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu, Yesu yagamba nti: “Walibaawo obubonero ku njuba, ku mwezi, ku mmunyeenye, era ku nsi amawanga galirumwa, nga tegamanyi kya kukola olw’okuyira n’okufuukuuka kw’ennyanja. Abantu balizirika olw’okutya n’okweraliikirira ebintu ebigenda okutuuka ku nsi etuuliddwamu; kubanga amaanyi ag’omu ggulu galinyeenyezebwa. Awo baliraba Omwana w’omuntu ng’ajjira mu bire n’amaanyi n’ekitiibwa kingi.” (Luk. 21:25-27; soma Makko 13:24-26.) Kyandiba nti okutuukirizibwa kw’obunnabbi obwo kujja kuzingiramu obubonero n’ebintu ebirala eby’entiisa okweyoleka ku ggulu? Ka tulinde tulabe. Naye ka kibe ki ekinaabaawo, obubonero obwo bujja kuleetera abalabe ba Katonda entiisa ey’amaanyi.
12, 13. (a) Kiki ekinaabaawo nga Yesu azze “n’amaanyi n’ekitiibwa kingi”? (b) Abaweereza ba Katonda banaakola ki mu kiseera ekyo?
12 Kiki ekinaabaawo nga Yesu azze “n’amaanyi n’ekitiibwa kingi”? Yesu ajja kuwa empeera abantu abeesigwa era abonereze abo abatali beesigwa. (Mat. 24:46, 47, 50, 51; 25:19, 28-30) Okusinziira ku kitabo kya Matayo, Yesu akomekkereza akabonero akandiraze okubeerawo kwe ng’agera olugero olukwata ku ndiga n’embuzi. Agamba nti: “Omwana w’omuntu bw’alijjira mu kitiibwa kye ng’ali wamu ne bamalayika bonna, alituula ku ntebe ye ey’ekitiibwa. Amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge era alyawula abantu ng’omusumba bw’ayawula endiga okuva mu mbuzi. Aliteeka endiga ku mukono gwe ogwa ddyo, ate embuzi ku mukono gwe ogwa kkono.” (Mat. 25:31-33) Yesu anaalamula atya endiga n’embuzi? Yakomekkereza olugero olwo ng’agamba nti: “[Embuzi zirigenda] mu kufa okw’olubeerera, naye abatuukirivu baligenda mu bulamu obutaggwaawo.”—Mat. 25:46.
13 Abo abanaalamulwa nti mbuzi banaakola ki nga bakitegedde nti bagenda mu “kufa okw’olubeerera”? Bayibuli egamba nti: ‘Balikuba ebiwoobe.’ (Mat. 24:30) Naye ate baganda ba Kristo ne bannaabwe abeesigwa banaakola ki? Nga balina okukkiriza okw’amaanyi mu Yakuwa Katonda awamu n’Omwana we, Yesu Kristo, bajja kukolera ku bigambo bya Yesu bino: “Ebintu bino bwe biritandika okubaawo, muyimiriranga busimba, era muyimusanga emitwe gyammwe, kubanga okununulibwa kwammwe kuliba kunaatera okutuuka.” (Luk. 21:28) Mu butuufu, tujja kuba bagumu nga tuli bakakafu nti tugenda kununulibwa.
OKWAKAAYAKANA MU BWAKABAKA
14, 15. Kukuŋŋaanyizibwa ki okunaabaawo nga Googi ow’e Magoogi atandise okukola obulumbaganyi ku bantu ba Katonda, era ekyo kinaabaawo kitya?
14 Kiki ekinaabaawo nga Googi ow’e Magoogi atandise okukola obulumbaganyi ku bantu ba Katonda? Enjiri ya Matayo ne Makko ziraga ekyo ekinaabaawo: “[Omwana w’omuntu] alituma bamalayika era balikuŋŋaanya abalonde be okuva ku njuyi ennya, okuva ku nkomerero y’ensi okutuuka ku y’eggulu.” (Mak. 13:27; Mat. 24:31) Okukuŋŋaanyizibwa okwogerwako awo si kwe kukuŋŋaanyizibwa kw’abaafukibwako amafuta okwatandika mu mwaka gwa 33 E.E. era si kwe kuteeka akabonero akasembayo ku nsigalira y’abaafukibwako amafuta. (Mat. 13:37, 38) Ensigalira y’abaafukibwako amafuta bateekebwako akabonero akasembayo ng’ekibonyoobonyo ekinene tekinnatandika. (Kub. 7:1-4) Kati olwo kukuŋŋaanyizibwa ki Yesu kw’ayogerako awo? Kye kiseera ensigalira y’abaafukibwako amafuta lwe bajja okuweebwa empeera yaabwe mu ggulu. (1 Bas. 4:15-17; Kub. 14:1) Ekyo kijja kubaawo nga Googi ow’e Magoogi atandise okukola obulumbaganyi ku bantu ba Katonda. (Ez. 38:11) Olwo nno ebigambo bya Yesu bino bijja kutuukirira: “Mu kiseera ekyo, abatuukirivu balyakaayakana ng’enjuba nga bali mu Bwakabaka bwa Kitaabwe.”—Mat. 13:43.b
15 Abantu bangi mu madiini ga Kristendomu balowooza nti Abakristaayo bajja kutwalibwa mu ggulu n’emibiri gyabwe egy’ennyama. Ate era balowooza nti Yesu ajja kukomawo ng’abantu bonna bamulaba n’amaaso gaabwe, afuge ensi. Kyokka Bayibuli egamba nti “akabonero k’Omwana w’omuntu” kajja kulabika ku ggulu era nti Yesu ajja kujjira “mu bire eby’eggulu.” (Mat. 24:30) Ebyo byonna biraga nti Yesu bw’anaakomawo, tajja kulabibwa na maaso. Ate era “omubiri n’omusaayi tebisobola kusikira Bwakabaka bwa Katonda.” N’olwekyo, abo abanaatwalibwa mu ggulu tebajja kugenda na mibiri gyabwe egy’ennyama. Bayibuli egamba nti bajja kusooka “kukyusibwa mu kaseera buseera, ng’okutemya n’okuzibula, ekkondeere erisembayo bwe lirivuga.”c (Soma 1 Abakkolinso 15:50-53.) Bwe kityo, abaafukibwako amafuta abeesigwa abanaaba bakyasigaddewo ku nsi bajja kukuŋŋaanyizibwa omulundi gumu batwalibwe mu ggulu.
16, 17. Kiki ekirina okusooka okubaawo ng’embaga y’Omwana gw’Endiga tennabaawo mu ggulu?
16 Abaafukibwako amafuta bonna 144,000 bwe banaaba bamaze okugenda mu ggulu, enteekateeka ezisembayo ez’embaga y’Omwana gw’Endiga zijja kutandika okukolebwa. (Kub. 19:9) Naye waliwo ekintu ekijja okubaawo ng’embaga eyo tennabaawo. Kijjukire nti, ng’ebula akaseera katono ensigalira y’abaafukibwako amafuta batwalibwe mu ggulu, Googi ajja kulumba abantu ba Katonda. (Ez. 38:16) Kiki abantu ba Katonda kye bajja okukola? Abantu ba Katonda abajja okuba ku nsi mu kiseera ekyo bajja kulabika ng’abatalina bukuumi bwonna. Naye bajja kukolera ku bulagirizi buno obwaweebwa mu kiseera kya Kabaka Yekosafaati: “Temulyetaaga kulwana mu lutalo luno: mwesimbe muyimirire buyimirizi mulabe obulokozi bwa Mukama obuli nammwe, ggwe Yuda ne Yerusaalemi: temutya so temukeŋŋentererwa.” (2 Byom. 20:17) Awo nga Googi atandise okukola obulumbaganyi ku bantu ba Katonda, abaafukibwako amafuta bonna abanaaba bakyali ku nsi bajja kutwalibwa mu ggulu. Okubikkulirwa 17:14 walaga ekyo eggye ery’omu ggulu kye lijja okukola nga Googi alumbye abantu ba Katonda. Abalabe b’abantu ba Katonda “balirwana n’Omwana gw’Endiga, naye olw’okuba ye Mukama w’abakama era Kabaka wa bakabaka, Omwana gw’Endiga alibawangula. Era n’abo abaayitibwa, abaalondebwa era abeesigwa, balibawangula nga bali wamu n’Omwana gw’Endiga.” Yesu ng’ali wamu ne 144,000 abanaafugira awamu naye, bajja kununula abantu ba Katonda abanaaba ku nsi.
17 Ekyo kye kijja okuvaako olutalo Kalumagedoni olujja okuleetera erinnya lya Yakuwa okugulumizibwa. (Kub. 16:16) Mu kiseera ekyo, abo bonna abalinga embuzi ‘bajja kugenda mu kufa okw’olubeerera.’ Abantu ababi bonna bajja kumalibwawo ku nsi, naye ab’ekibiina ekinene bajja kuyita mu kitundu ekisembayo eky’ekibonyoobonyo ekinene. Oluvannyuma lw’ebyo, ekintu eky’ekitalo ekyogerwako mu ssuula ezisembayo ez’ekitabo ky’Okubikkulirwa kijja kubaawo, ng’eno y’embaga y’Omwana gw’Endiga. (Kub. 21:1-4)d Abo bonna abanaaba ku nsi mu kiseera ekyo bajja kuba basiimibwa mu maaso ga Katonda era ajja kubawa emikisa mingi. Ng’embaga eyo ejja kuba ya ssanyu nnyo! Mu butuufu, twesunga nnyo ekiseera ekyo.—Soma 2 Peetero 3:13.
18. Nga bwe tulindirira ebintu eby’ekitalo ebinaatera okubaawo, kiki kye tusaanidde okuba abamalirivu okukola?
18 Nga bwe tulindirira ebintu ebyo eby’ekitalo ebinaatera okubaawo, kiki buli omu ku ffe ky’asaanidde okukola? Omutume Pawulo yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti: “Okuva ebintu ebyo byonna bwe bigenda okusaanuusibwa, mube bantu abalina empisa entukuvu era abakola ebikolwa eby’okwemalira ku Katonda, nga mulindirira era nga mukuumira mu birowoozo byammwe okujja kw’olunaku lwa Yakuwa. . . . N’olwekyo abaagalwa, okuva bwe mulindirira ebintu ebyo, mufube nnyo okusangibwa nga temuliiko bbala wadde akamogo era nga muli mu mirembe.” (2 Peet. 3:11, 12, 14) N’olwekyo, ka tube bamalirivu okusigala nga tuli bayonjo mu by’omwoyo nga tuwagira Kabaka ow’Emirembe.
c Emibiri egy’ennyama egy’abaafukibwako amafuta abanaabaawo mu kiseera ekyo tegijja kutwalibwa mu ggulu. (1 Kol. 15:48, 49) Oboolyawo gijja kubula ng’omubiri gwa Yesu ogw’ennyama bwe gwabula.
d Zabbuli 45 nayo eraga engeri ebintu gye binaagenda biddiriŋŋanamu. Okusooka, Kabaka alwana olutalo, oluvannyuma embaga ebaawo.