Biki Bye Tuyiga Mu Bayibuli?
Katonda alina erinnya?
ABAMU BAGAMBA nti Katonda talina linnya, abalala nti erinnya lye ye Katonda oba Mukama, ate abalala bagamba nti Katonda alina amannya mangi. Ggwe olowooza otya?
BAYIBULI KY’EGAMBA
“Abantu ka bamanye nti erinnya lyo, ggwe Yakuwa, ggwe wekka Asingayo Okuba Waggulu, afuga ensi yonna.”—Zabbuli 83:18.
BIKI EBIRALA BYE TUYIGA MU BAYIBULI?
Katonda alina ebitiibwa bingi, naye yeewa erinnya limu lyokka.—Okuva 3:15.
Kisoboka okutegeera Katonda, era ayagala tumumanye.—Ebikolwa 17:27.
Okumanya erinnya lya Katonda kikulu nnyo bwe tuba twagala okufuuka mikwano gye.—Yakobo 4:8.
Kikyamu okwatula erinnya lya Katonda?
WANDIZZEEMU OTYA?
Yee
Nedda
Oba kisinziira?
BAYIBULI KY’EGAMBA
“Tokozesanga linnya lya Yakuwa Katonda wo mu ngeri etasaana.” (Okuva 20:7) Katonda ky’atayagala kwe kukozesa erinnya lye mu ngeri etaliweesa kitiibwa.—Yeremiya 29:9.
BIKI EBIRALA BYE TUYIGA MU BAYIBULI?
Yesu yali amanyi erinnya lya Katonda era yalikozesanga.—Yokaana 17:25, 26.
Katonda ayagala twatule erinnya lye.—Zabbuli 105:1.
Abalabe ba Katonda bageezaako okuleetera abantu okwerabira erinnya lye.—Yeremiya 23:27.