Ebirimu
3 Ekigambo Ekyali eky’Amakulu Ennyo!
WIIKI YA DDESEMBA 26, 2016–JJANWALI 1, 2017
4 Mweyongere Okuzziŋŋanamu Amaanyi
Katonda ne Yesu Kristo bataddewo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kuzzaamu abalala amaanyi. Omutume Pawulo naye yazzangamu abalala amaanyi. Bwe tubakoppa tusobola okuzzaamu bakkiriza bannaffe n’ab’omu maka gaffe amaanyi.
WIIKI YA JJANWALI 2-8, 2017
9 Bayibuli Ebayambye Okukola Ebintu mu Ngeri Entegeke Obulungi
WIIKI YA JJANWALI 9-15, 2017
14 Ekigambo kya Katonda Okitwala nga kya Muwendo?
Ebitundu bino biddamu ebibuuzo bino: Lwaki abaweereza ba Yakuwa basaanidde okukola ebintu mu ngeri entegeke obulungi? Ekigambo kya Katonda kiyinza kitya okutuyamba okukola ebintu mu ngeri entegeke obulungi? Tuyinza tutya okulaga nti tuwagira ekibiina kya Yakuwa?
WIIKI YA JJANWALI 16-22, 2017
21 CYabayita Okuva mu Kizikiza
WIIKI YA JJANWALI 23-29, 2017
26 Beekutula ku Ddiini ez’Obulimba
Ebitundu bino biraga ddi abantu ba Katonda lwe baatwalibwa mu buwambe mu Babulooni Ekinene era n’engeri abaafukibwako amafuta gye baafuba okutegeera Ekigambo kya Katonda mu myaka gya 1870. Biraga n’engeri Abayizi ba Bayibuli gye baafuba okwekutula ku Babulooni Ekinene, na ddi Abakristaayo ab’amazima lwe baava mu buwambe mu Babulooni Ekinene.