Beera Musaasizi nga Yakuwa
“Yakuwa, Yakuwa, Katonda omusaasizi era ow’ekisa.”—KUV. 34:6.
1. Yakuwa bwe yayogera ne Musa yamugamba ki, era ebyo bye yamugamba bituzzaamu bitya amaanyi?
LUMU Katonda yayogera ne Musa n’alangirira erinnya lye n’engeri ze. Engeri ze yasooka okwogerako bwe busaasizi n’ekisa. (Soma Okuva 34:5-7.) Yakuwa yali asobola okusooka okwogera ku maanyi ge oba ku magezi ge. Naye olw’okuba Musa yali yeetaaga okukakasibwa nti Katonda yandimuyambye, Yakuwa yayogera ku ngeri ezo ezikakasa abaweereza be nti mwetegefu okubayamba. (Kuv. 33:13) Ekyo nga kituzzaamu nnyo amaanyi! Ekitundu kino kigenda kwogera ku ngeri eyo ey’obusaasizi. Obusaasizi kye ki? Kwe kulumirirwa omuntu abonaabona era n’owulira ng’oyagala okubaako ky’okolawo okumuyamba.
2, 3. (a) Kiki ekiraga nti abantu baatondebwa nga basobola okwoleka obusaasizi? (b) Lwaki osaanidde okussaayo omwoyo ku ekyo Bayibuli ky’eyogera ku busaasizi?
2 Abantu baatondebwa mu kifaananyi kya Katonda. Olw’okuba Yakuwa musaasizi, n’abantu basobola okwoleka engeri eyo. N’abantu abatamanyi Katonda ow’amazima batera okwoleka obusaasizi. (Lub. 1:27) Mu Bayibuli mulimu ebyokulabirako bingi ebikakasa ekyo. Lowooza ku bamalaaya ababiri abaagenda eri Sulemaani nga bakaayanira omwana. Sulemaani bwe yabagezesa n’alagira nti omwana oyo asalibwemu ebitundu bibiri, maama w’omwana oyo yakwatira omwana oyo ekisa. Ekyo kyamuleetera okusalawo okulekera omwana we omukazi oli ataali nnyina. (1 Bassek. 3:23-27) Ate era lowooza ku muwala wa Falaawo eyawonyaawo Musa ng’akyali muwere. Wadde nga yakiraba nti omwana oyo gwe yali azudde yali wa Bebbulaniya era nti yalina okuttibwa, ‘yamukwatirwa ekisa,’ n’asalawo okumukuza ng’omwana we.—Kuv. 2:5, 6.
3 Lwaki kikulu okulowooza ku ngeri eno ey’obusaasizi? Kubanga Bayibuli etukubiriza okukoppa Yakuwa. (Bef. 5:1) Kyokka, wadde nga twatondebwa nga tusobola okwoleka obusaasizi, obutali butuukirivu bwe twasikira okuva ku Adamu oluusi butuleetera okwefaako ffekka. Ebiseera ebimu tekitubeerera kyangu kusalawo obanga tusaanidde okuyamba abalala oba obutabayamba. Abamu kibazibuwalira nnyo okusalawo ku nsonga eyo. Kiki ekiyinza okukuyamba okuyiga okufaayo ku balala? Ekisooka, fumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’alazeemu abalala obusaasizi n’engeri abalala gye balazeemu obusaasizi. Eky’okubiri, lowooza ku ngeri gy’oyinza okukoppamu Katonda era n’emiganyulo egivaamu.
YAKUWA ATADDEWO EKYOKULABIRAKO EKISINGAYO OBULUNGI
4. (a) Lwaki Yakuwa yatuma bamalayika mu Sodomu? (b) Bye tusoma ku Lutti ne bawala be bituyigiriza ki?
4 Waliwo ebyokulabirako bingi ebiraga engeri Yakuwa gye yayolekamu obusaasizi. Lowooza ku ekyo Katonda kye yakolera Lutti. Omusajja oyo omutuukirivu ‘yanyolwa nnyo’ olw’ebikolwa ebibi ebyali bikolebwa abantu b’omu Sodomu ne Ggomola. Katonda yasalawo okuzikiriza abantu abo abaali abagwenyufu. (2 Peet. 2:7, 8) Katonda yatuma bamalayika be okuwonyaawo Lutti. Bamalayika baagamba Lutti n’ab’omu maka ge okuva mu bibuga ebyo ebyali bigenda okuzikirizibwa. “Olw’obusaasizi Yakuwa bwe yamulaga, Lutti bwe yali akyekunya, [bamalayika] ne bamukwata ku mukono, ye ne mukazi we ne bawala be ababiri, ne babafulumya ebweru w’ekibuga.” (Lub. 19:16) Ekyo kiraga nti Yakuwa ategeera bulungi embeera enzibu abaweereza be abeesigwa gye bayitamu.—Is. 63:7-9; Yak. 5:11; 2 Peet. 2:9.
5. Ebyo bye tusoma mu Bayibuli, gamba ng’ebyo ebiri mu 1 Yokaana 3:17, bituyigiriza bitya okuba abasaasizi?
5 Ng’oggyeeko okuba nti Yakuwa ayoleka obusaasizi, era ayigiriza abantu be okwoleka engeri eyo. Lowooza ku tteeka lye yawa Abayisirayiri erikwata ku kutwala ekyambalo ky’omuntu ng’omusingo. (Soma Okuva 22:26, 27.) Omuntu ataalina kisa yali asobola okutwala ekyambalo ky’omuntu gwe yali abanja n’amuleka nga talina kya kwebikka. Naye Yakuwa yagamba abantu be okwewala okweyisa mu ngeri eyo etooleka kisa. Abantu be baalina okuba abasaasizi. Bwe tufumiitiriza ku tteeka eryo, naffe tekitukubiriza kuba basaasizi? Bwe wabaawo kye tusobola okukola okuyamba baganda baffe ababonaabona, tusaanidde okubayamba, ne tutaba ng’ababalese mu mpewo nga tebalina kya kwebikka.—Bak. 3:12; Yak. 2:15, 16; soma 1 Yokaana 3:17.
6. Kiki kye tuyigira ku ngeri Yakuwa gye yalagamu Abayisirayiri obusaasizi?
6 Yakuwa yasaasiranga Abayisirayiri ne bwe baabanga boonoonye. Bayibuli egamba nti: “Yakuwa Katonda wa bajjajjaabwe yabalabulanga ng’ayitira mu babaka be, yabalabula enfunda n’enfunda, kubanga yali asaasira abantu be n’ekifo kye ky’abeeramu.” (2 Byom. 36:15) Naffe tusaanidde okusaasira abantu ababa beenenyezza Katonda n’abasonyiwa. Yakuwa tayagala muntu yenna azikirire mu kuzikiriza okugenda okujja. (2 Peet. 3:9) Nga bwe tulindirira ekiseera ekyo, ka tweyongere okulangirira obubaka obwoleka obusaasizi bwa Katonda.
7, 8. Lwaki ab’omu maka agamu bakakafu nti Yakuwa yabalaga ekisa nga bali mu mbeera enzibu?
7 Waliwo n’eby’okulabirako ebirala ebiraga nti Yakuwa musaasizi. Lowooza ku ekyo ekyatuuka ku mulenzi ow’emyaka 12 gwe tujja okuyita Milan. Embeera eno yaliwo mu kiseera bwe waali nga waliwo okulwanagana mu mawanga mu nsi yaabwe mu myaka gya 1990. Milan, muganda we, bazadde be, n’Abajulirwa ba Yakuwa abalala baali mu bbaasi eyali eva e Bosnia ng’egenda e Serbia. Baali bagenda ku lukuŋŋaana olunene era bazadde ba Milan baali bagenda kubatizibwa ku lukuŋŋaana olwo. Naye bwe baatuuka ku nsalo, abasirikale baggya Milan, muganda we, ne bazadde be mu bbaasi olw’okuba baali ba ggwanga ddala, naye ne baleka ab’oluganda abalala okweyongerayo. Oluvannyuma lw’okubasibira ennaku bbiri, omusirikale eyali abakutte yakubira mukama we essimu n’amubuuza kiki ky’aba abakolera. Nga Milan ne bazadde be bawulira, mukama w’omusirikale oyo yamugamba nti, “Bafulumye ebweru obakube amasasi!”
8 Omusirikale oyo bwe yali ayogera n’abasirikale abalala, abasajja babiri bajja ne batuukirira Milan, muganda we, ne bazadde be ne babagamba nti nabo Bajulirwa ba Yakuwa. Ab’oluganda abaali mu bbaasi be baali babategeezezza ku kizibu ekyali kituuse ku bannaabwe. Abasajja abo ababiri baagamba Milan ne muganda we okuyingira mu mmotoka yaabwe babasaze ensalo, kubanga abaana tebaabasabanga mpapula. Ate era baagamba bazadde ba Milan okusalinkiriza bayingire mu Serbia babasisinkane. Milan yasoberwa nga tamanyi oba aseke oba akaabe. Bazadde be baabuuza abasajja abo nti: “Mulowooza abasirikale bano banaatutunuulira butunuulizi ne batuleka ne tugenda?” Naye bwe baali batambula nga bagenda, abasirikale baatunula butunuzi nga balinga abatabalaba. Abaana abo ne bazadde baabwe baddamu okusisinkana nga bamaze okusala ensalo. Beeyongerayo ne bagenda ku lukuŋŋaana olunene nga bakakafu nti Yakuwa yali azzeemu okusaba kwabwe. Okusinziira ku Bayibuli, tukimanyi nti waliwo emirundi Yakuwa lw’ataawonya bantu be mu ngeri ya kyamagero. (Bik. 7:58-60) Naye Milan agamba nti “Kindabikira nti ku olwo Yakuwa yakozesa malayika we n’aziba amaaso g’abasirikale abo, n’atulokola.”—Zab. 97:10.
9. Yesu yakola ki oluvannyuma lw’okulaba embeera embi abantu gye baalimu? (Laba ekifaananyi ku lupapula 8.)
9 Ate era waliwo kye tusobola okuyigira ku Yesu. Yesu yasaasira ekibiina ky’abantu “kubanga baali babonaabona era nga basaasaanye ng’endiga ezitalina musumba.” Kiki kye yakolawo? ‘Yatandika okubayigiriza ebintu bingi.’ (Mat. 9:36; soma Makko 6:34.) Yesu yali wa njawulo nnyo ku Bafalisaayo abaali batafaayo ku bantu ba bulijjo. (Mat. 12:9-14; 23:4; Yok. 7:49) Okufaananako Yesu, naawe osaasira abantu abalumwa enjala ey’eby’omwoyo era oyagala okubayamba?
10, 11. Tusaanidde okulaga obusaasizi mu buli mbeera? Nnyonnyola.
10 Kyokka ekyo tekitegeeza nti tulina okulaga obusaasizi mu buli mbeera. Mu byokulabirako bye tulabye waggulu, kyali kituukirawo Katonda okwoleka obusaasizi. Naye Kabaka Sawulo bwe yayoleka obusaasizi we kiteetaagisa, kyali kikolwa kya bujeemu. Yawonyaawo Agagi, eyali omulabe w’abantu ba Katonda, era n’awonyaawo n’ebisolo ebyali bisingayo okulabika obulungi. N’ekyavaamu, Yakuwa yaggyako Sawulo obwakabaka. (1 Sam. 15:3, 9, 15, obugambo obuli wansi.) Yakuwa ye Mulamuzi omutuukirivu. Asobola okusoma emitima gy’abantu era amanya ddi lwe kiteetaagisa kwoleka busaasizi. (Kung. 2:17; Ezk. 5:11) Ekiseera kinaatera okutuuka azikirize abo bonna abagaanye okumugondera. (2 Bas. 1:6-10) Mu kiseera ekyo Yakuwa tajja kusaasira bantu ababi b’anaaba asalidde omusango. Naye mu kubazikiriza, ajja kuba alaga obusaasizi abantu abatuukirivu b’anaawonyaawo.
11 Kya lwatu nti si ffe abavunaanyizibwa okusalawo ani anaazikirizibwa oba anaawonyezebwawo. N’olwekyo, tusaanidde okukola kyonna kye tusobola okuyamba abantu. Kati olwo biki bye tuyinza okukola okulaga bantu bannaffe obusaasizi? Lowooza ku bintu bino wammanga.
OKWOLEKA OBUSAASIZI WE KYETAAGISA
12. Oyinza otya okulaga abalala obusaasizi?
12 Yamba abalala mu mbeera zaabwe eza bulijjo. Bwe tuba ab’okukoppa Yesu, tulina okulaga bantu bannaffe ne bakkiriza bannaffe obusaasizi. (Yok. 13:34, 35; 1 Peet. 3:8) Agamu ku makulu agali mu kigambo obusaasizi kwe “kubonaabonera awamu n’abalala.” Omuntu omusaasizi abaako ky’akolawo bw’alaba abalala nga babonaabona. Bw’olaba abali mu bwetaavu, fuba okulaba engeri gy’oyinza okubayambamu! Ng’ekyokulabirako, oyinza okuyamba omulala oboolyawo ng’obaako emirimu gy’omukolerako awaka oba ng’omuyambako okugula ebintu ku dduuka?—Mat. 7:12.
13. Abantu ba Katonda booleka ngeri ki nnaddala nga waguddewo akatyabaga?
13 Yamba abo ababa bakoseddwa obutyabaga. Tusobola okwoleka obusaasizi nga waliwo ababa bagwiriddwako akatyabaga. Abantu ba Yakuwa bamanyiddwa olw’okudduukirira abo ababa bakoseddwa obutyabaga. (1 Peet. 2:17) Lowooza ku mwannyinaffe omu ow’omu Japan eyali abeera mu kitundu ekyakosebwa musisi ne sunami mu 2011. Agamba nti yazzibwamu nnyo amaanyi olw’ab’oluganda abaava mu bitundu ebitali bimu ebya Japan ne mu nsi endala ne bajja okuddaabiriza amayumba gaabwe. Era agamba nti: “Ekyo kyandaga nti Yakuwa atufaako nnyo era nti ne bakkiriza bannaffe batufaako nnyo era batusabira.”
14. Oyinza otya okuyamba abalwadde n’abo abakaddiye?
14 Yamba abalwadde n’abo abakaddiye. Bwe tulaba abo ababonaabona olw’ekibi kye twasikira okuva ku Adamu, tusaanidde okubasaasira. Twesunga ekiseera Yakuwa lw’aliggyawo obulwadde n’okukaddiwa. Eyo ye nsonga lwaki tusaba Obwakabaka bwa Katonda okujja. Nga bwe tubulindirira, ka tukole kyonna ekisoboka okuyamba abo abali mu bwetaavu. Lowooza ku ebyo omuwandiisi w’ebitabo omu bye yawandiika ku maama we eyali akaddiye era ng’alina obulwadde bw’okuwuttaala. Lumu maama we yali ayonoonedde engoye ze. Bwe yali agezaako okwerongoosa akade k’oluggi kaavuga. Abaali bazze okumulaba baali Bajulirwa ba Yakuwa ababiri abaateranga okumukyalira. Bannyinaffe abo baamubuuza obanga waaliwo ekintu kyonna kye baali basobola okukola okumuyamba. Omukazi oyo yabagamba nti: “Kinswaza okukyogera naye nneetaaga obuyambi.” Bannyinaffe abo baamulongoosa era oluvannyuma ne bamufumbira caayi. Baasigalawo okumala akaseera nga banyumyako naye. Mutabani w’omukazi oyo yasanyuka nnyo olw’ekyo bannyinaffe kye baakola. Yagamba nti: “Abajulirwa ba Yakuwa mbaggiddeko enkoofiira. Bakolera ku ebyo bye bayigiriza.” Naawe okwatirwa abalwadde n’abo abakaddiye ekisa era n’obaako ky’okolawo okubayamba?—Baf. 2:3, 4.
15. Omulimu gw’okubuulira gutusobozesa kukola ki?
15 Yamba abantu mu by’omwoyo. Bwe tulowooza ku bizibu abantu bye balina n’ebyo ebibeeraliikiriza kituleetera okwagala okubayamba. Engeri esingayo obulungi gye tuyinza okubayambamu kwe kubayigiriza ebikwata ku Katonda ne ku ebyo Obwakabaka bwe bye bugenda okukolera abantu. Engeri endala gye tuyinza okubayambamu kwe kubalaga emiganyulo egiva mu kukolera ku magezi agava eri Katonda. (Is. 48:17, 18) Osobola okwongera ku budde bw’omala ng’okola omulimu gw’okubuulira? Bw’onookola bw’otyo ojja kuweesa Yakuwa ekitiibwa era kijja kulaga nti osaasira abalala.—1 Tim. 2:3, 4.
BW’OLAGA OBUSAASIZI NAAWE KIKUGANYULA
16. Omuntu asaasira abalala aganyulwa atya?
16 Abasawo bagamba nti bw’olaga abalala obusaasizi, kikuyamba okuba n’obulamu obulungi era kikuyamba okuba n’enkolagana ennungi n’abalala. Bw’oyamba abo ababonaabona, oba musanyufu, oba n’essuubi, towuubaala, era totera kufuna ndowooza zikumalamu maanyi. Mu butuufu bw’osaasira abalala kikuganyula. (Bef. 4:31, 32) Abakristaayo abafuba okuyamba abalala baba n’omuntu ow’omunda omulungi kubanga baba bakimanyi nti bakola Katonda by’ayagala. Omuntu omusaasizi aba muzadde mulungi, mwami oba mukyala mulungi, era aba wa mukwano mulungi. Abo abasaasira abalala emirundi mingi nabo bwe bafuna ebizibu abalala babayamba.—Soma Matayo 5:7; Lukka 6:38.
17. Kiki ekyandikukubirizza okusaasira abalala?
17 Okuba nti okusaasira abalala kikuganyula si ye nsonga enkulu eyandikuleetedde okusaasira abalala. Ensonga enkulu eyandikukubirizza okusaasira abalala kwe kuba nti oyagala okukoppa Yakuwa n’okumuweesa ekitiibwa. (Nge. 14:31) Yakuwa atuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka obusaasizi. N’olwekyo ka tufube okukoppa Yakuwa nga tulaga bakkiriza bannaffe n’abantu abalala obusaasizi.—Bag. 6:10; 1 Yok. 4:16.