Tolamula Balala ng’Osinziira ku Ndabika ey’Okungulu
“Mulekere awo okusala omusango nga musinziira ku ndabika ya kungulu, naye musale omusango mu butuukirivu.”—YOK. 7:24.
1. Bunnabbi ki Isaaya bwe yayogera obukwata ku Yesu, era lwaki butuzzaamu amaanyi?
OBUNNABBI obukwata ku Mukama waffe Yesu Kristo, Isaaya bwe yayogera, butuzzaamu nnyo amaanyi. Isaaya yagamba nti Yesu ‘teyandisaze musango ng’asinziira ku ebyo amaaso ge bye galaba, era nti teyandinenyezza ng’asinziira ku ebyo amatu ge bye gawulira.’ Ate era yagamba nti ‘yandiramudde abanaku mu bwenkanya.’ (Is. 11:3, 4) Lwaki ekyo kituzzaamu nnyo amaanyi? Kubanga tuli mu nsi ejjudde okusaliriza n’obusosoze. Ffenna twesunga nnyo okulamulwa Omulamuzi atuukiridde ataliramula ng’asinziira ku ndabika ey’okungulu!
2. Kiki Yesu kye yatugamba okwewala, era kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?
2 Buli lunaku tulamula abantu mu bintu ebitali bimu. Naye olw’okuba tetutuukiridde, tetusobola kulamula balala mu ngeri etuukiridde nga Yesu bw’akola. Tutera okutwalirizibwa ekyo kye tulaba n’amaaso gaffe. Naye Yesu bwe yali ku nsi yagamba nti: “Mulekere awo okusala omusango nga musinziira ku ndabika ya kungulu, naye musale omusango mu butuukirivu.” (Yok. 7:24) Yesu ayagala tumukoppe, nga tetusalira balala musango nga tusinziira ku ndabika yaabwe ey’okungulu. Mu kitundu kino tugenda kulaba embeera za mirundi esatu abantu mwe batera okulamula abalala nga basinziira ku ekyo kye balaba n’amaaso gaabwe: langi oba eggwanga, obugagga, n’emyaka. Mu buli mbeera tugenda kulaba engeri gye tuyinza okugonderamu ekiragiro kya Yesu ekyo.
OKULAMULA ABALALA NGA TUSINZIIRA KU LANGI OBA EGGWANGA
3, 4. (a) Biki ebyaliwo ebyaleetera Peetero okukyusa endowooza gye yalina ku b’amawanga? (Laba ekifaananyi ku lupapula 8.) (b) Kintu ki ekipya Yakuwa kye yayamba Peetero okutegeera?
3 Lowooza ku ebyo Peetero bye yalowooza bwe yagambibwa okugenda e Kayisaaliya mu maka ga Munnaggwanga ayitibwa Koluneeriyo. (Bik. 10:17-29) Okufaananako Abayudaaya abalala abaaliwo mu kiseera kye, Peetero yakula akitwala nti abantu ab’amawanga amalala tebaali balongoofu. Naye waliwo ebintu ebyabaawo ebyaleetera Peetero okukyusa endowooza ye. Ng’ekyokulabirako, waliwo okwolesebwa Peetero kwe yafuna. (Bik. 10:9-16) Biki bye yalaba mu kwolesebwa okwo? Yalaba ekintu ekiringa olugoye olunene nga kissibwa wansi nga kiriko ensolo ezitaali nnongoofu era n’awulira eddoboozi okuva mu ggulu nga ligamba nti: “Peetero, situka osale olye!” Peetero yagaana okukola ekyo ekyamugambibwa. Naye, eddoboozi okuva mu ggulu lyamugamba nti: “Ebintu Katonda by’alongoosezza lekera awo okubiyita ebitali birongoofu.” Okwolesebwa bwe kwaggwa, Peetero yasoberwa nga yeebuuza ekyo eddoboozi eryo kye lyali ligezaako okumutegeeza. Mu kiseera ekyo, ababaka okuva eri Koluneeriyo baatuuka. Oluvannyuma lw’okufuna obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu, Peetero yagenda n’ababaka abo ewa Koluneeriyo.
4 Singa Peetero yali atunuulira ebintu ng’asinziira ku ndabika ey’okungulu, teyandigenze wa Koluneeriyo. Abayudaaya tebaayingiranga mu nnyumba z’Ab’amawanga. Lwaki Peetero yayingira mu nnyumba ya Koluneeriyo wadde nga yakula asosola ab’amawanga? Ebyo Peetero bye yalaba mu kwolesebwa n’obulagirizi omwoyo omutukuvu bwe gwamuwa byamukwatako nnyo. Oluvannyuma lw’okuwuliriza ebyo Koluneeriyo bye yamugamba, Peetero yakwatibwako nnyo era n’agamba nti: “Mazima ddala ntegedde nti Katonda tasosola, naye mu buli ggwanga omuntu amutya n’akola ekituufu amukkiriza.” (Bik. 10:34, 35) Ekintu ekyo ekipya Peetero kye yali ategedde kyamukwatako nnyo era kyandikutte ne ku Bakristaayo bonna! Kyandibakutteko kitya?
5. (a) Kiki Yakuwa ky’ayagala Abakristaayo bonna bamanye? (b) Wadde nga tumanyi amazima, ndowooza ki gye tuyinza okuba nayo?
5 Okuyitira mu Peetero, Yakuwa yali ayamba Abakristaayo bonna okukimanya nti tasosola. Langi yaffe, eggwanga lyaffe, ekika kyaffe, oba olulimi lwe twogera Yakuwa si by’atwala ng’ekikulu. Omusajja yenna oba omukazi atya Katonda era n’akola by’ayagala aba asiimibwa mu maaso ge. (Bag. 3:26-28; Kub. 7:9, 10) Ekyo naawe oteekwa okuba ng’okikkiriza. Naye watya singa wakulira mu kitundu oba mu maka omuli obusosoze obungi? Wadde ng’oyinza okuba ng’olowooza nti tososola, munda muli oyinza okuba ng’olinamu obusosoze. Ne Peetero, Yakuwa gwe yakozesa okuyamba abalala okukimanya nti tasosola, oluvannyuma yayoleka obusosoze. (Bag. 2:11-14) Tuyinza tutya okukolera ku kiragiro kya Yesu ne tulekera awo okusalira abalala omusango nga tusinziira ku ndabika ey’okungulu?
6. (a) Kiki ekisobola okutuyamba okweggyamu obusosoze? (b) Ebyo omukadde omu bye yawandiika byalaga ki?
6 Tusaanidde okwekebera n’obwegendereza nga tukozesa Ekigambo kya Katonda okulaba obanga tulimu obusosoze. (Zab. 119:105) Era tuyinza okwebuuza ne ku balala batubuulire obanga tulimu obusosoze, ne bwe kiba nti ffe tetubwerabamu. (Bag. 2:11, 14) Kiyinza okuba nti obusosoze bwasimba amakanda mu mitima gyaffe ne kiba nti tetukiraba nti tubulina. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku mukadde omu mu kibiina eyawandiika lipoota ku w’oluganda omu ne mukyala we abaali mu buweereza obw’ekiseera kyonna abaali bakola obulungi. Ow’oluganda oyo yali ava mu ggwanga eririmu abantu abatono ennyo era bangi lye baali banyooma. Kirabika omukadde oyo yali takimanyi nti yali asosola abantu b’omu ggwanga eryo. Mu lipoota eyo, yawandiika ebintu ebirungi bingi ku w’oluganda oyo naye n’akomekkereza ng’agamba nti: “Wadde ng’ow’oluganda ono wa [ggwanga lino], enneeyisa ye eyambye abantu bangi okukiraba nti okubeera [ow’eggwanga lino] tekitegeeza kuba mucaafu oba kweyisa mu ngeri ey’ekikopi ng’abantu abasinga obungi ab’eggwanga [lino] bwe bali.” Ekyo kituyigiriza ki? Ka tube nga tulina buvunaanyizibwa ki mu kibiina, tulina okwekebera n’obwegendereza tulabe obanga tulinamu obusosoze mu mitima gyaffe era tulina okuba abeetegefu okukkiriza obuyambi obutuweebwa. Kiki ekirala kye tuyinza okukola?
7. Tuyinza tutya okukyoleka nti tugaziwa mu mitima gyaffe?
7 Bwe tugaziwa mu mitima gyaffe, mu kifo ky’okwoleka obusosoze tujja kwoleka okwagala. (2 Kol. 6:11-13) Otera kukolagana n’abantu aba langi yo bokka, ab’eggwanga lyo, oba aboogera olulimi lwo? Bwe kiba kityo, gaziwa mu mutima gwo. Lwaki tokola nteekateeka n’obuulirako wamu n’ab’oluganda ab’amawanga amalala oba n’obakyaza ne baliirako wamu naawe emmere? (Bik. 16:14, 15) Bw’okola bw’otyo, ojja kweyongera okubaagala era olekere awo okubasosola. Naye waliwo n’embeera endala eziyinza okutuleetera okulamula abalala nga tusinziira ku ekyo kye tulaba n’amaaso gaffe. Ka tulabye embeera endala.
OKULAMULA ABALALA NGA TUSINZIIRA KU MBEERA YAABWE EY’EBY’ENFUNA
8. Okusinziira ku Eby’Abaleevi 19:15, omuntu okuba omugagga oba omwavu kiyinza kitya okukwata ku ngeri gye tumutwalamu?
8 Eby’obugagga omuntu by’alina bisobola okubaako kye bikola ku ngeri gye tumutwalamu. Eby’Abaleevi 19:15 wagamba nti: “Teweekubiiranga ku ludda lw’omwavu oba olw’omugagga. Olamulanga munno mu bwenkanya.” Naye okuba nti omuntu mugagga oba mwavu kiyinza kitya okukwata ku ngeri gye tumutwalamu?
9. Kintu ki ekinakuwaza Sulemaani kye yawandiika, era ekyo kituyigiriza ki?
9 Omwoyo omutukuvu gwaleetera Sulemaani okuwandiika ekintu ekinakuwaza ekikwata ku bantu abatatuukiridde. Engero 14:20, wagamba nti: “Omwavu ne banne bamukyawa, naye omugagga aba n’emikwano mingi.” Ebigambo ebyo bituyigiriza ki? Bwe tuteegendereza, tuyinza okwagala okukola emikwano n’ab’oluganda abagagga naye ne twewala abaavu. Lwaki kya kabi okulamula abantu nga tusinziira ku bintu bye balina?
10. Kizibu ki Yakobo kye yayogerako?
10 Bwe tulamula abalala nga tusinziira ku by’obugagga bye balina, tuyinza okuleetawo enjawukana mu kibiina. Omuyigirizwa Yakobo yalaga nti ekizibu ekyo kyali kireeseewo enjawukana mu bibiina ebimu mu kyasa ekyasooka. (Soma Yakobo 2:1-4.) Tulina okwegendereza endowooza eyo ereme kuyingira mu bibiina byaffe leero. Tuyinza tutya okwewala okulamula abalala nga tusinziira ku ekyo kye tulaba n’amaaso gaffe?
11. Ebintu omuntu by’alina bikwata bitya ku nkolagana ye ne Yakuwa? Nnyonnyola.
11 Tulina okutunuulira baganda baffe nga Yakuwa bw’abatunuulira. Omuntu okuba omugagga oba omwavu si kye kimuleetera okuba ow’omuwendo mu maaso ga Yakuwa. Enkolagana yaffe ne Yakuwa tesinziira ku ssente oba ebintu bye tulina. Wadde nga Yesu yagamba nti “kijja kuba kizibu nnyo omugagga okuyingira mu Bwakabaka obw’omu ggulu,” teyagamba nti tekisoboka. (Mat. 19:23) Ate era Yesu yagamba nti: “Mulina essanyu mmwe abaavu, kubanga Obwakabaka bwa Katonda bwammwe.” (Luk. 6:20) Yesu yali tategeeza nti abantu abaavu bonna balina essanyu era nti baawuliriza bye yayigiriza. Waliwo abantu bangi abaavu abataakolera ku ebyo bye yayigiriza. N’olwekyo, tetusobola kusinziira ku bintu omuntu by’alina okugamba nti alina enkolagana ennungi ne Yakuwa.
12. Kubuulirira ki Ebyawandiikibwa kwe biwa abagagga n’abaavu?
12 Kisanyusa nnyo okulaba nti waliwo ab’oluganda bangi abagagga n’abaavu abaagala Yakuwa era abamuweereza n’omutima gwabwe gwonna. Ebyawandiikibwa bikubiriza abagagga “obutateeka ssuubi lyabwe mu by’obugagga ebitali bya lubeerera, wabula baliteeke mu Katonda.” (Soma 1 Timoseewo 6:17-19.) Ate era Ekigambo kya Katonda kikubiriza abantu ba Katonda bonna, abagagga n’abaavu, okwewala okwagala ssente. (1 Tim. 6:9, 10) Mu butuufu bwe tutunuulira baganda baffe nga Yakuwa bw’abatunuulira, tetujja kubalamula nga tusinziira ku bintu bye balina oba bye batalina. Naye ate kiri kitya bwe kituuka ku myaka omuntu gy’alina? Twandiramudde abantu nga tusinziira ku myaka gye balina? Ka tulabe.
OKULAMULA ABANTU NGA TUSINZIIRA KU MYAKA GYE BALINA
13. Ebyawandiikibwa bituyigiriza ki ku kussa ekitiibwa mu bantu abakulu mu myaka?
13 Enfunda n’enfunda Ebyawandiikibwa bitukubiriza okussa ekitiibwa mu bantu abakuze mu myaka. Eby’Abaleevi 19:32 wagamba nti: “Oyimukanga mu maaso g’ow’envi, era akaddiye omussangamu ekitiibwa era otyanga Katonda wo.” Ne Engero 16:31 wagamba nti: “Envi ngule erabika obulungi bwe zisangibwa mu kkubo ery’obutuukirivu.” Ate era Pawulo yagamba Timoseewo obutanenyanga basajja bakadde na bukambwe, wabula Timoseewo yalina okubatwala nga bataata be. (1 Tim. 5:1, 2) Wadde nga Timoseewo yalina obuyinza obw’ekigero ku b’oluganda ng’abo abakulu mu myaka, yalina okubayisa obulungi era yalina okubawa ekitiibwa.
14. Ddi lwe kiyinza okutwetaagisa okuwabula oba okukangavvula omuntu atusinga obukulu?
14 Naye watya singa omuntu omukulu mu myaka akola ekibi mu bugenderevu oba abaako endowooza enkyamu gy’atumbula? Twandibadde tumuttira ku liiso olw’okuba mukulu mu myaka? Yakuwa talamula muntu ng’asinziira ku ndabika ye ey’okungulu era tasonyiwa muntu ayonoona mu bugenderevu nti olw’okuba mukulu mu myaka. Lowooza ku musingi oguli mu Isaaya 65:20: “Omwonoonyi alikolimirwa ne bw’aliba ng’aweza emyaka kikumi.” Omusingi omulala ogufaananako ng’ogwo gusangibwa mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna. (Ezk. 9:5-7) N’olwekyo, ekisinga obukulu kwe kussa ekitiibwa mu Yakuwa Katonda, Oyo Abaddewo Okuva Edda n’Edda. (Dan. 7:9, 10, 13, 14) Bwe tuba nga tussa ekitiibwa mu Yakuwa, tetujja kutya kuwabula muntu k’abe mukulu kwenkana wa.—Bag. 6:1.
15. Kiki kye tuyigira ku mutume Pawulo bwe kituuka ku ngeri gye tutwalamu ab’oluganda abato mu myaka?
15 Ate bo ab’oluganda abato abali mu kibiina obatwala otya? Bwe yali awandiikira Timoseewo eyali omuvubuka, Pawulo yagamba nti: “Omuntu yenna takunyoomanga olw’obuvubuka bwo, naye beeranga kyakulabirako eri abeesigwa, mu kwogera, mu nneeyisa, mu kwagala, mu kukkiriza, ne mu bulongoofu.” (1 Tim. 4:12) Pawulo we yawandiikira ebigambo ebyo, Timoseewo ayinza okuba nga yalina emyaka nga 30. Wadde kyali kityo, Pawulo yamuwa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi. K’ebe nsonga ki eyamuleetera okuwandiika ebigambo ebyo, kye yali ategeeza tukiraba. Tetusaanidde kulamula ba luganda abato mu myaka nga tusinziira ku myaka gyabwe. Lowooza ku bintu byonna Yesu bye yali akoze we yawereza emyaka 33.
16, 17. (a) Abakadde basinziira ku ki okusemba ow’oluganda okuba omuweereza oba omukadde? (b) Endowooza z’abantu n’obuwangwa biyinza bitya okukontana n’Ebyawandiikibwa?
16 Kiyinzika okuba nti okusinziira ku buwangwa bwaffe abavubuka batera okuyisibwamu amaaso. Bwe kiba kityo, abakadde mu kibiina bayinza okulonzalonza okusemba ab’oluganda abakyali abavubuka okuba abaweereza oba abakadde mu kibiina. Abakadde bonna basaanidde okukijjukira nti Ebyawandiikibwa tebiraga myaka muntu gy’alina kusooka kuweza alyoke alondebwe okuba omuweereza oba omukadde mu kibiina. (1 Tim. 3:1-10, 12, 13; Tit. 1:5-9) Omukadde bw’assaawo etteeka ng’asinziira ku buwangwa bwe aba takolera ku Byawandiikibwa. Abakadde tebasaanidde kulamula bavubuka nga basinziira ku ekyo bo kye balowooza oba ku buwangwa bwabwe, wabula balina kusinziira ku Kigambo kya Katonda.—2 Tim. 3:16, 17.
17 Endowooza eziteesigamiziddwa ku Byawandiikibwa zisobola okuleetera abakadde okukotoggera ab’oluganda abalina ebisaanyizo okuweereza. Ng’ekyokulabirako, mu nsi emu waliwo omuweereza eyali akwasiddwa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi. Wadde ng’abakadde mu kibiina kye baali bakkiriza nti yali atuukiriza ebisaanyizo eby’okuweereza ng’omukadde, ow’oluganda oyo omuto tebaamusemba kuweereza nga mukadde. Abamu ku bakadde baagamba nti yali alabika nga muto nnyo okuweereza ng’omukadde. Eky’ennaku ow’oluganda oyo tebaamusemba olw’engeri gye yali alabikamu. Lipoota ziraga nti embeera ezifaananako bwe zityo weeziri okwetooloola ensi. N’olwekyo kikulu nnyo okwesigama ku Byawandiikibwa mu kifo ky’okwesigama ku buwangwa bwaffe oba ku ndowooza ezaffe ku bwaffe! Eyo ye ngeri yokka gye tusobola okugondera ekiragiro kya Yesu ne tutalamula balala nga tusinziira ku ndabika yaabwe ey’okungulu.
LAMULA MU BUTUUKIRIVU
18, 19. Kiki ekinaatuyamba okutunuulira abantu nga Yakuwa bw’abatunuulira?
18 Wadde nga tetutuukiridde, tusobola okuyiga okutunuulira abantu nga Yakuwa Katonda atasosola bw’abatunuulira. (Bik. 10:34, 35) Naye ekyo kitwetaagisa okufuba ennyo n’okwekeberanga nga tukozesa Ekigambo kya Katonda. Bwe tukolera ku Kigambo kya Katonda, tujja kusobola okugondera etteeka lya Yesu. Tujja kwewala okusalira abalala omusango nga tusinziira ku ndabika ey’okungulu.—Yok. 7:24.
19 Mu kiseera ekitali kya wala, Kabaka waffe Yesu Kristo ajja kulamula abantu bonna nga tasinziira ku ebyo amaaso ge bye galaba oba amatu ge bye gawulira, wabula ajja kubalamula mu butuukirivu. (Is. 11:3, 4) Ekyo nga kijja kuba kiseera kya ssanyu!