“Tulabagane mu Lusuku lwa Katonda!”
“Oliba nange mu Lusuku lwa Katonda.”—LUK. 23:43.
1, 2. Abantu balina ndowooza ki ez’enjawulo ku lusuku lwa Katonda?
OLUVANNYUMA lw’olukuŋŋaana olunene olwali mu Seoul e Korea, Abajulirwa ba Yakuwa ab’omu Korea baali banakuwavu nga basiibula bakkiriza bannaabwe abaali bazze ku lukuŋŋaana olwo nga bavudde mu nsi endala. Baabasiibula nga bwe babagamba nti, “Tulabagane mu Lusuku lwa Katonda!” Lusuku ki lwe baali boogerako?
2 Abantu balina endowooza za njawulo ku kigambo olusuku lwa Katonda. Abamu bagamba nti lugero bugero. Abalala bagamba nti olusuku lwa Katonda kye kifo eky’okwesiima. Naye ggwe olowooza olusuku lwa Katonda kye ki? Olusuubira?
3. Olusuku lwa Katonda lusooka kwogerwako wa mu Bayibuli?
3 Bayibuli eyogera ku lusuku lwa Katonda olwaliwo n’olwo olugenda okubaawo mu biseera eby’omu maaso. Olusuku lwa Katonda lusooka okwogerwako mu kitabo ekisooka mu Bayibuli. Mu nkyusa ya Bayibuli eyitibwa Douay Version, eyavvuunulwa okuva mu Lulattini, Olubereberye 2:8 wagamba nti: “Ku lubereberye, Mukama Katonda yali asimbye olusuku oluleeta essanyu: era mu lusuku olwo yateekamu [Adamu] gwe yatonda.” (Italiki zaffe.) Ebiwandiiko by’Olwebbulaniya bikozesa ebigambo ‘olusuku Edeni.’ Ekigambo Edeni kitegeeza “Essanyu,” era mu butuufu olusuku Edeni lwali luleeta essanyu. Lwalimu emmere emala, nga lulabika bulungi nnyo, nga lulimu ensolo nnyingi era nga si za bulabe eri abantu.—Lub. 1:29-31.
4. Lwaki ekigambo ky’Oluyonaani pa·raʹdei·sos kisobola okukozesebwa ku lusuku Edeni?
4 Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “olusuku” ye pa·raʹdei·sos. Ekitabo Cyclopaedia ekyawandiikibwa M’Clintock ne Strong kigamba nti omuntu Omuyonaani bwe yawuliranga ekigambo pa·raʹdei·sos, ekyamujjiranga mu birowoozo kye kifo ekigazi, ekitaliimu bulabe bwonna, ng’obutonde tebwonooneddwa, nga kirimu emiti mingi egirabika obulungi egibala ebibala, nga kirimu emigga egy’amazzi amayonjo, era nga ku mbalama z’emigga egyo kuliko amagana g’obuweewo n’endiga.—Geraageranya Olubereberye 2:15, 16.
5, 6. Abantu baafiirwa batya Olusuku lwa Katonda, era ekyo kireetawo bibuuzo ki?
5 Katonda yateeka Adamu ne Kaawa mu lusuku olufaananako bwe lutyo, naye tebaalusigalamu. Lwaki? Baajeemera Katonda n’alubagobamu. Bwe kityo, bo n’abaana baabwe baafiirwa olusuku olwo. (Lub. 3:23, 24) Wadde ng’olusuku olwo lwali lugobeddwamu abantu, kirabika lwasigalawo okutuuka mu kiseera ky’Amataba agaaliwo mu kiseera kya Nuuwa.
6 Naye abantu abamu basobola okwebuuza nti, ‘Olusuku lwa Katonda luliddawo ku nsi abantu ne balubeeramu?’ Obukakafu bulaga ki? Bw’oba osuubira okubeera mu lusuku lwa Katonda awamu n’abaagalwa bo, olina w’osinziira okukakasa nti Olusuku olwo lujja kubaawo? Osobola okunnyonnyola abalala ensonga lwaki okkiriza nti Olusuku olwo lujja kubaawo?
EBIRAGA NTI OLUSUKU LWA KATONDA LUJJA KUBAAWO
7, 8. (a) Kiki Katonda kye yasuubiza Ibulayimu? (b) Ekisuubizo kya Katonda ekyo kiyinza kuba nga kyaleetera Ibulayimu kulowooza ku ki?
7 Mu kitabo ekyaluŋŋamizibwa Oyo eyassaawo Olusuku olwasooka, mwe tusobola okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo. Lowooza ku ekyo Katonda kye yagamba mukwano gwe Ibulayimu. Katonda yagamba nti yandyazizza ezzadde lya Ibulayimu ne liba “ng’omusenyu oguli ku lubalama lw’ennyanja.” Era Katonda yamusuubiza nti: “Amawanga gonna ag’oku nsi galyefunira omukisa okuyitira mu zzadde lyo olw’okuba owulirizza eddoboozi lyange.” (Lub. 22:17, 18) Ekisuubizo ekyo Katonda yaddamu n’akibuulira mutabani wa Ibulayimu ne muzzukulu we.—Soma Olubereberye 26:4; 28:14.
8 Mu Bayibuli tewali kiraga nti Ibulayimu yali asuubira nti omukisa ogwo abantu bajja kugufunira mu lusuku lwa Katonda olw’omu ggulu. N’olwekyo Katonda bwe yagamba nti “amawanga gonna ag’oku nsi” galifuna omukisa, Ibulayimu ateekwa okuba nga yalowooza ku mikisa abantu gye bandibadde bafunira ku nsi. Ekisuubizo ekyo kyava eri Katonda, era kyalaga nti ekiseera kyandituuse “amawanga gonna ag’oku nsi” ne gabeera mu mbeera ennungi. Waliwo ebintu ebirala ebyaliwo mu bantu ba Katonda ebikakasa ekyo?
9, 10. Bisuubizo ki ebirala ebyaleetera abantu okusuubira nti wajja kubaawo olusuku lwa Katonda?
9 Katonda yaluŋŋamya Dawudi, omu ku bazzukulu ba Ibulayimu, okwogera ku kiseera eky’omu maaso “ababi” ‘n’aboonoonyi’ lwe baliggibwawo ne baba nga ‘tebakyaliwo.’ (Zab. 37:1, 2, 10) Era yagamba nti “abawombeefu balisikira ensi, era baliba basanyufu nnyo kubanga walibaawo emirembe mingi.” Ate era Dawudi yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti: “Abatuukirivu balisikira ensi, era baligibeeramu emirembe gyonna.” (Zab. 37:11, 29; 2 Sam. 23:2) Olowooza ebyawandiikibwa ebyo byakwatanga bitya ku bantu abaali baagala okukola Katonda by’ayagala? Baakiraba nti bwe kiba nti ekiseera kyandituuse ensi n’ebaako bantu batuukirivu bokka, oluvannyuma lw’ekiseera yandifuuse ng’olusuku Edeni.
10 Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, Abayisirayiri bangi abaali beetwala okuba nti basinza Yakuwa baamuvaako ne balekera awo okumusinza mu ngeri gy’asiima. N’olwekyo, Katonda yaleka Abababulooni ne bawamba abantu be, ne boonoona ensi yaabwe, era bangi ku Bayisirayiri ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse. (2 Byom. 36:15-21; Yer. 4:22-27) Wadde kyali kityo, bannabbi ba Katonda baalagula nti oluvannyuma lw’emyaka 70, abantu be bandikomezeddwawo mu nsi yaabwe. Obunnabbi obwo bwatuukirizibwa. Naye era naffe bulina kye butuyigiriza. Nga twekenneenya obumu ku bunnabbi obwo, lowooza ku nsonga enkulu gye twogerako ekwata ku lusuku lwa Katonda olugenda okujja.
11. Obunnabbi obuli mu Isaaya 11:6-9 bwatuukirizibwa butya, naye kibuuzo ki kye twetaaga okufuna eky’okuddamu?
11 Soma Isaaya 11:6-9. Okuyitira mu nnabbi Isaaya, Katonda yagamba nti abantu be bwe bandikomyewo mu nsi yaabwe tewandibaddewo kintu kyonna kibatuusaako kabi, era tebanditidde nti bandituusiddwako obulabe ensolo oba abantu abalinga ensolo. Bonna, abato n’abakulu, bandibadde mu mirembe. Ekyo tekikuleetera kulowooza ku mbeera efaananako eyo eyali mu lusuku Edeni? (Is. 51:3) Obunnabbi obwo era bwalaga nti ensi yonna, so si Isirayiri yokka, ‘yandijjudde okumanya Yakuwa ng’amazzi bwe gajjula ennyanja.’ Ekyo kinaabaawo ddi?
12. (a) Abo abaakomawo okuva mu buwaŋŋanguse e Babulooni baafuna mikisa ki? (b) Kiki ekiraga nti obunnabbi obuli mu Isaaya 35:5-10 bujja kutuukirizibwa ne mu biseera eby’omu maaso?
12 Soma Isaaya 35:5-10. Isaaya era yeeyongera okukikkaatiriza nti Abayisirayiri abandizzeeyo ku butaka ensolo oba abantu tebyandibatuusizzaako kabi. Ensi yaabwe yandibadde ebala nnyo, olw’okuba yandibaddemu amazzi agamala, nga bwe kyali mu lusuku Edeni. (Lub. 2:10-14; Yer. 31:12) Obunnabbi obwo bwandikomye awo okutuukirira? Weetegereze nti obunnabbi obwo era bwagamba nti abazibe b’amaaso, abalema, ne bakiggala bandibadde bawonyezebwa. Naye ekyo tekyatuukirira ku Bayisirayiri abo abaakomezebwawo okuva mu buwaŋŋanguse. N’olwekyo Katonda yali alaga nti okuwonyezebwa ng’okwo kwali kwa kubaawo mu biseera bya mu maaso.
13, 14. Abo abaava mu buwaŋŋanguse baalaba batya okutuukirizibwa kwa Isaaya 65:21-23, naye biki ebirala ebiri mu bunnabbi obwo ebitannatuukirira? (Laba ekifaananyi ku lupapula 3.)
13 Soma Isaaya 65:21-23. Abayudaaya bwe baddayo ku butaka tebaasanga mayumba malungi, era tebaasanga nnimiro na nsuku za mizabbibu. Naye embeera eyo yakyuka Katonda bwe yabawa emikisa. Nga bateekwa okuba nga baasanyuka nnyo bwe baazimba amayumba ne bagabeeramu era ne basimba emmere ne bagirya!
14 Okusinziira ku bunnabbi obwo, ennaku zaffe zijja kuba “ng’ennaku z’omuti.” Emiti egimu giwangaala emyaka nkumi na nkumi. Abantu okusobola okuwangaala ng’emiti egyo, baba balina okuba nga balamu bulungi. Era bwe baba mu mbeera ennungi nga Isaaya ze yayogerako, kiba kitegeeza nti baba mu lusuku lwa Katonda! Obunnabbi obwo bujja kutuukirizibwa!
15. Mu bufunze mikisa ki egyogerwako mu kitabo kya Isaaya?
15 Lowooza ku ngeri obunnabbi obwo bwe tulabye waggulu gye bulagamu nti wajja kubaawo olusuku lwa Katonda mu biseera eby’omu maaso. Katonda ajja kuwa abantu mu nsi yonna omukisa. Tewali n’omu ajja kutuusibwako kabi nsolo oba bantu abalinga ensolo. Abazibe b’amaaso, bakiggala, n’abalema bajja kuwonyezebwa. Abantu bajja kwezimbira amayumba era bajja kulima emmere. Bajja kuwangaala n’okusinga emiti. Bayibuli etukakasa nti ebintu ebyo bijja kubaawo mu biseera eby’omu maaso. Naye abantu abamu be tusanga nga tubuulira bayinza okugamba nti obunnabbi obwo tebutegeeza nti wajja kubaawo olusuku lwa Katonda ku nsi. Ggwe olowooza otya? Biki ebikukakasa nti olusuku lwa Katonda lujja kubaawo ku nsi? Yesu kennyini atukakasa nti lujja kubaawo.
OJJA KUBA MU LUSUKU LWA KATONDA!
16, 17. Mbeera ki Yesu mwe yayogerera ku lusuku lwa Katonda?
16 Wadde nga Yesu teyalina musango, yawanikibwa ku muti awamu n’abamenyi b’amateeka babiri, omu ku ludda olwa kkono n’omulala ku ludda lwa ddyo. Omu ku bamenyi b’amateeka abo bwe yali tannaffa yakyoleka nti yali akkiriza nti Yesu kabaka era n’amugamba nti: “Yesu, onzijukiranga ng’otuuse mu Bwakabaka bwo.” (Luk. 23:39-42) Ekyo Yesu kye yaddamu omusajja oyo, ekisangibwa mu Lukka 23:43, kikwata ku biseera byo eby’omu maaso. Abamu ku bavvuunuzi bavvuunula bwe bati olunyiriri olwo: “Mazima nkugamba nti, leero onooba nange mu lusuku lwa Katonda.” Weetegereze ekigambo “leero.” Kiki Yesu kye yali ategeeza bwe yakozesa ekigambo “leero”? Abantu balina endowooza za njawulo ku ekyo Yesu kye yali ategeeza.
17 Naye ekyebuuzibwa kiri nti, Yesu yagamba nti, “Mazima nkugamba nti, leero onooba nange mu lusuku lwa Katonda”? oba yagamba nti, “Mazima nkugamba leero nti, oliba nange mu Lusuku lwa Katonda”? Abavvuunuzi bavvuunula olunyiriri olwo okusinziira ku ekyo kye balowooza nti Yesu kye yali ategeeza.
18, 19. Tuyinza tutya okuyamba omuntu okutegeera ekyo Yesu kye yali ategeeza?
18 Kijjukire nti emabegako Yesu yali agambye abagoberezi be nti: “Omwana w’omuntu ajja kumala ennaku ssatu mu ttaka, emisana n’ekiro.” Era yagamba nti: “Omwana w’omuntu agenda kuliibwamu olukwe aweebweyo mu mikono gy’abantu, era bamutte, naye ku lunaku olw’okusatu azuukizibwe.” (Mat. 12:40; 16:21; 17:22, 23; Mak. 10:34) Omutume Peetero yagamba nti ekyo kyabaawo. (Bik. 10:39, 40) N’olwekyo, Yesu talina lusuku lwonna lwe yagendamu n’omumenyi w’amateeka ku lunaku lwe baafa. Yesu yali “magombe” okumala ennaku, okutuusa Katonda lwe yamuzuukiza.—Bik. 2:31, 32.a
19 N’olwekyo kyeyoleka kaati nti Yesu bwe yali asuubiza omumenyi w’amateeka, ekisuubizo ekyo yakyanjula n’ebigambo bino: “Mazima nkugamba leero nti.” Enjogera eyo yakozesebwanga nnyo ne mu kiseera kya Musa. Ng’ekyokulabirako, Musa yagamba nti: “Ebigambo bino bye nkulagira leero binaabanga ku mutima gwo.”—Ma. 6:6; 7:11; 8:1, 19; 30:15.
20. Biki ebirala ebikakasa nti engeri gye tutegeeramu ebigambo Yesu bye yayogera ntuufu?
20 Omu ku bavvuunuzi ba Bayibuli ow’omu nsi za Buwalabu yayogera bw’ati ku bigambo bya Yesu ebyo: “Mu lunyiriri olwo, essira liri ku kigambo ‘leero’ era lulina kugamba bwe luti, ‘Mazima nkugamba leero nti, oliba nange mu Lusuku lwa Katonda.’ Ekisuubizo ekyo kyakolebwa ku olwo era kyali kya kutuukirizibwa mu biseera eby’omu maaso. Abantu b’omu nsi ezo balina enjogera eyo era bagikozesa okulaga nti ekisuubizo ekiba kikoleddwa ku lunaku olumu, ddala kijja kutuukirizibwa.” Mu Bayibuli y’Olusuuli eyavvuunulwa mu kyasa eky’okutaano, olunyiriri olwo lusoma bwe luti: “Amiina, nkugamba leero nti ojja kuba nange mu Lusuku Edeni.” Ekisuubizo ekyo ffenna kituzzaamu nnyo amaanyi.
21. Omumenyi w’amateeka yagenda mu ggulu? Nnyonnyola.
21 Omumenyi w’amateeka oyo yali takimanyi nti Yesu yakola endagaano n’abatume be abeesigwa okufuga nabo mu ggulu. (Luk. 22:29) Ate era omumenyi w’amateeka oyo yali tabatizibwanga. (Yok. 3:3-6, 12) N’olwekyo, olusuku Yesu lwe yamusuubiza lwali lwa ku nsi. Nga wayise emyaka, omutume Pawulo yayogera ku kwolesebwa okw’omusajja “eyakwakkulibwa n’atwalibwa mu lusuku lwa Katonda.” (2 Kol. 12:1-4) Wadde nga Pawulo n’abatume abalala abeesigwa bo baalondebwa okufugira awamu ne Yesu mu ggulu, Pawulo yayogera ku “lusuku lwa Katonda” olugenda okubaawo mu biseera eby’omu maaso.b Olusuku olwo lwandibadde ku nsi? Onoobaayo?
BY’OSAANIDDE OKUSUUBIRA
22, 23. Biki by’osaanidde okusuubira?
22 Kijjukire nti Dawudi yayogera ku kiseera ‘abatuukirivu lwe balisikira ensi.’ (Zab. 37:29; 2 Peet. 3:13) Dawudi yali ayogera ku kiseera abantu bonna ku nsi lwe baliba nga batambulira mu makubo ga Katonda ag’obutuukirivu. Obunnabbi obuli mu Isaaya 65:22 bugamba nti: “Ennaku z’abantu bange ziriba ng’ennaku z’omuti.” Ekyo kiraga nti abantu bajja kuwangaala okumala enkumi n’enkumi z’emyaka. Ekyo okisuubira? Osaanidde okukisuubira kubanga Okubikkulirwa 21:1-4, walaga nti Katonda ajja kudduukirira abantu, era ekimu ku bintu by’asuubizza okuggirawo abantu abanaabeera mu nsi empya kwe kufa.
23 Kati ensonga tugiraba bulungi. Adamu ne Kaawa baafiirwa Olusuku lwa Katonda, naye ekiseera kijja kutuuka Olusuku olwo luddewo. Nga Katonda bwe yasuubiza, abantu ku nsi bajja kuweebwa omukisa. Ng’aluŋŋamizibwa Katonda, Dawudi yagamba nti abantu abawombeefu era abatuukirivu bajja kusikira ensi bagibeereko emirembe gyonna. Obunnabbi obuli mu kitabo kya Isaaya busaanidde okutuleetera okwesunga embeera ennungi ezijja mu maaso. Ebintu ebyo byonna binaabaawo ddi? Bijja kubaawo ng’ekyo Yesu kye yasuubiza omumenyi w’amateeka kituukiridde. Naawe osobola okubeera mu Lusuku lwa Katonda. Mu kiseera ekyo ebigambo bino ebyayogerwa ab’oluganda mu Korea bijja kutuukirira: “Tulabagane mu Lusuku lwa Katonda!”
a Profesa C. Marvin Pate yagamba nti: “Abantu abamu balowooza nti ekigambo leero kitegeeza kiseera kya ssaawa abiri mu nnya. Naye obuzibu bw’endowooza eyo buli nti eyawukana n’ebyawandiikibwa ebirala ebiri mu Bayibuli ebiraga nti Yesu bwe yafa yasooka ‘kukka’ magombe (Mat. 12:40; Bik. 2:31; Bar. 10:7) oluvannyuma n’agenda mu ggulu.”
b Laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu magazini eno.