Okufuna Essanyu mu Buweereza Obutukuvu
1 Baakomawo nga balina “essanyu.” Baibuli eraga enneewulira abayigirizwa 70 gye baalina nga bakomyewo eri Yesu, oluvannyuma lw’olugendo lw’okubuulira okw’amaanyi. Baawulira essanyu munda yaabwe olw’okukola Katonda by’ayagala. (Luk. 10:17) Kiki ekiyinza okukuyamba okufuna essanyu erifaananako bwe lityo mu buweereza obutukuvu?
2 Endowooza Entuufu: Olina enkizo eyakuweebwa Katonda ey’okutegeeza abantu ekigendererwa kya Yakuwa eky’ekitalo. Okuyitira mu kubuulira kwo, oyinza okuyamba abantu okwetakkuluza ku bikolwa by’ensi eno ebiweebuula era n’eddiini ez’obulimba. Oyinza okutegeeza abantu ku ssuubi ery’obulamu mu nsi etalibaamu bukuubagano obutwetoolodde leero. Lowooza ku ssanyu Yakuwa ly’afuna ng’osize ensigo z’amazima mu mutima ogusiima. Beera n’endowooza entuufu ng’osaba omwoyo gwa Katonda okukuwa ekibala ky’essanyu nga wenyigira mu buweereza n’omutima gwo gwonna.
3 Okutendekebwa okw’Omuganyulo: Obulagirizi Yesu bwe yawa abayigirizwa 70 bufaananyizibwa n’Olukuŋŋaana lw’Obuweereza. Yabatendeka basobole okutuukiriza obuweereza bwabwe mu ngeri ematiza. (Luk. 10:1-16) Leero Olukuŋŋaana lw’Obuweereza lukutendeka mu ngeri z’okutuukiriramu abantu, okutandika emboozi, okufuna b’oyigiriza Baibuli era n’engeri y’okubayigirizaamu. Bw’oteekamu amaanyi era n’olongoosa engeri gy’obuuliramu, wandikizuula nti okutya kwonna oba okwewulira nti tosobola by’oyinza okuba nga walina mu kusooka bijja kukendeera era mu kifo kyabyo ofune okwekakasa n’essanyu.
4 Lowooza ku Biseera eby’Omu Maaso: Yesu yafuna essanyu mu buweereza bwe obutukuvu wadde nga yabonyaabonyezebwa. Lwaki? Kubanga amaaso ge yagasimba ku mikisa n’enkizo ebyali bimulindiridde mu maaso. (Beb. 12:2) Oyinza okukola kye kimu ng’ossa ebirowoozo byo n’omutima gwo ku linnya lya Yakuwa n’emikisa egijja okubaawo mu nsi empya eya Katonda. Kino kijja kukuwa essanyu n’amakulu mu buweereza bwo.
5 Okwenyigira mu buweereza bwa Yakuwa obutukuvu ye nkizo esingirayo ddala obukulu gy’oyinza okufuna leero. N’olwekyo, k’ogambe nti: “Nsanyuka okukola by’oyagala, ai Katonda wange.”—Zab. 40:8.