Akasanduuko K’ebibuuzo
◼ Abaaniriza bayinza batya okuyamba abazadde okulabirira obulungi abaana baabwe nga bali mu nkuŋŋaana?
Mu mbeera eza bulijjo, abaana bakaluubirirwa okutuula mu kifo ekimu okumala ebbanga ddene. Oluvannyuma lw’olukuŋŋaana bayinza okutandika okuddukadduka era n’okugobagana mu Kingdom Hall oba mu bifo ebirala ebikuŋŋaaniddwamu, mu kifo emmotoka we zisimba, oba ku mabbali g’oluguudo. Kyokka, ng’olugero bwe lugamba, “Omwana gwe balekera awo akwasa nnyina ensonyi.”—Nge. 29:15.
Eky’ennaku, abamu ku baganda baffe ne bannyinaffe abakaddiye baatuusibwako ebisago olw’abaana okubatomera ne bagwa wansi. Kino kivuddemu okubonaabona okutandibaddewo era ne kiviirako abazadde n’ekibiina okusaasaanya ssente. Olw’obukuumi bwabwe era n’obw’abalala, abaana tebasaanidde kukkirizibwa kuddukira na kuzannyira munda oba wabweru wa Kingdom Hall.
Abazadde balina obuvunaanyizibwa obw’omu Byawandiikibwa okutendeka abaana baabwe okussa ekitiibwa mu bifo bye tusinzizaamu. (Mub. 5:1a) Mu nkuŋŋaana zaffe ez’Ekikristaayo ennene n’entono, abaaniriza bateekebwawo okulaba nti ‘byonna bikolebwa nga bwe kisaana’ era nti wabaawo ‘enkola ennuŋŋamu.’ (1 Kol. 14:40; Bak. 2:5, NW) Bateekwa okubeera obulindaala nga programu tennatandika, ng’etandise era ng’ewedde, munda ne wabweru. Singa omwana atandika okuddukadduka oba okukola eddalu, ayaniriza ayinza okukoma ku mwana oyo mu ngeri ey’eggonjebwa, era n’okumunnyonnyola lwaki ebikolwa ng’ebyo tebisiimibwa. Omuzadde w’omwana naye asaanidde okutegeezebwa mu ngeri ennungi ekibaddewo era n’obwetaavu bw’okulabirira omwana we. Omuzadde yandikoze ekyetaagibwa.
Kyo kitegeerekeka nti ebiseera ebimu abaana abawere n’abo abakyali abato bayinza okukaabakaaba oba okutabulatabula mu nkuŋŋaana. Abaaniriza, bwe batuuka ng’ekyabulayo eddakiika nga 20 programu okutandika, bayinza okulekawo ebifo ebisembayo emabega ne bikozesebwa abazadde abandyagadde okutuula awo n’abaana baabwe abato. Ffe abasigadde twandigoberedde enteekateeka eyo ne tubalekera ebifo ebyo.
Singa omwana atandika okutabulatabula, omuzadde yandibaddeko ky’akolawo. Singa omuzadde tabaako ky’akolawo era omwana ne yeeyongera okutabulatabula, ayaniriza asaanidde okusaba omuzadde okufulumya omwana wabweru. Bwe tuyita abappya abalina abaana abato okujja mu nkuŋŋaana, tusaanidde okutuula nabo era ne tubayambako ng’abaana baabwe bakaabakaaba oba nga batabulatabula mu ngeri endala.
Kituwa essanyu okulaba abaana ab’emyaka egy’enjawulo ku Kingdom Hall era n’enneeyisa yaabwe ennungi mu nnyumba ya Katonda. (1 Tim. 3:15) Bwe bassa ekitiibwa mu nteekateeka ya Yakuwa ey’okusinza, bamuweesa ekitiibwa era basiimibwa bonna mu kibiina.