Tya Yakuwa Olunaku Lwonna
1 “Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera.” (Zab. 111:10) Kutuleetera okukola ebikolwa ebirungi era kutuyamba okwewala ekibi. (Nge. 16:6) Okutya kuno kwe kussaamu Omutonzi ekitiibwa eky’amaanyi, ne kitukubiriza okwewala okumunyiiza n’okumujeemera. Kye kintu kye tulina okukulaakulanya n’okwoleka olunaku lwonna.—Nge. 8:13.
2 Buli lunaku, omwoyo oguli mu nsi ya Setaani gutupikiriza tutuukane n’amakubo gaayo amabi. (Bef. 6:11, 12) Omubiri gwaffe ogutatuukiridde mwonoonyi era bulijjo gwekubira eri ekibi. (Bag. 5:17) N’olwekyo, okugondera amateeka ga Yakuwa, okubeera abasanyufu, era n’okufuna obulamu, tulina okumutya olunaku lwonna.—Ma. 10:12, 13.
3 Mu Abaebbulaniya 10:24, 25, tukubirizibwa okukuŋŋaana awamu tusobole okuziŋŋanamu amaanyi ‘n’okusingira ddala kati’ mu nnaku zino ze tulimu. Okubeerawo mu nkuŋŋaana obutayosa kikulu nnyo bwe tuba ab’okuwonawo mu nnaku zino ez’enkomerero. Okutya okunyiiza Katonda kutuleetera okubeerawo mu nkuŋŋaana era n’okutwala ekigendererwa kyazo nga eky’omuwendo ennyo. Abo abatya Katonda okwenyigira mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo bakitwala ng’enkizo entukuvu.
4 Okugondera ekiragiro ky’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka y’engeri endala mwe twolekera okutya kwaffe eri Katonda. (Mat. 28:19, 20; Bik. 10:42) Ekigendererwa ekikulu eky’okubuulira kwaffe, kwe kuyamba abalala okukulaakulanya okutya Yakuwa era n’okukola by’ayagala. Kino tukituukiriza nga tukola okuddiŋŋana, nga tufuba okuyigiriza abantu Baibuli awaka, era n’okuyigiriza abalala amateeka ga Katonda gonna. Mu ngeri eyo tuba twoleka okutya kwaffe eri Yakuwa n’okwagala eri muliraanwa.—Mat. 22:37-39.
5 Abo abatatya Katonda balemererwa okukulaakulanya endowooza y’okusiima ebintu eby’omwoyo, era batwalirizibwa omwoyo gw’ensi ogw’akabi, oba endowooza yaayo. (Bef. 2:2) Ka tubeere bamalirivu ‘okwenyigira mu buweereza obutukuvu eri Katonda n’okutya n’okumussaamu ekitiibwa.’ (Beb. 12:28, NW) Mu ngeri eyo tujja kukungula emikisa gy’abo abatya Yakuwa olunaku lwonna.