Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Maayi 18
WIIKI ETANDIKA MAAYI 18
Oluyimba 50 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 24 ¶18-21, akas. ku lup. 249 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: 2 Samwiri 9-12 (Ddak. 8)
Na. 1: 2 Samwiri 10:13–11:4 (Ddak. 3 oba obutawera)
Na. 2: Abantu Basobola Okuweebwa Ekitiibwa, Naye Katonda Yekka y’Alina Okusinzibwa—td-28B (Ddak. 5)
Na. 3: Ssuubi Ki Lye Tulina Erikwata ku Bafu?—nwt-E lup. 23 ¶1-3 (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Omulamwa gw’Omwezi Guno: Yamba abantu aba buli ngeri okutegeerera ddala amazima.—1 Tim. 2:3, 4.
Ddak. 10: Engeri Pawulo Gye Yayambamu Abayonaani Okutegeerera Ddala Amazima. Kukubaganya birowoozo. Musome Ebikolwa 17:22-31. Mwogere ku ngeri ennyiriri ezo gye ziyinza okutuyamba mu buweereza.
Ddak. 20: Yakuwa Ajja Kukuyamba Okuba Omuvumu. Kukubaganya birowoozo. Bateereko vidiyo Yakuwa Ajja Kukuyamba Okuba Omuvumu. (Genda ku jw.org, awali ebigambo EBITABO > VIDIYO.) Saba abawuliriza boogere ku ebyo bye tuyiga mu vidiyo eno. Saba ababuulizi abakyasoma boogere ku engeri vidiyo eno gye yabayambamu okufuna obuvumu okubuulira bayizi bannaabwe oba abasomesa baabwe. Laga ekyokulabirako ekyaliyo ng’omu ku babuulizi abo abuulira ku ssomero. Bwe muba temuulabe vidiyo eno, tegeka nga bukyali okubuuza ebibuuzo ababuulizi abawerako abakyasoma, abafuba okubuulira ku ssomero. Baafuna batya obuvumu ne basobola okubuulira nga bali ku ssomero? Bajjukize nti okusaba kwayamba Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka okwogera Ekigambo kya Katonda n’Obuvumu.—Bik. 4:31; laba Omunaala gw’Omukuumi, ogwa Febwali 15, 2010, olupapula 5 n’ogwa Febwali 15, 2015, olupapula 12, akatundu 7-9.
Oluyimba 60 n’Okusaba