OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Ebisobola Okukuyamba Okuba Omunyiikivu mu Kwesomesa
Wandyagadde okusigala ng’oli mwesigwa eri Yakuwa ne mu mbeera enzibu nga Danyeri bwe yali? Danyeri yali munyiikivu mu kusoma Ekigambo kya Katonda, nga mw’otwalidde n’obunnabbi. (Dan 9:2) Bw’oba omunyiikivu mu kwesomesa, kisobola okukuyamba okusigala ng’oli mwesigwa ne mu mbeera enzibu. Okwesomesa kusobola okukuyamba okunyweza okukkiriza kwo, n’oba mukakafu nti ebisuubizo bya Yakuwa bijja kutuukirira. (Yos 23:14) Ate era kusobola okukuyamba okweyongera okwagala Yakuwa, ekyo ne kikuleetera okwagala okukola ebimusanyusa. (Zb 97:10) Naye oyinza kukikola otya? Ka tulabe.
Nsome ku ki? Enteekateeka ennungi ey’okwesomesa ezingiramu okutegeka enkuŋŋaana. Oganyulwa nnyo mu nteekateeka y’okusoma Bayibuli okwa buli wiiki bw’ofuba okunoonyereza ku bintu by’oba totegedde. Abamu bakozesa ekiseera eky’okwesomesa okunoonyereza ku bunnabbi, okusoma ku ngeri eziri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu, ku ŋŋendo z’omutume Pawulo ez’obuminsani, oba ku bitonde bya Yakuwa. Bw’oba weesomesa n’obaako kye weebuuza ku ebyo by’osoma, kiwandiike ky’oba osomako ku mulundi oguddako.
Eby’okukozesa mu kwesomesa mbiggye wa? Laba vidiyo erina omutwe, Ebintu Ebituyamba Okuzuula eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo omanye ebimu ku ebyo by’oyinza okukozesa. Bw’oba oyagala okulaba oba ng’otegeera bulungi engeri y’okubikozesaamu, bikozese ozuule obufuzi kirimaanyi obukiikirirwa ensolo ezoogerwako mu Danyeri essuula 7.
Nkozese biseera byenkana wa okwesomesa? Kikulu okwesomesa obutayosa bwe tuba twagala okuba abanywevu mu by’omwoyo. Mu kusooka oyinza okukozesa ebiseera bitonotono, oluvannyuma n’ogenda ng’obyongerako. Okwesomesa kiringa okusima eky’obugagga eky’omu ttaka. Gy’okoma okuzuula eky’obugagga ekyo, gy’okoma okwagala okweyongera okusima. (Nge 2:3-6) Bw’onookola bw’otyo, ojja kweyongera okwagala Ekigambo kya Katonda, era okwesomesa kifuuke kintu kya bulijjo gy’oli.—1Pe 2:2.
ENSOLO MU DANYERI ESSUULA 7 ZIKIIKIRIRA KI?
EKIBUUZO EKIRALA:
Ebiri mu Danyeri 7:8, 24 byatuukirizibwa bitya?
KY’ONODDAKO OKUKOLA:
Ensolo ezoogerwako mu Okubikkulirwa essuula 13 zikiikirira ki?