Ddala Bayibuli Esobola Okunnyamba Okuba n’Amaka Agalimu Essanyu?
Bayibuli ky’egamba
Yee. Gano ge gamu ku magezi ageesigamiziddwa ku Bayibuli agayambye abasajja n’abakazi bukadde na bukadde okufuna essanyu mu maka gaabwe:
Muwandiise obufumbo bwammwe. Obufumbo obuwandiise mu mateeka bubaamu essanyu kubanga muba mweyamye okuba mwembi obulamu bwammwe bwonna.—Matayo 19:4-6.
Mwagalane nnyo era muwaŋŋane ekitiibwa. Kino kizingiramu okuyisa omwami wo oba mukyala wo nga bwe wandyagadde akuyise.—Matayo 7:12; Abeefeso 5:25, 33.
Mwewale ebigambo ebirumya. Munno ne bw’aba akoze ekintu ekikunyiiza, yogera mu ngeri ey’ekisa. (Abeefeso 4:31, 32) Mu Engero 15:1, Bayibuli egamba nti: “Okuddamu n’eggonjebwa kukkakkanya ekiruyi, naye ekigambo eky’ekkayu kireeta obusungu.”
Buli omu abe mwesigwa eri munne. Weewale obwenzi era omukwano gwo gukuumire munno yekka. (Matayo 5:28) Bayibuli egamba nti: “Obufumbo bubeerenga bwa kitiibwa eri bonna, era ekitanda ky’abafumbo kibeerenga kirongoofu.”—Abebbulaniya 13:4.
Mutendeke abaana bammwe nga mubalaga okwagala. Weewale okubakuza ekyejo, naye era toba mukambwe nnyo gye bali.—Engero 29:15; Abakkolosaayi 3:21.