ZABBULI
EBIRIMU
-
Yakuwa Mulamuzi mutuukirivu
“Nnamula, Ai Yakuwa” (8)
-
Yakuwa asituka okubaako ky’akolawo
Ebigambo bya Katonda birongoofu (6)
-
Obulokozi bwa kabaka Katonda gwe yafukako amafuta
Abamu beesiga magaali na mbalaasi, “naye ffe tukoowoola linnya lya Yakuwa” (7)
-
Kabaka ow’ekitiibwa ayingira mu miryango
Yakuwa ye nnannyini nsi (1)
-
Essaala y’omuwandiisi wa zabbuli ewulirwa
“Yakuwa ge maanyi gange era ye ngabo yange” (7)
-
Essanyu lidda mu kifo ky’okukaaba
Katonda alaga omuntu ekisa obulamu bwe bwonna (5)
-
Essaala y’oyo ali wakati mu balabe
“Katonda ye muyambi wange” (4)
-
Waliwo Katonda alamula ensi
Okusaba ababi babonerezebwe (6-8)
-
Katonda munaala omugumu ogutuwonya abalabe
“Nja kubeeranga mu weema yo” (4)
-
Okuwonyezebwa enkwe ezisalibwa mu kyama
“Katonda ajja kubalasa” (7)
-
Okusaba okudduukirirwa mu bwangu
“Nziruukirira mu bwangu” (5)
-
Katonda alamula na bwenkanya
Ababi bajja kunywa ku kikopo kya Yakuwa (8)
-
Sayuuni, ekibuga kya Katonda ow’amazima
Abo abaazaalibwa mu Sayuuni (4-6)
-
Yakuwa, Omulokozi era Omulamuzi omutuukirivu
Obulokozi bwa Yakuwa bumanyisibwa (2, 3)
-
Amawanga gonna gakoowoolwa okutendereza Yakuwa
Okwagala kwa Katonda okutajjulukuka kungi nnyo (2)
-
Okusiima ekigambo kya Katonda eky’omuwendo
‘Abavubuka bayinza batya okukuuma ekkubo lyabwe nga ddongoofu?’ (9)
“Njagala nnyo by’otujjukiza” (24)
“Amateeka go nga ngaagala nnyo!” 97)
“Ntegeera okusinga abayigiriza bange bonna” (99)
“Ekigambo kyo ye ttaala emulisiza ebigere byange” (105)
“Amazima gwe mulamwa gw’ekigambo kyo” (160)
Abo abaagala amateeka ga Katonda balina emirembe (165)
-
Alumbibwa naye tawangulwa
Abatayagala Sayuuni bakwatibwa ensonyi (5)
-
Okuba omumativu ng’omwana eyaakava ku mabeere
Obutaluubirira bintu bikulu (1)
-
Okutendereza Katonda ekiro
“Muyimuse emikono gyammwe mu butukuvu” (2)