Essuula Esooka
Engeri gy’Okwatibwako Ekitabo kya Danyeri
1, 2. (a) Mbeera ki ezitali za bulijjo ezoogerwako mu kitabo kya Danyeri eky’omu Baibuli? (b) Mu biseera byaffe, bibuuzo ki ebibuuzibwa ku kitabo kya Danyeri?
KABAKA ow’amaanyi atiisatiisa okutta abasajja be abagezigezi olw’okuba tebasobola kumubuulira kirooto kye n’amakulu gaakyo. Abavubuka basatu abagaana okusinza ekifaananyi ekinene ennyo basuulibwa mu kikoomi ky’omuliro, naye ne bawonawo. Nga bali ku mbaga, ebikumi n’ebikumi by’abantu balaba omukono nga guwandiika ebigambo ebitategeerekeka ku kisenge ky’olubiri. Abantu ababi beekobaana ne baleetera omusajja omukadde okusuulibwa mu bunnya bw’empologoma, naye avaayo nga taliiko kamogo. Nnabbi wa Katonda alaba ensolo nnya mu kwolesebwa, era amakulu gaazo ag’obunnabbi gatuukira ddala mu biseera eby’ewala ennyo mu maaso.
2 Bino bye bimu ku ebyo ebiri mu kitabo kya Danyeri eky’omu Baibuli. Bigwana okwekenneenyezebwa? Ekitabo kino ekikadde ennyo kiyinza kuba na makulu ki mu kiseera kyaffe? Lwaki tusaanidde okufaayo ku bintu ebyaliwo emyaka nga 2,600 egiyise?
DANYERI, EKITABO EKY’EDDA EKIKWATA KU BISEERA BYAFFE
3, 4. Lwaki abantu bangi beeraliikirira ebiseera eby’omu maaso?
3 Ekitundu kinene eky’ekitabo kya Danyeri kyogera ku bufuzi bw’ensi, ensonga enkulu ennyo leero. Kumpi buli muntu akikkiriza nti tuli mu biseera ebizibu. Buli lunaku, amawulire agafuluma gatulaga nti abantu beeyongera okufuna ebizibu eby’amaanyi ennyo, wadde nga wabaddewo okukulaakulana okw’amaanyi mu sayansi ne tekinologiya.
4 Lowooza ku kino: Abantu bagenze ku mwezi, naye mu bifo bingi ku nsi tebayinza kutambula mu nguudo nga tebalina kye batya. Bayinza okujjuza amayumba gaabwe n’ebikozesebwa ebiri ku mulembe, naye tebayinza kukomya kusasika kw’amaka. Era basobozesezza abantu okumanya ebintu bingi, naye tebasobola kuyigiriza bantu kubeera wamu mu mirembe. Hugh Thomas, profesa mu byafaayo, lumu yawandiika: “Okumanya n’obuyigirize biyambye kitono abantu ku bikwata ku kwefuga, ate era kitono nnyo n’okusingawo ku bikwata ku nkolagana ne bantu bannaabwe.”
5. Mu kutwalira awamu, biki ebibaddewo mu bufuzi bw’abantu?
5 Nga bagezaako okuteekawo enteekateeka ennuŋŋamu mu bantu, abantu bakoze gavumenti ezitali zimu. Kyokka, tewali n’emu eyawukanye ku ekyo Kabaka Sulemaani kye yagamba: “Omuntu abadde n’obuyinza ku munne olw’okumukola obubi.” (Omubuulizi 4:1; 8:9, NW) Kyo kituufu, abafuzi abamu babadde n’ebiruubirirwa ebirungi. Wadde kibadde kityo, tewali kabaka, prezidenti, oba nnaakyemalira asobola okumalawo obulwadde n’okufa. Tewali muntu ayinza kufuula nsi Olusuku lwa Katonda, nga Katonda bwe yali ateeseteese.
6. Lwaki Yakuwa teyeetaaga buwagizi bw’obufuzi bw’abantu okusobola okutuukiriza by’ayagala?
6 Kyokka, Omutonzi ayagala okukola ebintu bino era alina n’obusobozi bw’okubikola. Teyeetaaga kufuna lukusa okuva eri gavumenti z’abantu okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye, kubanga gy’ali “amawanga gali ng’ettondo eriri mu nsuwa, era babalibwa ng’effufugge eriri mu minzaani.” (Isaaya 40:15) Yee, Yakuwa ye Mufuzi ow’Oku Ntikko ow’obutonde bwonna. Bwe kityo, alina obuyinza bwa waggulu nnyo okusinga gavumenti z’abantu. Obwakabaka bwa Katonda bwe bujja okudda mu kifo kya gavumenti z’abantu zonna, kiganyule olulyo lw’omuntu emirembe gyonna. Oboolyawo tewali walala kino we kitangaazibwako ennyo okusinga mu kitabo kya Danyeri eky’omu Baibuli.
KATONDA YAYAGALA NNYO DANYERI
7. Danyeri yali ani, era Yakuwa yamutwala atya?
7 Yakuwa Katonda yayagala nnyo Danyeri, eyaweereza nga nnabbi we okumala emyaka mingi. Era malayika wa Katonda yayogera ku Danyeri ‘ng’omuntu omwagalwa ennyo.’ (Danyeri 9:23) Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa nti ‘omwagalwa ennyo’ kiyinza okutegeeza “ow’omuwendo ennyo,” era “omuganzi.” Danyeri yali wa muwendo nnyo mu maaso ga Katonda.
8. Kyajja kitya Danyeri okubeera mu Babulooni?
8 Ka twekenneenye mu bufunze embeera ez’enjawulo nnabbi ono omwagalwa ze yalimu. Mu 618 B.C.E., Kabaka Nebukadduneeza owa Babulooni yazingiza Yerusaalemi. (Danyeri 1:1) Nga wayiseewo ekiseera kitono, abavubuka abamu Abayudaaya abayigirize baatwalibwa mu buwaŋŋanguse e Babulooni. Danyeri yali omu ku bo. Mu kiseera ekyo, oboolyawo yali mu myaka gy’obutiini.
9. Kutendekebwa ki okwaweebwa Danyeri ne banne Abebbulaniya?
9 Danyeri ne banne, Kananiya, Misayeri, ne Azaliya be bamu ku Bebbulaniya abaalondebwa okutendekebwa okumala emyaka esatu mu ‘magezi g’Abakaludaaya n’olulimi lwabwe.’ (Danyeri 1:3, 4) Abeekenneenya abamu bagamba nti kuno tekwali kuyigirizibwa lulimi kyokka. Ng’ekyokulabirako, Profesa C. F. Keil agamba nti: “Danyeri ne banne baali ba kuyigirizibwa mu magezi ga bakabona Abakaludaaya n’abantu abayivu, agaayigirizibwanga mu masomero ga Babulooni.” Bwe kityo, Danyeri ne banne baali batendekebwa mu ngeri ey’enjawulo okuweereza mu gavumenti.
10, 11. Kusoomooza ki Danyeri ne banne kwe baayolekagana nakwo, era buyambi ki Yakuwa bwe yabawa?
10 Ng’eno yali nkyukakyuka nnene nnyo eri Danyeri ne banne! Mu Yuda baabeeranga wamu n’abasinza ba Yakuwa. Kati baali beetooloddwa abantu abasinza bakatonda abatategeerekeka. Wadde kyali kityo, Danyeri, Kananiya, Misayeri, ne Azaliya tebaaterebuka. Nga bali mu mbeera eno egezesa okukkiriza, baali bamalirivu okunywerera ku kusinza okw’amazima.
11 Kino tekyandibadde kyangu. Kabaka Nebukadduneeza yali asinza Maruduki, katonda omukulu owa Babulooni. Ebiseera ebimu ebiragiro bya kabaka ono byabanga tebisobola kugobererwa musinza wa Yakuwa. (Ng’ekyokulabirako, laba Danyeri 3:1-7.) Naye, Danyeri ne banne baalinanga obulagirizi bwa Yakuwa. Mu myaka esatu gye baamala nga batendekebwa, Katonda yabawa “okumanya n’okutegeera mu kuyiga kwonna n’amagezi.” Ate era, Danyeri yaweebwa obusobozi bw’okutegeera amakulu g’okwolesebwa n’ebirooto. Oluvannyuma kabaka bwe yeekenneenya abavubuka bano abana, yabalaba nga “basinga emirundi kkumi abasawo, n’abafumu bonna abaali mu bwakabaka bwe bwonna.”—Danyeri 1:17, 20.
OKULANGIRIRA OBUBAKA BWA KATONDA
12. Mulimu ki ogw’enjawulo Danyeri gwe yalina?
12 Mu myaka gyonna gye yamala e Babulooni, Danyeri yaweereza ng’omubaka wa Katonda eri abantu nga Kabaka Nebukadduneeza ne Berusazza. Omulimu gwa Danyeri gwali mukulu nnyo. Yakuwa yali akozesezza Nebukadduneeza okuzikiriza Yerusaalemi. Oluvannyuma lw’ekiseera, Babulooni nakyo kyali kya kuzikirizibwa. Mazima ddala, ekitabo kya Danyeri kigulumiza Yakuwa Katonda ng’oyo ali Waggulu Ennyo era Omufuzi mu “bwakabaka bw’abantu.”—Danyeri 4:17.
13, 14. Kiki ekyatuuka ku Danyeri oluvannyuma lw’okugwa kwa Babulooni?
13 Danyeri yeeyongera okuweereza mu bwakabaka okumala emyaka nga nsanvu, okutuuka ku kugwa kwa Babulooni. Yasobola okulaba Abayudaaya bangi nga baddayo ku butaka mu 537 B.C.E., wadde nga Baibuli tetubuulira obanga yabawerekerako. Yali akyaweereza n’okutuukira ddala mu mwaka ogw’okusatu ogw’obufuzi bwa Kabaka Kuulo, eyatandikawo Obwakabaka bwa Buperusi. Mu kiseera ekyo, Danyeri ateekwa okuba yalina emyaka nga 100!
14 Oluvannyuma lw’okugwa kwa Babulooni, Danyeri yawandiika ebintu ebikulu ennyo ebyaliwo mu bulamu bwe. Bye yawandiika kitundu kikulu ekya Baibuli era bimanyiddwa ng’ekitabo kya Danyeri. Naye lwaki tusaanidde okussaayo omwoyo ku kitabo kino eky’edda ennyo?
EBITUNDU BIBIRI, OBUBAKA BUMU
15. (a) Bitundu ki ebibiri ebiri mu kitabo kya Danyeri eky’omu Baibuli? (b) Ebyaliwo ebittottolwa mu Danyeri bituganyula bitya?
15 Ekitabo kya Danyeri kirimu ebitundu bibiri ebyawukana. Ekitundu ekimu kittottola byaliwo, ate ekirala kya bunnabbi. Ebitundu byombi eby’ekitabo kya Danyeri bisobola okuzimba okukkiriza kwaffe. Bitya? Ebyaliwo ebittottolwa, nga bino bye bimu ku bisingayo okuwa kalonda omungi mu Baibuli, biraga nti Yakuwa Katonda awa omukisa era alabirira abo abakuuma obugolokofu bwabwe. Danyeri ne banne abasatu baasigala banywevu wadde nga baayolekagana n’ebigezo ebyateeka obulamu bwabwe mu kabi. Leero, bonna abaagala okunywerera ku Yakuwa bayinza okuzzibwamu amaanyi nga beekenneenya ekyokulabirako kyabwe.
16. Kya kuyiga ki kye tufuna mu bitundu eby’obunnabbi ebiri mu Danyeri?
16 Ebitundu eby’obunnabbi mu Danyeri bizimba okukkiriza nga biraga nti Yakuwa amanya ebinaabaawo ng’ekyabulayo ebikumi n’ebikumi by’emyaka—yee, enkumi n’enkumi z’emyaka. Ng’ekyokulabirako, Danyeri awa kalonda akwata ku kuyimuka n’okugwa kw’obufuzi kirimaanyi okuva mu kiseera kya Babulooni eky’edda okutuukira ddala mu ‘kiseera eky’enkomerero.’ (Danyeri 12:4) Danyeri atulaga Obwakabaka bwa Katonda obukulemberwa Kabaka, Katonda gw’ataddewo ne “abatukuvu” banne. Abwogerako nga gavumenti ejja okubaawo emirembe gyonna. Gavumenti eno ejja kutuukiriza mu bujjuvu ekigendererwa kya Yakuwa eri ensi kwe tuli era ejja kuleeta emikisa eri bonna abaagala okuweereza Katonda.—Danyeri 2:44; 7:13, 14, 22.
17, 18. (a) Okukkiriza kwaffe kunaanywezebwa kutya nga twekenneenya ekitabo kya Danyeri? (b) Nsonga ki eyeetaaga okwogerwako nga tetunnasoma kitabo kino eky’obunnabbi?
17 Eky’essanyu, Yakuwa teyeesigaliza yekka kumanya okukwata ku biseera eby’omu maaso. Wabula, “[A]bikkula ebyama.” (Danyeri 2:28) Nga twekenneenya okutuukirizibwa kw’obunnabbi obuli mu kitabo kya Danyeri, okukkiriza kwaffe mu bisuubizo bya Katonda kujja kunywezebwa. Tujja kweyongera okuba abakakafu ddala nti Katonda ajja kutuukiriza ekigendererwa kye mu kiseera kyennyini ekituufu era mu ngeri yennyini gy’ayagala.
18 Bonna abasoma ekitabo kya Danyeri eky’omu Baibuli nga balina omutima ogusiima, okukkiriza kwabwe kujja kweyongera. Kyokka, nga tetunnatandika kwekkaanya mu bujjuvu ebiri mu kitabo kino, twetaaga okwekenneenya obujulizi okukakasa obanga ekitabo kino ddala kya mazima. Abamu bavumiridde ekitabo kya Danyeri nga bagamba nti obunnabbi obukirimu bwawandiikibwa ebintu ebibutuukiriza bimaze kubaawo. Ebyogerwa abantu abo abakibuusabuusa bituufu? Essuula eddako ejja kwogera ku nsonga eno.
BIKI BY’OTEGEDDE?
• Lwaki Danyeri kitabo ekikwata ku biseera byaffe?
• Danyeri ne banne baatuuka batya okuweereza mu gavumenti ya Babulooni?
• Danyeri yalina mulimu ki ogw’enjawulo mu Babulooni?
• Lwaki tusaanidde okussaayo omwoyo ku bunnabbi bwa Danyeri?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]