Essuula Ey’ekkumi N’omwenda
Weeyongere Okubuulira Ekigambo kya Katonda n’Obuvumu
1. (a) Mawulire ki amalungi abayigirizwa ba Yesu ge baalangirira, naye Abayudaaya abamu baakola ki? (b) Bibuuzo ki bye tuyinza okwebuuza?
EMYAKA nga 2,000 egiyise, Omwana wa Katonda, Yesu Kristo, yafukibwako amafuta okubeera Kabaka w’ensi yonna mu biseera eby’omu maaso. Bannaddiini abalabe ba Yesu, be baamuleetera okuttibwa, naye Yakuwa yamuzuukiza okuva mu bafu. Okuyitira mu Yesu, kati kyali kisoboka okufuna obulamu obutaggwaawo. Kyokka, abayigirizwa ba Yesu bwe baalangirira amawulire gano amalungi mu lujjudde, baayigganyizibwa. Abamu baasibibwa mu makomera, ne bakubibwa, era ne balagirwa okulekera awo okwogera ku Yesu. (Ebikolwa 4:1-3, 17; 5:17, 18, 40) Bandikoze ki? Ggwe wandikoze ki? Wandyeyongedde okuwa obujulirwa n’obuvumu?
2. (a) Mawulire ki amalungi agalina okulangirirwa mu kiseera kyaffe? (b) Baani abalina obuvunaanyizibwa okubuulira amawulire amalungi?
2 Mu 1914, Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, Yesu Kristo, yatuuzibwa ku ntebe mu ggulu okufugira ‘wakati mu balabe be.’ (Zabbuli 110:2) Oluvannyuma, Setaani ne balubaale be baasuulibwa ku nsi. (Okubikkulirwa 12:1-5, 7-12) Ennaku ez’enkomerero ez’embeera zino embi zaali zitandise. Ekiseera ekyo bwe kiriggwaako, Katonda aliggyawo enteekateeka ya Setaani yonna. (Danyeri 2:44; Matayo 24:21) Abaliwonawo baliba n’essuubi ery’okubeera abalamu emirembe gyonna mu lusuku lwa Katonda ku nsi. Bw’oba okkirizza amawulire ago amalungi, wandigabuuliddeko abalala. (Matayo 24:14) Naye abantu wandibasuubidde kugatwala batya?
3. (a) Abantu batwala batya obubaka bw’Obwakabaka? (b) Bibuuzo ki bye tulina okwebuuza?
3 Bw’olangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka, abamu bajja kugasanyukira, naye abasinga obungi tebajja kwefiirayo. (Matayo 24:37-39) Abamu bayinza okukusekerera oba okukuziyiza. Yesu yalabula nti okuziyizibwa kuyinza okuva eri ab’eŋŋanda zo. (Lukka 21:16-19) Era kuyinza okubaawo gy’okolera oba ku ssomero. Mu bitundu ebimu eby’ensi, Abajulirwa ba Yakuwa baawerebwa. Ng’oyolekaganye n’embeera ng’ezo, oneeyongera okubuulira Ekigambo kya Katonda n’obuvumu era ‘n’onywera mu kukkiriza’?—1 Abakkolinso 16:13.
Tetwesiga Maanyi Gaffe
4. (a) Kiki ekyetaagisa bwe tuba ab’okubeera abaweereza ba Katonda abeesigwa? (b) Lwaki enkuŋŋaana z’Ekikristaayo nkulu nnyo?
4 Kikulu nnyo okweyambisa enteekateeka Yakuwa z’atuteereddewo bwe tuba ab’okubeera abaweereza be abeesigwa. Emu ku nteekateeka ezo, ze nkuŋŋaana. Ebyawandiikibwa bitukubiriza obutaziragajjalira. (Abaebbulaniya 10:23-25) Abo abasigadde nga Bajulirwa ba Yakuwa abeesigwa, bafubye okukuŋŋaananga wamu ne basinza bannaabwe. Mu nkuŋŋaana zino, tweyongera okutegeera Ebyawandiikibwa. Era tweyongera okutegeera amazima n’engeri gye tuyinza okugeeyambisaamu. Tweyongera okuba obumu mu kusinza ne baganda baffe Abakristaayo era ne tumalirira okukola Katonda by’ayagala. Omwoyo gwa Yakuwa gutuwa obulagirizi okuyitira mu kibiina. Era okuyitira mu mwoyo ogwo, Yesu aba naffe.—Matayo 18:20; Okubikkulirwa 3:6.
5. Abajulirwa ba Yakuwa bwe bawerebwa, enkuŋŋaana zitegekebwa zitya?
5 Obaawo mu nkuŋŋaana zonna obutayosa era by’oyigayo obissa mu nkola? Emirundi egimu, ng’Abajulirwa ba Yakuwa bawereddwa, enkuŋŋaana zitegekebwa mu bubinja obutono mu maka g’ab’oluganda. Ebifo n’ebiseera we zibeererawo bikyukakyuka era biyinza obutayanguyira buli omu, ng’oluusi enkuŋŋaana ezimu zibaawo kiro nnyo. Naye, wadde nga tekibabeeredde kyangu oba nga kiteeka obulamu bwabwe mu kabi, ab’oluganda abeesigwa bafubye okubaawo mu buli lukuŋŋaana.
6. Tukiraga tutya nti twesiga Yakuwa, era ekyo kiyinza kitya okutuyamba okweyongera okubuulira n’obuvumu?
6 Obwesige bwe tulina mu Yakuwa bweyongera bwe tumutuukirira mu kusaba obutayosa, era ne tukitegeera nti twetaaga obuyambi bwe. Bw’otyo bw’okola? Yesu yasaba enfunda n’enfunda mu buweereza bwe obw’oku nsi. (Lukka 3:21; 6:12, 13; 22:39-44) Mu kiro ekyasembayo nga tannakomererwa, yakubiriza abayigirizwa be: “Mutunule, musabe, muleme okuyingira mu kukemebwa.” (Makko 14:38) Singa abantu tebafaayo ku bubaka bwaffe obw’Obwakabaka, tuyinza okuggwaamu amaanyi ne tuddirira mu buweereza bwaffe. Singa abantu batusekerera oba batuyigganya, tuyinza okulowooza ku kulekera awo okubuulira twewale ebizibu. Kyokka, singa tusaba mu bwesimbu omwoyo gwa Katonda okutuyamba okweyongera okubuulira n’obuvumu, tetujja kwekkiriranya mu ngeri eyo.—Lukka 11:13; Abeefeso 6:18-20.
Baabuulira n’Obuvumu
7. (a) Lwaki ebiri mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume bitukwatako ffenna? (b) Ddamu ebibuuzo ebiddirira, ng’oggumiza engeri gye tuyinza okuganyulwamu.
7 Ebiri mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume bitukwatako ffenna. Kitulaga engeri abatume n’abayigirizwa abaasooka, abantu nga ffe, gye bavvuunukamu ebizibu ne babeera Abajulirwa ba Yakuwa abavumu era abeesigwa. Ka twekenneenye ebimu ku ebyo ebyaliwo nga tweyambisa ebibuuzo n’ebyawandiikibwa ebiweereddwa wammanga. Nga tubyekenneenya, lowooza ku ngeri gy’oyinza okuganyulwa mu by’osoma.
Abatume baali bayivu nnyo? Mu butonde baali bantu abatatya, ka kibe ki ekibaawo? (Yokaana 18:17, 25-27; 20:19; Ebikolwa 4:13)
Kiki ekyasobozesa Peetero okwogera n’obuvumu eri olukiiko lw’Abayudaaya olwasalira Omwana wa Katonda omusango? (Matayo 10:19, 20; Ebikolwa 4:8)
Abatume baali bakola ki nga tebannaleetebwa mu maaso g’Olukiiko lw’Abayudaaya? (Ebikolwa 1:14; 2:1, 42)
Abafuzi bwe baalagira abatume okulekera awo okubuulira mu linnya lya Yesu, Peetero ne Yokaana baddamu ki? (Ebikolwa 4:19, 20)
Oluvannyuma lw’okusumululwa, abatume baasaba ani okubayamba? Baasaba okuyigganyizibwa kukome, nantiki? (Ebikolwa 4:24-31)
Abaziyiza bwe baagezaako okuyimiriza omulimu gw’okubuulira, Yakuwa yakozesa ki okubayamba? (Ebikolwa 5:17-20)
Abatume baalaga batya nti baali bategedde ensonga lwaki baali banunuddwa? (Ebikolwa 5:21, 41, 42)
Wadde abayigirizwa bangi baasaasaana olw’okuyigganyizibwa, beeyongera kukola ki? (Ebikolwa 8:3, 4; 11:19-21)
8. Bibala ki ebyava mu buweereza bw’abayigirizwa abaasooka, era twenyigidde tutya mu buweereza bwe bumu?
8 Omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi gwavaamu ebibala. Abayigirizwa nga 3,000 baabatizibwa ku Pentekoote 33 C.E. “Abakkiriza ne beeyongeranga okwegatta [ku] Mukama waffe, bangi abasajja n’abakazi.” (Ebikolwa 2:41; 4:4; 5:14) Ekiseera bwe kyayitawo, n’oyo eyayigganya ennyo abantu ba Katonda, Sawulo ow’e Taluso, naye yafuuka Omukristaayo era n’atandika okubuulira n’obuvumu. Oluvannyuma yamanyibwa ng’omutume Pawulo. (Abaggalatiya 1:22-24) Omulimu ogwatandika mu kyasa ekyasooka teguyimiriranga. Gweyongeddemu amaanyi mu nnaku zino ez’enkomerero era gubunye mu bitundu byonna eby’ensi. Tulina enkizo okugwenyigiramu. Era nga tukola ekyo, tuyinza okuyigira ku kyokulabirako ekyateekebwawo Abajulirwa abeesigwa abaatusookawo.
9. (a) Mikisa ki Pawulo gye yakozesa okuwa obujulirwa? (b) Ngeri ki z’okozesa okubuulira abalala ku Bwakabaka?
9 Pawulo bwe yayiga amazima agakwata ku Yesu Kristo, yakola ki? “Amangu ago n’abuulira [ebikwata ku] Yesu . . . ng’oyo ye Mwana wa Katonda.” (Ebikolwa 9:20) Yasiima ekisa Katonda kye yamulaga, era n’ategeera nti buli omu yali yeetaaga okuwulira amawulire amalungi ge yafuna. Pawulo yali Muyudaaya. Era ng’agoberera empisa eyaliwo, yagendanga mu kkuŋŋaaniro okuwa obujulirwa. Yabuuliranga n’okuva nnyumba ku nnyumba era n’akubaganya ebirowoozo n’abantu mu butale. Era yali mwetegefu okugenda mu bifo ebippya okusobola okubuulira amawulire amalungi.—Ebikolwa 17:17; 20:20; Abaruumi 15:23, 24.
10. (a) Pawulo yalaga atya nti wadde yali muvumu, yayolekanga amagezi ng’awa obujulirwa? (b) Tuyinza tutya okukoppa Pawulo nga tubuulira ab’eŋŋanda, be tukola nabo, oba be tusoma nabo?
10 Pawulo yayoleka obuvumu n’amagezi, era naffe bwe twandikoze. Abayudaaya yabasikiriza ng’abategeeza ku bisuubizo bya Katonda eri bajjajjaabwe. Ate yayogeranga eri Abayonaani ng’asinziira ku bintu bye baali bamanyi. Emirundi egimu, ng’awa obujulirwa, yakozesanga ebyamutuukako kennyini ng’ayiga amazima. Yagamba: “Nkola byonna olw’amawulire amalungi, nsobole okugabuulira abalala.”—1 Abakkolinso 9:20-23; Ebikolwa 22:3-21.
11. (a) Pawulo yakola ki okwewala okwaŋŋanga abamuziyiza? (b) Ddi lwe kiba eky’amagezi okukoppa ekyokulabirako kya Pawulo, era mu ngeri ki? (c) Amaanyi agatusobozesa okubuulira n’obuvumu gava wa?
11 Bwe kyabanga kyetaagisa okubuulira mu kifo ekirala olw’okuziyizibwa, ekyo Pawulo kye yakolanga mu kifo ky’okwaŋŋanga abaali bamuziyiza. (Ebikolwa 14:5-7; 18:5-7; Abaruumi 12:18) Naye teyakwatibwako nsonyi n’akamu olw’amawulire amalungi. (Abaruumi 1:16) Wadde Pawulo yasanganga abantu ab’amalala n’abakambwe abaamuyisanga obubi, ‘Katonda yamuwa obuvumu’ okusobola okweyongera okubuulira. Yagamba: “Mukama waffe yayimirira kumpi nange, n’ampa amaanyi; nze ndyoke ntuukirize kye mbuulira.” (1 Abasessalonika 2:2; 2 Timoseewo 4:17) Yesu, Omutwe gw’ekibiina Ekikristaayo, yeeyongera okutuwa amaanyi ge twetaaga okukola omulimu gwe yalagira okukolebwa mu kiseera kyaffe.—Makko 13:10.
12. Abakristaayo balaga batya obuvumu, era obuvumu obwo busibuka wa?
12 Tulina ensonga ennungi okweyongera okubuulira ekigambo kya Katonda n’obuvumu, nga Yesu n’abaweereza ba Katonda abeesigwa mu kyasa ekyasooka bwe baakola. Kino tekitegeeza nti tetujja kufaayo ku mbeera yaabwe oba okugezaako okubakaka okuwuliriza obubaka bwaffe. Naye tetulekulira olw’okuba abantu tebeefiirayo; era okuziyizibwa tekutusirisa. Okufaananako Yesu, tubuulira nti Obwakabaka bwa Katonda ye gavumenti yokka esaanidde okufuga ensi yonna. Twogera nga twekakasa kubanga tukiikirira Yakuwa, Omufuzi w’Obutonde Bwonna, era obubaka bwe tubuulira si bwaffe wabula buva eri ye. Era okwagala kwe tulina eri Yakuwa okusingira ddala kwe kwanditukubirizza okumutendereza.—Abafiripi 1:27, 28; 1 Abasessalonika 2:13.
Eby’Okwejjukanya
• Lwaki kikulu okubuulira buli omu Obwakabaka, naye abantu bayinza kubutwala batya?
• Tuyinza tutya okulaga nti tetwesiga maanyi gaffe okuweereza Yakuwa?
• Biki eby’omuwendo bye tuyiga mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 173]
Nga bwe kyali mu biseera ebyayita, abaweereza ba Yakuwa leero babuulira ekigambo kye n’obuvumu