ESSUULA 58
Addamu Okuliisa Abantu Emigaati era Alabula ku Kizimbulukusa
MATAYO 15:32–16:12 MAKKO 8:1-21
YESU ALIISA ABASAJJA 4,000
ALABULA KU KIZIMBULUKUSA KY’ABAFALISAAYO
Abantu bangi bazze eri Yesu ng’ali mu kitundu ky’e Dekapoli, ebuvanjuba bw’Ennyanja y’e Ggaliraaya. Bazze okumuwuliriza n’okuwonyezebwa, era bazze n’ebisero byabwe ebinene mwe baleetedde eby’okulya byabwe.
Kyokka ekiseera kituuka Yesu n’agamba abayigirizwa be nti: “Abantu bano mbasaasira, kubanga kati ziweze ennaku ssatu nga bali nange naye nga tebalina kya kulya; era bwe mbasiibula baddeyo ewaabwe nga tebalina kye balidde, bajja kugwa ku kkubo, kubanga abamu bava wala.” Abayigirizwa bamubuuza nti: “Mu kifo kino ekyesudde, omuntu anaggya wa emigaati egiyinza okukkusa abantu bano?”—Makko 8:2-4.
Yesu abaddamu nti: “Mulinawo emigaati emeka?” Abayigirizwa bamugamba nti: “Musanvu, era n’obwennyanja butono.” (Matayo 15:34) Yesu agamba abantu okutuula wansi. Akwata emigaati n’obwennyanja, n’asaba Katonda, n’abiwa abayigirizwa be babigabire abantu. Ekyewuunyisa, abantu bonna balya ne bakkuta. Obutundutundu obufikkawo bukuŋŋaanyizibwa ne bujjuza ebisero ebinene musanvu, wadde ng’abasajja 4,000 be balidde, nga tobaliddeeko bakazi na baana!
Oluvannyuma lwa Yesu okusiibula abantu, ye awamu n’abayigirizwa be balinnya eryato ne bagenda e Magadani, ebugwanjuba bw’Ennyanja y’e Ggaliraaya. Nga bali eyo, Abafalisaayo n’abamu ku b’akabiina k’Abasaddukaayo bagezesa Yesu nga bamugamba abalage akabonero okuva mu ggulu.
Yesu bw’ategeera ebiruubirirwa byabwe, abagamba nti: “Bwe buwungeera mutera okugamba nti, ‘Obudde bujja kuba bulungi olw’okuba eggulu limyuse,’ ate bwe bukya, mugamba nti, ‘Olwa leero obudde bujja kuba bunnyogovu era enkuba ejja kutonnya, kubanga eggulu limyuse era likutte ebire.’ Musobola okutunuulira eggulu ne mutegeera embeera y’obudde bw’eneebeera, naye bwe mulaba obubonero bw’ebiseera temusobola kutegeera makulu gaabwo.” (Matayo 16:2, 3) Oluvannyuma Yesu agamba Abafalisaayo n’Abasaddukaayo nti tebajja kuweebwa kabonero konna okuggyako aka Yona.
Yesu n’abayigirizwa be balinnya eryato ne bagenda e Besusayida. Bwe baba bagenda, abayigirizwa bakizuula nti beerabidde okutwala emigaati egimala. Balina omugaati gumu gwokka. Ng’alowooza ku ebyo ebibaddewo ng’ayogera n’Abafalisaayo awamu n’Abasaddukaayo abawagizi ba Kerode, Yesu alabula abayigirizwa be nti: “Mutunule; mwegendereze ekizimbulukusa ky’Abafalisaayo n’ekya Kerode.” Abayigirizwa be balowooza nti mu kwogera ku kizimbulukusa, ayogera ku ky’okuba nti beerabidde okutwala emigaati. Yesu bw’akiraba nti tebamutegedde, abagamba nti: “Lwaki mukaayana olw’okuba temulina migaati?”—Makko 8:15-17.
Ggye buvuddeko awo, Yesu yaliisa abantu bangi emigaati. N’olwekyo, abayigirizwa bandibadde bakitegeera nti tayogera ku migaati egya bulijjo. Yesu ababuuza nti: “Temujjukira? Bwe nnagabira abasajja 5,000 emigaati etaano, mwakuŋŋaanya ebisero by’obutundutundu bw’emigaati bimeka?” Bamuddamu nti: “Kkumi na bibiri.” Ate era Yesu abagamba nti: “Bwe nnagabira abasajja 4,000 emigaati omusanvu, mwakuŋŋaanya ebisero by’obutundutundu bw’emigaati bimeka?” Bamuddamu nti: “Musanvu.”—Makko 8:18-20.
Yesu ababuuza nti: “Lwaki temukitegeera nti mbadde soogera ku migaati?” Agattako nti: “Mwegendereze ekizimbulukusa ky’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo.”—Matayo 16:11.
Kya ddaaki, abayigirizwa bategeera ekyo Yesu ky’ategeeza. Ekizimbulukusa kireetera omugaati okuzimba. Ekizimbulukusa kikiikirira ekintu ekyonoona. Wano Yesu akikozesa mu ngeri ya kabonero okulabula abayigirizwa be okwekuuma “enjigiriza z’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo,” ezisobola okuboonoona.—Matayo 16:12.