ESSOMO 75
Sitaani Akema Yesu
Yesu bwe yamala okubatizibwa, omwoyo omutukuvu gwamutwala mu ddungu. Yesu teyalya kintu kyonna okumala ennaku 40, era enjala yamuluma nnyo. Sitaani Omulyolyomi yajja n’akema Yesu ng’agamba nti: “Bw’oba oli Mwana wa Katonda, gamba amayinja gano gafuuke emmere.” Naye Yesu yamuddamu ng’akozesa Ebyawandiikibwa, n’amugamba nti: ‘Kyawandiikibwa nti omuntu taba mulamu lwa mmere yokka, naye alina okuwuliriza buli kigambo Yakuwa ky’ayogera.’
Oluvannyuma Sitaani yagamba Yesu nti: ‘Bw’oba oli Mwana wa Katonda, buuka okuva ku kisenge kya yeekaalu, awasingayo okuba waggulu. Kubanga kyawandiikibwa nti Katonda ajja kutuma bamalayika bakusitulire mu mikono gyabwe.’ Naye era Yesu yamuddamu ng’akozesa Ebyawandiikibwa n’amugamba nti: ‘Kyawandiikibwa nti togezesanga Yakuwa.’
Oluvannyuma, Sitaani yalaga Yesu obwakabaka bwonna obw’omu nsi n’ekitiibwa kyabwo era n’amugamba nti: ‘Nja kukuwa obwakabaka obwo bwonna n’ekitiibwa kyabwo singa ovunnama n’onsinza omulundi gumu gwokka.’ Naye Yesu yamuddamu nti: ‘Vaawo genda Sitaani! Kyawandiikibwa nti Yakuwa yekka gw’olina okusinza.’
Awo Sitaani yaleka Yesu era bamalayika ne bajja ne bawa Yesu emmere. Oluvannyuma Yesu yatandika okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Ogwo gwe mulimu Yakuwa gwe yali amutumye okukola ku nsi. Abantu baayagala nnyo Yesu bye yayigirizanga era baamugobereranga yonna gye yagendanga.
“[Omulyolyomi] bw’ayogera obulimba aba ayogera ekituukagana n’ekyo ky’ali, kubanga mulimba era ye kitaawe w’obulimba.”—Yokaana 8:44