OLUYIMBA 75
“Nzuuno! Ntuma!”
1. Leero ’bantu bajolonga
Nnyo erinnya lya Katonda.
Abamu nti mukambwe nnyo;
Abalala nti “Taliiyo.”
Ani anaalitukuza?
Ani anaamutendanga?
(CHORUS 1)
‘Mukama wange, tuma nze.
Nze nnaakutenderezanga.
Teri nkizo esinga eyo.
Nze nzuuno! Ntuma, ntuma!’
2. ’Bantu bavuma Katonda
Nti aludde; tebamutya.
Basinza ebifaananyi;
Abamu ne Kayisaali.
Ani anaabalabula
Ku lutalo lwa Katonda?
(CHORUS 2)
‘Mukama wange, tuma nze.
Nze nja kubalabulanga.
Teri nkizo esinga eyo.
Nze nzuuno! Ntuma, ntuma!’
3. ’Bawombeefu banyiikadde
’Lw’ebibi ebyeyongedde.
N’emitima emyesigwa
Banoonyereza ’mazima.
Ani anaabayambanga
’Kituufu okukimanya?
(CHORUS 3)
‘Mukama wange, tuma nze.
Nze nja kubasomesanga.
Teri nkizo esinga eyo.
Nze nzuuno! Ntuma, ntuma!’
(Laba ne Zab. 10:4; Ezk. 9:4.)