Munoonye Yakuwa ng’Olunaku lw’Obusungu Bwe Terunnatuuka
“Munoonye Yakuwa . . . Munoonye obutuukirivu, munoonye obuwombeefu. Mpozzi mulikwekebwa ku lunaku olw’obusungu bwa Yakuwa.”—ZEFFANIYA 2:3, NW.
1. Yuda yali mu mbeera ki ey’eby’omwoyo Zeffaniya we yatandikira omulimu gwe ogw’obunnabbi?
ZEFFANIYA yatandika omulimu gwe nga nnabbi mu kiseera ekizibu ennyo mu byafaayo bya Yuda. Embeera ey’eby’omwoyo ey’eggwanga eryo yali mbi nnyo. Mu kifo ky’okussa obwesige bwabwe mu Yakuwa, abantu baali banoonya obulagirizi okuva eri bakabona abakaafiiri n’abantu abalaguza emmunyeenye. Okusinza Baali, awamu n’obulombolombo bw’okwaza ebirime, byali bicaase nnyo mu nsi. Abakulembeze b’abantu—abalangira, abakungu aba waggulu, n’abalamuzi—baali banyigiriza abantu be baali basuubirwa okukuuma. (Zeffaniya 1:9; 3:3) Tekyewuunyisa nti Yakuwa yasalawo ‘okugolola omukono gwe’ okuzikiriza Yuda ne Yerusaalemi!—Zeffaniya 1:4.
2. Abaweereza ba Katonda abeesigwa mu Yuda baalina ssuubi ki?
2 Kyokka, wadde ng’embeera yali mbi bw’etyo, waaliwo essuubi. Yosiya, mutabani wa Amoni, ye yali ku nnamulondo mu biseera ebyo. Wadde nga yali muvubuka muto, Yosiya yalina okwagala okwa nnamaddala eri Yakuwa. Singa kabaka ono omuppya yandizzizzaawo okusinza okw’amazima mu Yuda, nga kyandizzizzaamu nnyo amaanyi abantu abo abatonotono abaali baweereza Katonda ow’amazima n’obwesigwa! Osanga n’abalala kyandibaleetedde okubeegattako era nabo ne bawonyezebwa ku lunaku lw’obusungu bwa Yakuwa.
Ebyetaagisa Okuwonyezebwa
3, 4. Bintu ki ebisatu ebiteekwa okutuukirizibwa omuntu okusobola okuwonyezebwawo ku “lunaku olw’obusungu bwa Mukama”?
3 Ddala ddala abamu bandiwonyezeddwawo ku lunaku olw’obusungu bwa Yakuwa? Yee, singa baali batuukiriza ebintu ebisatu ebyetaagibwa ebyogerwako mu Zeffaniya 2: 2, 3, NW. Nga tusoma ennyiriri zino, ka twekkalirize ebisaanyizo ebyo. Zeffaniya yawandiika: “Etteeka nga terinnaba kuzaala, olunaku nga terunnayita ng’ebisusunku, ekiruyi kya Mukama nga tekinnabatuukako, olunaku olw’obusungu bwa Mukama, nga terunnabatuukako. Munoonye Mukama, mmwe mmwenna abawombeefu ab’omu nsi, abakola emisango gye; munoonye obutuukirivu, munoonye obuwombeefu: mpozzi mulikwekebwa ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama.”
4 N’olwekyo, okusobola okuwonyezebwawo, omuntu yalina (1) okunoonya Yakuwa, (2) okunoonya obutuukirivu, ne (3) okunoonya obuwombeefu. Ebintu bino ebyetaagibwa bitukwatako nnyo leero. Lwaki? Kubanga nga Yuda ne Yerusaalemi bwe byali byolekedde olunaku olw’okusalirako omusango mu kyasa eky’omusanvu B.C.E., amawanga ga Kristendomu—mu butuufu, ababi bonna—bagenda kwolekagana ne Yakuwa Katonda mu ‘kibonyoobonyo ekinene’ ekijja. (Matayo 24:21) Omuntu yenna ayagala okukwekebwa mu kiseera ekyo alina okubaako ky’akolawo kati. Atya? Ng’anoonya Yakuwa, ng’anoonya obutuukirivu, era ng’anoonya obuwombeefu ng’ekiseera tekinnaggwaayo!
5. Kiki ekitwalirwa mu ‘kunoonya Yakuwa’ leero?
5 Oyinza okugamba nti: ‘Ndi muweereza wa Katonda eyeewaddeyo era omubatize, omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Saamala dda okutuukiriza ebintu ebyo ebyetaagibwa?’ Mu butuufu, kitwalirwamu ekisingawo ku kwewaayo eri Yakuwa. Isiraeri lyali ggwanga eryewaddeyo, naye mu kiseera kya Zeffaniya abantu b’omu Yuda baali tebakyatuukiriza kwewaayo kwabwe okwo. N’ekyavaamu, eggwanga eryo lyalekebwa. ‘Okunoonya Yakuwa’ leero kitwaliramu okukulaakulanya n’okukuuma enkolagana ennungi naye, era n’okukolaganira awamu n’entegeka ye ey’oku nsi. Kitegeeza okumanya engeri Katonda gy’atunuuliramu ensonga era n’okufaayo ku nneewulira ye. Tuba tunoonya Yakuwa bwe tusoma Ekigambo kye n’obwegendereza, nga tukifumiitirizaako era nga tukozesa okubuulirirwa kwakyo mu bulamu bwaffe. Nga tweyongera okunoonya obulagirizi bwa Yakuwa mu kusaba era ne tugoberera obulagirizi bw’omwoyo gwe, enkolagana yaffe naye yeeyongera okunywera era tukubirizibwa okumuweereza ‘n’omitima gwaffe, n’emmeme yaffe, n’amaanyi gaffe gonna.’—Ekyamateeka 6:5; Abaggalatiya 5:22-25; Abafiripi 4:6, 7; Okubikkulirwa 4:11.
6. ‘Tunoonya tutya obutuukirivu,’ era lwaki kino kisoboka wadde ne mu nsi eno?
6 Ekintu eky’okubiri ekyetaagibwa ekyogeddwako mu Zeffaniya 2:3, kwe ‘kunoonya obutuukirivu.’ Abasinga obungi ku ffe twakola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwaffe okusobola okutuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa okw’Ekikristaayo. Naye, tuteekwa okweyongera okunywerera ku mitindo gya Katonda egy’empisa ez’obutuukirivu mu bulamu bwaffe bwonna. Abamu abaatandika obulungi mu nsonga eno bakkirizza ensi eno okuboonoona. Si kyangu okunoonya obutuukirivu, kubanga twetooloddwa abantu abatwala obukaba, okulimba, obukumpanya n’ebibi ebirala ng’ebintu ebitaliiko kikyamu kyonna. Naye okwagala okw’amaanyi okusanyusa Yakuwa kuyinza okuyamba okuziyiza engeri yonna ey’okwagala okusiimibwa ensi nga tugezaako okubeera ekitundu kyayo. Katonda yalekera awo okusiima Yuda olw’okuba yakoppa amawanga agaali gagiriraanye agatatya Katonda. Mu kifo ky’okukoppa ensi, ka ‘tukoppenga Katonda,’ nga tukulaakulanya “omuntu omuggya eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu butukuvu obw’amazima.”—Abaefeso 4:24; 5:1, NW.
7. Tunoonya tutya “obuwombeefu”?
7 Ensonga ey’okusatu eyogerwako mu Zeffaniya 2:3 eri nti, bwe tuba twagala okukwekebwa ku lunaku lw’obusugu bwa Yakuwa, tulina ‘okunoonya obuwombeefu.’ Buli lunaku, tusanga abasajja, abakazi, era n’abavubuka abatali bawombeefu n’akamu. Gye bali, okubeera omuwombeefu oba olina ekikubulako. Obuwulize butwalibwa ng’obunafu obw’amaanyi ennyo. Ba bboggo, beerowoozaako bokka, era bakalambirira ku ndowooza zaabwe. Nga kyandibadde kya nnaku nnyo singa tutwalirizibwa endowooza ng’ezo! Kino kye kiseera ‘okunoonya obuwombeefu.’ Mu ngeri ki? Nga tugondera Katonda, n’obuwombeefu nga tukkiriza okukangavvula kwe era nga tutuukagana ne ky’ayagala.
Lwaki Kigambibwa nti “Mpozzi” Mulikwekebwa?
8. Kitegeeza ki okukozesa ekigambo “mpozzi” mu Zeffaniya 2:3?
8 Weetegereze nti Zeffaniya 2:3 lugamba: “Mpozzi mulikwekebwa ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama.” Lwaki ekigambo “mpozzi” kikozesebwa ng’ayogera ku “bawombeefu ab’omu nsi”? Abawombeefu abo baalina ebirungi bye bali bamaze okukola, naye baali tebateekeddwa kwekakasa ekisukkiridde. Baali tebannatuuka ku nkomerero ya bulamu bwabwe. Kyali kiyinzika nti abamu ku bo bandigudde mu kibi. Bwe kityo bwe kiri gye tuli. Yesu yagamba: “Agumiikiriza okutuuka ku nkomerero, ye alirokolebwa.” (Matayo 24:13) Yee, okulokolebwa ku lunaku olw’obusungu bwa Yakuwa kwesigamye ku kuba nti tweyongera okukola ekituufu mu maaso ge. Ekyo ky’omaliridde okukola?
9. Bintu ki ebirungi ebyakolebwa Kabaka omuto Yosiya?
9 Kirabika nti mu kwanukula ebigambo bya Zeffaniya, Kabaka Yosiya kyamuleetera “okunoonya Yakuwa.” Ebyawandiikibwa bigamba: “Mu mwaka ogw’omunaana ogw’okufuga kwe, nga [Yosiya] akyali muto [ng’alina emyaka nga 16], n’atanula okunoonya Katonda wa Dawudi kitaawe.” (2 Ebyomumirembe 34:3) Yosiya era ‘yanoonyanga obutuukirivu,’ kubanga tusoma bwe tuti: “Mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri [Yosiya ng’alina emyaka nga 20] mwe yatanulira okulongoosa Yuda ne Yerusaalemi okumalamu ebifo ebigulumivu ne Baasera n’ebifaananyi ebyole n’ebifaananyi ebisaanuuse. Ne bamenyaamenyera ebyoto bya Babaali mu maaso ge.” (2 Ebyomumirembe 34:3, 4) Yosiya era ‘yanoonya obuwombeefu,’ mu bwetoowaze n’asanyusa Yakuwa ng’aggya mu nsi okusinza ebifaananyi n’ebikolwa ebirala eby’eddiini ez’obulimba. Abawombeefu abalala nga bateekwa okuba nga baasanyukira ebintu ebyo ebyaliwo!
10. Kiki ekyaliwo mu Yuda mu 607 B.C.E., naye baani abaawonyezebwawo?
10 Abayudaaya bangi baakomawo eri Yakuwa mu kiseera ky’obufuzi bwa Yosiya. Kyokka, oluvannyuma lw’okufa kwa kabaka oyo, bangi baddayo mu makubo gaabwe ag’edda—mu mize egitakkirizibwa Katonda n’akamu. Nga Yakuwa bwe yali agambye, Abababulooni baawamba Yuda era ne bazikiriza ekibuga kyakyo ekikulu, Yerusaalemi, mu 607 B.C.E. Naye, buli kimu tekyasaanawo. Nnabbi Yeremiya, Ebedumereki Omuwesiyopya, bazzukulu ba Yonadaabu, n’abalala abeesigwa eri Katonda baakwekebwa ‘ku lunaku olwo olw’obusungu bwa Yakuwa.—Yeremiya 35:18, 19; 39:11, 12, 15-18.
Abalabe ba Katonda—Mwetegereze!
11. Lwaki kisoomooza okusigala ng’oli mwesigwa eri Katonda leero, naye kiki abalabe b’abantu ba Yakuwa kye balina okulowoozaako?
11 Nga tulindirira olunaku lw’obusungu bwa Yakuwa ku mbeera y’ebintu eno embi, ‘tusanga okukemebwa okutali kumu.’ (Yakobo 1:2) Mu nsi nnyingi ezigamba nti zirimu eddembe ly’okusinza, abakulembeze b’amadiini bakozesezza enkolagana gye balina n’ab’obuyinza mu nsi ezo okuleetawo okuyigganyizibwa okw’amaanyi ku bantu ba Katonda. Abantu abatali beesimbu boogera ebya kalebule ku Bajulirwa ba Yakuwa, nga babayita “akadiinidiini ak’akabi.” Katonda amanyi ebikolwa byabwe—era tebajja kulema kubonerezebwa. Abalabe be basaanidde okulowooza ku ekyo ekyatuuka ku balabe b’abantu be ng’Abafirisuuti. Obunnabbi bugamba: “Gaza, kirirekebwawo, ne Asukulooni kiriba matongo: Asudodi balikigoba mu ttuntu, ne Ekuloni kirisimbulibwa.” Ebibuga by’Abafirisuuti, Gaza, Asukulooni, Asudodi, ne Ekuloni byali bya kuzikirizibwa.—Zeffaniya 2:4-7.
12. Kiki ekyatuuka ku Bufirisuuti, Mowaabu, ne Amoni?
12 Obunnabbi bweyongerayo: “Mpulidde okuvuma kwa Mowaabu n’okuyomba kw’abaana ba Amoni kwe bavumye abantu bange ne beegulumiriza ku nsalo yaabwe.” (Zeffaniya 2:8) Kituufu nti, Misiri ne Esiyopya zabonaabonera mu mikono gy’abamagye g’Abababulooni. Naye musango ki Katonda gwe yali asalidde Mowaabu ne Amoni, amawanga agaasibuka mu mwana wa muganda wa Ibulayimu Lutti? Yakuwa yalagula: “Mowaabu aliba nga Sodomu, n’abaana ba Amoni nga Ggomola.” Obutafaananako bajjajjaabwe—bawala ba Lutti ababiri, abaawonawo nga Sodomu ne Ggomola bizikirizibwa—Mowaabu eky’amalala ne Amoni tebyandikwekeddwa okuva ku musango Katonda gwe yali abasalidde. (Zeffaniya 2:9-12; Olubereberye 19:16, 23-26, 36-38) Eggwanga ly’Abafirisuuti, awamu n’ebibuga byalyo, biri ludda wa leero? Ate Mowaabu ne Amoni ebyali eby’amalala? Ne bw’obinoonya wonna wonna, tolina w’oyinza kubizuula.
13. Abeekenneenya ebikwata ku bantu eb’edda baazuula ki mu Nineeve?
13 Mu biseera bya Zeffaniya, Obwakabaka bwa Bwasuli bwali ku ntikko y’amaanyi gaabwo. Bwe yali ayogera ku kitundu ekimu eky’olubiri lwa kabaka kye yali azudde mu kifo awaali Nineeve, ekibuga ekikulu ekya Bwasuli, omu ku bakugu abeekenneenya ebikwata ku bantu eb’edda ayitibwa Austen Layard yawandiika: “Siiringi . . . zaali zaawuddwamu obutundutundu bwa nsonda nnya nnya, obusiigiddwako ebifaananyi eby’ebimuli, oba eby’ebisolo. Ezimu zaali ziyooyooteddwa n’amasanga, nga buli katundu katonaatoneddwa. Empagi eziwanirira akasolya, era n’ebisenge, biyinza okuba nga byali bitonaatoneddwa ne zaabu ne ffeeza; era embaawo ez’omuwendo ennyo era ez’ebbula, omwali n’omuvule, ze zaakozesebwa.” Naye, nga bwe kyalagulibwa mu bunnabbi bwa Zeffaniya, Bwasuuli kyali kya kuzikirizibwa n’ekibuga kyakyo, Nineeve, kyali kya kufuuka ‘matongo.’—Zeffaniya 2:13.
14. Obunnabbi bwa Zeffaniya bwatuukirizibwa butya ku Nineeve?
14 Nga wayiseewo emyaka 15 gyokka oluvannyuma lwa Zeffaniya okwogera obunnabbi obwo, Nineeve eky’amaanyi kyazikirizibwa, olubiri lwakyo ne lufuuka bifunfugu. Yee, ekibuga ekyo eky’amalala kyasaanyizibwawo. Engeri gye kyandifaananyemu oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kwakyo yalagulibwa mu bigambo bino: “Kimbala era ne nnamunungu banaasulanga ku mitwe gy’empagi zaakyo: eddoboozi lyabwe linaayimbiranga mu madirisa; okuzikirira kunaabanga mu miryango.” (Zeffaniya 2:14, 15) Ebizimbe by’omu Nineeve eby’ekitalo byandifuuse bisulo bya nnamunungu ne kimbala. Enguudo z’omu kibuga ekyo tezandizzeemu kuwulirwamu ddoboozi ly’abasuubuzi, kuyimba kw’abalwanyi, oba okuyimba kwa bakabona. Enguudo ezo ezaabanga zikubyeko abantu, mwandiwuliddwamu eddoboozi eritali lya bulijjo eriyimbira mu ddirisa, oboolyawo oluyimba olwoleka ennaku olw’ekinyonyi oba okuwuuma kw’empewo. Abalabe ba Katonda bonna ka bazikirizibwe ddala mu ngeri y’emu!
15. Kiki kye tuyinza okuyiga okuva ku ekyo ekyatuuka ku Bufirisuuti, Mowaabu, Amoni, ne Bwasuli?
15 Kiki kye tuyiga okuva ku ebyo ebyatuuka ku Bufirisuuti, Mowaabu, Amoni, ne Bwasuli? Kino: Ng’abaweereza ba Yakuwa, tetusaanidde kutya balabe baffe. Katonda alaba ekyo ekikolebwa abo abaziyiza abantu be. Yakuwa alina kye yakola abalabe be mu biseera ebyayita, era emisango gye gy’asaze gijja kutuukirizibwa ku nsi yonna etuuliddwamu leero. Naye wajja kubaawo abanaawonawo—‘ekibiina ekinene okuva mu mawanga gonna.’ (Okubikkulirwa 7:9) Oyinza okubeera omu ku bo—singa weeyongera okunoonya Yakuwa, okunoonya obutuukirivu, era n’okunoonya obuwombeefu.
Zisanze Abakozi b’Ebibi Abanyoomi
16. Obunnabbi bwa Zeffaniya bwayogera ki ku balangira n’abakulembeze b’eddiini ab’omu Yuda, era lwaki ebigambo bino bituukagana ne Kristendomu?
16 Obunnabbi bwa Zeffaniya ate bwogera ku Yuda ne Yerusaalemi. Zeffaniya 3:1, 2 wagamba: “Zikisanze ekijeemu ekyo era ekyonoonefu, ekibuga ekijooga! Tekyagondera ddoboozi; tekyakkiriza kubuulirirwa; tekyesiga Mukama; tekyasemberera Katonda waakyo.” Nga kyali kya nnaku nnyo nti okufuba kwa Yakuwa okukangavvula abantu be kwasuulibwa muguluka! Mazima ddala, ekyali kyennyamiza ennyo bwali bukambwe bw’abalangira, abakungu aba waggulu, era n’abalamuzi. Zeffaniya era yavumirira obugwenyufu bw’abakulembeze b’eddiini, ng’agamba: “Bannabbi baamu biwowongole [“banyoomi,” NW ], era ba nkwe: bakabona baakyo baayonoona ekifo ekitukuvu, bagiridde amateeka ekyejo.” (Zeffaniya 3:3, 4) Ng’ebigambo ebyo binnyonnyola bulungi nnyo embeera ya bannabbi ne bakabona ab’omu Kristendomu leero! Mu ngeri ey’obunyoomi, baggye erinnya lya Katonda mu nkyusa zaabwe eza Baibuli era bayigiriza enjigiriza ezivumaganya Oyo gwe bagamba nti gwe basinza.
17. Ka kibe nti abantu bawuliriza oba nedda, lwaki twandyeyongedde okulangirira amawulire amalungi?
17 Yakuwa yalabula abantu be ab’edda ku ekyo kye yali agenda okukola. Yatuma abaweereza be bannabbi—Zeffaniya ne Yeremiya, awamu n’abalala—okukubiriza abantu okwenenya. Yee, ‘Yakuwa talikola ebitali bya butuukirivu; buli nkya ayolesa omusango gwe, talekaayo.’ Biki ebyavaamu? ‘Naye atali mutuukirivu tamanyi kukwatibwa nsonyi,’ bw’atyo Zeffaniya bwe yagamba. (Zeffaniya 3:5) Okulabula okufaananako n’okwo kulangirirwa mu kiseera kino. Bw’oba oli mubuulizi w’amawulire amalungi, wenyigidde mu mulimu guno ogw’okulabula. Weeyongere okubuulira amawulire amalungi awatali kuddirira! Ka kibe nti abantu bawuliriza oba nedda, obuweereza bwo butuukiriza ekigendererwa kyabwo okusinziira ku ndowooza ya Katonda, kasita obeera ng’obwenyigiddemu n’obwesigwa. Tekikwetaagisa kukwatibwa nsonyi ng’okola omulimu gwa Katonda n’obunyikivu.
18. Zeffaniya 3:6 lunaatuukirizibwa lutya?
18 Okutuukirizibwa kw’omusango Katonda gw’asaze tekujja kukoma ku kuzikiriza Kristendomu kyokka. Yakuwa avunaana amawanga gonna ag’omu nsi omusango: “Mmazeewo amawanga, amakomera gaabwe galekeddwawo; nzisizza enguudo zaabwe, ne wataba ayitawo: ebibuga byabwe bizikiridde.” (Zeffaniya 3:6) Olw’okuba ebigambo bino byesigika, Yakuwa ayogera ku kuzikirizibwa okwo ng’okwamala edda okubaawo. Kiki ekyatuuka ku bibuga bya Mowaabu, Amoni, ne Bufirisuuti? Ate kyali kitya eri ekibuga kya Bwasuli ekikulu, Nineeve? Okuzikirizibwa kwabyo kyakulabirako ekirabula eri amawanga leero. Katonda tasekererwa.
Weeyongere Okunoonya Yakuwa
19. Bibuuzo ki ebikulu bye tuyinza okwebuuza?
19 Mu kiseera kya Zeffaniya, obusungu bwa Katonda bwasumululwa eri abo bonna abaali ‘boonoona ebikolwa byabwe.’ (Zeffaniya 3:7) Ekintu kye kimu kijja kubaawo mu kiseera kyaffe. Olaba obukakafu nti olunaku lwa Yakuwa luli kumpi? Weeyongera ‘okunoonya Yakuwa’ ng’osoma Ekigambo kye obutayosa—buli lunaku? ‘Onoonya obutuukirivu’ ng’obeera n’empisa ennungi ezituukagana n’emitindo gya Katonda mu bulamu bwo? Era ‘onoonya obuwombeefu,’ ng’ogondera Katonda n’enteekateeka ze ez’obulokozi?
20. Bibuuzo ki bye tujja okwekenneenya mu kitundu ekinaasembayo ekikwata ku bunnabbi bwa Zeffaniya?
20 Singa tweyongera okunoonya Yakuwa mu bwesigwa, obutuukirivu n’obuwombeefu, tuyinza okusuubira okunyumirwa emikisa mingi kaakano—yee, wadde ne mu zino “ennaku ez’oluvannyuma” ezigezesa okukkiriza kwaffe. (2 Timoseewo 3:1-5; Engero 10:22) Naye tuyinza okubuuza, ‘mu ngeri ki gye tuweebwamu emikisa ng’abaweereza ba Yakuwa ab’omu kiseera kino, era mikisa ki egy’omu biseera eby’omu maaso egiri mu bunnabbi bwa Zeffaniya eginaafunibwa abo abanaakwekebwa ku lunaku lw’obusungu bwa Yakuwa olujja amangu?’
Wandizzeemu Otya?
• Abantu ‘banoonya batya Yakuwa’?
• Kiki ekitwalirwa mu ‘kunoonya obutuukirivu’?
• Tuyinza tutya ‘okunoonya obuwombeefu’?
• Lwaki tulina okweyongera okunoonya Yakuwa, obutuukirivu, n’obuwombeefu?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Onoonya Yakuwa okuyitira mu kuyiga Baibuli n’okunyiikirira okusaba?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]
Olw’okuba beeyongera okunoonya Yakuwa, ab’ekibiina ekinene bajja kuwonawo ku lunaku lw’obusungu bwe