Okusobola Okufuna Empeera, Weefuge!
“Buli muntu eyeetaba mu mpaka yeefuga mu byonna.”—1 ABAKKOLINSO 9:25, NW.
1. Okusobola okutuukana ne Abaefeso 4:22-24, abantu bangi bakoze ki okusobola okuweereza Yakuwa?
BW’OBA wabatizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, wakyoleka mu lujjudde nti wali mwetegefu okwenyigira mu mpaka z’obulamu osobole okufuna empeera ey’obulamu obutaggwaawo. Wakkiriza okukola ekyo Yakuwa ky’ayagala. Nga tetunnaba kwewaayo eri Yakuwa, bangi ku ffe twalina okukola enkyukakyuka ez’amaanyi okwewaayo kwaffe kusobole okuba okw’amakulu era okukkirizibwa Katonda. Twagoberera okubuulirira kwa Pawulo eri Abakristaayo: ‘Mweyambuleko omuntu ow’edda, avunda olw’okwegomba okw’obulimba. Mwambale omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu butukuvu obw’amazima.’ (Abaefeso 4:22-24) Mu ngeri endala, nga tetunnaba kwewaayo eri Katonda, twasooka kulekayo empisa embi ez’emabega.
2, 3. Okusinziira ku 1 Abakkolinso 6:9-12 nkyukakyuka ki ez’emirundi ebiri ezirina okukolebwa okusobola okusiimibwa Katonda?
2 Ebikolwa ebimu eby’omuntu ow’edda abo abaagala okufuuka Abajulirwa ba Yakuwa bye balina okulekayo byebyo Ekigambo kya Katonda bye kivumirira. Ebimu Pawulo yabyogerako mu bbaluwa ye eri Abakkolinso, ng’agamba nti: “Newakubadde abakaba, newakubadde abasinza ebifaananyi, newakubadde abenzi, newakubadde abafuuka abakazi, newakubadde abalya ebisiyaga, newakubadde ababbi, newakubadde abeegombi, newakubadde abatamiivu, newakubadde abavumi, newakubadde abanyazi, tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.” Oluvannyuma yakiraga nti Abakristaayo abamu ab’omu kyasa ekyasooka baakola enkyukakyuka ezeetaagisa mu nneeyisa yaabwe ng’agamba: “Abamu ku mmwe mwali ng’abo.” Weetegereze bwe yagamba, mwali ng’abo so si nti muli ng’abo.—1 Abakkolinso 6:9-11.
3 Pawulo era yakiraga nti kiyinza okwetaagisa okukola enkyukakyuka endala bwe yagamba: ‘Byonna nzikirizibwa okubikola; naye byonna si bya muganyulo.’ (1 Abakkolinso 6:12) N’olwekyo, bangi leero abaagala okufuuka Abajulirwa ba Yakuwa balaba obwetaavu bw’okulekayo ebintu ebimu ebitalina mugaso oba eby’akaseera obuseera ne bwe biba nga bikkirizibwa. Ebintu ng’ebyo biyinza okuba nga bibatwalira obudde bungi era nga biyinza n’okubalemesa okuluubirira ebintu ebisinga obukulu.
4. Abakristaayo abeewaddeyo bakkiriziganya ku ki ne Pawulo?
4 Twewaayo kyeyagalire eri Katonda, nga tetwemulugunya n’akamu. Abakristaayo abeewaddeyo eri Katonda bakkiriziganya n’omutume Pawulo eyagamba oluvannyuma lw’okufuuka omugoberezi wa Kristo: “Ku bw’oyo [Yesu] nnafiirwa ebintu byonna, era mbirowooza okubeera mpitambi, ndyoke nfune amagoba ye Kristo.” (Abafiripi 3:8) Pawulo yeewala ebintu ebitalina nnyo mugaso asobole okweyongera okukola Katonda by’ayagala.
5. Mbiro ki Pawulo ze yenyigiramu n’atuuka ku buwanguzi, era naffe tuyinza tutya okukola kye kimu?
5 Pawulo yeefuga mu mbiro ez’eby’omwoyo era n’atuuka n’okugamba: “Nnwanye okulwana okulungi, olugendo ndutuusizza, okukkiriza nkukuumye: ekisigaddeyo, enterekeddwa engule ey’obutuukirivu, Mukama waffe gy’alimpeera ku lunaku luli, asala emisango egy’ensonga: so si nze nzekka, naye ne bonna abaagala okulabika kwe.” (2 Timoseewo 4:7, 8) Naffe ekiseera kirituuka ne twogera ebigambo ng’ebyo? Tujja kubyogera singa twefuga nga tudduka embiro ez’Ekikristaayo era ne tutalekulira okutuukira ddala ku nkomerero.
Okwefuga Kwetaagisa Okusobola Okukola Ekituufu
6. Okwefuga kye ki, era ngeri ki ez’emirundi ebiri mwe tuyinza okukwoleka?
6 Mu Baibuli, ekigambo ky’Olwebbulaniya n’eky’Oluyonaani ekivvuunulwa “okwefuga” kitegeeza nti omuntu aba n’obuyinza ku by’akola. Emirundi egisinga kirina amakulu ag’okweziyiza okukola ekibi. N’olwekyo, tulina okwefuga bwe tuba ab’okukola ebintu ebirungi. Mu butonde abantu abatatuukiridde baagala kukola kikyamu, n’olwekyo tulina okufuba kwa mirundi ebiri. (Omubuulizi 7:29; 8:11) Ng’oggyeko okuba nti twewala okukola ekikyamu, tuteekwa n’okwekubiriza okukola ekituufu. Mu butuufu, okufuga omubiri gwaffe okusobola okukola ekituufu y’emu ku ngeri ezisingayo obulungi ez’okwewalamu okukola ekikyamu.
7. (a) Okufaananako Dawudi, kiki kye twandisabye? (b) Biki bye tusaanidde okufumiitirizaako ebinaatuyamba okwefuga mu ngeri esingawo?
7 Kya lwatu, okwefuga kukulu nnyo bwe tuba ab’okutuukiriza okwewaayo kwaffe eri Katonda. Tulina okusaba nga Dawudi: “Ontondemu omutima omulongoofu, ai Katonda; onzizeemu omwoyo omulungi mu nda yange.” (Zabbuli 51:10) Tuyinza okufumiitiriza ku miganyulo egiva mu kwewala empisa embi. Lowooza ku kabi akayinza okuvaamu singa tetwewala mpisa ng’ezo: obulwadde, enkolagana yaffe n’abalala okugootaana, n’okufa. Ku luuyi olulala, lowooza ku miganyulo emingi egivaamu bwe tunywerera mu kkubo ery’obulamu Yakuwa ly’asiima. Kyokka, tetusaanidde kwerabira nti omutima gwaffe mulimba. (Yeremiya 17:9) Tusaanidde okubeera abamalirivu ne tutaleka mutima gwaffe kutulowoozesa nti si kikulu okunywerera ku misingi gya Yakuwa.
8. Bye tuyiseemu mu bulamu biraga ki? Waayo ekyokulabirako.
8 Okusinziira ku bye tuyiseemu bangi ku ffe tukimanyi nti emirundi mingi emibiri gyaffe eminafu gitulemesa okukola ekituufu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku kubuulira Obwakabaka. Yakuwa kimusanyusa nnyo abantu bwe beenyigira mu mulimu guno oguwonya obulamu kyeyagalire. (Zabbuli 110:3; Matayo 24:14) Kyokka, bangi ku ffe okuyiga okubuulira tekwali kumenya mu jjenje ekkalu. Kyali kyetaagisa—oboolyawo na kati kikyetaagisa—okufuga omubiri gwaffe, ne ‘tugutwala ng’omuddu,’ mu kifo ky’okuguleka okutusalirawo ekkubo eryangu.—1 Abakkolinso 9:16, 27; 1 Abasessaloniika 2:2.
‘Twefuge mu Byonna’?
9, 10. Kiki ekizingirwa mu ‘kwefuga mu bintu byonna’?
9 Baibuli okutukubiriza ‘okwefuga mu bintu byonna,’ kiraga nti kitwetaagisa ekisingawo ku kufuga obufuzi obusungu bwaffe n’okwewala empisa ez’obukaba. Tuyinza okugamba nti tusobodde okwefuga mu bintu ebyo, era bwe kiba bwe kityo, ekyo kyandituleetedde essanyu. Naye ate kiri kitya mu mbeera endala ez’obulamu mwe kitalabikira mangu nti twetaaga okwefuga? Ng’ekyokulabirako, ka tugambe nti omuntu abeera mu nsi ng’embeera y’eby’enfuna nnungi. Kyandibadde kya magezi okumala gagula bintu? Abazadde basaanidde okutendeka abaana baabwe obutamala gagula buli kintu kye balabye, olw’okuba kibasikirizza, oba olw’okuba balina ssente ezisobola okukigula. Kya lwatu, abaana bwe baba ab’okugoberera amagezi agabaweebwa, abazadde bennyini balina okubateerawo ekyokulabirako ekirungi.—Lukka 10:38-42.
10 Okwerekereza ebintu bye twagala kutuyamba okwefuga. Ate era kutuyamba okusiima ebintu ebitono bye tuba nabyo n’okutegeera obuzibu bw’abo abatalina bintu ebimu, si lwa kuba nti bakyagala bwe batyo, naye olw’okuba embeera tebasobozesa. Kituufu nti okuba abamativu n’ebyo bye twetaaga kyawukana ku ndowooza eziriwo ezigamba nti “teweerumya” oba “weefunire ekyo ekisingiridde.” Abalanga eby’amaguzi bakubiriza abantu okufuna ebintu ebimu amangu ddala, kyokka ekyo kikolebwa olw’okuba baba baagala kwefunira magoba. Ekyo kiyinza okutuzibuwaliza okwefuga. Magazini eyafulumira mu nsi emu engagga ey’omu Bulaaya yagamba bw’eti gye buvuddeko awo: “Bwe kiba nti abantu abaavu lukumpe ababeera mu nsi enjavu balina okufuba ennyo okufuga okwegomba kwabwe, abo abali mu nsi engagga tekibeetaagisa okufuba ennyo n’okusingawo!”
11. Lwaki okuyiga okwerekereza ebintu ebimu kya muganyulo, naye kiki ekikifuula ekizibu?
11 Bwe kiba nti kituzibuwalira okwawulawo bye twagala obwagazi n’ebyo bye twetaaga, kiba kirungi okubaako kye tukolawo tuleme kweyisa mu ngeri etooleka buvunaanyizibwa. Ng’ekyokulabirako, bwe tuba nga twagala okuvvuunuka obuzibu bw’okumala gagula bintu, ekyo tuyinza okukikola nga tetutwala bintu ku mabanja. Ate era bwe tubaako bye twagala okugula, nga tutwala ssente ezo zokka ezimala okubigula. Kijjukire nga Pawulo yakiraga nti ‘okwemalira ku Katonda n’obutayaayana’ ge “magoba amangi.” Yagamba: “Tetwaleeta kintu mu nsi, . . . era tetuyinza kuggyamu kintu; naye bwe tuba n’emmere n’eby’okwambala, ebyo binaatumalanga.” (1 Timoseewo 6:6-8) Tuli bamativu n’ebyo bye tulina? Okubeera mu bulamu obwangu, nga tulina bintu ebyo byokka bye twetaaga kyetaagisa obumalirivu n’okwefuga. Kyokka, okutambuza obulamu bwaffe mu ngeri eyo kya muganyulo.
12, 13. (a) Mu ngeri ki enkuŋŋaana bwe zeetaagisa okwefuga? (b) Mbeera ki endala mwe twetaagira okwefuga?
12 Nga tuli mu nkuŋŋaana z’ekibiina n’enkuŋŋaana ennene, twetaaga okwefuga. Ng’ekyokulabirako, twetaaga okufuga ebirowoozo byaffe bireme okuwugulibwa. (Engero 1:5) Kiyinza okwetaagisa okwefuga tuleme okutaataaganya abalala nga twogera obwama n’oyo aba atuliraanye mu kifo ky’okussaayo omwoyo eri omwogezi. Okukola enkyukakyuka tusobole okutuuka mu budde kiyinza okwetaagisa okwefuga. Ate era, kiyinza okwetaagisa okwefuga okusobola okufuna ebiseera okutegeka enkuŋŋaana era n’okuzenyigiramu.
13 Okwefuga mu bintu ebitono kituleetera okuba abamalirivu okwefuga ne mu bintu ebinene. (Lukka 16:10) N’olwekyo, nga kya magezi okwekubiriza ne tusoma Ekigambo kya Katonda n’ebitabo ebikyesigamiziddwako obutayosa, nga tuyiga ebibirimu era ne tubifumiitirizaako! Nga kiba kya magezi okwefuga ne tutakola mirimu egitasaanira, ne twewala emikwano emibi, endowooza embi, n’enneeyisa embi, oba ne tuteenyigira mu bintu ebiyinza okututwalako ebiseera bye twandikozesezza mu buweereza bwa Katonda! Okunyiikirira obuweereza bwa Yakuwa kitukuuma okuva ku bintu ebiyinza okutuggya mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo abantu be lwe balimu.
Mufuke Bakulu nga Mwoleka Okwefuga
14. (a) Abaana basobola batya okuyiga okwefuga? (b) Miganyulo ki egiyinza okuvaamu singa abaana batandika okuyiga okwefuga nga bakyali bato?
14 Omwana eyaakazaalibwa aba tasobola kwefuga. Ekiwandiiko ekyafulumizibwa abo abalina obumanyirivu ku nneeyisa y’abaana ky’agamba: “Okwefuga tekujjawo kwokka. Abaana beetaaga obuyambi n’obulagirizi bw’abazadde baabwe basobole okuyiga okwefuga. . . . Ng’abazadde babawa obulagirizi, abaana beeyongera okuyiga okwefuga mu myaka egyo we batandikira okugenda mu ssomero.” Okunoonyereza okukwata ku baana ab’emyaka ena n’ekitundu okwakolebwa kwalaga nti abo abaatandika okuyiga okwefuga “baafuuka abavubuka abalungi, abaagalibwa, abeekakasa era abeesigika.” Abo abataatandika kuyiga kwefuga bwe baakula baafuuka abavubuka “abalina ekiwuubaalo, nga baggwaamu mangu amaanyi era nga ba mputtu. Embeera ezinyigiriza zaabaleeterenga okulekulira era nga beewala obuvunaanyizibwa.” Kya lwatu, omwana ateekwa okuyiga okwefuga okusobola okubeera omuntu ow’obuvunaanyizibwa.
15. Obuteefuga kyoleka ki, era ekyo kyawukana kitya ku Baibuli ky’etukubiriza?
15 Mu ngeri y’emu, bwe tuba ab’okubeera Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo, tulina okuyiga okwefuga. Okulemererwa okwefuga kiba kyoleka nti tukyali bato mu by’omwoyo. Baibuli etukubiriza ‘okubeera abakulu mu magezi ag’okutegeera.’ (1 Abakkolinso 14:20) Ekiruubirirwa kyaffe kwe “[kutuuka] fenna mu bumu obw’okuyigiriza, n’obw’okutegeera Omwana wa Katonda, [okutuusa] lwe tulituuka okuba omuntu omukulu [mu by’omwoyo] okutuuka mu kigera eky’obukulu obw’okutuukirira kwa Kristo.” Lwaki? “Tulemenga okubeera nate abaana abato, nga tuyuugana nga tutwalibwanga buli mpewo ey’okuyigiriza, mu bukuusa bw’abantu, mu nkwe, olw’okugoberera okuteesa okw’obulimba.” (Abaefeso 4:13, 14) Mazima ddala, okuyiga okwefuga kikulu nnyo eri embeera yaffe ey’eby’omwoyo.
Okuyiga Okwefuga
16. Yakuwa atuwa atya obuyambi?
16 Okusobola okuyiga okwefuga, twetaaga obuyambi bwa Katonda, era nga ddala weebuli. Ekigambo kya Katonda, okufaananako endabirwamu, kitulaga we twetaaga okukola enkyukakyuka, era ne kituwa n’amagezi ku ngeri gye tuyinza okukolamu enkyukakyuka. (Yakobo 1:22-25) Baganda baffe beetegefu okutuyamba okukola enkyukakyuka. Abakadde Abakristaayo batufaako nga batuwa obuyambi. Yakuwa kennyini atuwa omwoyo gwe singa tumusaba. (Lukka 11:13; Abaruumi 8:26) N’olwekyo, ka tukozese obuyambi buno n’essanyu. Amagezi agaweereddwa ku lupapula 21 gayinza okutuyamba.
17. Engero 24:16 lutuzzaamu lutya amaanyi?
17 Nga kibudaabuda nnyo okumanya nti Yakuwa asanyuka bwe tufuba okumusanyusa! Kino kyanditukubirizza okweyongera okwefuga. Ka kibeere nti tulemererwa emirundi emeka okwefuga, tetulekuliranga. “Omuntu omutuukirivu agwa emirundi musanvu n’ayimuka nate: naye ababi obuyinike bubasuula.” (Engero 24:16) Buli lwe tukola ekituufu mu maaso ga Yakuwa, tufuna essanyu. Era tuyinza okuba abakakafu nti ne Yakuwa asanyuka. Omujulirwa omu agamba nti nga tanneewaayo eri Yakuwa, buli lwe yasobolanga okwewala okunywa sigala okumala wiiki nnamba, nga yeegulira ekintu eky’omugaso mu ssente ezo ze yali asobodde okutereka olw’okwefuga.
18. (a) Kiki ekizingirwa mu kufuba okwefuga? (b) Yakuwa atuwa bukakafu ki?
18 N’ekirala ekikulu ennyo, tusaanidde okujjukira nti okwefuga kuzingiramu ebirowoozo n’enneewulira. Kino tuyinza okukirabira mu bigambo bya Yesu: “Buli muntu atunuulira omukazi okumwegomba, ng’amaze okumwendako mu mutima gwe.” (Matayo 5:28; Yakobo 1:14, 15) Oyo ayize okufuga ebirowoozo bye n’enneewulira ye kijja kumwanguyira okufuga omubiri gwe gwonna. N’olwekyo, ka tunyweze obumalirivu bwaffe nga twewala okukola ekikyamu era n’obutakirowoozaako. Singa ofuna ebirowoozo ebikyamu, byesambe bunnambiro. Tuyinza okwewala okukemebwa nga tusaba era nga tukoppa Yesu. (1 Timoseewo 6:11; 2 Timoseewo 2:22; Abaebbulaniya 4:15, 16) Nga tukola ekyo kyonna kye tusobola, tujja kuba tugoberera okubuulirira okuli mu Zabbuli 55:22: “Gussenga omugugu gwo ku Mukama, naye anaakuwaniriranga: taaganyenga batuukirivu okujjulukuka ennaku zonna.”
Ojjukira?
• Ngeri ki ebbiri mwe tusaanidde okwolekera okwefuga?
• Kitegeeza ki ‘okwefuga mu bintu byonna’?
• Magezi ki agakwata ku kuyiga okwefuga ge weetegerezza mu kusoma kwaffe?
• Okwefuga kutandikira wa?
[Akasanduuko/Ekifaananyi ku lupapula 21]
Engeri y’Okunywezaamu Okwefuga
• Weefuge ne mu bintu ebitono
• Fumiitiriza ku miganyulo eginaavaamu kati era ne mu biseera eby’omu maaso
• Lowooza ku ebyo Katonda by’ayagala mu kifo ky’ebyo by’atayagala
• Weesambe bunnambiro ebirowoozo ebikyamu
• Lowooza ku bintu ebizimba eby’eby’omwoyo
• Kkiriza obuyambi bw’Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo
• Weewale embeera eziyinza okukuleetera okwekkiriranya
• Saba Katonda akuwe obuyambi mu kiseera eky’okugezesebwa
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 18, 19]
Okwefuga kutukubiriza okukola ekituufu