666 Si Kyama Bwama
“Omuntu yenna aleme okuyinza okugula newakubadde okutunda, wabula oyo amaze okuteekebwako akabonero, erinnya ly’ensolo oba omuwendo gw’erinnya lyayo. Awo we wali amagezi. Alina okutegeera abalirire omuwendo gw’ensolo; kubanga gwe muwendo gw’omuntu: n’omuwendo gwayo Lukaaga mu nkaaga mu mukaaga.”—Okubikkulirwa 13:17, 18.
EBINTU bitono mu Baibuli ebikutte ennyo ku bantu oba ne bibeeraliikiriza ng’obunnabbi obukwata ku kabonero k’ensolo oba erinnya ‘lyayo’ eryewuunyisa, kwe kugamba, ennamba 666. Bingi ebyogeddwa abantu ku ttivi, ku Internet, mu bifaananyi eby’oku ntimbe, mu bitabo ne mu magazini nga bateebereza amakulu g’akabonero kano ak’ensolo.
Abamu balowooza nti 666 kabonero akalaga omulabe wa Kristo ayogerwako mu Baibuli. Abalala bagamba nti kategeeza obulambe obw’enkukunala obuteekebwa ku muntu okulaga nti aweereza ensolo, gamba ng’ebiwandiiko kungulu ku lususu lwe oba munda mu mubiri. Ate era abalala bagamba nti ennamba eyo 666 kabonero ka ppaapa w’Abakatuliki. Ebiwandiiko ebiri ku ngule ya ppaapa Vicarius Filii Dei (Omusigire w’Omwana wa Katonda) babiggyamu ennamba z’Ekirooma era ennamba ezo ne babaako engeri gye bazibaliriramu okufuna omuwendo 666. Era waliwo n’abagamba nti ennamba eyo eyinza okubalirirwa okuva mu linnya lya Kabaka wa Rooma ayitibwa Diocletian era n’okuva mu linnya ery’Ekiyudaaya Nero Kayisaali.a
Kyokka, ebintu ebyo ebiteeberezebwa obuteeberezebwa byawukanira ddala ku ekyo Baibuli ky’eyogera ku kabonero k’ensolo, nga bwe tujja okulaba mu kitundu ekiddako. Baibuli ekiraga bulungi nti abo abalina akabonero k’ensolo bajja kwolekezebwa obusungu bwa Katonda bw’anaaba azikiriza enteekateeka y’ebintu eno embi. (Okubikkulirwa 14:9-11; 19:20) N’olwekyo, kikulu nnyo okutegeera amakulu g’ennamba 666, era ng’ekyo tekikoma ku kuvumbula buvumbuzi kyama ekirimu. Eky’essanyu, Yakuwa Katonda ensibuko y’okwagala n’ekitangaala eky’eby’omwoyo, talese baweereza be mu kizikiza ku bikwata ku nsonga eno enkulu.—2 Timoseewo 3:16; 1 Yokaana 1:5; 4:8.
[Obugambo obuli wansi]
a Okumanya ebisingawo ebyogerwa abo abataputa amakulu g’ennamba, laba Awake! aka Ssebutemba 8, 2002.