Bannamukadde—Ba Muwendo Nnyo mu Luganda Lwaffe olw’Ekikristaayo
“Abasimbirwa mu nnyumba ya Mukama . . . balyerera. Baliba nga bakyabala ebibala nga bakaddiye.”—ZABBULI 92:13, 14.
1. Ndowooza ki abantu bangi gye balina ku bannamukadde?
YAKUWA ayagala abaweereza be abeesigwa bonna, nga mw’otwalidde ne bannamukadde. Kyokka, okusinziira ku mbalirira eyakolebwa mu ggwanga lya Amerika, bannamukadde ng’emitwalo ataano balagajjaliddwa. Alipoota ezifuniddwa okuva mu nsi ezitali zimu ziraga nti bannamukadde okulagajjalirwa kizibu ekibunye buli wamu. Ekibiina ekimu kigamba nti ekiviiriddeko ekizibu ekyo ye “ndowooza abantu bangi gye balina . . . nti abo abakaddiye baba tebakyagasa era nga bakaluubiriza nnyo abalala.”
2. (a) Yakuwa atunuulira atya abaweereza be abakaddiye? (b) Bigambo ki ebibuguumiriza omutima bye tusanga mu Zabbuli 92:12-15?
2 Yakuwa Katonda atwala abaweereza be abakaddiye nga ba muwendo. Atunuulira ‘kye tuli munda,’ kwe kugamba, embeera yaffe ey’eby’omwoyo—so si obunafu bw’emibiri gyaffe. (2 Abakkolinso 4:16) Mu Kigambo kye Baibuli tusangamu ebigambo bino ebibuguumiriza omutima: “Omutuukirivu alyera ng’olukindu; alikula ng’omuvule mu Lebanooni. Abasimbirwa mu nnyumba ya Mukama balyerera mu mpya za Katonda waffe. Baliba nga bakyabala ebibala nga bakaddiye; balijjula amazzi, baligejja: balage nga Mukama mutuukirivu; oyo lye jjinja lyange, so mu ye temuli butali butuukirivu.” (Zabbuli 92:12-15) Okwekenneenya ennyiriri zino kijja kutuyamba okulaba ebintu eby’omuwendo bannamukadde bye basobola okukola mu kibiina Ekikristaayo.
“Bakyabala Ebibala nga Bakaddiye”
3. (a) Lwaki abatuukirivu bafaananyirizibwa ku nkindu? (b) Mu ngeri ki bannamukadde gye basigala ‘nga bakyabala ebibala nga bakaddiye’?
3 Omuwandiisi wa zabbuli afaananyiriza omutuukirivu ku nkindu ‘ezisimbiddwa mu mpya za Katonda waffe.’ ‘Beeyongera okubala ebibala wadde nga bakaddiye.’ Tokkiriza nti ebigambo ebyo bizzaamu nnyo amaanyi? Enkindu engolokofu obulungi zaalabibwanga nnyo mu mpya z’amaka mangi mu nsi ez’Ebuvanjuba mu biseera bya Baibuli. Ng’oggyeko okuba nti zaalabisanga bulungi oluggya, enkindu ezo zaayagalibwanga nnyo olw’okuba zaabalanga ebibala bingi era nga n’emiti egimu gyawezanga n’emyaka egisukka mu kikumi nga gikyabala.a Naawe bw’onywerera mu kusinza okw’amazima, oyinza ‘okweyongera okubala ebibala mu buli kikolwa ekirungi.’—Abakkolosaayi 1:10.
4, 5. (a) Kibala ki ekikulu ennyo Abakristaayo kye balina okubala? (b) Waayo ebyokulabirako okuva mu Byawandiikibwa ebya bannamukadde abaabala ‘ekibala eky’emimwa.’
4 Yakuwa asuubira Abakristaayo bonna okubala ‘ekibala eky’emimwa,’ nga bino bye bigambo bye boogera nga bamutendereza era nga balangirira ebigendererwa bye. (Abaebbulaniya 13:15) Ggwe ng’omuntu akaddiye kino kikukwatako? Mazima ddala kikukwatako.
5 Baibuli erimu ebyokulabirako bingi ebya bannamukadde abaawa obujulirwa obukwata ku linnya lya Yakuwa n’ebigendererwa bye awatali kutya kwonna. Musa yali asukka mu ‘myaka ensanvu’ mu kiseera Yakuwa we yamulondera okubeera nnabbi era omubaka we. (Zabbuli 90:10; Okuva 4:10-17) Obukadde tebwalemesa nnabbi Danyeri kuwa bujulirwa obukwata ku bufuzi bwa Yakuwa awatali kutya. Oboolyawo Danyeri yali atemera mu myaka 90 Berusazza we yamuyitira annyonnyole amakulu g’ebigambo ebitategeerekeka ebyali biwandiikiddwa ku kisenge. (Danyeri, essuula 5) Ate kyali kitya eri omutume Yokaana eyali akaddiye? Ng’anaatera okutuuka ku nkomerero y’obulamu bwe, yasibibwa ku kizinga ky’e Patumo ‘olw’okubuulira ekigambo kya Katonda era n’olw’okutegeeza kwa Yesu.’ (Okubikkulirwa 1:9) Wandiba ng’osobola okujjukirayo abalala bangi nnyo aboogerwako mu Baibuli abaabala ‘ekibala eky’emimwa’ nga bakaddiye.—1 Samwiri 8:1, 10; 12:2; 1 Bassekabaka 14:4, 5; Lukka 1:7, 67-79; 2:22-32.
6. Yakuwa akozesezza atya “bannamukadde” okuwa obunnabbi mu biseera bino eby’enkomerero?
6 Ng’ajuliza ebigambo bya Yoweeri nnabbi Omwebbulaniya, omutume Peetero yagamba: “Olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma bw’ayogera Katonda, Ndifuka omwoyo gwange ku bonna abalina omubiri [nga mw’otwalidde “bannamukadde”]; baliragula.” (Ebikolwa 2:17, 18; Yoweeri 2:28) Bwe kityo nno, mu nnaku zino ez’oluvannyuma, Yakuwa akozesezza bannamukadde abaafukibwako amafuta n’abo abali mu kibiina ‘eky’ab’endiga endala’ okulangirira ebigendererwa bye. (Yokaana 10:16) Abamu ku bo bamaze emyaka mingi nga babala ebibala by’Obwakabaka.
7. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri bannamukadde gye beeyongera okubala ebibala eby’Obwakabaka wadde nga baba banafu mu mibiri gyabwe.
7 Lowooza ku Sonia eyatandika okuweereza ng’omubuulizi w’Obwakabaka ow’ekiseera kyonna mu 1941. Wadde nga yali atawaanyizibwa nnyo obulwadde obw’olukonvuba, yayigirizanga abantu Baibuli mu maka ge obutayosa. Sonia yagamba nti: “Okubuulira amawulire amalungi kikulu nnyo mu bulamu bwange. Mazima ddala, bwe bulamu bwange. Sisobola kulekera awo kubuulira.” Gye buvuddeko awo, Sonia ne muganda we ayitibwa Olive, baategeeza Janet gwe baasanga mu ddwaliro nga mulwadde nnyo, obubaka bwa Baibuli obuwa essuubi. Maama wa Janet eyali Omukatuliki omukuukuutivu yakwatibwako nnyo olw’okwagala okwalagibwa muwala we era n’akkiriza okuyigirizibwa Baibuli mu maka ge era kati akulaakulana bulungi. Oyinza okukozesa akakisa ng’ako okusobola okubala ebibala by’Obwakabaka?
8. Kalebu eyali akaddiye yayoleka atya obwesige bwe yalina mu Yakuwa, era Abakristaayo abakaddiye basobola batya okumukoppa?
8 Bwe beeyongera okukola omulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’obuvumu wadde ng’emibiri gyabwe ginafuye olw’obukadde, bannamukadde Abakristaayo baba bagoberera ekyokulabirako ky’Omuisiraeri omwesigwa ayitibwa Kalebu, eyaweereza awamu ne Musa mu ddungu okumala emyaka 40. Kalebu yalina emyaka 79 we yasomokera Omugga Yoludaani okuyingira mu Nsi Ensuubize. Oluvannyuma lw’okuweereza mu ggye lya Isiraeri okumala emyaka mukaaga, yandisobodde okulowooza nti bye yali akoze byali bimala. Naye si bwe yalowooza, wabula yayoleka obuvumu n’asaba okuweebwa omulimu omuzibu ennyo ogw’okuwamba ‘ebibuga ebinene ebiriko ebigo’ ebyali mu nsozi za Yuda, ekifo ekyalimu Abanaki, abasajja abawagguufu. Ng’ayambibwako Yakuwa, Kalebu ‘yabagoba nga Yakuwa bwe yayogera.’ (Yoswa 14:9-14; 15:13, 14) Beera mukakafu nti Yakuwa ali naawe nga bwe yali ne Kalebu, nga weeyongera okubala ebibala by’Obwakabaka mu biseera byo eby’obukadde. Era bw’onoosigala ng’oli mwesigwa, ajja kukuwa ekifo mu nsi empya gye yasuubiza.—Isaaya 40:29-31; 2 Peetero 3:13.
“Balijjula Amazzi, Baligejja”
9, 10. Abakristaayo abakaddiye basobola batya okusigala nga banywevu mu kukkiriza? (Laba akasanduuko ku lupapula 11.)
9 Ng’alaga nti abaweereza ba Yakuwa abakaddiye basobola okubala ebibala, omuwandiisi wa zabbuli yagamba: “Omutuukirivu alyera ng’olukindu; alikula ng’omuvule mu Lebanooni. Baliba nga bakyabala ebibala nga bakaddiye; balijjula amazzi, baligejja.”—Zabbuli 92:12-14.
10 Oyinza otya okusigala ng’oli munywevu mu by’omwoyo wadde ng’okaddiye? Ekisobozesa olukindu okweyongera okulabika obulungi ebbanga lyonna, kwe kuba nti luba lufuna amazzi buli kiseera. Mu ngeri y’emu, naawe osobola okufuna amaanyi nga weeyigiriza Ekigambo kya Katonda era ng’okolagana n’ekibiina kye. (Zabbuli 1:1-3; Yeremiya 17:7, 8) Bw’obeera omunywevu mu by’omwoyo, oba wa mugaso nnyo eri bakkiriza banno. Weetegereze engeri gye kyali bwe kityo mu bulamu bwa nnamukadde Yekoyaada eyali Kabona Asinga Obukulu.
11, 12. (a) Kintu ki ekikulu ennyo Yekoyaada kye yakola mu byafaayo by’obwakabaka bwa Yuda? (b) Yekoyaada yeeyambisa atya ekifo kye yalimu okutumbula okusinza okw’amazima?
11 Oboolyawo Yekoyaada yali asussa mu myaka ekikumi Kabaka omukazi ayitibwa Asaliya we yeddiza obufuzi bwa Yuda oluvannyuma lw’okutta bazzukulu be. Kiki nnamukadde Yekoyaada kye yandikoze? Okumala emyaka mukaaga ye ne mukyala we baakweka Yowaasi mu yeekaalu, omwana yekka eyali asigaddewo mu lunyiriri lwa kabaka. Era ekiseera ne kituuka, Yekoyaada n’alangirira Yowaasi eyali aweza emyaka musanvu egy’obukulu okuba kabaka era Asaliya n’attibwa.—2 Ebyomumirembe 22:10-12; 23:1-3, 15, 21.
12 Ng’omukuza wa kabaka, Yekoyaada yeeyambisa ekifo kye yalimu okutumbula okusinza okw’amazima. ‘Yalagaana endagaano n’abantu bonna ne kabaka, babeerenga abantu ba Yakuwa.’ Nga bakolera ku biragiro bya Yekoyaada abantu bamenyaamenya ennyumba ya katonda ow’obulimba Baali era ne basaanyawo ebyoto ebyalimu, ebifaananyi era ne kabona. Era ng’akolera ku bulagirizi bwa Yekoyaada, Yowaasi yazzaawo okusinza okw’omu yeekaalu era yeekaalu n’agidaabiriza nga bwe kyali kyetaagisa. “Yowaasi n’akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi ennaku zonna Yekoyaada kabona ze yamuyigirizaamu.” (2 Ebyomumirembe 23:11, 16-19; 24:11-14; 2 Bassekabaka 12:2) Bwe yafa ng’aweza emyaka 130, Yekoyaada yaziikibwa gye baaziikanga bakabaka kubanga “yakola bulungi mu Isiraeri n’eri Katonda n’ennyumba ye.”—2 Ebyomumirembe 24:15, 16.
13. Abakristaayo abakaddiye basobola batya okukola ebirungi ‘mu maaso ga Katonda ow’amazima ne mu nnyumba ye’?
13 Oboolyawo tokyasobola kukola nnyo okuwagira okusinza okw’amazima olw’obulwadde oba olw’embeera endala. Wadde kiri kityo, olina ebirungi by’osobola ‘okukola mu maaso ga Katonda ow’amazima ne mu nnyumba ye.’ Osobola okwoleka okwagala kw’olina eri ennyumba ya Yakuwa ey’eby’omwoyo ng’obeerawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina era ng’ozenyigiramu ate era nga weenyigira mu buweereza bw’ennimiro nga bw’osobola. Singa okkiriza okubuulirira kwa Baibuli era n’owagira “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” awamu n’ekibiina, kijja kunyweza nnyo baganda bo Abakristaayo. (Matayo 24:45-47) Era osobola okukubiriza basinza banno okuba “[n]okwagala n’ebikolwa ebirungi.” (Abaebbulaniya 10:24, 25; Firemooni 8, 9) Era ojja kuganyula nnyo abalala singa okolera ku kubuulira kw’omutume Pawulo kuno: “Abasajja abakadde babenga n’empisa ezisaana, nga bassibwamu ekitiibwa, nga balina endowooza ennuŋŋamu, nga balina okukkiriza okunywevu, okwagala n’obugumiikiriza. Mu ngeri y’emu, n’abakazi abakadde babenga n’empisa ez’okutya Katonda, nga tebawaayiriza, era nga tebanywa mwenge mungi, era nga bayigiriza ebirungi.”—Tito 2:2-4, NW.
14. Abo abamaze ekiseera ekiwanvu nga baweereza ng’abakadde mu kibiina kiki kye basobola okukola okuwagira okusinza okw’amazima?
14 Omaze emyaka mingi ng’oweereza ng’omukadde mu kibiina? “Amagezi g’ofunye okumala emyaka egyo gyonna togeesigaliza wekka,” bw’atyo ow’oluganda omu aweerezza ng’omukadde okumala emyaka mingi bwe yagamba. “Obumu ku buvunaanyizibwa bw’olina bugabire abalala, ate era bayambe okuganyulwa ne mu bumanyirivu bw’olina . . . Weetegereze obusobozi bwe balina. Bayambe okubukulaakulanya. Ssaawo omusingi omulungi ogw’ebiseera eby’omu maaso.” (Ekyamateeka 3:27, 28) Engeri gy’ofaayo ku mulimu ogw’okubuulira Obwakabaka ogweyongera okukulaakulana, ejja kuganyula nnyo ab’oluganda abalala mu kibiina.
‘Babuulira nti Yakuwa Mutuukirivu’
15. Mu ngeri ki Abakristaayo abakaddiye gye ‘babuuliramu nti Yakuwa mutuukirivu’?
15 Abaweereza ba Katonda abakaddiye batuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe ‘obw’okubuulira abalala nti Yakuwa mutuukirivu.’ Bw’oba ng’oli Mukristaayo akaddiye, ebigambo by’oyogera ne by’okola bisobola okulaga abalala nti ‘Yakuwa lwe Lwazi lwo, omutali butali butuukirivu.’ (Zabbuli 92:15) Wadde ng’Olukindu terwogera, luwa obujulirwa ku ngeri ez’ekitalo ennyo ez’Omutonzi. Naye ggwe Yakuwa akuwadde enkizo ey’okubuulira abo abajja mu kusinza okw’amazima ebimukwatako. (Ekyamateeka 32:7; Zabbuli 71:17, 18; Yoweeri 1:2, 3) Lwaki ekyo kikulu?
16. Kyakulabirako ki eky’omu Baibuli ekiraga obukulu ‘bw’okubuulira abalala nti Yakuwa mutuukirivu’?
16 Yoswa omukulembeze w’Abaisiraeri bwe yali ‘ng’akaddiye, yayita Abaisiraeri bonna, abakadde baabwe n’emitwe gyabwe, n’abalamuzi baabwe n’abaami baabwe,’ n’abajjukiza ebikolwa bya Katonda eby’obutuukirivu. Yagamba: “Tewali kigambo kimu ekitatuuse mu birungi byonna Mukama Katonda wammwe bye yaboogerako; byonna bibatuukidde, tewali na kimu mu ebyo kitatuuse.” (Yoswa 23:1, 2, 14) Ebigambo ebyo byakubiriza abantu okusigala nga beesigwa okumala ekiseera. Kyokka oluvannyuma lw’okufa kwa Yoswa, ‘waddawo omulembe omulala ogutaamanya Mukama, newakubadde omulimu gwe yakolera Abaisiraeri. Abaana ba Isiraeri ne bakola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi, ne baweereza Babaali.’—Ekyabalamuzi 2:8-11.
17. Yakuwa akolaganye atya n’abantu be mu biseera bino?
17 Obwesigwa bw’ekibiina Ekikristaayo eky’omu kiseera kino tebwesigamye ku ebyo ebyogerwa abaweereza ba Katonda abakaddiye. Kyokka, okukkiriza kwe tulina mu Yakuwa ne mu bisuubizo bye kunywezebwa bwe tuwulira ku ‘bintu eby’ekitalo’ by’akoledde abantu be mu biseera bino eby’oluvannyuma. (Ekyabalamuzi 2:7; 2 Peetero 1:16-19) Bw’oba ng’omaze ekiseera kiwanvu ng’oli mu kibiina kya Yakuwa, oyinza okuba ng’ojjukira ekiseera lwe waaliwo abalangirizi b’Obwakabaka abatono ennyo mu kitundu kyo oba mu nsi gy’olimu oba nga n’omulimu gw’okubuulira guziyizibwa nnyo. Kyokka, oluvannyuma lw’ekiseera, olabye nga Yakuwa aggyawo ebizibu ebyo era ‘ng’omulimu gw’Obwakabaka gweyongera okukula. (Isaaya 54:17; 60:22) Olabye engeri amazima ga Baibuli gye geeyongedde okutegeerekeka obulungi era n’okulongoosa okuzze kubaawo mu ntegeka ya Katonda erabika. (Engero 4:18; Isaaya 60:17) Ofuba okuzzaamu abalala amaanyi ng’obategeeza engeri ey’obutuukirivu Yakuwa gy’akolaganamu n’abantu be? Ekyo nga kiyinza okuganyula ennyo era ne kinyweza baganda bo Abakristaayo!
18. (a) Waayo ekyokulabirako ekiraga ebivaamu ‘bw’obuulira abalala ku butuukirivu bwa Yakuwa.’ (b) Ggwe kennyini olabye otya obutuukirivu bwa Yakuwa mu bulamu bwo?
18 Ate ebiseera ebyo mw’olabidde okwagala kwa Yakuwa era n’obulagirizi bw’akuwadde mu bulamu bwo? (Zabbuli 37:25; Matayo 6:33; 1 Peetero 5:7) Mwannyinaffe nnamukadde ayitibwa Martha yazzangamu abalala amaanyi ng’abagamba: “Ka kibe ki ekibaawo, tovanga ku Yakuwa. Ajja kukuwanirira.” Amagezi ago gaaganyula nnyo Tolmina, omu ku abo Martha be yayigiriza Baibuli eyabatizibwa mu matandika g’emyaka gya 1960. Tolmina agamba: “Omwami wange bwe yafa, nnawulira nga mpeddemu amaanyi, naye ebigambo ebyo byannyamba obutasubwa lukuŋŋaana lwonna. Era Yakuwa yampa amaanyi ne nneeyongera mu maaso.” Tolmina awadde b’ayigiriza Baibuli amagezi ge gamu okumala emyaka mingi. Mazima ddala, bw’ozzaamu abalala amaanyi era n’oyogera ku bintu eby’obutuukirivu Yakuwa by’akoze, osobola okunyweza okukkiriza kwa baganda bo.
Yakuwa Atwala Bannamukadde Abeesigwa nga Ba Muwendo
19, 20. (a) Yakuwa atunuulira atya ebyo ebikolebwa abaweereza be abakaddiye? (b) Kiki ekijja okwekenneenyezebwa mu kitundu ekiddako?
19 Ensi ey’akakyo kano omutali kusiima kwonna, efaayo kitono nnyo ku bannamukadde. (2 Timoseewo 3:1, 2) Bwe baba bajjukiddwa, bajjukirwa olw’ebyo bye baakola mu biseera ebyayita so si olw’ebyo bye bakola kaakano. Okwawukana ku ekyo, Baibuli egamba: “Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n’okwagala kwe mwalaga eri erinnya lye, bwe mwaweereza abatukuvu, era mukyaweereza.” (Abaebbulaniya 6:10) Kya lwatu, Yakuwa Katonda ajjukira emirimu egy’obwesigwa gye mwakola mu biseera ebyayita. Naye era akutwala ng’oli wa muwendo olw’ebyo bye weeyongera okukola mu buweereza bwe. Yee, bannamukadde abatwala ng’Abakristaayo ababala ebibala, abalamu mu by’omwoyo, era abanywevu—kwe kugamba abantu abo bwe bujulizi bwennyini obwoleka amaanyi ge.—Abafiripi 4:13.
20 Bannamukadde abali mu kibiina Ekikristaayo obatunuulira nga Yakuwa bw’abatunuulira? Bwe kiba bwe kityo, ojja kubalaga okwagala. (1 Yokaana 3:18) Ekitundu ekiddako kijja kulaga engeri ezimu mwe tuyinza okubalagira okwagala nga tukola ku byetaago byabwe.
[Obugambo obuli wansi]
a Buli kirimba ky’ebibala ebiri ku muti nga kisobola okubaako ebibala nga lukumi era nga kiyinza okuzitowa kilo nga 8 oba n’okusingawo. Omuwandiisi omu ateebereza nti “omuti ogwo we gulekerera awo okubala, nnyini gwo aba agufunyeemu tani z’ebibala bbiri oba ssatu.”
Wandizzeemu Otya?
• Bannamukadde ‘babala batya ebibala’?
• Lwaki bannamukadde abanywevu mu by’omwoyo baba ba mugaso nnyo?
• Bannamukadde basobola batya ‘okubuulira abalala nti Yakuwa mutuukirivu?’
• Lwaki Yakuwa atwala abo abamaze ekiseera ekiwanvu nga bamuweereza nga ba muwendo?
[Akasanduuko akali ku lupapula 11]
Engeri Gye Basigadde nga Banywevu mu Kukkiriza
Kiki ekiyambye abo abamaze ekiseera ekiwanvu nga Bakristaayo okusigala nga banywevu mu kukkiriza era n’okusigala nga bali mu mbeera nnungi mu by’omwoyo? Abamu ku bo bagamba bwe bati:
“Kikulu nnyo okusoma ebyawandiikibwa ebikwata ku nkolagana yaffe ne Yakuwa. Emirundi egisinga obungi ekiro, nsoma Zabbuli 23 ne 91.”—Olive, eyabatizibwa mu 1930.
“Buli lwe wabaawo okwogera eri abagenda okubatizibwa sikusubwa era nzisaayo omwoyo nga gy’obeera ndi omu ku abo abagenda okubatizibwa. Okujjukiranga buli kiseera okwewaayo kwange kinyambye nnyo okusigala nga ndi mwesigwa.”—Harry, eyabatizibwa mu 1946.
“Kikulu nnyo okusaba Yakuwa buli lunaku okutuyamba, okutukuuma era n’okutuwa emikisa, ‘nga tumwesiga mu byonna bye tukola.’” (Engero 3:5, 6)—Antônio, eyabatizibwa mu 1951.
“Okuwuliriza ebyogerwa abo abaludde nga baweereza Yakuwa n’obwesigwa kinnyamba okweyongera okubeera omumalirivu okusigala nga ndi mwesigwa gy’ali.”—Joan, eyabatizibwa mu 1954.
“Kikulu obuteerowoozaako nnyo. Buli kye tulina tukirina lwa kisa kya Katonda. Bwe tuba n’endowooza eno tetujja kutunula walala wonna okufuna emmere ey’eby’omwoyo gye twetaaga okusobola okugumiikiriza okutuusa ku nkomerero.”—Arlene, eyabatizibwa mu 1954.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]
Bannamukadde babala ebibala by’Obwakabaka eby’omuwendo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]
Bannamukadde abanywevu mu by’omwoyo ba mugaso nnyo