Ssa Ebirowoozo Byo ku Bulungi bw’Ekibiina kya Yakuwa
“Tunakkusibwanga obulungi obw’ennyumba yo.”—ZABBULI 65:4.
1, 2. (a) Yeekaalu n’emirimu egyandikoleddwayo byandiganyudde bitya abantu ba Katonda? (b) Dawudi yawagira atya omulimu gw’okuzimba yeekaalu?
DAWUDI ow’omu Isiraeri ey’edda y’omu ku bantu abaali basingayo okuba abatutumufu aboogerwako mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Omusumba ono, omuyimbi, nnabbi, era kabaka, yeesiga Yakuwa Katonda n’omutima gwe gwonna. Enkolagana ey’oku lusegere Dawudi gye yalina ne Yakuwa yamuleetera okwagala okumuzimbira ennyumba. Ennyumba eyo oba yeekaalu, ye yandibadde ekifo eky’okusinza okw’amazima mu Isiraeri. Dawudi yakimanya nti yeekaalu n’emirimu egyandikoleddwamu byandireetedde abantu ba Katonda essanyu n’emikisa. N’olwekyo, Dawudi yagamba: “Alina omukisa oyo gw’olonda, era gw’osembeza gy’oli. Abeeranga mu mpya zo: Tunakkusibwanga obulungi obw’ennyumba yo, Awatukuvu mu yeekaalu yo.”—Zabbuli 65:4.
2 Dawudi teyakkirizibwa kuzimba nnyumba ya Yakuwa. Wabula, enkizo eyo yaweebwa mutabani we Sulemaani. Dawudi teyeemulugunya ng’omuntu omulala aweereddwa enkizo gye yali ayagala ennyo. Kye yali atwala ng’ekikulu kwe kuba nti yeekaalu ezimbibwa. Yawagira omulimu gw’okuzimba yeekaalu n’omutima gwe gwonna ng’awa Sulemaani pulaani ey’okuzimba yeekaalu gye yafuna okuva eri Yakuwa. Ate era Dawudi yakuŋŋaanya enkumi n’enkumi z’Abaleevi, n’abakolamu ebibinja eby’andikoze omulimu gw’okuzimba era n’awaayo ffeeza ne zaabu okuwagira omulimu gw’okuzimba yeekaalu.—1 Ebyomumirembe 17:1, 4, 11, 12; 23:3-6; 28:11, 12; 29:1-5.
3. Ndowooza ki abaweereza ba Katonda gye balina ku nteekateeka ez’okusinza Katonda ow’amazima?
3 Abaisiraeri abeesigwa baawagira enteekateeka ez’okusinza Katonda ow’amazima mu nnyumba ye. Ng’abaweereza ba Yakuwa ab’omu kiseera kino, naffe tuwagira enteekateeka ez’okumusinza mu kibiina kye eky’oku nsi. Mu ngeri eyo tuba twoleka endowooza y’emu nga Dawudi gye yalina. Tetulina mwoyo gwa kwemulugunya. Mu kifo ky’ekyo, tussa ebirowoozo byaffe ku bulungi bw’ekibiina kya Katonda. Olowoozezza ku bintu bingi ebirungi bye tuyinza okusiima? Ka twekenneenye ebimu ku byo.
Okusiima Abo Abatwala Obukulembeze
4, 5. (a) “Omuddu omwesigwa era ow’amagezi” atuukiriza atya omulimu gwe? (b) Abajulirwa abamu balina ndowooza ki ku mmere ey’eby’omwoyo gye bafuna?
4 Tulina ensonga ennungi okusiima “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” Yesu Kristo gwe yakwasa obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ebintu bye eby’oku nsi. Ekibiina ky’omuddu omwesigwa eky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta kiwoma omutwe mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi, kiteekateeka enkuŋŋaana ez’okusinza Katonda, era kikuba ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli mu nnimi ezisukka mu 400. Obukadde n’obukadde bw’abantu mu nsi yonna basiima ‘emmere eno ey’eby’omwoyo etuukira mu kiseera ekituufu.’ (Matayo 24:45-47) N’olwekyo tewaliiwo nsonga yonna lwaki twandyemulugunyiza emmere ey’eby’omwoyo.
5 Okumala emyaka mingi nnamukadde omu Omujulirwa wa Yakuwa ayitibwa Elfi afunye okubudaabudibwa awamu n’obuyambi obulala olw’okussa mu nkola okubuulirira okw’omu Byawandiikibwa okusangibwa mu bitabo by’omuddu omwesigwa. Okusiima okw’amaanyi Elfi kwe yalina kwamuleetera okuwandiika nti: “Nnandibadde ntya singa tekyali kibiina kya Yakuwa?” Peter ne Irmgard nabo babadde baweereza Katonda okumala emyaka mingi. Irmgard asiima nnyo ebitabo ebikubibwa “ekibiina kya Yakuwa ekirimu okwagala era ekifaayo ku balala.” Ebitabo bino bizingiramu ebyo ebikubirwa abo abalina obwetaavu obw’enjawulo gamba ng’abo abatalaba oba abatawulira bulungi.
6, 7. (a) Emirimu egikolebwa mu kibiina kya Yakuwa girabirirwa gitya mu nsi yonna? (b) Biki ebyogeddwa ku kibiina kya Yakuwa eky’oku nsi?
6 Ekibiina ky’omuddu omwesigwa kikiikirirwa Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa, kwe kugamba, ekibiina ekitono eky’abasajja abaafukibwako amafuta abaweerereza ku kitebe ekikulu eky’Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna ekiri mu Brooklyn, New York. Akakiiko akafuzi kalonda abaweereza ba Yakuwa abalina obumanyirivu okuweereza ku ofiisi z’amatabi ezirabirira emirimu egikolebwa mu bibiina ebisukka mu 98,000 mu nsi yonna. Abasajja abatuukiriza ebisaanyizo by’omu Baibuli, balondebwa okuweereza ng’abakadde oba abaweereza mu bibiina. (1 Timoseewo 3:1-9, 12, 13) Abakadde batwala obukulembeze era balunda ekisibo ekyabakwasibwa Katonda. Nga kya muganyulo nnyo okubeera mu kisibo ekyo n’okulaba okwagala n’obumu ebiri mu “b’oluganda bonna”!—1 Peetero 2:17; 5:2, 3.
7 Mu kifo ky’okwemulugunya, abantu kinnoomu batera okusiima obulagirizi obw’eby’omwoyo bwe bafuna okuva eri abakadde. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Birgit, omukyala Omukristaayo atemera mu myaka 30. Ng’akyali mutiini, yafuna emikwano emibi era kata yeenyigire mu bikolwa ebikyamu. Naye okubuulirirwa okwamuweebwa abakadde okuva mu Baibuli era n’obuwagizi bwa bakkiriza banne, byamuyamba okwewala ebikolwa ebikyamu. Kati Birgit awulira atya? Agamba: “Ndi musanyufu nnyo olw’okuba nkyali mu kibiina kya Yakuwa ekirungi ennyo.” Andreas ow’emyaka 17 agamba: “Mazima ddala ekibiina kya Yakuwa kye kisingirayo ddala obulungi mu nsi yonna.” Naffe tetwandisiimye obulungi bw’ekibiina kya Yakuwa eky’oku nsi?
Abo Abatwala Obukulembeze Tebatuukiridde
8, 9. Abamu ku baaliwo mu kiseera kya Dawudi beeyisa batya, era Dawudi yakolawo ki?
8 Kya lwatu, abo abalondebwa okutwala obukulembeze mu kusinza okw’amazima, tebatuukiridde. Bonna bakola ensobi, era abamu balina obunafu bwe bafuba okulwanyisa. Ekyo kyanditumazzeemu amaanyi? Nedda. N’abantu abaaweebwa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu Isiraeri ey’edda, baakola ensobi ez’amaanyi. Ng’ekyokulabirako, Dawudi bwe yali akyali muvubuka, yatwalibwa okuyimbira Kabaka Sawulo asobole okukkakkana olw’obweraliikirivu bwe yalina. Oluvannyuma, Sawulo yagezaako okutta Dawudi, era Dawudi yadduka okusobola okuwonyawo obulamu bwe.—1 Samwiri 16:14-23; 18:10-12; 19:18; 20:32, 33; 22:1-5.
9 Waliwo n’Abaisiraeri abalala abaali ab’enkwe. Ng’ekyokulabirako, Yowaabu omudduumizi w’eggye lya Dawudi yatta Abuneeri eyalina oluganda ku Sawulo. Abusaalomu yalya olukwe mu kitaawe Dawudi, ng’ayagala okweddiza obwakabaka. Ne Akisoferi eyali awa Dawudi amagezi, yalya olukwe mu Dawudi. (2 Samwiri 3:22-30; 15:1-17, 31; 16:15, 21) Kyokka, Dawudi teyeemulugunya; era teyava ku kusinza okw’amazima. Ebizibu byaleetera Dawudi okunywerera ku Yakuwa era n’okweyongera okwoleka endowooza ennungi gye yalina ng’adduka Sawulo. Mu kiseera ekyo Dawudi yagamba: “Onsaasire, ai Katonda, onsaasire; kubanga emmeeme yange yeeyuna ggwe: Weewaayo, mu kisiikirize eky’ebiwaawaatiro byo mwe nneeyunanga, okutuusa ebibonoobono ebyo lwe biriggwaawo.”—Zabbuli 57:1.
10, 11. Biki Omukristaayo ayitibwa Gertrud bye yayitamu ng’akyali muto, era kiki kye yayogera ku bunafu bw’abakkiriza banne?
10 Tetuyinza kwemulugunya nti waliwo enkwe mu kibiina kya Katonda leero. Yakuwa, bamalayika be n’abasumba ab’eby’omwoyo, tebayinza kukkiriza ab’enkwe n’ababi okubeera mu kibiina Ekikristaayo. Wadde kiri kityo, ffenna twolekaganye n’obutali butuukirivu obwaffe ku bwaffe era n’obw’abaweereza ba Katonda abalala.
11 Gertrud amaze ekiseera ekiwanvu ng’asinza Yakuwa, bwe yali akyali muto, yayogerwako eby’obulimba nti yeefuula ky’atali era nti teyali mulangirizi w’Obwakabaka ow’ekiseera kyonna. Yakola ki? Gertrud yeemulugunya olw’okuyisibwa bw’atyo? Nedda. Bwe yali anaatera okufa mu 2003 era ng’aweza emyaka 91, yafumiitiriza ku bulamu bwe obw’emabega n’agamba nti: “Byonna bye nnayitamu byannyamba okutegeera nti wadde ng’abantu bakola ensobi, Yakuwa akozesa abantu abatatuukiridde okusobola okukola omulimu gwe omukulu.” Bwe yayolekagana n’obutali butuukirivu bw’abaweereza ba Katonda abalala, Gertrud yatuukirira Yakuwa mu kusaba.
12. (a) Kyakulabirako ki ekibi Abakristaayo abamu ab’omu kyasa ekyasooka kye bassaawo? (b) Ebirowoozo byaffe twandibitadde ku ki?
12 Okuva bwe kiri nti n’Abakristaayo abeesigwa ennyo era abanyiikivu tebatuukiridde, singa omuweereza alondeddwa akola ensobi, ka tweyongera okukola ebintu “byonna awatali kwemulugunyanga.” (Abafiripi 2:14) Nga kyandibadde kya nnaku nnyo okugoberera ekyokulabirako ekibi eky’abantu abamu abaali mu kibiina Ekikristaayo eky’omu kyasa ekyasooka! Okusinziira ku muyigirizwa Yuda, abayigiriza ab’obulimba abaaliwo mu kiseera kye ‘baagaana ab’obuyinza, era bavuma ab’ekitiibwa.’ Ate era, abakozi b’obubi abo baali “beemulugunya, era nga batolotooma olw’embeera yaabwe mu bulamu.” (Yuda 8, 16, NW) Ka tuleme kugoberera kkubo ly’abo abeemulugunya era tuteeke ebirowoozo byaffe ku bintu ebirungi bye tufuna okuyitira mu ‘muddu omwesigwa.’ Ka tusiime obulungi bw’ekibiina kya Yakuwa era ‘tukole ebintu byonna awatali kwemulugunya.’
‘Ebigambo Ebyo nga Byesisiwaza’
13. Abamu beeyisa batya bwe baawulira ebimu ku ebyo Yesu Kristo bye yali ayigiriza?
13 Wadde ng’abamu mu kyasa ekyasooka beemulugunyiza abaweereza abaalondebwa, abalala bo beemulugunyiza ebyo Yesu bye yayigiriza. Nga bwe kiragibwa mu Yokaana 6:48-69, Yesu yagamba: “Alya omubiri gwange, era anywa omusaayi gwange, alina obulamu obutaggwaawo.” Bwe baawulira ebigambo ebyo, ‘bangi ku bayigirizwa be ne bagamba nti Ebigambo ebyo byesisiwaza ani ayinza okubiwuliriza?’ Yesu yali akimanyi nti ‘abayigirizwa be baali beemulugunya olw’ebigambo ebyo.’ Bwe kityo, ‘abayigirizwa bangi kye baava baddirira ne bataddayo kutambulira wamu naye.’ Naye tekiri nti abayigirizwa bonna beemulugunya. Weetegereze ekyaliwo Yesu bwe yabuuza abatume 12 nti: “Nnammwe mwagala okugenda?” Omutume Peetero yaddamu nti: “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Olina ebigambo eby’obulamu obutaggwaawo. Naffe tukkiriza ne tutegeera nga gwe oli Mutukuvu wa Katonda.”
14, 15. (a) Lwaki abamu tebaba bamativu olw’enjigiriza ezimu ez’Ekikristaayo? (b) Kiki kye tusobola okuyigira ku musajja omu ayitibwa Emanuel?
14 Mu kiseera kyaffe, batono nnyo ku bantu ba Katonda abatali bamativu olw’enjigiriza ezimu ez’Ekikristaayo era abeemulugunyiza ekibiina kya Yakuwa eky’oku nsi. Lwaki ekyo kibaawo? Okwemulugunya ng’okwo kutera kuva ku butategeera ngeri Katonda gy’akolamu bintu bye. Omutonzi waffe abikkulira abantu be amazima mpolampola. N’olwekyo, engeri gye tutegeeramu Ebyawandiikibwa oluusi eba yeetaaga okulongoosebwamu. Abantu ba Yakuwa abasinga obungi basanyukira okulongoosebwa ng’okwo. Abamu ‘bayitiriza okubeera abatuukirivu’ ne batasiima kulongoosebwa ng’okwo. (Omubuulizi 7:16) Ekyo kiyinza n’okuva ku malala, era ne kibaviirako okubeera bakyetwala. K’ebe nsonga ki eba eviiriddeko omuntu okwemulugunya, okwemulugunya ng’okwo kwa kabi okuva bwe kuyinza okutuleetera okuddayo mu nsi.
15 Ng’ekyokulabirako Emanuel, yali Mujulirwa eyavvuumiriranga bye yasomanga mu bitabo ‘by’omuddu omwesigwa era ow’amagezi.’ (Matayo 24:45) Yalekera awo okusoma ebitabo byaffe era n’agamba abakadde nti takyayagala kubeera omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Kyokka, oluvannyuma lw’akaseera katono, Emanuel yakitegeera nti enjigiriza z’ekibiina kya Yakuwa zaali ntuufu. Yatuukirira Abajulirwa, n’akkiriza ensobi ye era n’akomezebwawo mu kibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa. N’ekyavaamu, yaddamu okuba omusanyufu.
16. Kiki ekiyinza okutuyamba obutabuusabuusa ezimu ku njigiriza ez’Ekikristaayo?
16 Kiba kitya singa muli tuwulira nga twagala okwemulugunyiza ezimu ku njigiriza z’ekibiina kya Yakuwa? Twandibadde bagumiikiriza. Ekiseera kijja kutuuka ‘omuddu omwesigwa’ afulumye ekintu ekiddamu ekibuuzo kyaffe era kimalewo okubuusabuusa kwe tulina. Kya magezi okufuna obuyambi okuva eri abakadde. (Yuda 22, 23) Okusaba, okwesomesa, okubeera awamu ne Bakristaayo bannaffe abafaayo ku by’omwoyo, kiyinza okutuyamba ne tulekera awo okubuusabuusa era kiyinza okutuleetera okweyongera okusiima amazima ag’omu Baibuli ge twafuna okuyitira mu mukutu Yakuwa gw’akozesa.
Beera n’Endowooza Ennungi
17, 18. Mu kifo ky’okwemulugunya, twandibadde na ndowooza ki, era lwaki?
17 Kyo kituufu nti abantu abatatuukiridde basobola okwonoona ate abamu bayinza n’okwemulugunya awatali nsonga ntuufu. (Olubereberye 8:21; Abaruumi 5:12) Naye singa tufuuka abantu abeemulugunya buli kiseera, enkolagana yaffe ne Yakuwa Katonda eyinza okwonooneka. N’olwekyo, tulina okwewala okwemulugunya.
18 Mu kifo ky’okwemulugunya olw’ebintu ebikolebwa mu kibiina, kyandibadde kirungi ne tubeera n’endowooza ennungi era ne tuba n’enteekateeka etusobozesa okuba abanyiikivu, abasanyufu, okuwa abalala ekitiibwa, obutagwa lubege n’okuba abanywevu mu kukkiriza. (1 Abakkolinso 15:58; Tito 2:1-5) Yakuwa alina obuyinza ku buli kyonna ekikolebwa mu kibiina kye, era ne Yesu amanyi byonna ebigenda mu maaso mu kibiina nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka. (Okubikkulirwa 1:10, 11) N’olwekyo, lindirira Katonda ne Kristo, omutwe gw’ekibiina. Abasumba ab’obuvunaanyizibwa bayinza okukozesebwa okutereeza ebintu ebiba bisobye.—Zabbuli 43:5; Abakkolosaayi 1:18; Tito 1:5.
19. Kiki kye twandibadde tussaako ebirowoozo nga tulindirira ekiseera Obwakabaka we bulitandikira okufuga ensi?
19 Mangu ddala enteekateeka y’ebintu eno ejja kuzikirizibwa era Obwakabaka bwa Masiya butandike okufuga ensi yonna. Ekyo nga tekinnabaawo, nga kikulu nnyo okwoleka endowooza ennungi! Kino kijja kutuyamba okulaba ebintu ebirungi bakkiriza bannaffe bye bakola mu kifo ky’okunoonoza ensobi zaabwe. Singa tussa ebirowoozo byaffe ku ngeri zaabwe ennungi, kijja kutuyamba okuba abasanyufu. Mu kifo ky’okuggwaamu amaanyi olw’okwemulugunya, tujja kuzzibwamu amaanyi era tuzimbibwe mu by’omwoyo.
20. Endowooza ennungi eneetusobozesa kufuna mikisa ki?
20 Endowooza ennungi ejja kutuyamba okujjukira emikisa emingi gye tulina olw’okubeera mu kibiina kya Yakuwa eky’oku nsi. Kino kye kibiina kyokka mu nsi ekyesigwa eri Omufuzi w’obutonde bwonna. Olowooza otya ku nsonga eyo era ne ku nkizo ey’okusinza Katonda omu ow’amazima, Yakuwa? Ka endowooza yo ebeere ng’eya Dawudi eyayimba nti: “Ai gwe awulira okusaba, bonna abalina omubiri balijja gy’oli. Alina omukisa oyo gw’olonda, era gw’osembeza gy’oli. Abeeranga mu mpya zo: Tunakkusibwanga obulungi obw’ennyumba yo.”—Zabbuli 65:2, 4.
Okyajjukira?
• Lwaki twandisiimye abo abatwala obukulembeze mu kibiina?
• Twandikoze ki singa ow’oluganda atwala obukulembeze akola ensobi?
• Twanditunuulidde tutya okulongoosebwa okukolebwa mu ngeri gye tutegeeramu Ebyawandiikibwa?
• Kiki ekiyinza okuyamba Omukristaayo okuvvuunuka okubuusabuusa?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]
Dawudi yawa Sulemaani pulaani ya yeekaalu era n’awagira okusinza okw’amazima n’omutima gwe gwonna
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
Abakadde Abakristaayo bawa abalala obuyambi obw’eby’omwoyo