Lwaki Kyetaagisa Okwogera Amazima?
NGA wa myaka 18, Manfreda yalina kampuni mw’akola. Kampuni eyo yakola enteekateeka, ye ne banne okugenda okweyongera okutendekebwa ennaku bbiri buli wiiki. Lumu, okusoma kwaggwa nga bukyali. Amateeka ga kampuni gaali gabeetaagisa okuddayo ku mulimu okukola ekitundu ky’olunaku ekisigaddeyo. Mu kifo ky’ekyo, bonna bagenda mu byabwe okuggyako Manfred. Akulira abakozi abatendekebwa yayitako ku mulimu mu kiseera we yali tasuubirwa. Bwe yalaba Manfred yamubuuza nti: “Lwaki leero tosomye? Era banno baluwa?” Kati olwo Manfred yali agenda kumugamba ki?
Bangi beesanga mu mbeera efaananako eya Manfred. Ayogere ekituufu oba azibire banne? Okwogera ekituufu kyandisudde banne mu buzibu era ne kimukyayisa. Kiba kirungi okulimba bwe weesanga mu mbeera ng’eno? Ggwe wandikoze ki? Tujja kuddira Manfred oluvannyuma, naye ka tusooke tulabe kiki ekizingirwa mu kwogera amazima oba okugasirikira.
Amazima n’Obulimba Bikontana
Ku ntandikwa y’ebyafaayo by’omuntu ku nsi, tewaaliwo bulimba n’akamu. Yakuwa, Omutonzi, ye “Katonda ow’amazima.” Ekigambo kye ge mazima; tasobola kulimba, era avumirira obulimba n’abalimba.—Zabbuli 31:5; Yokaana 17:17; Tito 1:2.
Obanga bwe kiri, obulimba bwatandika butya? Yesu yagamba bannaddiini abaali baagala okumutta nti: “Mmwe muli ba kitammwe Setaani, era mwagala okukola okwegomba kwa kitammwe. Oyo okuva ku lubereberye ye mussi, so teyanywerera mu mazima, kubanga amazima tegaali mu ye. Bw’ayogera obulimba, ayogera ekiva mu bibye; kubanga ye mulimba era kitaawe w’obulimba.” (Yokaana 8:44) Tewali kubuusabuusa nti wano Yesu yali ayogera ku ebyo ebyaliwo mu lusuku Adeni, Setaani bwe yasendasenda abantu abaasooka okujeemera Katonda era bwe batyo ne bagwa mu kibi ekyabaviiramu okufa.—Olubereberye 3:1-5; Abaruumi 5:12.
Ebigambo bya Yesu bikyoleka bulungi nti Setaani ye “kitaawe w’obulimba,” kwe kugamba ye nsibuko yaabwo. Setaani na buli kati ye muwagizi omukulu ow’obulimba, era mu butuufu, ye ‘mulimba w’ensi zonna.’ Bwe kityo, avunaanyizibwa kinene nnyo ku bizibu abantu bye balimu olw’obulimba obubunye buli wantu.—Okubikkulirwa 12:9.
Na buli kati wakyaliwo okukontana wakati w’amazima n’obulimba Setaani Omulyolyomi bwe yatandikawo, era nga buli omu akwatibwako. Engeri buli muntu gye yeeyisaamu eraga oludda kw’ali. Abo abali ku ludda lwa Katonda beesigama ku mazima g’Ekigambo kye, Baibuli. Omuntu yenna atagoberera mazima k’abeere ng’akimanyi oba nedda, ali mu buyinza bwa Setaani kubanga “ensi yonna eri mu [buyinza bw’o]mubi.”—1 Yokaana 5:19; Matayo 7:13, 14.
Lwaki Abantu Batera Okulimba?
Olw’okuba “ensi yonna” eri mu buyinza Setaani, abantu bangi nnyo balimba. Naye tuyinza okubuuza nti, ‘Kiki ekyaleetera Setaani, “kitaawe w’obulimba,” okulimba?’ Setaani yakimanya nti Yakuwa y’alina okuba Omufuzi w’ebitonde byonna nga mw’otwalidde n’abantu ababiri abaasooka. Kyokka, Setaani yeegwanyiza ekifo kino ekisingayo okuba ekya waggulu, ekyali kitamugwanira. Olw’omululu n’omwoyo gw’okwerowoozaako, Setaani yasala amagezi asobole okweddiza ekifo kya Yakuwa. Kino okusobola okukituukako, yasalawo okukozesa obulimba.—1 Timoseewo 3:6.
Kiri kitya leero? Tokkiriza nti omululu n’omwoyo gw’okwerowoozaako na buli kati bye bireetera abantu okwogera eby’obulimba? Bizineesi ezirimu omululu, eddiini ez’obulimba, eby’obufuzi omuli obukumpanya, byonna bijjudde bulimba bwereere. Lwaki? Emirundi egisinga tekiva ku bantu kululunkanira bya bugagga, n’okwegwanyiza obukulu oba obuyinza ebitabasaanira? Kabaka Sulemaani owa Isiraeri ey’edda yalabula nti: “Ayanguwa okugaggawala taliwona kubonerezebwa.” (Engero 28:20) Ate omutume Pawulo yawandiika nti: “Kubanga okwagala ebintu kye kikolo ky’ebibi byonna.” (1 Timoseewo 6:10) Ekintu kye kimu kye kituuka ne ku abo abalulunkanira obuyinza oba abeegwanyiza ebifo ebya waggulu.
Ensonga endala ereetera abantu okulimba kwe kutya—okutya ebiyinza okubatuukako oba abalala kye bayinza okulowooza singa baba boogedde amazima. Kya mu butonde obutayagala kukyayibwa balala. Kyokka kino kiyinza okuleetera abantu okunyoola amazima nga bagezaako okubikkirira ensobi oba okuwa ekifaananyi ekirungi. Ng’ebigambo bya Sulemaani bituukirawo bulungi. Bigamba: “Okutya abantu kuleeta ekyambika: naye buli eyeesiga mukama anaabanga mirembe.”—Engero 29:25.
Okwesiga Katonda ow’Amazima
Manfred mukama we bwe yamubuuza yaddamu ki? Yayogera amazima. Yagamba: “Omusomesa yatutadde nga bukyali, nze ne nkomawo ku mulimu. Abalala sijja kuboogerera. Ggwe kennyini ojja kubebuuliza.”
Manfred yali asobola okumuddamu mu ngeri ebuzaabuza bw’atyo ne yeewala okukyayibwa banne. Naye yalina ensonga eyamuleetera okwogera amazima. Manfred Mujulirwa wa Yakuwa. Okwogera amazima kyamuyamba okusigala n’omuntu ow’omunda omulungi. Ate era kyaleetera mukama we okumussaamu obwesige. Manfred bamukkiriza n’okutendekebwa ng’ate bwakola mu kitongole ekikola ku majjolobero, wadde ng’abakozi abakyatendekebwa baali tebakkirizibwayo. Manfred bwe yakuzibwa ku mulimu oluvannyuma lw’emyaka 15, era mukama we oyo yamukubira essimu n’amuyozaayoza era n’amujjukiza omulundi guli lwe yalaga nti wa mazima.
Okuva Yakuwa bwali Katonda ow’amazima, buli ayagala okufuna enkolagana ennungi naye alina ‘okweyambula obulimba n’okwogeranga amazima.’ Omuweereza wa Katonda ateekwa okwagala amazima. Omusajja ow’amagezi yagamba nti “Omujulirwa omwesigwa talimba.” Naye, obulimba kye ki?—Abaefeso 4:25; Engero 14:5.
Obulimba Kye Ki?
Buli kya bulimba tekiba kituufu, naye tekitegeeza nti buli ekitali kituufu kiba kya bulimba. Lwaki? Enkuluze emu egamba nti obulimba “kwe kwogera ekintu omuntu ky’amanyi nti si kituufu ng’agenderera okubuzaabuza.” Yee, okulimba kubaamu ekigendererwa eky’okubuzaabuza. N’olwekyo, okuwa emiwendo egitali mituufu oba okwogera ekintu ekikyamu nga togenderedde tebuba bulimba.
Ate era, bwe wabaawo omuntu alina ky’ayagala okumanya tusaanidde okusooka okufumiitiriza obanga tulina okumuddamu buli ky’aba atubuuzizza. Ng’ekyokulabirako, singa omukungu eyabuuza Manfred yali wa kampuni ndala, Manfred yali ateekwa okumubuulira buli kimu? Nedda, kubanga omukungu oyo talina buyinza bwonna ku kampuni eno Manfred mw’akola. Naye wadde kiri kityo, ne bwe yandibaddeko ky’amuddamu, kyandibadde kikyamu okumulimba.
Yesu yateekawo kyakulabirako ki ku nsonga eno? Lumu, Yesu yali anyumya n’abantu abataali bagoberezi be, ne baagala okumanya ku ngeri gy’agenda okutambulamu. Bamugamba nti: “Va wano ogende e Buyudaaya.” Yesu yabaddamu atya? “Mmwe mwambuke ku mbaga [e Yerusaalemi]: nze sinnaba kwambuka ku mbaga eno; kubanga ekiseera kyange tekinnaba kutuukirizibwa.” Wayita akaseera katono, Yesu n’agenda ku mbaga e Yerusaalemi. Lwaki yabaddamu bw’atyo? Baali tebagwanira kumanya bikwata ku ntambula ye. Wadde nga teyabalimba, teyababuulira kye baali baagala kumanya asobole okwewala akabi akaali kayinza okumukolebwako awamu n’abagoberezi be. Buno tebwali bulimba kubanga omutume Peetero yawandiika bw’ati ku Kristo: ‘Teyakola kibi, newakubadde obukuusa okulabika mu kamwa ke.’—Yokaana 7:1-13; 1 Peetero 2:22.
Ate kyali kitya ku Peetero kennyini? Mu kiro Yesu mwe yakwatirwa, Peetero teyalimba emirundi esatu nga yeegaana nti tamanyi Yesu? Yee, Peetero yalimba olw’okutya abantu. Naye amangu ddala ‘yakaaba nnyo,’ ne yeenenya era ekibi kye ne kimusonyiyibwa. Ate era alina kye yayigamu mu nsobi ye eyo. Nga wayise ennaku ntono, yabuulira ebikwata ku Yesu mu lujjudde era yagaanira ddala okusirika bwe yatiisibwatiisibwa Abayudaaya ab’obuyinza mu Yerusaalemi. Awatali kubuusabuusa eky’okuba nti Peetero yagwako mu nsobi era ne yeenenya mangu kituzzaamu ffenna amanyi, kubanga olw’obunafu kiyinza okuba ekyangu okugwa mu nsobi ne twonoona mu bigambo oba mu bikolwa.—Matayo 26:69-75; Ebikolwa 4:18-20; 5:27-32; Yakobo 3:2.
Amazima ga Kubeerawo Emirembe Gyonna
Engero 12:19 wagamba: “Omumwa ogw’amazima gunaanywezebwanga emirembe gyonna: naye olulimi olulimba lwa kaseera buseera.” Yee, amazima gasigala nga mazima ekiseera kyonna. Era abantu bwe boogera amazima, babeera n’enkolagana ennungi era ennywevu. Mu butuufu, okwogera amazima kuvaamu emiganyulo, gamba ng’okuba n’omuntu ow’omunda omulungi, erinnya eddungi, enkolagana ennungi ne munno mu bufumbo, n’ab’omu maka go, n’ab’emikwano, era ne b’okola nabo bizinesi.
Ku luuyi olulala, eby’obulimba biba bya kiseera buseera. Biyinza obutamanyika okumala akabanga, naye mu dda bimala ne bimanyika. Ate era Yakuwa, Katonda ow’amazima, tajja kugumiikiriza bulimba na balimba mirembe gyonna. Baibuli esuubiza nti Yakuwa ajja kuzikiriza Setaani Omulyolyomi, kitaawe w’obulimba, era alimba ensi yonna. Mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa ajja kumalawo obulimba n’abalimba bonna.—Okubikkulirwa 21:8.
Nga bunaaba buweerero bwa maanyi nnyo ng’aboogera ‘amazima’ be basigaddewo emirembe gyonna!
[Obugambo obuli wansi]
a Erinnya likyusiddwa.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 4]
Omululu n’omwoyo ogw’okwerowoozaako bye bireetera abantu okwogera eby’obulimba
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 5]
Buli kya bulimba tekiba kituufu, naye tekitegeeza nti buli ekitali kituufu kiba kya bulimba