Lwaki Kirungi Okwebaza?
“Omwagalwa Raquel,
Weebale nnyo weebalire ddala okunzizaamu amaanyi. Wadde oyinza okuba nga tokimanyi, embeera zo n’ebigambo byo eby’ekisa binnyambye nnyo.”—Jennifer.
WALI ofunyeko akabaluwa akakwebaza ng’obadde tokasuubira? Bwe kiba bwe kityo, oteekwa okuba nga wawulira bulungi. Gw’ate ani atayagala kwebazibwa na kumanya nti wa mugaso!—Matayo 25:19-23.
Okwebaza kinyweza enkolagana eri wakati w’omuntu eyeebaza n’oyo gwe yeebaza. Ate era, omuntu eyeebaza aba agoberedde ekyokulabirako kya Yesu Kristo, eyasiimanga abalala olw’ebikolwa byabwe ebirungi.—Makko 14:3-9; Lukka 21:1-4.
Eky’ennaku kiri nti ebiro bino abantu tebatera kwebaza, ka kibe mu bigambo oba mu buwandiike. Baibuli yalabula nti “mu nnaku ez’oluvannyuma,” abantu bandibadde ‘tebeebaza.’ (2 Timoseewo 3:1, 2) Bwe tuteegendereza, naffe tuyinza okwesanga nga tutwaliriziddwa omuze ogwo ogw’obutayagala kwebaza.
Abazadde bayinza kukola ki okuyigiriza abaana baabwe okwebaza? Baani be tusaanidde okwebaza? Era lwaki kirungi okwebaza, ka kibe nti abalala tebakikola?
Okwebaza Be Tubeera Nabo Awaka
Abazadde bakola nnyo okusobola okulabirira abaana baabwe. Naye, oluusi abazadde bayinza okuwulira nti abaana baabwe tebasiima. Kino bayinza kukikolera ki? Waliwo ebintu bisatu bye balina okukola.
(1) Mubateerewo ekyokulabirako. Nga bwe kiba mu kutendeka abaana mu bintu ebirala byonna, kikulu nnyo okubateerawo ekyokulabirako. Ng’eyogera ku mukazi omunyiikivu mu Isiraeri ey’edda, Baibuli egamba nti: ‘Abaana be bamuyita wa mukisa.’ Abaana abo baayiga batya okulaga okusiima? Ekitundu ky’olunyiriri olwo ekisembayo kigamba nti: ‘Ne bba amutendereza.’ (Engero 31:28) Abazadde bwe beebazaŋŋana kiyamba abaana okulaba nti okwebaza kinyweza enkolagana mu maka era nti okwebaza omuntu kimuwa essanyu.
Omuzadde omu ayitibwa Stephen agamba, “Nfubye okuteekerawo abaana bange ekyokulabirako nga nneebaza mukyala wange okufumba.” Biki ebivuddemu? Stephen agamba nti: “Okundaba nga nneebaza kiyigirizza bawala bange ababiri okulaga okusiima.” Bw’oba oli mufumbo, otera okwebaza munno ne mu bintu ebitono abasinga bye babuusa amaaso? Weebaza abaana bo, ne bwe baba nga kye bakoze be balina okukikola?
(2) Mubatendeke. Okusiima kulinga bimuli. Okukula obulungi byetaaga okulabirira. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okuyiga okwebaza? Kabaka Sulemaani eyali omusajja ow’amagezi yayogera ku kintu ekyetaagisa ennyo bwe yagamba nti: “Omutima gw’omutuukirivu gufumiitiriza okwanukula.”—Engero 15:28.
Abazadde, muyamba abaana bammwe okukiraba nti omuntu okubawa ekirabo aba yeefiirizza era nti aba alaze omutima omugabi? Okulowooza mu ngeri eyo lye ttaka erikuza okusiima mu baana. Maria, omuzadde akuzizza abaana abasatu, agamba nti: “Olina okuwaayo ebiseera okutuula n’abaana bo obalage kiki ekizingirwa mu kugaba ekirabo—nti omuntu asooka kukulowoozaako, n’asalawo akulage nti akufaako. Naye ebiseera ebyo by’owaayo bivaamu ebirungi bingi.” Bw’okola bw’otyo, oba oyamba abaana bo okumanya ensonga lwaki basaanidde okwebaza, n’okuyiga kiki kye balina okwogera nga beebaza.
Abazadde ab’amagezi bayamba abaana baabwe okukiraba nti okuweebwa ebintu ebirungi si tteeka.a Ebigambo ebiri mu Engero 29:21 (NW) ebyogera ku baweereza bikwata ne ku baana: “Omuntu bw’aginya omuweereza we okuva mu muto, mu bulamu bwe obw’omu maaso afuuka omuntu ateebaza.”
Abaana abato ennyo bayinza batya okuyiga okwebaza? Linda, maama ow’abaana abasatu, agamba, “Bwe tuba tuwandiika kaadi ey’okwebaza, nze ne mwami wange tugamba abaana baffe nabo ne babaako kye bawandiika, nga bakuba ekifaananyi ku kaadi eyo oba nga bassaako amannya gaabwe.” Kituufu nti ekifaananyi kye baba bakubye kiyinza obutaba kirungi era n’empandiika eyinza okuba ey’ekito, naye ekyo kibayamba okuyiga ekintu kye baba bajja okwetaaga ennyo mu bulamu.
(3) Temukoowa. Ng’abantu abatatuukiridde, twagala nnyo okwefaako era ekyo kiyinza okutulemesa okwebaza abalala. (Olubereberye 8:21; Matayo 15:19) Naye Baibuli ekubiriza abaweereza ba Katonda: ‘Okufuuka abaggya mu mwoyo gw’ebirowoozo byabwe, okwambala omuntu omuggya eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda.’—Abaefeso 4:23, 24.
Kyokka, abazadde abalina obumanyirivu bakimanyi nti okuyamba abaana ‘okwambala omuntu omuggya’ si kyangu. Stephen eyayogeddwako agamba, “Kyatwala ekiseera kiwanvu okuyigiriza bawala baffe okwebaza nga tewali abajjukizza.” Naye Stephen ne mukyala we tebaakoowa. Stephen agamba nti, “Baatuuka ekiseera ne bayiga. Kati engeri gye balagamu okusiima etusanyusa.”
Okwebaza Mikwano Gyaffe ne Baliraanwa
Emirundi egimu tusiima naye ne twerabira okwebaza. Omuntu bw’aba atukoledde ekintu ne tusiima, ddala kiba kikulu okumwebaza? Okuddamu ekibuuzo ekyo, lowooza ku ekyo ekyaliwo Yesu bwe yayamba abagenge ekkumi.
Yesu yasanga abasajja abagenge kkumi bwe yali agenda e Yerusaalemi. Baibuli egamba nti: “[Baayogerera] waggulu ne bagamba nti Yesu, Mukama waffe, otusaasire. Bwe yabalaba n’abagamba nti Mugende mwerage eri bakabona. Awo olwatuuka bwe baali nga bagenda ne balongoosebwa. Awo omu ku bo, bwe yalaba ng’awonye, n’akomawo n’atendereza Katonda n’eddoboozi ddene; n’avu[n]nama awali ebigere bye, ng’amwebaza: era oyo yali Musamaliya.”—Lukka 17:11-16.
Eky’okuba nti bali abalala tebaakomawo kwebaza, Yesu yakibuusa amaaso? Baibuli egamba: “Yesu [y]addamu n’agamba nti Ekkumi bonna tebalongoosebbwa? Naye bali omwenda bali ludda wa? Tebalabise abakomawo okutendereza Katonda, wabula [omusajja] omugenyi ono?”—Lukka 17:17, 18.
Abagenge bali omwenda tebaali bantu babi. Emabegako, baali bakyolese bulungi nti bakkiririza mu Yesu era baakola nga bwe yalagira ne bagenda e Yerusaalemi beerage eri bakabona. Wadde ng’abasajja abo baasiima nnyo Yesu kye yabakolera, tebaakomawo kwebaza. Ekyo Yesu teyakitwala bulungi. Ate kiri kitya ku ffe? Omuntu bw’atuyisa obulungi tujjukira okumwebaza, oboolyawo ne tumuwandiikira akabaluwa akalaga nti tusiimye?
Baibuli egamba nti ‘okwagala tekukola bitasaana oba tekunoonya byakwo.’ (1 Abakkolinso 13:5) N’olwekyo, okwebaza tekikoma ku kulaga mpisa nnungi kyokka, naye kiraga n’okwagala. Nga bwe tulabye mu kyokulabirako ky’abagenge, abo abaagala okusanyusa Yesu balina okulaga abalala okwagala okulinga okwo n’okubeebaza awatali kutunuulira ggwanga lyabwe, langi oba nzikiriza yaabwe.
Weebuuze, ‘Nnasemba ddi okwebaza muliraanwa, mukozi munnange, muyizi munnange, omusawo, omutunzi w’edduuka, oba omuntu omulala yenna eyannyamba?’ Lwaki tofunayo olunaku lumu oba bbiri, nga buli lwe weebaza oba buli lw’olaga okusiima mu ngeri endala yonna obaako w’owandiika? Bw’onookola bw’otyo, kijja kukuyamba okulaba w’olina okulongoosa mu kulaga okusiima.
Kya lwatu nti Yakuwa Katonda y’asaanidde okusinga okwebazibwa. Y’awa ‘buli kirabo ekirungi na buli kitone ekituukirivu.’ (Yakobo 1:17) Ddi lwe wasemba okwebaza Katonda okuviira ddala mu mutima gwo olw’ekintu ekirungi ky’akukoledde?—1 Abasessaloniika 5:17, 18.
Lwaki Kirungi Okwebaza, Ka Kibe nti Abalala Tebakikola?
Bw’okolera abalala ekintu ekirungi, bo bayinza obuteebaza nga gwe bw’okola. Kati olwo lwaki twandiraze okusiima wadde ng’abalala tebakikola? Lowooza ku nsonga eno.
Abantu abatasiima bwe tubakolera ebirungi tuba tukoppa Omutonzi waffe ow’ekisa, Yakuwa Katonda. Eky’okuba nti bangi tebasiima kwagala Yakuwa kw’abalaga tekimugaana kubakolera birungi. (Abaruumi 5:8; 1 Yokaana 4:9, 10) “Enjuba ye agyakiza ababi n’abalungi, abatonnyeseza enkuba abatuukirivu n’abatali batuukirivu.” Bwe tufuba okwebaza abalala mu nsi eno ejjudde abantu abatalaga kusiima, tuba tulaga nti tuli ‘baana ba Kitaffe ali mu ggulu.’—Matayo 5:45.
[Obugambo obuli wansi]
a Abazadde bangi basomye n’abaana baabwe ekitabo Learn From the Great Teacher, ekyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Essuula 18 erina omutwe “Ojjukira Okwebaza?”
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 15]
Funayo olunaku lumu oba bbiri, nga buli lwe weebaza obaako w’owandiika
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Abaana bo bateerewo ekyokulabirako mu kulaga okusiima
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Abaana abato nabo basobola okuyigirizibwa okwebaza