Bayambe Okudda Awatali Kulwa!
“Tunaagenda eri ani? Olina ebigambo eby’obulamu obutaggwaawo.”—YOK. 6:68.
1. Bangi ku bayigirizwa ba Yesu bwe baalekera awo okumugoberera, Peetero yagamba ki?
LUMU abayigirizwa ba Yesu Kristo bangi baalekera awo okumugoberera olw’ekintu kye yali ayigirizza. Bw’atyo yabuuza abatume be nti: “Nammwe mwagala okugenda?” Peetero yaddamu nti: “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Olina ebigambo eby’obulamu obutaggwaawo.” (Yok. 6:51-69) Tewaali walala wonna we bayinza kugenda. “Ebigambo eby’obulamu obutaggwaawo” byali tebiyinza kusangibwa mu nzikiriza ya Kiyudaaya, era ne leero ebigambo ng’ebyo tebiyinza kusangibwa mu Babulooni Ekinene, nga gano ge madiini gonna ag’obulimba mu nsi. Abo bonna abaabula okuva mu kisibo kya Katonda naye nga bandyagadde okusanyusa Yakuwa, ‘obudde butuuse okuzuukuka mu tulo’ badde mu kisibo.—Bar. 13:11.
2. Omubuulizi asaanidde kukola ki bw’amanya nti oyo gw’asoma naye alina ekibi eky’amaanyi kye yakola?
2 Yakuwa yali afaayo nnyo ku ndiga za Isiraeri ezaabula. (Soma Ezeekyeri 34:15, 16.) Abakadde nabo bwe batyo bafaayo era balina obuvunaanyizibwa okuyamba oyo alinga endiga aba abuze okuva mu kisibo. Omubuulizi eyagambibwa okusoma n’ow’oluganda eyaggwamu amaanyi alina kukola ki bw’amanya nti oyo gw’asoma naye alina ekibi eky’amaanyi kye yakola? Mu kifo ky’okugezaako okukola ku nsonga eyo, asaanidde okumukubiriza ategeeze abakadde. Bw’atakikola, ye omubuulizi alina okutegeeza abakadde.—Leev. 5:1; Bag. 6:1.
3. Omusajja eyali alina endiga 100 yawulira atya ng’azudde endiga ye eyali ebuze?
3 Ekitundu ekyayita kyakoona ku lugero lwa Yesu olw’omusajja eyalina endiga 100. Emu ku ndiga ezo bwe yabula, yalekawo 99 n’agenda aginoonye. Ng’omusajja oyo yasanyuka ng’agizudde! (Luk. 15:4-7) Naffe bwe tutyo bwe tusanyuka nga waliwo endiga ya Katonda ekomyewo mu kisibo. Abakadde wamu n’abalala mu kibiina bayinza okuba nga bamaze ekiseera nga bagezaako okuyamba omuntu oyo. Baagala okulaba ng’akomawo mu kibiina asobole okufuna obuyambi bwa Katonda, obukuumi bwe era n’emikisa gye. (Ma. 33:27; Zab. 91:14; Nge. 10:22) Naye bayinza kukola ki nga bayamba omuntu ng’oyo okudda mu kibiina?
4. Tuyiga ki mu Abaggalatiya 6:2, 5?
4 Bakyayinza okumuyamba okudda mu kibiina bwe bamulaga nti Yakuwa ayagala nnyo endiga ze era nti byonna by’atulagira okukola tuba tusobola okubituukiriza. Mu ebyo mwe muli okusoma Ebyawandiikibwa, okubaawo mu nkuŋŋaana, n’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Kiyinza okuba ekirungi okumusomera Abaggalatiya 6:2, 5 era n’omulaga nti Abakristaayo basobola okuyamba bannaabwe abali mu bizibu, naye ‘buli muntu alina okwetikka omutwalo gwe’ mu ngeri ey’eby’omwoyo. Tewali muntu mulala ayinza kutukiikirira bwe kituuka ku bwesigwa bwaffe eri Katonda.
Obuzibu Bwava ku ‘Kweraliikirira bya Bulamu Buno’?
5, 6. (a) Lwaki bakkiriza bannaffe abaggwamu amaanyi tusaanidde okubawuliriza obulungi? (b) Oyinza otya okuyamba ow’oluganda eyaggwamu amaanyi okulaba obuzibu obuli mu kwesala ku kibiina?
5 Okusobola okulaba engeri gye bayinza okuyambamu ow’oluganda eyaggwamu amaanyi, abakadde n’ababuulizi abakuze mu by’omwoyo balina okumuwuliriza obulungi ng’ayogera ekimuli ku mutima. Watya ng’oli mukadde akyalidde omwami ne mukyala we abaggwamu amaanyi ‘olw’okweraliikirira eby’obulamu.’ (Luk. 21:34) Bayinza okuba nga baddirira mu by’omwoyo olw’ebizibu by’eby’enfuna oba olw’obuvunaanyizibwa bwabwe mu maka okweyongera. Bayinza okugamba nti eby’okukola bibasusseeko obungi, naye balage nti okweyawula ku kibiina si kye kijja okubayamba. (Soma Engero 18:1.) Oyinza okubabuuza mu ngeri ey’amagezi nti: “Muwulira nga kati muli basanyufu okusinga luli nga mujja mu nkuŋŋaana? Obulamu bwammwe obw’amaka kati bweyongedde okutereera? Essanyu lya Yakuwa likyali maanyi gammwe?”—Nek. 8:10.
6 Okufumiitiriza ku bibuuzo ng’ebyo kiyinza okuyamba ab’oluganda abaggwamu amaanyi okukiraba nti okweyawula ku kibiina kibaviiriddeko okubulwa essanyu n’okuddirira mu by’omwoyo. (Mat. 5:3; Beb. 10:24, 25) Era bayinza okukiraba nti tebakyafuna ssanyu eriva mu kubuulira amawulire amalungi. (Mat. 28:19, 20) Kati olwo, basaanidde kukola ki?
7. Abo abaabula okuva mu kisibo tusaanidde kubakubiriza kukola ki?
7 Yesu yagamba: “Mwekuumenga emitima gyammwe gireme okuzitoowererwanga olw’obuluvu n’okutamiiranga n’okweraliikiriranga eby’obulamu buno . . . Mutunulenga mu biro byonna musabenga musobole okudduka ebyo byonna ebigenda okubaawo.” (Luk. 21:34-36) Abo abaabula okuva mu kisibo naye nga baagala okuddamu okuba abasanyufu balina okukubirizibwa okusaba Katonda abayambe era abawe omwoyo gwe omutukuvu basobole okuteeka bye basabye mu nkola.—Luk. 11:13.
Waliwo Ekyabeesittaza?
8, 9. Omukadde ayinza atya okuyamba ow’oluganda eyeesittala?
8 Olw’okuba tetutuukiridde, wayinza okubaawo obutategeeragana ne kiviirako omuntu okwesittala. Abamu beesittala olw’okuba omuntu ow’obuvunaanyizibwa mu kibiina yeeyisizza mu ngeri ekontana n’emisingi gya Baibuli. Kino bwe kiba nga kye kyamalamu ow’oluganda amaanyi, omukadde amukyalidde ayinza okumuyamba okukiraba nti Yakuwa taleetera muntu yenna kwesittala. N’olwekyo, tewaba nsonga lwaki omuntu ab’amenyawo enkolagana ye ne Katonda wamu n’abantu Be. Mu kifo ky’okukola atyo, tekiba kya magezi ne yeeyongera okuweereza Katonda nga mukakafu nti “Omulamuzi w’ensi zonna” amanyi bulungi ensonga eyo era nti ajja kugigonjoola mu kiseera ekituufu? (Lub. 18:25; Bak. 3:23-25) Omuntu bwe yeesittala ku kintu n’agwa, tayinza kusigala ku ttaka n’atayimukawo.
9 Okusobola okuyamba omuntu oyo, omukadde ayinza okumulaga nti bwe wayita ekiseera, abamu bakisanga ng’ekyabaleetera okwesittala tekikyali kikulu nnyo. Oyinza n’okwesanga nga kyavaawo dda. Ow’oluganda oyo bw’aba nga yeesittala lwa kukangavvulwa, okusaba n’okufumiitiriza biyinza okumuyamba okukiraba nti naye yali mu nsobi era nti ekyo tekyandimuleetedde kwesittala.—Zab. 119:165; Beb. 12:5-13.
Waliwo Enjigiriza gye Batakkiriziganya Nayo?
10, 11. Omukadde ayinza atya okuyamba ow’oluganda alina enjigiriza mu Baibuli gy’atakkiriziganya nayo?
10 Abamu bayinza okuba nga baava mu kisibo kya Katonda olw’okuba waliwo enjigiriza mu Byawandiikibwa gye batakkiriziganya nayo. Abaisiraeri abaanunulwa okuva mu buddu e Misiri ‘beerabira emirimu’ Katonda gye yabakolera era “tebaalindirira kuteesa kwe.” (Zab. 106:13) Oluusi kyetaagisa okujjukiza ow’oluganda eyaggwamu amaanyi nti ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ atuwa emmere y’eby’omwoyo ennungi ennyo. (Mat. 24:45) Era ekyo kye kyamuyamba okuyiga amazima. Kati olwo kiki ekiba kimugaana okuddamu okutambulira mu mazima?—2 Yok. 4.
11 Omukadde agezaako okuyamba ow’oluganda eyabula okuva mu kisibo kya Katonda ayinza okwogera ku bayigirizwa abaalekera awo okugoberera Yesu olw’ekintu kye yali abayigirizza. (Yok. 6:53, 66) Okwekutula ku Kristo n’abagoberezi be abeesigwa kyabaviiramu okubulwa essanyu n’okuddirira mu by’omwoyo. Abo abeesala ku ekibiina balina awalala we bayinza okufuna emmere ennungi ey’eby’omwoyo? Nedda!
Alina Ekibi Kye Yakola?
12, 13. Ow’oluganda eyabula okuva mu kisibo bw’akkiriza nti yakola ekibi eky’amaanyi, ayinza kuyambibwa atya?
12 Abantu abamu bwe bakola ekibi eky’amaanyi balekera awo okubuulira n’okujja mu nkuŋŋaana. Bayinza okutya nti bwe banaakibuulira abakadde, bajja kugobebwa mu kibiina. Naye tebayinza kugobebwamu bwe baba ng’ekibi kye baali bakola baakireka era ne beenenya mu bwesimbu. (2 Kol. 7:10, 11) Buli omu ajja kubasanyukira nga bakomyewo, era abakadde bajja kubayamba nga bwe kyetaagisa.
13 Bw’oba oli mubuulizi asabiddwa okuyamba ow’oluganda eyaggwamu amaanyi, oyinza kukola ki ng’akubuulidde nti alina ekibi eky’amaanyi kye yakola? Nga bwe twalabye emabegako, mu kifo ky’okugezaako okuyingira mu nsonga, muwe amagezi atuukirire abakadde. Bw’aba si mwetegefu kukikola, ojja kuba olaze nti ofaayo ku linnya lya Yakuwa ne ku bulungi bw’ekibiina bw’onookola ng’Ebyawandiikibwa bwe biragira ku nsonga eyo. (Soma Eby’Abaleevi 5:1.) Abakadde bamanyi bulungi engeri y’okuyambamu oyo yenna ayagala okudda eri Katonda n’okukola by’ayagala. Kiyinza okwetaagisa okumukangavvula. (Beb. 12:7-11) Bw’akkiriza nti ddala yayonoona mu maaso ga Katonda, n’alaga nti ekibi ekyo yakireka, era nti yeenenya mu bwesimbu, abakadde bajja kumuyamba era Yakuwa ajja kumusonyiwa.—Is. 1:18; 55:7; Yak. 5:13-16.
Kiba kya Ssanyu Omwana bw’Adda
14. Mu bigambo byo, wumbawumbako ebiri mu lugero lwa Yesu olw’omwana omujaajaamya.
14 Oyo asabiddwa okuyamba endiga eyabula ayinza okwogera ku lugero lwa Yesu oluli mu Lukka 15:11-24. Mu lugero olwo, omuvubuka ayonoona eby’obusika bwe byonna nga yeenyigira mu mpisa embi. Oluvannyuma obulamu obwo bumutama. Enjala emuluma, akooye okubeera omugwira, era bw’atyo asalawo okudda ewaabwe! Kitaawe amulengerera wala n’adduka n’amugwa mu kifuba era n’amunywegera, nga yenna abugaanye essanyu. Okulowooza ku biri mu lugero luno kiyinza okuyamba oyo eyava mu kisibo okudda. Olw’okuba ensi eno embi eneetera okuzikirizibwa, asaanidde ‘okudda eka’ awatali kulwa.
15. Lwaki abamu bava mu kibiina?
15 Abasinga abava mu kibiina tebeeyisa nga mwana oyo omujaajaamya. Abamu bagenda mpolampola ng’eryato bwe liseeyeeya okuva ku lukalu. Abalala basuulirira eby’omwoyo olw’okweraliikirira eby’obulamu buno. Ate abalala beesittala ne bava mu kibiina olw’enneeyisa y’ow’oluganda omu, oba olw’enjigiriza gye batakkiriziganya nayo. Waliwo n’abo abakola ebintu ebikontana n’ebyawandiikibwa. Kyokka, ebyo byonna ebyogeddwako bisobola okuyamba abo abaava mu kisibo olw’ensonga ezo ze tulabye oba endala yonna okukomawo.
“Weebale Kudda Waka Mutabani!”
16-18. (a) Omukadde yayamba atya ow’oluganda eyali amaze ebbanga eddene nga tali mu kisibo? (b) Kyava ku ki ow’oluganda oyo okuggwamu amaanyi, yayambibwa atya, era ab’omu kibiina baawulira batya ng’akomyewo?
16 Omukadde omu agamba: “Abakadde mu kibiina kyaffe bafuba okuyamba ab’oluganda abaaggwamu amaanyi. Nnalowooza ku w’oluganda omu gwe nnayigiriza amazima. Yali amaze emyaka nga 25 nga tali mu kisibo era yalina ebizibu bingi. Nnamunnyonnyola engeri okutambulira ku misingi gya Baibuli gye kyali kiyinza okumuyamba. Nga wayise ekiseera, yatandika okujja mu nkuŋŋaana era yakkiriza okuyiga Baibuli kimuyambe okuba omumalirivu okudda mu kisibo.”
17 Kyava ku ki ow’oluganda oyo okuggwamu amaanyi? Agamba nti: “Nnatandika okwenoonyeza ebintu by’ensi eno mu kifo ky’okwemalira ku by’omwoyo. Mpolampola nnalekera awo okwesomesa, okubuulira, n’okugenda mu nkuŋŋaana. Nnagenda okwejjuukiriza nga sikyali mu kibiina. Naye ekyannyamba okudda kwe kuba nti omukadde yanzizaamu nnyo amaanyi era yalaga nti anfaako.” Ebizibu ow’oluganda oyo bye yalina byatandika okukendeera bwe yaddamu okuyiga Baibuli. Agamba, “Nnakizuula nti nnali sikyatambulira mu kwagala kwa Yakuwa, wadde okugoberera obulagirizi bwe n’obw’ekibiina kye.”
18 Ab’omu kibiina baawulira batya ng’ow’oluganda oyo akomyewo? Agamba nti: “Nnawulira ng’omwana oli omujaajaamya Yesu Kristo gwe yayogerako. Mwannyinaffe omu eyaliwo emyaka 30 emabega era nga na kati akyaweereza n’obwesigwa yaŋŋamba nti, ‘Weebale kudda waka Mutabani!’ Ekyo kyantuukira ddala ku mutima. Mu butuufu, nnawulira nga ntuuse eka. Era nneebaza nnyo omukadde oyo awamu n’ekibiina kyonna olw’okwagala, omukwano, obugumiikiriza, n’okufaayo bye bandaga. Okwagala Yakuwa ne muliraanwa kwe baayoleka kwannyamba okudda mu kisibo.”
Mubakubirize Babeeko Kye Bakola mu Bwangu!
19, 20. Oyinza tutya okuyamba abo abaggwamu amaanyi okudda mu kisibo awatali kulwa, era oyinza otya okubalaga nti Katonda tatusuubira kukola kye tutasobola?
19 Tuli mu nnaku za luvannyuma, era enkomerero y’enteekateeka y’ebintu eno eneetera okutuuka. N’olwekyo, muyambe ab’oluganda abaggwamu amaanyi okuddamu okujja mu nkuŋŋaana. Mubakubirize bakikole mu bwangu. Mubayambe okukiriba nti Setaani ayagala kwonoona nkolagana yaabwe ne Yakuwa ng’abaleetera okulowooza nti ebizibu byabwe bijja kukendeera bwe banaava mu kusinza okw’amazima. Mubalage nti obuweerero obwa nnamaddala buva mu kugoberera Yesu n’obwesigwa.—Soma Matayo 11:28-30.
20 Mujjukize ab’oluganda abaggwamu amaanyi nti Katonda tatusuubira kukola kye tutasobola. Malyamu mwannyina Lazaalo bwe yanenyezebwa olw’okufuka ku Yesu amafuta ag’omuwendo ng’anaatera okuttibwa, Yesu yagamba nti: “Mumuleke . . . Akoze nga bw’ayinzizza.” (Mak. 14:6-8) Yesu yatendereza nnamwandu eyawaayo ekitono ennyo mu yeekaalu. Naye yakola kye yali asobola. (Luk. 21:1-4) Abasinga ku ffe tusobola okubeerawo mu nkuŋŋaana n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka. Nga bayambibwako Yakuwa, bangi ku b’oluganda abaggwamu amaanyi bajja kusobola okukola kye kimu.
21, 22. Kiki kye tuyinza okugamba abo abakomawo eri Yakuwa?
21 Oyo eyabula okuva mu kisibo bw’aba atya okuddamu okusisinkana ab’oluganda, mujjukize essanyu eryaliwo ng’omwana omujaajaamya azzeeyo eka. Mu ngeri y’emu, ab’omu kibiina basanyuka nnyo bwe wabaawo eyabula akomyewo mu kisibo. Mubakubirize babeeko kye bakola mu bwangu basobole okuziyiza Omulyolyomi era basemberere Katonda.—Yak. 4:7, 8.
22 Abo abakomawo eri Yakuwa baanirizibwa n’essanyu lingi. (Kung. 3:40) Tewali kubuusabuusa nti ebyo bye baakolanga nga baweereza Katonda byabaleeteranga essanyu lya nsusso. Emikisa ntoko egirindiridde abo abadda mu kisibo awatali kulwa!
Wandizzeemu Otya?
• Oyinza otya okuyamba Omukristaayo eyeesittala n’aggwamu amaanyi?
• Ow’oluganda eyava mu kisibo olw’enjigiriza gy’atakkiriziganya nayo ayinza kuyambibwa atya?
• Ow’oluganda ayagala okudda mu kibiina naye ng’atya ayinza kuyambibwa atya?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]
Wuliriza n’obwegendereza nga mukkiriza munno eyaggwamu amaanyi ayogera ekimuli ku mutima
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Okufumiitiriza ku lugero lwa Yesu olw’omwana omujaajaamya kiyinza okuyamba abamu okudda mu kisibo