Yogera Amazima ne Munno
“Kaakano nga bwe mweyambudde obulimba, mwogere amazima buli muntu eri munne, kubanga tuli bitundu bya mubiri gumu.”—BEF. 4:25.
1, 2. Abantu bangi balina ndowooza ki ku kwogera amazima?
ABANTU bamaze ebbanga ddene nnyo nga beebuuza obanga nga kisoboka okwogera amazima ameereere. Mu kyasa eky’omukaaga E.E.T., omuwandiisi w’ebitontome Omuyonaani ayitibwa Alcaeus yagamba nti: “Mu mwenge mwe muli amazima.” Yali ategeeza nti omuntu okwogera amazima alina kusooka kunywa mwenge n’atamiira. Olw’okuba Gavana Omuruumi Pontiyo Piraato ow’omu kyasa ekyasooka naye yali tategeera bulungi bikwata ku mazima, mu ngeri ey’okukiina yabuuza Yesu nti: “Amazima kye ki?”—Yok. 18:38.
2 Leero, waliwo endowooza nnyingi nnyo ezikontana ku makulu agali mu kigambo “mazima.” Bangi bagamba nti kirina amakulu mangi, oba nti buli muntu akitegeera bubwe. Ate abalala beetegefu okwogera amazima bwe kiba nga kibaganyula oba nga tekibakaluubiriza. Ekitabo ekiyitibwa The Importance of Lying kigamba nti: “Okwogera amazima kiyinza okuba ekirungi, naye tekirina nnyo mugaso mu bulamu bwaffe buno obw’okuwatanya obuwatanya. Mu nsonga eno omuntu talina kya kukola—alina kulimba okusobola okubeerawo.”
3. Lwaki Yesu yali kyakulabirako kirungi mu kwogera amazima?
3 Nga waliwo enjawulo ya maanyi bwe kituuka ku bagoberezi ba Kristo! Yesu yali ategeera bulungi amazima era bulijjo yayogeranga mazima meereere. Kino n’abalabe be baali bakimanyi era lumu bagamba nti: “Omuyigiriza, tumanyi nti oli wa mazima era oyigiriza ekkubo lya Katonda mu mazima.” (Mat. 22:16) Leero, Abakristaayo ab’amazima bakoppa ekyokulabirako kya Yesu ekyo. Tebalonzalonza kwogera mazima era bakkiriziganya n’omutume Pawulo eyagamba bakkiriza banne nti: “Kaakano nga bwe mweyambudde obulimba, mwogere amazima buli muntu eri munne.” (Bef. 4:25) Kati ka twekenneenye ebintu bisatu mu bigambo ebyo Pawulo bye yayogera. Ekisooka, munnaffe y’ani? Ekyokubiri, okwogera amazima kitegeeza ki? Ekyokusatu, tuyinza tutya okwogera amazima mu bulamu bwaffe obwa bulijjo?
Munnaffe y’Ani?
4. Obutafaananako bakulembeze ba Bayudaaya, Yesu yayoleka atya endowooza ya Yakuwa ku ani gwe tusaanidde okutwala nga munnaffe?
4 Mu kyasa ekyasooka E.E., abakulembeze b’Abayudaaya abamu baayigirizanga nti Bayudaaya bannaabwe oba mikwano gyabwe bokka be baali bagwana okuyitibwa ‘bannaabwe.’ Kyokka Yesu yayolekera ddala engeri za Kitaawe n’endowooza ye. (Yok. 14:9) Yalaga abayigirizwa be nti Katonda talina ggwanga ly’atwala nti lya waggulu ku linnaalyo. (Yok. 4:5-26) Ate era omwoyo omutukuvu gwayamba omutume Peetero okutegeera nti “Katonda tasosola, naye mu buli ggwanga omuntu amutya n’akola eby’obutuukirivu amukkiriza.” (Bik. 10:28, 34, 35) N’olwekyo, tusaanidde okutwala abantu bonna nga bannaffe, nga tulaga n’abo abatuyigganya okwagala.—Mat. 5:43-45.
5. Okwogera amazima ne munnaffe kitegeeza ki?
5 Naye Pawulo yali ategeeza ki bwe yagamba nti tusaanidde okwogera amazima ne bannaffe? Okwogera amazima kizingiramu okwogera ebintu ebituufu ebitaliimu bulimba bwonna. Abakristaayo ab’amazima tebakyusakyusa bintu mu bugenderevu basobole okubuzaabuza abalala. ‘Bakyawa ekibi era banywerera ku kirungi.’ (Bar. 12:9) Tusaanidde okukoppa “Katonda ow’amazima” nga tufuba okwogera amazima n’okuba abeesimbu mu buli kye tukola. (Zab. 15:1, 2; 31:5) Ne bwe twesanga mu mbeera gye tuteetegekedde, okufumiitiriza ku bye tugenda okwogera kiyinza okutuyamba okugiyitamu nga tetwogedde bya bulimba.—Soma Abakkolosaayi 3:9, 10.
6, 7. (a) Okwogera amazima kitegeeza nti oli bw’akubuuza ekintu oba olina okumubuulira buli ky’okimanyiiko? Nnyonnyola. (b) Baani be tusaanidde okwesiga ne tubabuulira amazima?
6 Okwogera amazima kitegeeza nti oli bw’akubuuza ekintu oba olina okumubuulira buli ky’okimanyiiko? Nedda. Bwe yali ku nsi, Yesu yalaga nti abantu abamu tetusaanidde kubaddamu butereevu oba kubabuulira kye baagala. Ng’ekyokulabirako, abakulembeze b’eddiini bwe baamubuuza gye yaggya amaanyi n’obuyinza okukola ebyamagero, Yesu yaddamu nti: “Nange ka mbabuuze ekibuuzo kimu. Bwe munanziramu nange nja kubabuulira gye nnaggya obuyinza okukola ebintu bino.” Abawandiisi n’abakadde bwe baagaana okuddamu ekibuuzo kye, Yesu yagamba nti: “Nange sijja kubabuulira gye nzigya buyinza kukola bintu bino.” (Mak. 11:27-33) Yakiraba nti kyali tekisaana kubabuulira kye baagala olw’okuba baali bantu babi era abatalina kukkiriza. (Mat. 12:10-13; 23:27, 28) Mu ngeri y’emu, abantu ba Yakuwa balina okwegendereza bakyewaggula n’abantu abalala ababi abayinza okubaako bye bababuuza nga balina ebigendererwa ebibi.—Mat. 10:16; Bef. 4:14.
7 Pawulo naye yalaga nti abantu abamu tebagwana kubuulira buli kimu oba kuddibwamu mu bujjuvu. Yagamba nti ‘ab’olugambo n’abo abeeyingiza mu nsonga z’abalala boogera ebintu bye batasaanidde kwogera.’ (1 Tim. 5:13) Yee, abo abeeyingiza mu nsonga z’abalala oba abatakuuma kyama bayinza okwesanga nga bannaabwe tebaagala kubabuulira bibakwatako. Nga kiba kirungi okukolera ku kubuulira kwa Pawulo kuno: ‘Mukifuule kiruubirirwa kyammwe okubeeranga mu mirembe n’obuteeyingizanga mu bya balala.’ (1 Bas. 4:11) Kyokka abakadde oluusi kibeetaagisa okutubuuza ebitukwatako basobole okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe. Mu mbeera ng’eyo, kitwetaagisa okwogera amazima.—1 Peet. 5:2.
Yogera Amazima mu Maka
8. Okwogera amazima kiyamba kitya ab’omu maka okunyweza omukwano gwabwe?
8 Emirundi egisinga, abantu be tubeera nabo awaka be basinga okuba mikwano gyaffe. Okusobola okunyweza omukwano ogwo, buli omu alina okwogera amazima ne munne. Twewala ebizibu n’okufuna obutategeeragana bwe tuba abeesimbu era ab’amazima mu nkolagana yaffe n’abalala. Ng’ekyokulabirako, bw’oba okoze ensobi ozibuwalirwa okugikkiriza mu maaso g’abo b’obeera nabo awaka? Okwetonda mu bwesimbu kiyamba okuleetawo emirembe n’obumu mu maka.—Soma 1 Peetero 3:8-10.
9. Lwaki tetusaanidde kwogera bubi ne bwe tuba nga twogera mazima?
9 Omuntu ne bw’aba ng’ayogera mazima, bw’ayogera obubi tekiyisa bulungi balala. Pawulo yagamba nti: “Okusiba ekiruyi, okunyiiga, okusunguwala, okuyomba, okuvuma, awamu n’obubi bwonna biggyibwe mu mmwe. Naye mubeerenga ba kisa buli muntu eri munne, nga musaasiragana, nga musonyiwagana nga Katonda bwe yabasonyiwa okuyitira mu Kristo.” (Bef. 4:31, 32) Bwe twogera mu ngeri ennungi era ey’ekisa, kyongera amakulu mu bye twogera era kiraga nti tuwa ekitiibwa abo be tuba twogera nabo.—Mat. 23:12.
Yogera Amazima mu Kibiina
10. Abakadde bayiga ki mu ky’okuba nti Yesu yayogeranga amazima?
10 Yesu yayogeranga n’abayigirizwa be mu ngeri ennyangu okutegeera. Wadde nga yababuuliriranga mu ngeri ya kwagala, teyabikkiriranga kikyamu asobole okubasanyusa. (Yok. 15:9-12) Ng’ekyokulabirako, abayigirizwa be bwe baakaayana emirundi egiwerako ku ky’ani ku bo eyali asinga obukulu, Yesu yabagamba kaati nti baalina okuba abeetoowaze. (Mak. 9:33-37; Luk. 9:46-48; 22:24-27; Yok. 13:14) Mu ngeri y’emu, abakadde balina okulaba nti abantu ba Katonda batambulira ku mitindo gy’obutuukirivu, naye nga tebabakajjalako. (Mak. 10:42-44) Bakoppa Kristo nga ‘balaga ekisa buli muntu eri munne’ era ‘nga balaga obusaasizi’ mu nkolagana yaabwe n’abalala.
11. Okwagala kwe tulina eri baganda baffe kutukubiriza kukola ki?
11 Tusobola okutegeeza baganda baffe ekituli ku mutima nga tetwogedde mu ngeri ebaleetera kuwulira bubi. Mu butuufu, tetwandyagadde lulimi lwaffe lube “ng’akamwano ak’obwogi,” nga twogera ebigambo ebivuma, ebirumya oba ebifeebya abalala. (Zab. 52:2; Nge. 12:18) Okwagala kwe tulina eri baganda baffe kutukubiriza ‘okuziyiza olulimi lwaffe luleme kwogera bubi, n’emimwa gyaffe gireme kwogera bya bukuusa.’ (Zab. 34:13) Mu ngeri eyo tuba tuwa Katonda ekitiibwa era tuba tutumbula emirembe mu kibiina.
12. Ddi lwe kiyinza okwetaagisa okukangavvula omuntu ng’ayogedde eby’obulimba? Nnyonnyola.
12 Abakadde bafuba okulaba nti ekibiina tekibaamu bantu boogera bya bulimba ku bannaabwe. (Soma Yakobo 3:14-16.) Omuntu ayogera eby’obulimba ku mulala aba ayagala kumulumya. Okwogera eby’obulimba kisingawo ku kusavuwaza ebintu oba okwogera ebibuzaabuza. Kyo kituufu nti obulimba obw’engeri zonna bubi, naye ekyo tekitegeeza nti omuntu buli lw’ayogera ekitali kituufu aba yeetaaga kukangavvula. N’olwekyo, nga tebannasalawo kukangavvula muntu, abakadde balina okusooka okwetegereza obanga ddala agufudde muze okwogera eby’obulimba alumye abalala. Oluusi okumusomera obusomezi Ebyawandiikibwa n’okumulabula kimala.
Yogera Amazima ng’Okola Bizineesi
13, 14. (a) Mu ngeri ki abantu abamu gye batali ba mazima ku mirimu? (b) Birungi ki ebiyinza okuva mu kuba omwesigwa era ow’amazima ku mulimu?
13 Olw’okuba obulimba bungi nnyo ennaku zino, abantu bayinza okuzibuwalirwa okubuulira bakama baabwe amazima. Bwe baba basaba emirimu, abantu bangi teboogera mazima nga babuuziddwa ebibakwatako. Ng’ekyokulabirako bayinza okulimba ebikwata ku buyigirize bwabwe n’obumanyirivu bwe balina basobole okufuna emirimu egisasula obulungi. Ku luuyi olulala, abakozi bangi bayinza okwefuula abakola emirimu gya kampuni ng’ate bali mu kwekolera byabwe. Bayinza okusoma ebintu ebitalina kakwate na mirimu gyabwe, okukuba oba okusindikira obubaka ku ssimu, oba okudda ku Internet.
14 Okuba omwesimbu era ow’amazima Abakristaayo bakitwala ng’etteeka. (Soma Engero 6:16-19.) Pawulo yagamba: “Twagala okubeera abeesigwa mu bintu byonna.” (Beb. 13:18) N’olwekyo, Abakristaayo bakakasa nti ssente ezibasasulwa buli lunaku bazikolerera. (Bef. 6:5-8) Bwe tubeera abakozi abanyiikivu kiweesa Kitaffe ow’omu ggulu ettendo. (1 Peet. 2:12) Ng’ekyokulabirako, olw’okuba Roberto ow’omu mu Spain yali munyiikivu era mwesigwa ku mulimu, mukama we yamusiima nnyo era kampuni mwe yali akola yasalawo okuwa Abajulirwa abalala emirimu. Nabo baali bakozi banyiikivu, era gye byaggwera nga Roberto afunidde Abajulirwa 23 emirimu, n’abayizi ba Baibuli 8!
15. Omukristaayo akola bizineesi ayinza atya okulaga nti wa mazima?
15 Bwe tuba nga twekozesa ffekka, twogera mazima n’abo be tukolagana nabo oba oluusi tulimba? Omukristaayo akola bizineesi tasaanidde kulimba asobole okutunda ebintu bye, wadde okuwa enguzi oba okugirya. Tusaanidde okuyisa abalala mu ngeri gye twagala batuyiseemu.—Nge. 11:1; Luk. 6:31.
Yogera Amazima n’Ab’obuyinza
16. Abakristaayo bagondera batya (a) ab’obuyinza? (b) Yakuwa?
16 Yesu yagamba nti: “Ebya Kayisaali mubiwe Kayisaali, naye ebya Katonda mubiwe Katonda.” (Mat. 22:21) ‘Bintu’ ki bye tulina okuwa Kayisaali, oba ab’obuyinza? Yesu okwogera ebigambo ebyo yali ayogera ku bya misolo. Bwe kityo Abakristaayo bakuuma omuntu waabwe ow’omunda nga muyonjo eri Katonda n’eri abantu nga bagondera amateeka ga gavumenti, omuli n’okusasula emisolo. (Bar. 13:5, 6) Naye tukimanyi nti Yakuwa ye Mufuzi ow’oku Ntikko era ye Katonda yekka ow’amazima gwe twagala n’omutima gwaffe gwonna, n’obulamu bwaffe bwonna, n’amagezi gaffe gonna, n’amaanyi gaffe gonna. (Mak. 12:30; Kub. 4:11) N’olwekyo, tusaanidde okumugondera awatali kwerekamu.—Soma Zabbuli 86:11, 12.
17. Abajulirwa ba Yakuwa batwala batya eky’okufuna obuyambi okuva mu gavumenti?
17 Amawanga mangi gaba n’enteekateeka ez’okuyamba abantu ababa mu bwetaavu. Tewali kigaana Mukristaayo kufuna buyambi ng’obwo bw’aba abugwanira. Okwogera amazima ne bannaffe kitwaliramu okwewala okulimba tusobole okufuna obuyambi ng’obwo okuva mu gavumenti.
Emikisa Egiva mu Kuba ow’Amazima
18-20. Mikisa ki egiva mu kwogera amazima ne bannaffe?
18 Okuba ab’amazima kivaamu emikisa mingi. Tuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo, era kino kituyamba okuba n’emirembe mu mutima. (Nge. 14:30; Baf. 4:6, 7) Okuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo kintu kya muwendo nnyo mu maaso ga Katonda. Ate era, bwe twogera amazima mu buli kintu, tetubaamu kweraliikirira nti waliwo ebikyamu bye twakola ebijja okumanyika.—1 Tim. 5:24.
19 Lowooza ne ku mukisa omulala. Pawulo yagamba nti: ‘Mu byonna tukiraga nti tuli baweereza ba Katonda nga twogera amazima.’ (2 Kol. 6:4, 7) Bwe kityo bwe kyali ku Mujulirwa omu ow’omu Bungereza. Bwe yali atunda emmotoka ye, omusajja gwe yali ayagala okugiguza yamubuulira ebirungi n’ebikyamu byonna ebyagiriko, omwali n’ebyo omuntu bye yali tasobola kulaba. Oluvannyuma lw’okugivugamu awulire embeera yaayo, omusajja yamubuuza obanga yali Mujulirwa wa Yakuwa. Kyava ku ki okumubuuza bw’atyo? Kyava ku kuba nti ow’oluganda oyo yali amubuulidde amazima era ng’ayambadde bulungi. Kino kyasobozesa ow’oluganda okuwa omusajja oyo obujulirwa.
20 Naffe tuweesa Omutonzi waffe ettendo nga tufuba okuba abeesimbu era ab’amazima? Pawulo yagamba nti: “Twalekayo ebintu ebikolebwa mu kyama ebikwasa ensonyi, nga tetutambulira mu bukuusa.” (2 Kol. 4:2) N’olwekyo, ka tufube okwogeranga amazima bulijjo ne bannaffe. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kuweesa Kitaffe ow’omu ggulu ekitiibwa awamu n’abantu be.
Wandizzeemu Otya?
• Munnaffe y’ani?
• Okwogera amazima ne munnaffe kitegeeza ki?
• Okuba ow’amazima kiweesa kitya Katonda ettendo?
• Mikisa ki egiva mu kuba ow’amazima?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
Okkiriza ensobi zo, ne bwe ziba ntono?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]
Oyogera amazima ng’osaba omulimu?