Okubeera Abantu ba Yakuwa—Kisa kya Nsusso
“Tuli ba Yakuwa.”—BAR. 14:8.
1, 2. (a) Nkizo ki gye tulina? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya?
ABAISIRAERI baawebwa enkizo ey’ekitalo Yakuwa bwe yabagamba nti: “Munaabanga ekintu kyange ekiganzi mmwe mu mawanga gonna.” (Kuv. 19:5) Leero, Abakristaayo nabo balina enkizo ey’okubeera abantu ba Yakuwa. (1 Peet. 2:9; Kub. 7:9, 14, 15) Kino kivaamu emiganyulo egy’olubeerera.
2 Ng’oggyeko okuba enkizo, okubeera abantu ba Yakuwa kituwa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi. Abamu bayinza okwebuuza nti: ‘Ddala nnaasobola okukola ebyo Yakuwa by’ayagala? Bwe nnaakola ekibi, Yakuwa tankyawe? Okubeera omuntu wa Yakuwa tekimmaleeko ddembe lyange?’ Kirungi okulowooza ku bintu ng’ebyo, naye kikulu okusooka okulowooza ku kibuuzo kino: Miganyulo ki egiri mu kubeera omuntu wa Yakuwa?
Okubeera Abantu ba Yakuwa Kireeta Essanyu
3. Lakabu yaganyulwa atya bwe yasalawo okuweereza Yakuwa?
3 Waliwo emiganyulo gyonna egiri mu kubeera abantu ba Yakuwa? Lowooza ku Lakabu, omukazi malaaya eyali abeera mu kibuga Yeriko eky’edda. Yakuzibwa ng’asinza bakatonda b’Abakanani abaali bakubiriza obugwenyufu. Kyokka, bwe yawulira obuwanguzi Yakuwa bwe yali awadde eggwanga lya Isiraeri, yakitegeera nti Yakuwa ye Katonda ow’amazima. Bw’atyo yakweka abantu ba Katonda era n’abeesiga okutaasa obulamu bwe, wadde nga kino kyali kiyinza okumusuula mu kabi. Baibuli egamba nti: “Lakabu malaaya teyayitibwa mutuukirivu olw’ebikolwa, oluvannyuma lw’okusembeza ababaka era n’abayisa mu kkubo eddala?” (Yak. 2:25) Lowooza ku ngeri gye yaganyulwa mu kufuuka omu ku bantu ba Katonda abalongoofu, abaali batambulira ku Mateeka ge ag’okwagala n’obwenkanya. Ng’alina okuba nga yasanyuka nnyo okuba nti yali alese amakubo ge amabi! Yafumbirwa omusajja Omuisiraeri era yazaala Bowaazi, omusajja eyaweereza Katonda n’obwesigwa.—Yos. 6:25; Luus. 2:4-12; Mat. 1:5, 6.
4. Luusi yaganyulwa atya bwe yasalawo okuweereza Yakuwa?
4 Luusi ow’e Mowaabu naye yasalawo okuweereza Yakuwa. Kirabika yakula asinza Kemosi ne bakatonda ba Mowaabu abalala, naye oluvannyuma yategeera Katonda ow’amazima, Yakuwa, era yafumbirwa omusajja Omuisiraeri eyali asenze mu nsi ye. (Soma Luusi 1:1-6.) Nga wayise ekiseera, Luusi ne Olupa, muka mulamu we, bwe baasalawo okugenda ne nnyazaala waabwe Nawomi e Besirekemu, Nawomi yabakubiriza okuddayo ewaabwe olw’okuba kyandibazibuwalidde okubeera mu Isiraeri. Olupa ye ‘yaddayo eri abantu be n’eri bakatonda be,’ naye Luusi yagaana. Yalaga okukkiriza era yali amanyi gw’ayagala okuweereza. Yagamba Nawomi nti: “Tonneegayirira kukuleka, n’okuddayo obutakugoberera: kubanga gy’onoogendanga, gye nnaagendanga nze: era gy’onoosulanga, gye nnaasulanga nze: abantu bo be banaabanga abantu bange, era Katonda wo Katonda wange.” (Luus. 1:15, 16) Olw’okuba yasalawo okuweereza Yakuwa, Luusi yaganyulwa mu Mateeka ga Katonda agaali galambika engeri y’okuyambamu bannamwandu, abaavu, n’abataalina ttaka. Yakuwa yamulabirira, yamukuuma, era yamuwa emikisa.
5. Kiki kye weetegerezza ku bantu abaweereza Yakuwa n’obwesigwa?
5 Oyinza okuba ng’olina abantu b’omanyi abeewaayo eri Yakuwa era nga bamuweerezza n’obwesigwa okumala emyaka mingi. Babuuze emiganyulo gye bafunye mu kumuweereza. Wadde nga tewali atafuna bizibu, waliwo obujulizi bungi obulaga obutuufu bw’ebigambo by’omuwandiisi wa Zabbuli bino: “Balina essanyu abantu abalina Katonda waabwe nga ye Yakuwa.”—Zab. 144:15, NW.
Yakuwa Amanyi Obusobozi Bwaffe We Bukoma
6. Lwaki tetusaanidde kutya nti tetusobola kutuukiriza Yakuwa by’ayagala?
6 Oyinza okuba ng’olowooza nti tojja kusobola kutuukiriza Yakuwa by’ayagala. Kyangu okulowooza nti kizibu okubeera omuweereza wa Katonda, okukwata amateeka ge, n’okwogera mu linnya lye. Ng’ekyokulabirako, Musa bwe yatumibwa eri Abaisiraeri n’eri Kabaka w’e Misiri, yawulira nti talina busobozi kukikola. Naye Yakuwa yali amanyi obusobozi bwe we bukoma era ‘yamulaga eky’okukola.’ (Soma Okuva 3:11; 4:1, 10, 13-15.) Olw’okuba Musa yakkiriza obuyambi obwamuweebwa, yafuna essanyu eriva mu kutuukiriza ebyo Katonda by’ayagala. Naffe Yakuwa amanyi obusobozi bwaffe we bukoma. Amanyi nti tetutuukiridde, era ayagala okutuyamba. (Zab. 103:14) Okuweereza Katonda nga tugoberera Yesu tekitukooya wabula kituzzaamu buzza maanyi kubanga kiganyula abalala era kisanyusa omutima gwa Yakuwa. Yesu yagamba nti: “Mujje gye ndi . . . nange nnaabawummuza. Mwetikke ekikoligo kyange era muyigire ku nze, kubanga ndi muteefu era muwombeefu mu mutima.”—Mat. 11:28, 29.
7. Kiki ekiraga nti Yakuwa ajja kukuyamba okukola by’ayagala?
7 Yakuwa bulijjo aba mwetegefu okutuyamba kasita tumwesiga. Ng’ekyokulabirako, Yeremiya yali atya okwogera eri abantu. Bwe kityo Yakuwa bwe yamutuma okuweereza nga nnabbi, Yeremiya yagamba nti: “Woowe, Mukama Katonda! laba, siyinza kwogera: kubanga ndi mwana muto.” Olulala yagamba nti: “Sikyayogerera mu linnya lye.” (Yer. 1:6; 20:9) Kyokka Yakuwa yayamba Yeremiya okuba omuvumu n’asobola okulangirira obubaka obwali butasanyusa bantu okumala emyaka 40. Yakuwa yamugumyanga ng’amugamba nti: “Nze ndi wamu naawe okukuwonya.”—Yer. 1:8, 19; 15:20.
8. Tuyinza tutya okulaga nti twesiga Yakuwa?
8 Nga Yakuwa bwe yayamba Musa ne Yeremiya, naffe asobola okutuyamba okukola by’ayagala. Kye tulina okukola kwe kumwesiga. Baibuli egamba nti: “Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe: Mwatulenga mu makubo go gonna, kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.” (Nge. 3:5, 6) Tulaga nti twesiga Yakuwa bwe tukkiriza obuyambi bw’atuwa okuyitira mu Kigambo kye ne mu kibiina kye. Bwe tukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa, tewali kijja kutulemesa kuba beesigwa gy’ali.
Yakuwa Afaayo ku Buli Muweereza We
9, 10. Bukuumi bwa ngeri ki obwogerwako mu Zabbuli 91?
9 Bwe balowooza ku kwewaayo eri Yakuwa, abamu batya nti bayinza okukola ebibi eby’amaanyi Yakuwa n’abakyawa ne baba nga tebakyasaanira mu maaso ge. Kikulu okukijjukira nti Yakuwa atuwa obuyambi obwetaagisa okusobola okukuuma enkolagana yaffe naye. Ka tulabe engeri kino gye kyogerwako mu Zabbuli 91.
10 Zabbuli eyo etandika bw’eti: “Atuula mu kifo eky’ekyama eky’oyo ali waggulu ennyo ye anaabeeranga wansi w’ekisiikirize eky’Omuyinza w’ebintu byonna. N[n]aayogeranga ku Mukama nti Oyo kye kiddukiro kyange, era kye kigo kyange: Katonda wange gwe nneesiga. Kubanga oyo ye anaakulokolanga mu mutego ogw’omuyizzi.” (Zab. 91:1-3) Weetegereze nti Katonda asuubiza okukuma abo abamwagala era abamwesiga. (Soma Zabbuli 91:9, 14.) Bukuumi bwa ngeri ki bwe yali ayogerako? Kituufu nti Yakuwa yakuuma abaweereza be abamu mu biseera by’edda ne batatuukibwako kabi—oluusi yakikolanga olw’okukuuma olunyiriri Masiya mwe yandiyitidde. Kyokka waliwo abaweereza be bangi abeesigwa abaasibibwa mu makomera, abaatulugunyizibwa, era ne battibwa nga Sitaani agezaako okubalemesa okusigala nga beesigwa eri Katonda. (Beb. 11:34-39) Ebyo byonna baasobola okubigumira olw’okuba Yakuwa yabakuuma ne batatuukibwako kabi mu by’omwoyo. N’olwekyo, obukuumi obwogerwako mu Zabbuli 91 bwa bya mwoyo.
11. ‘Ekifo eky’ekyama eky’Oyo Ali Waggulu Ennyo’ kye kiruwa, era baani Katonda b’aweeramu obukuumi?
11 ‘Ekifo eky’ekyama eky’Oyo Ali Waggulu Ennyo,’ omuwandiisi wa Zabbuli ky’ayogerako, kifo kya kabonero abantu gye bafunira obukuumi obw’eby’omwoyo. Abo abakibeeramu baba kumpi ne Katonda era tewaba muntu oba kintu kyonna kiyinza kubalemesa kumukkiririzaamu na kumwagala. (Zab. 15:1, 2; 121:5) Kifo kya kyama kubanga abatali bakkiriza tebasobola kukitegeera. Mu kifo kino Yakuwa mw’akuumira abantu be ababa ng’abagamba nti: ‘Oli Katonda wange gwe nneesiga.’ Bwe tusigala mu kifo kino omuli obukuumi, tuba tetulina kutya nti tujja kugwa mu mutego gwa Sitaani, “omuyizzi,” Katonda atukyawe.
12. Bintu ki ebiyinza okwonoona enkolagana yaffe ne Katonda?
12 Bintu ki ebiyinza okwonoona enkolagana yaffe ne Katonda? Omuwandiisi wa Zabbuli amenyayo ebimu, nga mu byo mwe muli ‘olumbe olutambula mu kizikiza n’okuzikiriza okufaafaaganya mu ttuntu.’ (Zab. 91:5, 6) “Omuyizzi” akwasizza abantu bangi abasikirizibwa omwoyo gwa kyetwala. (2 Kol. 11:3) Abalala abakwasa ng’abaleetera okwagala ennyo ebintu, omululu, era n’amalala. N’abalala ababuzaabuza ng’ayitira mu mwoyo gwa ggwanga, mu njigiriza nti ebintu byajja bifuukafuuka, ne mu ddiini ez’obulimba. (Bak. 2:8) Era bangi bagudde mu mutego nga beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Ebintu ng’ebyo lumbe lwennyini olw’eby’omwoyo oluviiriddeko bangi okuddirira mu kwagala kwabwe eri Katonda.—Soma Zabbuli 91:7-10; Mat. 24:12.
Okukuuma Okwagala kw’Olina eri Katonda
13. Yakuwa atukuuma atya ne tutatuukibwako kabi mu by’omwoyo?
13 Yakuwa akuuma atya abantu be ne beewala ebintu ebyo eby’akabi? Zabbuli eyo egamba nti: “Alikulagiririza bamalayika be, bakukuume mu makubo go gonna.” (Zab. 91:11) Bamalayika batuwa obulagirizi n’obukuumi ne tusobola okubuulira amawulire amalungi. (Kub. 14:6) Ng’oggyeko bamalayika, abakadde mu kibiina bwe banywerera ku Byawandiikibwa nga bayigiriza, batuyamba obutabuzaabuzibwa njigiriza nkyamu. Bayamba buli omu aba afuba okulwanyisa endowooza z’ensi. (Tit. 1:9; 1 Peet. 5:2) “Omuddu omwesigwa era ow’amagezi” naye atuwa emmere ey’eby’omwoyo etuyamba okwewala ebintu eby’akabi gamba ng’enjigiriza egamba nti ebintu byajja bifuukafuuka, empisa ez’obugwenyufu, okwenoonyeza eby’obugagga, n’ettutumu. (Mat. 24:45) Kiki ekikuyambye okuziyiza ebintu ng’ebyo eby’akabi?
14. Tulina kukola ki okusobola okufuna obukuumi bwa Katonda?
14 Tulina kukola ki okusobola okusigala mu ‘kifo kya Katonda eky’ekyama’ omuli obukuumi? Nga bwe tufuba okwekuuma ebintu ebiyinza okuba eby’akabi eri obulamu bwaffe, gamba ng’obubenje, abantu ababi, n’endwadde, bwe tutyo bwe tulina okwekuuma ebintu ebiyinza okututuusaako akabi mu by’omwoyo. N’olwekyo, tusaanidde okukolera ku bulagirizi bwonna Yakuwa bw’atuwa okuyitira mu bitabo byaffe, mu nkuŋŋaana z’ekibiina, ne mu nkuŋŋaana ennene. Tusobola n’okusaba abakadde batuwe amagezi. Era tuganyulwa mu ngeri za Bakristaayo bannaffe ennungi nga tukola omukwano nabo, ekyo ne kituyamba okweyisa mu ngeri ey’amagezi.—Nge. 13:20; soma 1 Peetero 4:10.
15. Lwaki oli mukakafu nti Yakuwa asobola okutukuuma ne twewala ebintu ebiyinza okwonoona enkolagana yaffe naye?
15 Tewali nsonga yandituleetedde kubuusabuusa obanga Yakuwa asobola okutukuuma ne twewala ebintu ebiyinza okwonoona enkolagana yaffe naye. (Bar. 8:38, 39) Akuumye ekibiina kye bannaddiini ne bannabyabufuzi ab’amaanyi ne batasobola kutuggya ku Katonda waffe omutukuvu wadde ng’ekyo kye kigendererwa kyabwe. Yakuwa kye yasuubiza kituukiridde: “Tewaabenga kya kulwanyisa kye baliweesa okulwana naawe ekiriraba omukisa.”—Is. 54:17.
Ani Atuwa Eddembe?
16. Lwaki ensi tesobola kutuwa ddembe?
16 Okubeera abantu ba Yakuwa kitumalako eddembe? Nedda. Okubeera ab’ensi kye kitumalako eddembe. Ensi eno yeeyawula ku Yakuwa era efugibwa katonda omukambwe afuula abantu abaddu. (Yok. 14:30) Ng’ekyokulabirako, enteekateeka ya Sitaani ey’ebintu enyigiriza abantu mu by’enfuna n’ebamalako eddembe lyabwe. (Geraageranya Okubikkulirwa 13:16, 17.) Ekibi nakyo kireetera abantu okufuuka abaddu. (Yok. 8:34; Beb. 3:13) N’olwekyo, wadde ng’abatali bakkiriza balabika ng’abalina eddembe nga bakola ebintu ebikontana ne Yakuwa by’ayigiriza, abo ababagoberera beesanga nga bafuuse baddu ba kibi, era beemalamu ekitiibwa.—Bar. 1:24-32.
17. Ddembe ki Yakuwa ly’atuwa?
17 Ku luuyi olulala, Yakuwa ajja kutusumulula okuva mu buli kintu ekiyinza okutuviiramu akabi singa tumwesiga. Bwe tukola tutyo tuba ng’omulwadde omuyi akkiriza okulongoosebwa omusawo omukugu asobola okumuwonya. Ffenna tuli balwadde bayi olw’ekibi kye twasikira. Tetusobola kuba na ssuubi lya kuwona bizibu ebiva mu kibi na kufuna bulamu butaggwaawo okuggyako nga twesize Yakuwa okuyitira mu ssaddaaka ya Kristo. (Yok. 3:36) Nga bwe tweyongera okwesiga omusawo bwe tukimanya nti mukugu, bwe tutyo bwe tweyongera okwesiga Yakuwa bwe tugenda tuyiga ebimukwatako. N’olwekyo, twetaaga okwongera okwesomesa Ekigambo kya Katonda kituyambe okweyongera okumwagala n’okuggwaamu okutya okufuuka abantu be.—1 Yok. 4:18.
18. Tuganyulwa tutya mu kubeera abantu ba Yakuwa?
18 Yakuwa awa abantu bonna eddembe ery’okwesalirawo. Ekigambo kye kigamba nti: ‘Weeroboze obulamu, olyoke obenga omulamu, ggwe n’ezzadde lyo, ng’oyagalanga Mukama Katonda wo.’ (Ma. 30:19, 20) Ayagala tulage nti tumwagala nga twesalirawo ku lwaffe okumuweereza. Mu kifo ky’okutumalako eddembe, okubeera abantu ba Katonda gwe twagala kituyamba okufuna essanyu n’okulikuuma.
19. Lwaki okubeera abantu ba Yakuwa kisa kya nsusso?
19 Olw’okuba tuli boonoonyi, tetugwanira kubeera bantu Katonda atuukiridde. Naye kino kisoboka olw’ekisa kya Katonda eky’ensusso. (2 Tim. 1:9) Bwe kityo Pawulo yawandiika nti: “Bwe tuba abalamu, tuba balamu ku bwa Yakuwa, era bwe tufa, tufa ku bwa Yakuwa. N’olwekyo, ka tube nga tuli balamu oba nga tufudde, tuli ba Yakuwa.” (Bar. 14:8) Mazima ddala, tetuyinza kwejjusa olw’okusalawo okubeera abantu ba Yakuwa.
Wandizzeemu Otya?
• Tuganyulwa tutya mu kubeera abantu ba Yakuwa?
• Lwaki tusobola okukola ebyo Yakuwa by’ayagala?
• Yakuwa akuuma atya abaweereza be?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 8]
Saba abalala bakubuulire engeri gye baganyuddwa mu kubeera abantu ba Yakuwa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Ezimu ku ngeri Yakuwa mw’atuweera obukuumi ze ziruwa?