Musooke Munoonyenga “Obutuukirivu Bwe”
“Kale musooke munoonyenga obwakabaka n’obutuukirivu bwe, era ebintu ebirala byonna biribongerwako.”—MAT. 6:33.
1, 2. Obutuukirivu bwa Katonda kye ki, era bwesigamiziddwa ku ki?
“KALE musooke munoonyenga obwakabaka.” (Mat. 6:33) Ebigambo bino Yesu Kristo bye yayogera mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi Abajulirwa ba Yakuwa babimanyi bulungi nnyo. Mu buli kimu kye tukola mu bulamu, tufuba okulaga nti twagala gavumenti y’Obwakabaka obwo era nti twagala okuginywererako. Naye ng’ebigambo ebiddirira mu lunyiriri olwo bwe biraga, tulina n’okusooka okunoonya “obutuukirivu bwe.” Obutuukirivu bwa Katonda kye ki, era kitegeeza ki okusooka okubunoonya?
2 Ebigambo ebyavvuunulwa “obutuukirivu” era bisobola okutegeeza “obwenkanya” oba “obugolokofu.” Bwe kityo, obutuukirivu bwa Katonda bwe bugolokofu okusinziira ku mitindo gye. Ng’Omutonzi waffe, Yakuwa y’agwanidde okututeerawo emitindo egikwata ku kirungi n’ekibi, ku kituufu n’ekikyamu. (Kub. 4:11) Kyokka obutuukirivu bwa Katonda tebwesigamye ku lukunkumuli lw’amateeka gali awo. Mu kifo ky’ekyo, bwesigamye ku bwenkanya bwa Yakuwa awamu n’engeri ze endala enkulu—okwagala, amagezi, n’amaanyi. N’olwekyo, obutuukirivu bwa Katonda bulina akakwate n’ebyo by’ayagala awamu n’ekigendererwa kye. Buzingiramu ebyo bye yeetaagisa abo abaagala okumuweereza.
3. (a) Kitegeeza ki okusooka okunoonya obutuukirivu bwa Katonda? (b) Lwaki tunywerera ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu?
3 Kitegeeza ki okusooka okunoonya obutuukirivu bwa Katonda? Kitegeeza okukola Katonda by’ayagala okusobola okumusanyusa. Okunoonya obutuukirivu bwe kizingiramu okufuba okutambuliza obulamu bwaffe ku mitindo gye egy’obutuukirivu, so si ku mitindo gyaffe. (Soma Abaruumi 12:2.) Kino kirina kinene nnyo kye kikola ku nkolagana yaffe ne Yakuwa. Tetukwata mateeka ge olw’okuba tutya okubonerezebwa. Mu kifo ky’ekyo, okwagala kwe tulina eri Katonda kwe kutukubiriza okufuba okumusanyusa nga tunywerera ku mitindo gye, era nga twewala okweteerawo emitindo egyaffe ku bwaffe. Tukimanyi bulungi nti kino kye kintu ekituufu kye tusaanidde okukola, era twatondebwa nga tulina okukikola. Okufaananako Yesu Kristo, Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, tulina okwagala obutuukirivu.—Beb. 1:8, 9.
4. Lwaki kikulu okunoonya obutuukirivu bwa Katonda?
4 Lwaki kikulu okunoonya obutuukirivu bwa Yakuwa? Lowooza ku kino: Adamu ne Kaawa bwe baagezesebwa mu lusuku Adeni baali balina okukiraga obanga ddala bakkiriza nti Yakuwa y’agwanidde okubateerawo emitindo egy’okugoberera. (Lub. 2:17; 3:5) Olw’okuba baagaana okugoberera emitindo gye, ekyo kyaviirako bazzukulu baabwe okubonaabona n’okufa. (Bar. 5:12) Ku luuyi olulala, Ekigambo kya Katonda kigamba nti: ‘Agoberera obutuukirivu n’okusaasira alaba obulamu n’obutuukirivu n’ekitiibwa.’ (Nge. 21:21) Yee, okusooka okunoonya obutuukirivu bwa Katonda kituyamba okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, era ekyo kijja kututuusa ku bulokozi.—Bar. 3:23, 24.
Akabi Akali mu Kwetwala Okuba Omutuukirivu
5. Kintu ki kye tulina okwewala?
5 Bwe yali awandiikira Abakristaayo b’e Rooma, omutume Pawulo yayogera ku kintu ffenna kye tulina okwewala bwe tuba twagala okusooka okunoonya obutuukirivu bwa Katonda. Ng’ayogera ku Bayudaaya banne, Pawulo yagamba nti: “Mbawaako obujulirwa nti banyiikira okuweereza Katonda; naye okunyiikira kwabwe tekwesigamye ku kumanya okutuufu; kubanga olw’obutamanya butuukirivu bwa Katonda naye ne beeteerawo obwabwe, tebaagondera butuukirivu bwa Katonda.” (Bar. 10:2, 3) Okusinziira ku Pawulo, abantu abo baali tebategeera butuukirivu bwa Katonda kubanga baali beeteereddewo emitindo gy’obutuukirivu egyabwe ku bwabwe.a
6. Mwoyo ki gwe tusaanidde okwewala, era lwaki?
6 Tusobola okugwa mu katego ako singa tufuna omwoyo gw’okuvuganya n’abalala nga tuweereza Katonda. Ekyo kiyinza okutuleetera okutandika okulowooza nti obusobozi bwaffe bwa waggulu nnyo ku bw’abalala. Kyokka bwe tweyisa bwe tutyo, tuba tetutegeera butuukirivu bwa Yakuwa. (Bag. 6:3, 4) Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kwe kwanditukubirizza okukola ekituufu. N’olwekyo, bwe twetwala okuba abatuukirivu kiba tekiraga nti twagala Katonda.—Soma Lukka 16:15.
7. Yesu yalaga atya akabi akali mu kwetwala okuba omutuukirivu?
7 Yesu yayogera ku abo “abaali beetwala okuba abatuukirivu era nga banyooma abalala.” Ng’alaga akabi akali mu kwetwala okuba omutuukirivu, Yesu yagera olugero luno: “Abasajja babiri baagenda mu yeekaalu okusaba, omu yali Mufalisaayo, omulala ng’asolooza musolo. Omufalisaayo n’ayimirira n’atandika okusaba ebintu bino mu mutima gwe, ‘Ai Katonda, nkwebaza olw’okuba siri ng’abantu abalala, abanyazi, abatali batuukirivu, abenzi, oba ng’oyo asolooza omusolo. Nsiiba emirundi ebiri mu wiiki, mpaayo ekimu eky’ekkumi ku bintu byonna bye nfuna.’ Naye asolooza omusolo n’ayimirira walako, n’atayagala na kuyimusa maaso ge kutunula waggulu, naye n’akuba mu kifuba kye ng’agamba nti, ‘Ai Katonda, nsaasira nze omwonoonyi.’” Yesu yawunzika ng’agamba nti: “Mbagamba nti, Omusajja ono yaddayo ewuwe nga mutuukirivu okusinga oli; kubanga buli eyeegulumiza alitoowazibwa na buli eyeetoowaza aligulumizibwa.”—Luk 18:9-14.
‘Okwefuula Omutuukirivu Ekisukiridde’
8, 9. Kitegeeza ki ‘okwefuula omutuukirivu ekisukkiridde,’ era ekyo kiyinza kutuleetera kukola ki?
8 Ekintu ekirala kye tusaanidde okwewala kyogerwako mu Omubuulizi 7:16: ‘Tosukkiriranga kuba mutuukirivu; so teweefuulanga asukkiriza amagezi: lwaki ggwe okwezikiriza?’ Mu lunyiriri olwa 20, omuwandiisi wa Baibuli oyo alaga ensonga lwaki ekyo tusaanidde okukyewala ng’agamba nti: “Mazima tewali muntu mutuukirivu ku nsi akola ebirungi n’atayonoona.” Omuntu ‘eyeefuula omutuukirivu ekisukkiridde,’ yeeteerawo emitindo gye egy’obutuukirivu kw’asinziira okusalira abalala omusango. Kyokka alemererwa okukitegeera nti bw’akola bw’atyo aba atadde emitindo gye waggulu ku gya Katonda, bw’atyo n’afuuka atali mutuukirivu mu maaso ga Katonda.
9 ‘Okwefuula omutuukirivu ekisukkiridde,’ kiyinza okutuleetera okutandika okubuusabuusa engeri Yakuwa gy’akwatamu ebintu. Naye tusaanidde okukijjukira nti bwe tukola bwe tutyo, tuba tutandise okutwala emitindo gyaffe okuba egya waggulu ku gya Yakuwa. Tubanga abasalira Yakuwa omusango nga tusinziira ku mitindo gyaffe. Kyokka Yakuwa y’agwanidde okuteekawo emitindo egy’obutuukirivu, so si ffe!—Bar. 14:10.
10. Okufaananako Yobu, kiki ekiyinza okutuleetera okunenya Katonda?
10 Wadde nga tewali n’omu ku ffe yandyagadde kunenya Katonda, obutali butuukirivu bwaffe busobola okutuleetera okukikola. Kino kiba kyangu okukikola naddala singa wabaawo ekintu kye tulaba ng’ekitali kya bwenkanya oba bwe tuba twolekagana n’ebizibu. N’omusajja omwesigwa Yobu naye yakola ensobi eno. Mu kusooka, Yobu yayogerwako ‘ng’omusajja eyatuukirira, ow’amazima, atya Katonda ne yeewala okukola obubi.’ (Yob. 1:1) Kyokka Yobu yafuna ebizibu eby’omuddiriŋŋanwa, ekintu kye yalaba ng’ekitaali kya bwenkanya. Kino kyaleetera Yobu ‘okweyita omutuukirivu so si Katonda.’ (Yob. 32:1, 2) Yobu yali yeetaaga okuyambibwa okutereeza endowooza ye. N’olwekyo, naffe bwe twesanga mu mbeera ng’eyo, ekyo tekisaanidde kutwewuunyisa. Singa ekyo kitutuukako, kiki ekiyinza okutuyamba okutereeza endowooza yaffe?
Oluusi Tuba Tetumanyi Byonna Bizingirwamu
11, 12. (a) Bwe wabaawo ekintu kye tulowooza nti si kya bwenkanya, kiki kye tusaanidde okujjukira? (b) Lwaki kyangu okulowooza nti ekyo nnannyini nnimiro ey’emizabbibu ayogerwako mu lugero lwa Yesu kye yakola tekyali kya bwenkanya?
11 Ekintu ekisooka kye tulina okujjukira kiri nti oluusi tuba tetumanyi byonna bizingirwamu. Bw’atyo ne Yobu bwe yali. Yobu yali talina ky’amanyi ku lukuŋŋaana lwa bamalayika ba Katonda olwali mu ggulu Sitaani mwe yamwogererako eby’obulimba. (Yob. 1:7-12; 2:1-6) Yobu yali tamanyi nti ebizibu bye yali afuna Sitaani ye yali abimuleetera. Era kirabika nti Yobu yali tamanyidde ddala Sitaani y’ani. Bwe kityo yalowooza nti ebizibu bye yali afuna Katonda ye yali abimuleetera. Yee, kyangu okufuna endowooza enkyamu bwe tuba tetumanyi byonna bizingirwamu.
12 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku lugero lwa Yesu olukwata ku basajja abaakola mu nnimiro ey’emizabbibu. (Soma Matayo 20:8-16.) Mu lugero olwo, Yesu ayogera ku nnannyini nnimiro asasula abakozi be bonna empeera y’emu, ka babe nga bakoze lunaku lwonna oba nga bakozeeyo essaawa emu yokka. Ekyo ggwe okiraba otya? Okiraba ng’ekikolwa eky’obwenkanya? Mu kusooka oyinza okulowooza nti abakozi abaali bateganye okumala olunaku olulamba nga bakolera mu kasana baali batuufu okwemulugunya. Era oyinza okulowooza nti baali bagwana okusasulwa ekisingawo! Mu ngeri eyo, oyinza okulowooza nti nnannyini nnimiro teyayoleka kwagala na bwenkanya. N’engeri gye yaddamu abakozi abo abeemulugunya eyinza okukuleetera okulowooza nti yakozesezza bubi obuyinza bwe. Naye tumanyi byonna ebyali bizingirwamu?
13. Kiki ekirala kye tusaanidde okulowoozaako ku bikwata ku lugero lwa Yesu olw’abasajja abaakola mu nnimiro ey’emizabbibu?
13 Kati ka tulowooze ku lugero luno mu ngeri endala. Kya lwatu nti nnannyini nnimiro ayogerwako mu lugero luno yali akimanyi nti abasajja bano bonna baali balina amaka ag’okulabirira. Mu kiseera kya Yesu, abantu abaakolanga mu nnimiro baafunanga empeera ya lunaku. Empeera eyo, omuntu gye yakozesanga okuyimirizaawo ab’omu maka ge. Ng’olina kino mu birowoozo, lowooza ku abo nnannyini nnimiro be yasanga olweggulo, abaakolayo essaawa emu yokka. Oboolyawo tebandisobodde kuliisa ba mu maka gaabwe nga bakozesa empeera ey’essaawa emu yokka; so ng’ate baali beetegefu okukola olunaku lwonna naye nga baali babuliddwa abawa omulimu. (Mat. 20:1-7) Tegwali musango gwabwe okuba nti tebaakola lunaku lwonna. Tewali kiraga nti baali bagaanye bugaanyi okukola. Kirowoozeeko ng’oli awo okumala olunaku lwonna ng’olindiridde okufuna omulimu ng’ate okimanyi nti boolese eka balindiridde empeera gy’ogenda okufuna olunaku olwo. Nga wandibadde musanyufu nnyo okufunayo akalimu—era nga kyandikwewuunyisizza nnyo okufuna empeera ekumala okuliisa ab’omu maka go!
14. Olugero lw’abasajja abaakola mu nnimiro ey’emizabbibu lutuyigiriza ki?
14 Kati ka tweyongere okwetegereza ekyo nnannyini nnimiro kye yasalawo okukola. Tewali n’omu gwe yalyazaamaanya. Mu kifo ky’ekyo, yakiraba nti abakozi abo bonna baali beetaaga ssente okweyimirizaawo awamu n’ab’omu maka gaabwe. Olw’okuba waaliwo abakozi bangi abaali beetaaga emirimu, nnannyini nnimiro yandikozesezza akakisa ako okubasasula ssente entono, naye ekyo teyakikola. Abakozi bano bonna baddayo eka nga balina ssente ezimala okuliisa ab’omu maka gaabwe. Okufumiitiriza ku bintu bino byonna, kiyinza okutuyamba okutunuulira ekyo nnannyini nnimiro kye yakola mu ngeri entuufu. Ekyo kye yakola kyali kikolwa kya kwagala era teyakozesa bubi buyinza bwe. Kino kituyigiriza ki? Bwe tuteetegereza byonna ebizingirwamu tuyinza okufuna endowooza etali ntuufu. Mu butuufu, olugero luno lulaga nti emitindo gya Katonda egy’obutuukirivu gya waggulu nnyo, era tegyesigamiziddwa ku mateeka gokka oba ku ndaba y’abantu.
Endowooza Yaffe Eriko Ekkomo era Oluusi Eyinza Obutaba Ntuufu
15. Kiki ekiyinza okuleetera endowooza yaffe obutaba ntuufu n’okubaako ekkomo?
15 Ekintu eky’okubiri kye tusaanidde okujjukira bwe wabaawo ekintu kye tulaba ng’ekitali kya bwenkanya kiri nti endowooza yaffe eriko ekkomo era oluusi eyinza obutaba ntuufu. Obutali butuukirivu bwaffe, obusosoze, oba embeera mwe twakulira biyinza okutuleetera okuba n’endowooza etali ntuufu. Ate era endowooza yaffe eriko ekkomo olw’okuba tetusobola kumanya biruubirirwa by’abalala n’ekyo ekiri mu mitima gyabwe. Ku luuyi olulala, Yakuwa ne Yesu tebali nga ffe abantu.—Nge. 24:12; Mat. 9:4; Luk. 5:22.
16, 17. Lwaki Yakuwa teyakolera ku tteeka lye erikwata ku bwenzi nga Dawudi ne Basuseba boonoonye?
16 Kati ka twetegereze ebyo ebyaliwo nga Dawudi akoze obwenzi ne Basuseba. (2 Sam. 11:2-5) Okusinziira ku Mateeka ga Musa, bombi baali balina okuttibwa. (Leev. 20:10; Ma. 22:22) Wadde nga Yakuwa yababonereza, teyakolera ku tteeka eryo lye yali awadde. Kyandiba nti ekyo Yakuwa kye yakola tekyali kya bwenkanya? Yattira ku liiso Dawudi bw’atyo n’amenya emitindo gye egy’obutuukirivu? Abantu abamu abasoma Baibuli balowooza nti bwe kityo bwe kyali.
17 Kyokka etteeka lino erikwata ku bwenzi Yakuwa yali aliwadde abalamuzi abatatuukiridde, abaali batasobola kumanya kiri mu mutima. Wadde nga baali tebatuukiridde, etteeka lino lyabayamba okusala emisango mu ngeri ennungi. Ku luuyi olulala, ye Yakuwa asobola okumanya ekiri mu mutima. (Lub. 18:25; 1 Byom. 29:17) N’olwekyo, tetusaanidde kulowooza nti Yakuwa yandibadde afugibwa etteeka lye yawa abalamuzi abatatuukiridde. Bwe tulowooza tutyo, tuba ng’omuntu akaka munne alina amaaso agalaba obulungi okwambala galubindi z’abalwadde b’amaaso. Yakuwa yalaba omutima gwa Dawudi n’ogwa Basuseba n’akiraba nti baali beenenyezza mu bwesimbu. N’olw’ensonga eyo, yabalamula mu ngeri ey’ekisa era ey’okwagala.
Weeyongere Okunoonya Obutuukirivu bwa Yakuwa
18, 19. Kiki ekinaatuyamba okwewala okunenya Yakuwa nga tusinziira ku mitindo gyaffe?
18 N’olwekyo, singa wabaawo ebimu ku bikolwa bya Yakuwa bye tulaba ng’ebitali bya bwenkanya—ka bibe bintu bye tusomyeko mu Baibuli oba ebyo ebitutuuseeko mu bulamu—tusaanidde okwewala okunenya Katonda nga tusinziira ku mitindo gyaffe. Tusaanidde okukijjukira nti oluusi tuyinza okuba nga tetumanyi byonna bizingirwamu era nti endowooza yaffe eriko ekkomo era oluusi eyinza obutaba ntuufu. Era kikulu okukijjukira nti “obusungu bw’omuntu tebuleeta butuukirivu bwa Katonda.” (Yak. 1:19, 20) Bwe tujjukira ebintu ebyo, emitima gyaffe tegijja ‘kunyiigira Yakuwa.’—Nge. 19:3.
19 Okufaananako Yesu, bulijjo tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa yekka y’agwanidde okututeerawo emitindo egy’obutuukirivu era emirungi. (Mak. 10:17, 18) N’olwekyo, ka tufube okufuna ‘okumanya okutuufu’ okukwata ku mitindo gye. (Bar. 10:2; 2 Tim. 3:7) Bwe tukkiriza emitindo gya Yakuwa era ne tufuba okukola by’ayagala, tuba tulaga nti tusoose okunoonya “obutuukirivu bwe.”—Mat. 6:33.
[Obugambo obuli wansi]
a Okusinziira ku mwekenneenya omu, ekigambo ekyavvuunulwa ‘okweteerawo’ era kiyinza okutegeeza ‘okuzimba ekijjukizo.’ Bwe kityo, tuyinza okugamba nti Abayudaaya abo baazimba ekijjukizo eky’akabonero basobole okutenderezebwa mu kifo ky’okutendereza Katonda.
Ojjukira?
• Lwaki kikulu okunoonya obutuukirivu bwa Yakuwa?
• Bintu ki ebibiri bye tulina okwewala?
• Tuyinza tutya okusooka okunoonya obutuukirivu bwa Katonda?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]
Olugero lwa Yesu olukwata ku basajja ababiri abaagenda mu yeekaalu okusaba lutuyigiriza ki?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Kyali kya bwenkanya okusasula abasajja abaatandika okukola ku ssaawa 11 empeera y’emu n’abo abaakola olunaku lwonna?