Mujja Kuba ‘Obwakabaka bwa Bakabona’
‘Mujja kubeera gye ndi obwakabaka bwa bakabona, n’eggwanga ettukuvu.’—KUV. 19:6.
1, 2. Bukuumi bwa ngeri ki ezzadde ly’omukazi bwe lyali lyetaaga, era lwaki?
OBUNNABBI obwasooka okwogerwa mu Bayibuli butuyamba okutegeera engeri ekigendererwa kya Yakuwa gye kijja okutuukiriramu. Bwe yali awa ekisuubizo mu Adeni, Katonda ow’amazima yagamba nti: “Obulabe n’abuteekanga wakati wo [Sitaani] n’omukazi, era ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde ly’omukazi.” Obulabe obwo bwandibadde bwa maanyi kwenkana wa? Yakuwa yagamba nti: “[Ezzadde ly’omukazi] lirikubetenta [Sitaani] omutwe, naawe oliribetenta ekisinziiro.” (Lub. 3:15) Obulabe wakati w’omusota n’ezzadde ly’omukazi bwandibadde bwa maanyi nnyo ne kiba nti Sitaani yandikoze kyonna ekisoboka okulaba nti asaanyaawo ezzadde eryo.
2 Eyo ye nsonga lwaki omuwandiisi wa Zabbuli yasabira abantu ba Katonda abalonde ng’agamba nti: “Laba, abalabe bo bayoogaana: n’abo abakukyawa bayimusizza omutwe. Basala enkwe ku bantu bo, bateesa wamu obubi ku bantu bo abakweke. Boogedde nti Mujje tubazikirize balemenga okuba eggwanga.” (Zab. 83:2-4) Olunyiriri omwandiyitidde ezzadde ly’omukazi lwalina okukuumibwa obutasaanyizibwawo n’obutayonoonebwa. Ekyo okusobola okukikola, Yakuwa yakola endagaano endala ezandiyambye mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kye.
ENDAGAANO EYANDIKUUMYE EZZADDE
3, 4. (a) Endagaano y’Amateeka yatandika ddi okukola, era kiki eggwanga lya Isiraeri kye lyakkiriza okukola? (b) Endagaano y’Amateeka yalina kigendererwa ki?
3 Bazzukulu ba Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo bwe beeyongera obungi, Yakuwa yabafuula eggwanga, nga lino lye ggwanga lya Isiraeri. Okuyitira mu Musa, Yakuwa yakola endagaano ey’enjawulo n’eggwanga eryo ng’abawa Amateeka. Eggwanga lya Isiraeri lyakkiriza okukolera ku ebyo ebyali mu ndagaano eyo. Bayibuli egamba nti: “[Musa] n’atoola ekitabo eky’endagaano, n’asoma mu matu g’abantu: ne boogera nti Byonna Mukama by’ayogedde tulibikola, era tuliwulira. Musa n’atoola omusaayi [gw’ente ennume ezaasaddaakibwa] n’agumansira ku bantu, n’ayogera nti Laba omusaayi ogw’endagaano, Mukama gy’alagaanye nammwe mu bigambo bino byonna.”—Kuv. 24:3-8.
4 Endagaano y’Amateeka yatandika okukola ku Lusozi Sinaayi mu mwaka gwa 1513 E.E.T. Okuyitira mu ndagaano eyo, eggwanga lya Isiraeri lyafuuka eggwanga lya Katonda eddonde. Okuva olwo, Yakuwa yafuuka, ‘Omulamuzi waabwe, Omuteesi waabwe ow’amateeka, era Kabaka waabwe.’ (Is. 33:22) Ebyo bye tusoma ku ggwanga lya Isiraeri bituyamba okulaba ekyo ekibaawo singa abantu bakolera ku mitindo gya Katonda egy’obutuukirivu oba singa bagaana okugikolerako. Okuva bwe kiri nti Amateeka gaagaana Abaisiraeri okufumbiriganwa n’abantu abatasinza Yakuwa n’okwenyigira mu kusinza okw’obulimba, Amateeka ago gaalina ekigendererwa eky’okukuuma olunyiriri lwa Ibulayimu obutayonoonebwa.—Kuv. 20:4-6; 34:12-16.
5. (a) Okuyitira mu ndagaano y’Amateeka, nkizo ki eyali eweereddwa eggwanga lya Isiraeri? (b) Lwaki Katonda yalekera awo okutwala Isiraeri ng’eggwanga lye?
5 Wansi w’endagaano y’Amateeka, bakabona baalondebwa okuweereza mu Isiraeri, era ekyo kyali kisonga ku bakabona abandiweerezza abantu mu ngeri esingawo mu biseera eby’omu maaso. (Beb. 7:11; 10:1) Mu butuufu, okuyitira mu ndagaano eyo, eggwanga lya Isiraeri lyali liweereddwa enkizo okufuuka “obwakabaka bwa bakabona.” Okusobola okufuna enkizo eyo, eggwanga eryo lyalina okukwata amateeka ga Katonda. (Soma Okuva 19:5, 6.) Kyokka, eggwanga lya Isiraeri lyalemererwa okukwata amateeka ga Katonda. Mu kifo ky’okukkiriza Masiya, ezzadde lya Ibulayimu ekkulu, eggwanga eryo lyagaana okumukkiriza. N’ekyavaamu, Katonda yalekera awo okulitwala ng’eggwanga lye.
6. Amateeka gaalina kigendererwa ki?
6 Olw’okuba Abaisiraeri tebaali beesigwa eri Yakuwa, eggwanga lyabwe teryafuuka bwakabaka bwa bakabona. Naye ekyo tekitegeeza nti Amateeka gaaliko ekikyamu. Amateeka gaalina ekigendererwa eky’okukuuma ezzadde n’okuyamba abantu okutegeera Masiya. Kristo bwe yajja era n’ategeerwa, ekigendererwa kyago kyatuukirira. Bayibuli egamba nti: “Kristo ye nkomerero y’Amateeka.” (Bar. 10:4) Kati ekyebuuzibwa kiri nti: Baani abandifunye enkizo okuba obwakabaka bwa bakabona? Yakuwa yakola endagaano endala n’ateekawo eggwanga eriggya.
EGGWANGA ERIGGYA LITEEKEBWAWO
7. Okuyitira mu Yeremiya, kiki Yakuwa kye yayogera ekikwata ku ndagaano empya?
7 Bwe waali wakyabulayo emyaka mingi endagaano y’Amateeka ekome, Yakuwa, ng’ayitira mu nnabbi Yeremiya, yalaga nti yandikoze n’eggwanga lya Isiraeri “endagaano empya.” (Soma Yeremiya 31:31-33.) Obutafaananako ndagaano y’Amateeka, endagaano empya yandisobozesezza abantu okusonyiyibwa ebibi awatali kuwaayo ssaddaaka za nsolo. Ekyo kyandisobose kitya?
8, 9. (a) Omusaayi gwa Yesu gusobozesa ki? (b) Nkizo ki abo abali mu ndagaano empya gye bajja okufuna? (Laba ekifaananyi ku lupapula 13.)
8 Nga wayise emyaka mingi, Yesu yatandikawo omukolo gw’eky’Ekiro kya Mukama Waffe nga Nisaani 14, 33 E.E. Bwe yali ayogera ku kikopo ky’envinnyo, Yesu yagamba abatume be abeesigwa 11 nti: “Ekikopo kino kikiikirira endagaano empya ekoleddwa olw’omusaayi gwange ogugenda okuyiibwa ku lwammwe.” (Luk. 22:20) Era okusinziira ku Njiri ya Matayo, Yesu yagamba nti: “Kino kikiikirira ‘omusaayi gwange ogw’endagaano,’ ogugenda okuyiibwa ku lw’abangi basobole okusonyiyibwa ebibi.”—Mat. 26:27, 28.
9 Omusaayi gwa Yesu ogwayiibwa gwatongoza endagaano empya. Omusaayi ogwo gwaweebwayo omulundi gumu era gusobozesa bangi okusonyiyibwa ebibi emirembe n’emirembe. Yesu tali mu ndagaano empya. Okuva bwe kiri nti talina kibi kyonna, teyeetaaga kusonyiyibwa bibi. Kyokka Katonda asobola okusonyiwa ebibi bya bazzukulu ba Adamu ng’asinziira ku musaayi gwa Yesu ogwayiibwa. Era asobola n’okufuula abamu ku bantu abeesigwa “abaana” be, ng’abafukako omwoyo gwe omutukuvu. (Soma Abaruumi 8:14-17.) Olw’okuba Katonda aba abatwala ng’abatalina kibi, baba nga Yesu, omwana wa Katonda atalina kibi. Abaafukibwako amafuta abo bajja kuba ‘basika awamu ne Kristo’ era ba kufuna enkizo eggwanga lya Isiraeri gye lyafiirwa, ng’eno ye nkizo ey’okufuuka “obwakabaka bwa bakabona.” Ng’ayogera ku abo abagenda okuba ‘abasika awamu ne Kristo,’ omutume Peetero yagamba nti: “Mmwe muli ‘ggwanga ddonde, bakabona abaweereza nga bakabaka, eggwanga ettukuvu, abantu Katonda be yeetwalidde, musobole okulangirira obulungi’ bw’oyo eyabayita okuva mu kizikiza okuyingira mu kitangaala eky’ekitalo.” (1 Peet. 2:9) Mu butuufu endagaano empya nkulu nnyo! Esobozesa abayigirizwa ba Yesu okufuuka abalala abali mu zzadde lya Ibulayimu.
ENDAGAANO EMPYA ETANDIKA OKUKOLA
10. Endagaano empya yatandika ddi okukola, era lwaki tugamba bwe tutyo?
10 Endagaano empya yatandika ddi okukola? Teyatandika kukola ku olwo Yesu lwe yagyogerako ng’atandikawo omukolo gw’eky’Ekiro kya Mukama waffe. Endagaano eyo okusobola okutandika okukola, omusaayi gwa Yesu gwalina okusooka okuyiibwa era omuwendo gwagwo ne guweebwayo eri Yakuwa mu ggulu. Ate era omwoyo omutukuvu gwalina okusooka okufukibwa ku abo ‘abandibadde abasika awamu ne Kristo.’ N’olwekyo, endagaano empya yatandika okukola ku lunaku lwa Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E. abayigirizwa ba Yesu abeesigwa bwe baafukibwako omwoyo omutukuvu.
11. Endagaano empya yasobozesa etya Abayudaaya n’ab’amawanga okuba mu Isiraeri ow’omwoyo, era abo abali mu ndagaano empya bali bameka?
11 Okuyitira mu nnabbi Yeremiya, Yakuwa yagamba nti yandikoze endagaano empya ne Isiraeri. Ekyo kyalaga nti endagaano y’Amateeka yandituuse ekiseera n’ekoma. Endagaano empya bwe yatandika okukola, endagaano y’Amateeka yakoma. (Beb. 8:13) Ekyo bwe kyabaawo, Abakristaayo Abayudaaya n’ab’amawanga abataali bakomole, Katonda yatandika okubatunuulira mu ngeri y’emu, okuva bwe kiri nti ‘okukomolebwa kwabwe kwa mu mutima okuyitira mu mwoyo so si mu Mateeka agali mu buwandiike.’ (Bar. 2:29) Mu kukola endagaano empya nabo, Katonda yanditadde ‘amateeka ge mu birowoozo byabwe, era yandigawandiise mu mitima gyabwe.’ (Beb. 8:10) Abo abali mu ndagaano empya bali 144,000, era be bali mu ggwanga eriggya, “Isiraeri wa Katonda” oba Isiraeri ow’omwoyo.—Bag. 6:16; Kub. 14:1, 4.
12. Endagaano y’Amateeka efaananako etya endagaano empya?
12 Endagaano y’Amateeka efaananako etya endagaano empya? Endagaano y’Amateeka yali wakati wa Yakuwa n’eggwanga lya Isiraeri; endagaano empya eri wakati wa Yakuwa ne Isiraeri ow’omwoyo. Musa ye yali omutabaganya w’endagaano y’Amateeka; Yesu ye mutabaganya w’endagaano empya. Endagaano y’Amateeka yatongozebwa okuyitira mu musaayi gw’ensolo; endagaano empya yatongozebwa okuyitira mu musaayi gwa Yesu ogwayiibwa. Musa ye yali omukulembeze w’eggwanga lya Isiraeri wansi w’endagaano y’Amateeka; Yesu, Omutwe gw’ekibiina, ye mukulembeze w’abo abali mu ndagaano empya.—Bef. 1:22.
13, 14. (a) Kakwate ki akali wakati w’endagaano empya n’Obwakabaka? (b) Isiraeri ow’omwoyo yandisobodde atya okufugira awamu ne Kristo mu ggulu?
13 Endagaano empya erina akakwate n’Obwakabaka mu ngeri nti esobozesa eggwanga ettukuvu okuteekebwawo, ate ng’eggwanga eryo lye lirina enkizo ey’okuweereza nga bakabaka era bakabona mu Bwakabaka obw’omu ggulu. Abalala abali mu zzadde lya Ibulayimu be bali mu ggwanga eryo. (Bag. 3:29) N’olwekyo, endagaano empya enyweza endagaano ya Ibulayimu.
14 Endagaano empya esobozesa eggwanga lya Isiraeri ow’omwoyo okuteekebwawo era esobozesa abaafukibwako amafuta okuba ‘abasika awamu ne Kristo.’ Naye abaafukibwako amafuta bandisobodde batya okufugira awamu ne Yesu nga bakabaka era bakabona mu ggulu? Endagaano endala yakolebwa okusobozesa ekyo okubaawo.
ENDAGAANO ESOBOZESA ABALALA OKUFUGIRA AWAMU NE KRISTO
15. Ndagaano ki Yesu gye yakola n’abatume be abeesigwa?
15 Oluvannyuma lw’okutandikawo omukolo gw’eky’Ekiro kya Mukama waffe, Yesu yakola endagaano n’abayigirizwa be abeesigwa, ng’eno ye ndagaano ey’Obwakabaka. (Soma Lukka 22:28-30.) Obutafaananako endagaano endala ze tulabye, ezaali wakati wa Yakuwa n’abalala, endagaano eno yo eri wakati wa Yesu n’abagoberezi be abaafukibwako amafuta. Yesu bwe yagamba nti, “nga Kitange bwe yakola nange endagaano,” ayinza okuba nga yali ayogera ku ndagaano Yakuwa gye yakola naye okuba “kabona emirembe gyonna nga Merukizeddeeki.”—Beb. 5:5, 6.
16. Endagaano y’Obwakabaka ekakasa ki?
16 Abatume ba Yesu 11 abeesigwa baamunywererako ng’agezesebwa. Endagaano y’Obwakabaka yabakakasa nti bandibadde ne Yesu mu ggulu era nti banditudde ku ntebe z’obwakabaka ne bafuga nga bakabaka era ne baweereza nga bakabona. Kyokka abatume ba Yesu 11 si be bokka abandifunye enkizo eyo. Mu kwolesebwa, Yesu yagamba omutume Yokaana nti: “Oyo awangula ndimukkiriza okutuula nange ku ntebe yange ey’obwakabaka, nga nange bwe nnawangula ne ntuula wamu ne Kitange ku ntebe ye ey’obwakabaka.” (Kub. 3:21) N’olwekyo, endagaano y’Obwakabaka eri wakati wa Yesu n’Abakristaayo abaafukibwako amafuta 144,000. (Kub. 5:9, 10; 7:4) Eno ye ndagaano ekakasa nti Abakristaayo abaafukibwako amafuta bajja kufugira wamu ne Yesu mu ggulu. Kino kiyinza okugeraageranyizibwa ku mukazi afumbirwa kabaka, era oluvannyuma omukazi oyo n’aba ng’asobola okufugira awamu ne kabaka. Mu butuufu, ebyawandiikibwa byogera ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta ‘ng’omugole’ wa Kristo, era biraga nti “balongoofu ng’omuwala embeerera” asuubiziddwa okufumbirwa Kristo.—Kub. 19:7, 8; 21:9; 2 Kol. 11:2.
BA N’OKUKKIRIZA MU BWAKABAKA
17, 18. (a) Menya endagaano omukaaga ze twetegerezza ezirina akakwate n’Obwakabaka. (b) Lwaki tusaanidde okussa obwesige bwaffe bwonna mu Bwakabaka?
17 Endagaano zonna ze tulabye mu kitundu kino ne mu kitundu ekyayita zirina akakwate n’Obwakabaka. (Laba ekipande “Engeri Katonda gy’Ajja Okutuukirizaamu Ekigendererwa Kye.”) Endagaano ezo zitukakasa nti Obwakabaka buli ku musingi omunywevu. N’olwekyo, tulina ensonga ez’amaanyi ezandituleetedde okuba abakakafu nti, okuyitira mu Bwakabaka bwa Masiya, Yakuwa Katonda ajja kutuukiriza ekigendererwa kye eri ensi n’abantu.—Kub. 11:15.
18 Tewali kubuusabuusa nti ebyo Obwakabaka bye bunaakola bijja kuleetera abantu emikisa egy’olubeerera. Mu butuufu, tuli bakakafu nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okugonjoola ebizibu byonna abantu bye balina. N’olwekyo, ka tukole kyonna ekisoboka okuyamba abantu abalala okutegeera ensonga eyo!—Mat. 24:14.