Ani Avunaanyizibwa?
Bwe kiba nti Katonda si y’atuleetera okubonaabona, kati olwo ani avunaanyizibwa ku bizibu ebiriwo gamba ng’enjala, obwavu, entalo, endwadde, n’obutyabaga? Bayibuli eraga ebintu bya mirundi esatu ebisinga okuviirako abantu okubonaabona:
Abantu Okwefaako Bokka, Omululu, n’Obukyayi. Bayibuli egamba nti: ‘Omuntu abadde n’obuyinza ku munne n’amuyisa bubi.’ (Omubuulizi 8:9) Oluusi abantu babonaabona olw’okuba waliwo abantu abeefaako bokka, era abayisa bannaabwe obubi.
Ebintu Ebigwa Bitalaze. Ekirala ekiviirako abantu okubonaabona kiri nti, “ebiseera ebizibu n’ebintu ebitasuubirwa bibatuukako bonna.” (Omubuulizi 9:11) Omuntu asobola okufuna ekizibu olw’okuba abadde mu kifo ekikyamu mu kiseera ekikyamu. Ate era olw’okuba abantu abamu si beegendereza era bakola ensobi, kiyinza okuvaako akabenje.
Omufuzi w’Ensi Omubi. Bayibuli etubuulira ekisinga okuviirako abantu okubonaabona. Egamba nti: “Ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.” (1 Yokaana 5:19) ‘Omubi’ oyo ye Sitaani, eyali malayika omulungi naye ‘n’atanywerera mu mazima.’ (Yokaana 8:44) Waliwo ne bamalayika abalala abaajeemera Katonda, era Bayibuli ebayita badayimooni. (Olubereberye 6:1-5) Sitaani ne badayimooni bafubye nnyo okutabangula ensi era ekyo kiviiriddeko abantu bangi okubonaabona. Ebizibu byeyongedde nnyo mu nsi kubanga Sitaani alina obusungu bungi era “alimbalimba ensi yonna.” (Okubikkulirwa 12:9, 12) Sitaani talina kisa, era y’aleetera abantu okubonaabona so si Katonda.
LOWOOZA KU KINO: Omuntu alina okwagala ayinza okuleetera abalala okubonaabona? Nedda. Omuntu ow’ettima y’asobola okukola ekyo. Bayibuli egamba nti “Katonda kwagala.” (1 Yokaana 4:8) Katonda ayoleka okwagala mu buli ky’akola. “Tekiyinzika Katonda ow’amazima okukola ebintu ebibi, tekiyinzika Omuyinza w’Ebintu Byonna okukola ekikyamu!”—Yobu 34:10.
Kyokka oyinza okwebuuza nti, ‘Katonda anaggyawo ddi Sitaani?’ Nga bwe tulabye, Katonda akyawa ebintu ebibi era awulira bubi nnyo bw’alaba nga tubonaabona. Ate era, Bayibuli egamba nti: ‘Mumukwase byonna ebibeeraliikiriza kubanga abafaako.’ (1 Peetero 5:7) Katonda atwagala nnyo, era asobola okuggyawo okubonaabona kwonna n’obutali bwenkanya. Ebisingawo ku nsonga eyo bijja kwogerwako mu kitundu ekiddako.a
a Okumanya ebisingawo ku nsonga lwaki waliwo okubonaabona kungi, laba essomo 26 ery’ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! ekyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Osobola n’okukifuna ku www.jw.org/lg ku bwereere.