Obuulira n’Obuvumu?
1 Wadde nga baakwatibwa era ne batiisibwatiisibwa abaali babaziyiza, Peetero ne Yokaana beeyongera mu maaso okulangirira obubaka bw’Obwakabaka n’obuvumu. (Bik. 4:17, 21, 31) Kitegeeza ki gye tuli leero okubuulira n’obuvumu?
2 Okuwa Obujulirwa n’Obuvumu: Ebigambo ebirala ebyefaananyirizaako “obuvumu” biri, obumalirivu, obunywevu, n’obugumiikiriza. Eri Abakristaayo ab’amazima, okubuulira n’obuvumu kitegeeza obutatya kwogerera mazima buli lwe wabaawo omukisa okubuulira abalala amawulire amalungi. (Bik. 4:20; 1 Peet. 3:15) Kitegeeza nti tetukwatibwa nsonyi okubuulira amawulire amalungi. (Zab. 119:46; Bar. 1:16; 2 Tim. 1:8) Bwe kityo, obuvumu y’engeri gye twetaaga okusobola okutuukiriza omulimu gwaffe ogw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka mu kiseera kino eky’enkomerero. Butuleetera okubuulira abantu amawulire amalungi yonna gye bayinza okusangibwa.—Bik. 4:29; 1 Kol. 9:23.
3 Obuvumu ku Ssomero: Okutya kukifuula kizibu gy’oli okubuulira b’osoma nabo? Ebiseera ebimu tekiba kyangu, era kuyinza okubeera okusoomooza okw’amaanyi. Kyokka, Yakuwa ajja kukunyweza singa omusaba akuwe obuvumu okubuulira abalala. (Zab. 138:3) Obuvumu bujja kukuyamba okweraga ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa era n’okugumira okusekererwa. N’ekinaavaamu, okubuulira kwo ku ssomero kuyinza okulokola abo abakuwuliriza.—1 Tim. 4:16.
4 Obuvumu ku Mulimu: Omanyiddwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa ku mulimu? Engeri yokka b’okola nabo gye bayinza okutuukibwako n’amawulire amalungi eyinza okuba ggwe okubabuulira. Obuvumu bwo era bujja kukuyamba okufuna olukusa ku mulimu okusobola okugenda mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo ez’ekibiina era n’ennene.
5 Obuvumu ng’Ogezesebwa: Okufuna obuvumu kikulu nnyo bwe twolekagana n’okuziyizibwa. (1 Bas. 2:1, 2) Butuyamba okunywerera ku kukkiriza kwaffe bwe tutiisibwatiisibwa, bwe tusekererwa, oba bwe tuyigganyizibwa. (Baf. 1:27, 28) Butuyamba okunywera bwe tupikirizibwa okwekiriranya emitindo gya Katonda waffe, Yakuwa. Butusobozesa okukuuma emirembe gyaffe singa abalala batandika oluyombo.—Bar. 12:18.
6 Ka kibe kizibu ki kye twolekagana nakyo kinnoomu, ka tweyongere okunyiikira okubuulira amawulire amalungi n’obuvumu.—Bef. 6:18-20.