Weeyongere Okubuulira Ekigambo kya Katonda n’Obuvumu
1 Ng’Abakristaayo, tukimanyi nti bwe tuba tubuulira si buli muntu nti ajja kukkiriza bye tubuulira. (Mat. 10:14) Kyokka ekyo tekitulemesa kubuulira amawulire amalungi. (Nge. 29:25) Kiki ekituyamba okweyongera okubuulira Ekigambo kya Katonda n’obuvumu?
2 Omutume Pawulo yakitwala nga “kya muwendo nnyo okutegeera Kristo Yesu.” Ekyo kyamuleetera okubuulira ‘n’obuvumu.’ (Baf. 3:8, NW; 1 Bas. 1:5) Wadde ng’abamu baatwala obubaka bwe yabuulira ng’ekintu eky’obusiru, yali akimanyi nti obubaka obwo ‘ge maanyi ga Katonda okulokola buli akkiriza.’ (Bar. 1:16) N’olwekyo, ne bwe yali ng’aziyizibwa, yeeyongera ‘okubuulira n’obuvumu mu maanyi ga Yakuwa.’—Bik. 14:1-7; 20:18-21, 24.
3 Ensibuko y’Amaanyi Gaffe: Obuvumu Pawulo bwe yalina ng’abuulira tebwasibuka mu maanyi ge. Bwe yali nga yeeyogerako ne Siira, Pawulo yawandiika: ‘Bwe twamala okubonaabona n’okugirirwa ekyejo mu Firipi ne tugumira mu Katonda waffe okubuulira gye muli enjiri ya Katonda mu kufuba okungi.’ (1 Bas. 2:2; Bik. 16:12, 37) Ate era bwe yali mu kkomera e Rooma, Pawulo yakubiriza abalala okumusabira asobole okweyongera okubuulira amawulire amalungi ‘n’obuvumu.’ (Bef. 6:18-20) Olw’okuba yeesiga Yakuwa, Pawulo yasobola okweyongera okubuulira ekigambo kya Katonda n’obuvumu.—2 Kol. 4:7; Baf. 4:13.
4 Ne leero bwe kityo bwe kiri. Ow’oluganda omu eyakisanga nga kizibu okutegeeza bakozi banne nti yali omu ku Bajulirwa ba Yakuwa era n’okubuulira embagirawo, yasaba Yakuwa era n’atandika okuwa obujulirwa. Omu ku bakozi banne yasooka n’agaana okuwuliriza, naye ow’oluganda bwe yayogera ku ssuubi ery’okuzuukira, mukozi munne oyo yatandika okuyiga Baibuli. Okuva olwo ow’oluganda yatandika okuwa obujulirwa buli lwe yafunanga akakisa. Bwe yafuna omulimu omulala, yasobola okuyamba abantu 34 okutuuka ku kubatizibwa mu banga lya myaka 14. Tusobola okuba abakakafu nti naffe Yakuwa ajja kutuwa amaanyi ‘tweyongere okubuulira ekigambo kye n’obuvumu.’—Bik. 4:29.